Vidiyo Ezanjula Ebitabo by’Omu Bayibuli
Ebikwata ku buli kitabo ky’omu Bayibuli.
Ennyanjula ya Bayibuli
Laba engeri buli kitabo kya Bayibuil gye kikwataganamu n’omulamwa omukulu ogwa Bayibuli—engeri Obufuzi bwa Yesu Kristo gye bujja okugulumiza erinnya lya Katonda.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Ekyamateeka
Laba engeri Amateeka ga Yakuwa gye gaayolekamu okwagala okw’amaanyi kwe yalina eri abantu be.
Ennyanjula y’ekitabo kya Yoswa
Laba engeri eggwanga lya Isirayiri gye liwambamu era ne ligabanyaamu ensi Katonda gye yaliwa.
Ennyanjula y’Ekitabo ky’Ekyabalamuzi
Ekitabo kino ekirimu ebikolwa by’abasajja abaali abeesigwa abaayoleka obuvumu Katonda be yakozesa okununula Abayisirayiri mu mukono gw’abo abaali babanyigiriza kiyitibwa erinnya lyabwe.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Luusi
Ekitabo kya Luusi kyogera ku kwagala okw’okwefiiriza nnamwandu kweyalaga nnyazaala we era n’engeri bombi Yakuwa gye yabawa emikisa.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Samwiri Ekisooka
Laba engeri Abayisirayiri gye baalekera awo okufugibwa abalamuzi ne batandika okufugibwa bakabaka.
Ennyanjula ya Bassekabaka eky’Okubiri
Laba engeri okusinza okw’obulimba gye kwonoona obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebukiikakkono, n’engeri Yakuwa gy’awa emikisa abo abaasigala nga bamuweereza n’omutima gwabwe gwonna.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Ezera
Yakuwa atuukiriza ekisuubizo kye eky’okuggya abantu be mu buwaŋŋanguse e Babulooni n’okuzzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Nekkemiya
Abaweereza ab’amazima bonna balina bye bayinza okuyiga mu kitabo kya Nekkemiya
Ennyanjula y’Ekitabo kya Eseza
Ebyaliwo mu kiseera kya Eseza bijja kwongera okukukakasa nti Yakuwa asobola okununula abantu be leero.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Yobu
Abo bonna abaagala Yakuwa bajja kugezesebwa. Ebiri mu kitabo kya Yobu biraga nti kisoboka okubeera abeesigwa era n’okuwagira obufuzi bwa Yakuwa.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Zabbuli
Ebiri mu Zabbuli biwagira obufuzi bwa Yakuwa, biyamba era ne bibudaabuda abo abamwagala, era biraga engeri Obwakabaka bwa Katonda gye bunatereezaamu ensi.
Ennyanjula y’Ekitabo ky’Engero
Funa obulagirizi obuva eri Katonda obujja okukuyamba mu mbeera zonna—ka kibeere mu bya bizineesi oba mu nsonga z’amaka.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Omubuulizi
Kabaka Sulemaani alaga enjawulo eriwo wakati w’ebintu ebisinga obukulu mu bulamu n’ebintu ebitalina mugaso.
Ennyanjula y’Ekitabo ky’Oluyimba lwa Sulemaani
Okwagala okutajjulukuka omuwala Omusulamu kwalaga omulenzi omusumba kuyitibwa “ennimi z’omuliro gwa Yah.” Lwaki?
Ennyanjula y’Ekitabo kya Isaaya
Ekitabo kya Isaaya kirimu obunnabbi obwatuukirizibwa era ekyo kisobola okunyweza okukkiriza kwo mu Yakuwa kubanga ye Katonda atuukiriza ebisuubizo bye era ye Katonda ow’obulokozi bwaffe.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Yeremiya
Yeremiya yakola omulimu gwe n’obwesigwa wadde ng’embeera yali nzibu. Lowooza ku ekyo Abakristaayo kye bayinza okuyigira ku kyokulabirako kye.
Ennyanjula y’Ekitabo ky’Okukungubaga
Yeremiya ye yawandiika ekitabo ky’Okukungubaga. Mu kitabo kino, ayoleka ennaku olw’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi era alaga engeri Katonda gy’alagamu abantu ekisa nga beenenyezza.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Ezeekyeri
Ezeekyeri yayoleka obuwombeefu n’obuvumu ng’akola ebintu Yakuwa bye yamulagira okukola, ne bwe byabanga ebizibu ennyo. Yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Danyeri
Danyeri ne banne baasigala beesigwa eri Yakuwa mu mbeera zonna. Ekyokulabirako kyabwe wamu n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi bisobola okutuyamba mu kiseera kino eky’enkomerero.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Koseya
Obunnabbi bwa Koseya butuyamba okulaba engeri Yakuwa gy’alagamu aboonoonyi abeenenya ekisa era butuyamba okumanya engeri gye tusaanidde okusinzaamu Katonda.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Yoweeri
Yoweeri yayogera ku kujja kw’olunaku lwa Yakuwa era yalaga n’engeri gye tuyinza okuwonawo. Kikulu nnyo okukolera ku bubaka obuli mu kitabo kye nnaddala mu kiseera kino.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Amosi
Yakuwa yakozesa omuntu owa wansi okukola omulimu omukulu. Biki bye tuyinza okuyigira ku Amosi?
