BEERA BULINDAALA!
Ensonga Lwaki Wandibadde n’Essuubi mu 2023—Bayibuli Ekyogerako Ki?
Ng’omwaka 2023 gutandika, ffe awamu n’ab’omu maka gaffe twandyagadde okugufunamu ebirungi. Lwaki tusaanidde okuba n’essuubi?
Bayibuli etuwa essuubi
Bayibuli egamba nti ebizibu bye twolekagana nabyo kati bya kaseera buseera era nti mu kiseera kitono bijja kuggwaawo. Mu butuufu, ebiri mu Bayibuli “byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira. . . mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.”—Abaruumi 15:4.
Okumanya ebisingawo ku ebyo Bayibuli by’esuubiza, soma ekitundu ekirina omutwe, “A Real Hope for a Better Tomorrow.”
Essuubi erisobola okukuyamba kati
Essuubi Bayibuli ly’ewa liyinza okugeraageranyizibwa ku ‘nnanga ey’obulamu.’ (Abebbulaniya 6:19) Essuubi eryo litunyweza. Litusobozesa okugumira ebizibu bye twolekagana nabyo kati, okuba n’endowooza ennuŋŋamu, era n’okufuna essanyu ery’olubeerera. Ng’ekyokulabirako:
Laba engeri essuubi Bayibuli ly’ewa gye lyayambamu omusajja omu eyali ayagala okwekutula ku muze ogw’okukozesa ebiragalalagala. Laba vidiyo erina omutwe, ‘Nnali Nkooye Ebikolwa Byange Ebibi.’
Weetegereze engeri essuubi Bayibuli ly’etuwa gye liyinza okutuyamba nga tufiiriddwa omuntu waffe. Laba vidiyo erina omutwe, Okubudaabuda Abafiiriddwa.
Nyweza essuubi lyo
Abantu bangi basuubira nti ebintu ebirungi mu kiseera eky’omu maaso, naye tebasobola kuba bakakafu nti bye basuubira bijja kutuukirira. Bayibuli by’esuubiza byo bya njawulo. Lwaki? Kubanga ebisuubizo ebigirimu biva eri Yakuwa katonda a kennyini, “atayinza kulimba.” (Tito 1:2) Yakuwa yekka y’alina obusobozi okutuukiriza byonna by’asuubiza; asobola ‘okukola buli kintu ky’ayagala.’—Zabbuli 135:5, 6.
Tukukubiriza okussa obwesige mu ssuubi Bayibuli ly’ewa eryesigika. Osobola okunyweza essubi ly’olina nga ‘weekenneenya n’obwegendereza Ebyawandiikibwa.’ (Ebikolwa 17:11) Ekyo osobola okukikola nga weenyigira mu nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere. Tandika omwaka 2023 ng’olina essuubi!
a Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.