ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU
Okuyamba abo Abali mu Bwetaavu
OKITOBBA 1, 2020
Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu omukulu ennyo okuyamba abantu mu nsi ezisukka mu 200. Naye ensi nga 35 ze zifuna ssente ezimala okukola ku byetaago byazo. Ensi ezitali bulungi mu bya nfuna zikola zitya ku byetaago byazo?
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa keetegereza ebyo Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna bye beetaaga okusobola okusinza Yakuwa n’okukola omulimu gw’okubuulira. Ssente eziweebwayo zibalirirwa era ne zikozesebwa okusinziira ku bwetaavu obubaawo. Ofiisi y’ettabi bwe funa ssente ezisukka ku ezo ze beetaaga okukola ku byetaago byabwe, eziweereza mu nsi endala ezitalina ssente zimala. Enteekateeka eyo efaananako n’ekyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye baakola okuyambagana basobole “okwenkanankana.” (2 Abakkolinso 8:14) Baakozesa ebyo ebyali bisukka ku ebyo bye baali beetaaga okuyamba bakkiriza bannaabwe abalala baali mu bwetaavu.
Baganda baffe abafunye ssente okuva ku matabi amalala bawulira batya? Ng’ekyokulabirako, mu Tanzania, abantu abasinga obungi gye beeyimirizaawo ku ssente ezitasukka na 7000 olunaku, ssente ze baafuna okuva ku matabi amalala zaakozesebwa okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka ekikozesebwa ekibiina kya Mafinga. Ab’oluganda mu kibiina ekyo baagamba nti: “Okuva lwe baddaabiriza ekizimbe kyaffe, omuwendo gw’abantu ababeerawo mu nkuŋŋaana gweyongedde nnyo! Tusiima nnyo ekibiina kya Yakuwa ne baganda baffe mu nsi yonna olw’omwoyo omugabi gwe booleka, ekituyambye okufuna ekizimbe kino ekirabika obulungi.”
Abamu ku baganda baffe mu Sri Lanka tebabadde na mmere emala olw’ekirwadde kya COVID-19. Abamu ku bo ye Imara Fernando n’omwana we Enosh. Kyokka olwa ssente eziva mu nsi endala, basobodde okufuna bye beetaaga. Mu kaadi gye beekolera baagamba nti: “Twebaza ab’oluganda abaatulaga okwagala mu biseera bino ebizibu. Tuli basanyufu nnyo okubeera mu luganda luno, era bulijjo tusaba Yakuwa yeeyongere okuyamba baganda baffe bonna mu nnaku zino ez’enkomerero.”
Baganda baffe ne bannyinnaffe ka babe nga babeera wa, bagabana bye balina. Ng’ekyokulabirako, Enosh, yeekolera akasanduuko akatono mw’atereka ssente asobole okubaako ky’awaayo okuyamba ab’omu maka abali mu bwetaavu. Mwannyinaffe Guadalupe Álvarez naye alina omwoyo omugabi. Abeera mu kitundu ekimu eky’omu Mexico abantu abamu gye bafuna omusaala omutono oba oluusi obutagufunirako ddala. Kyokka, akola ky’asobola okubaako ky’awaayo. Agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’obulungi bwe n’olw’okwagala kwe okutajjulukuka. Nkimanyi nti ssente ze mpaayo zijja kugattibwa awamu n’ez’abalala zisobole okuyamba ab’oluganda abali mu bwetaavu.”
Ofiisi z’amatabi eziweereza ssente mu nsi endala awali obwetaavu zisanyuka nnyo okukikola. Anthony Carvalho, aweereza ku Kakiiko k’Ettabi mu Brazil agamba nti: “Okumala emyaka mingi, twali twetaaga obuyambi okuva mu nsi endala okusobola okukola emirimu gy’Obwakabaka mu nsi yaffe. Olw’obuyambi obwo, twafuna okukulaakulana okw’amaanyi. Kati embeera yaffe ey’eby’enfuna yakyuka, era tulina enkizo ey’okuyamba abalala. Baganda baffe mu Brazil olw’okuba balina omwoyo gw’okwefiiriza, babaako kye bakolawo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna.”
Abajulirwa ba Yakuwa bayinza batya okuyamba baganda baabwe ne bannyinaabwe abali mu bwetaavu? Nga bawaayo ssente okuwagira omulimu ogukolebwa mu nsi yonna, so si kuziweereza ku ofiisi y’ettabi eri mu nsi endala. Ekyo basobola okukikola nga bateeka ssente mu kasanduuko akateekeddwako ebigambo, “Omulimu Ogukolebwa mu Nsi Yonna” oba okuwaayo nga bayitira ku donate.jw.org. Tusiima nnyo ebyo byonna bye muwaayo.