Ennyanjula y’Ekitabo kya Obadiya
Kye kitabo ekisinga obutono mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Obunnabbi buwa essuubi era obulaga nti Yakuwa ajja kukyoleka nti y’agwanidde okufuga.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Yona
Nnabbi yakkiriza okugololwa, yatuukiriza omulimu ogwali gumuweereddwa, era yayigirizibwa engeri gy’ayinza okukoppa Katonda mu kulaga okwagala okutajjulukuka n’obusaasizi. Ebyamutuukako bijja kukukwatako nnyo.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Mikka
Obunnabbi buno obwaluŋŋamizibwa butuzzaamu amaanyi nti Yakuwa ky’atugamba okukola tuba tusobola okukikola era kiba kituganyula.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Nakkumu
Obunnabbi buwa obukakafu nti bulijjo Yakuwa atuukiriza ky’aba ayogedde era nti abudaabuda abo bonna abanoonya emirembe n’obulokozi ebijja okuleetebwa Obwakabaka bwe.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Kaabakuuku
Tuli bakakafu nti Yakuwa bulijjo amanyi ekiseera ekituufu n’engeri ennungi ey’okununulamu abantu be.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Zeffaniya
Lwaki si kirungi okulowooza nti olunaku lwa Katonda olw’okusalirako omusango terujja kujja?
Ennyanjula y’Ekitabo kya Kaggayi
Obunnabbi buno bulaga obukulu bw’okukulembeza okusinza Katonda mu kifo ky’ebyaffe ku bwaffe.
Ennyajula y’Ekitabo kya Zekkaliya
Obunnabbi n’okwolesebwa abantu ba Katonda ab’edda kwe baafunanga byanyweza nnyo okukkiriza kwabwe. Naffe leero, obunnabbi obwo bunyweza okukkiriza kwaffe.
Ennyanjula y’Ekitabo kya Malaki
Kirimu obunnabbi obulaga nti emisingi gya Yakuwa egikwata ku kulaga ekisa n’okwagala tegikyuka. Obunnabbi buno bulimu eby’okuyiga ebirala ebirungi ebiyinza okutuyamba mu bulamu bwaffe.
Ennyanjula ya Matayo
Yiga ebikwata ku kitabo kino, ekisooka mu Njiri ennya.
Ennyanjula ya Makko
Enjiri ya Makko y’esinga obutono mu Njiri zonna, era etuyamba okutegeera ebyo Yesu by’anaakola mu bufuzi bwe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.
Ennyanjula ya Lukka
Bintu ki ebisangibwa mu kitabo kya Lukka naye nga tebisangibwa mu Njiri endala?
Ennyanjula ya Yokaana
Enjiri ya Yokaana eyogera ku kwagala Yesu kw’alina eri abantu, eky’okulabirako kye eky’obwetoowaze, era eraga nti ye Masiya—eyalondebwa okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.
Ennyanjula y’Ebikolwa by’Abatume
Abakristaayo abaasooka baali banyiikivu mu mulimu gw’okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa. Ebiri mu kitabo kya Ebikolwa bisobola okukuyamba okwongera okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.
Ennyanjula y’Abaruumi
Ekitabo ekiraga nti Yakuwa si musosoze era ekyogera ku bukulu bw’okukkiririza mu Yesu Kristo.
Ennyanjula y’Abakkolinso Ekisooka
Ebbaluwa ya Pawulo eno erimu okubuulirira okwaluŋŋamizibwa okukwata ku bumu, empisa ennongoofu, okwagala, ne ku ssuubi erikwata ku kuzuukira.
Ennyanjula y’Abakkolinso eky’Okubiri
Yakuwa, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna,” awa abaweereza be amaanyi era abawanirira.
Ennyanjula y’Abaggalatiya
Ebiri mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaggalatiya bituganyula leero mu ngeri y’emu nga bwe kyali nga yaakabiwandiika. Bisobola okuyamba Abakristaayo bonna okusigala nga beesigwa.
Ennyanjula y’Abafiripi
Bwe tusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa, tuyinza okuyamba abalala nabo okusigala nga beesigwa.
Ennyanjula y’Abakkolosaayi
Tusobola okusanyusa Yakuwa singa tussa mu nkola bye tuyiga, nga tusonyiwa abalala, nga kw’otadde n’okutegeera ekifo ekya waggulu n’obuyinza Yesu by’alina.
Ennyanjula y’Abassessalonika Ekisooka
Tulina okusigala nga tutunula mu by’omwoyo, ‘okwekenneenya ebintu byonna okukakasa nti bituufu,’ ‘okusabanga obutayosa,’ n’okuzziŋŋanamu amaanyi.
Ennyanjula y’Abassessalonika eky’Okubiri
Pawulo awabula abo abaali bagamba nti olunaku lwa Yakuwa lutuuse, era akubiriza abooluganda okuba abanywevu mu kukkiriza.
Ennyanjula ya Timoseewo Ekisooka
Omutume Pawulo yawandiika ebbaluwa esooka eri Timoseewo okulaga engeri ebintu gye bisaanidde okukolebwamu mu kibiina, n’okuwa okulabula ku njigiriza ez’obulimba ne ku kwagala ssente.