ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU
Okuvvuunula Emboozi z’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2020 Olulina Omutwe, ‘Musanyukenga’!
JJULAAYI 10, 2020
Mu Jjulaayi ne Agusito 2020, omulundi ogusookera ddala, Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bagenda kulaba programu y’emu ey’olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu, mu kiseera kye kimu. Okusobozesa ekyo okubaawo, emboozi z’olukuŋŋaana olwo ezaali zaakwatibwa, zaalina okuvvuunulwa mu nnimi ezisukka mu 500. Mu mbeera eza bulijjo, omulimu ogwo gwanditutte omwaka nga gumu n’okusingawo. Kyokka olw’embeera eziteebeereka ezajjawo olw’ekirwadde kya coronavirus, abavvuunuzi abaalina okuvvuunulwa olukuŋŋaana olwo baalina emyezi egitawera ena okusobola okumaliriza omulimu ogwo.
Ekitongole ekikola ku by’okuvvuunula n’ekyo ekikola ku kugula ebintu, ebiri ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, byayamba nnyo mu mulimu ogwo ogw’amaanyi. Ekitongole ekikola ku by’okuvvuunula kyakiraba nti abavvuunuzi baali beetaaga eby’okukozesa ebirala okusobola okukola omulimu ogwo, nnaddala emizindaalo emirungi. Ekitongole ekikola ku kugula ebintu kyakola enteekateeka okugula emizindaalo 1,000 era n’okugiweereza mu bifo nga 200.
Emizindaalo gyagulibwa mu bungi ne gitwalibwa mu kifo kimu, oluvannyuma ne gigabibwa mu bitundu ebitali bimu mu nsi yonna. Olw’okuba gyagulibwa mu bungi, buli muzindaalo gwatwala ddoola za Amerika nga 170 nga mw’otwalidde n’entambula. Ekyo kyatusobozesa okufissaawo ssente eziwera ebitundu 20 ku kikumi ku ezo ezandikozeseddwa singa twagula omuzindaalo gumu gumu.
Ekitongole ekikola ku by’okugula ebintu kyalina okukola enteekateeka okugula n’okutambuza emizindaalo egyo mu mwezi gwa Apuli ne Maayi 2020, mu kiseera bizineesi ezisinga obungi lwe zaali zitakola nga bulijjo olw’ekirwadde kya coronavirus. Wadde kyali kityo, omwezi gwa Maayi we gwaggwerako, ofiisi z’amatabi, ofiisi awavvuunulirwa ebitabo, n’ebifo ebirala ebisinga obungi byali bifunye eby’okukozesa ebyetaagisa.
Jay Swinney omulabirizi w’ekitongole ekikola ku kugula ebintu agamba nti: “Waaliwo enkolagana ennungi wakati w’ebitongole ebiri ku Beseri ez’enjawulo n’abo be twakolagana nabo okugula n’okutambuza ebintu ebyali byetaagibwa. Omwoyo gwa Yakuwa gwe gwatuyamba okukola omulimu ogwo mu bwangu n’okukozesa obulungi ssente baganda baffe ne bannyinaffe ze bawaayo.”
Nicholas Ahladis, akola mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by’okuvvuunula agamba nti: “Abavvuunuzi abaali mu muggalo mu kiseera ekyo, baasanyuka nnyo okufuna eby’okukozesa bye baali beetaaga. Wadde ng’abavvuunuzi abamu tebaali mu kifo kye kimu n’abo be bakola nabo, baasobola okukolera awamu okuvvuunula emboozi, vidiyo, n’ennyimba mu nnimi ezisukka mu 500.”
Omulimu guno gwe gumu ku mirimu emingi egyakolebwa okusobola okufulumya olukuŋŋaana olunene olw’ennaku essatu olwa 2020 olina omutwe, ‘Musanyukenga’! Ssente ze muwaayo okuyitira ku donate.jw.org ne mu ngeri endala, ze zaatusobozesa okufuna ebintu ebyo ebyali byetaagibwa.