BEERA BULINDAALA!
Musisi ow’Amaanyi Agoyezza Turkey ne Syria—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Ku Mmande nga 6 Febwali, 2023, musisi ow’amaanyi yayita mu Turkey ne Syria.
“Ku Mmande, musisi ow’amaanyi yatta abantu abasukka mu 3,700 okuva mu bitundu ebitali bimu ebya Turkey ne mu mambuka ga Syria. Musisi oyo yayita mu kiseera kya butiti. Olw’okuba obudde bwali bunnyogovu nnyo, kyayongera okukosa abo abaayisibwa obubi n’abaafiirwa amayumba gaabwe, era kyataataaganya n’enteekateeka z’okunoonya n’okuyamba abo abaawonawo.”—Reuters, Febwali 6, 2023.
Amawulire bwe gatyo gatuleetera ennaku ya maanyi ku mutima. Mu biseera bwe bityo, tutunuulira Yakuwa, “Katonda ow’okubudaabuda kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3) ‘Atubudaabuda okuyitira mu Byawandiikibwa tusobole okuba n’essuubi.”—Abaruumi 15:4.
Mu Bayibuli tuyiga ku bino:
Ekyo obunnabbi obuli mu Bayibuli kye bwayogera ku musisi.
We tusobola okufuna okubudaabudibwa n’essuubi.
Engeri Katonda gy’anaggyawo okubonaabona kwonna.
Okumanya Bayibuli ky’eyogera ku nsonga ezo, soma ebitundu bino:
a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.