ENGERI SSENTE Z’OWAAYO GYE ZIKOZESEBWAMU
Okufuna Enkuŋŋaana z’Ekibiina nga Tukozesa Enkola ya Videoconference
JJUUNI 26, 2020
Gavumenti ezitali zimu okwetooloola ensi zassaawo ebiragiro ebigaana abantu okuliraanigana oba okukuŋŋaana awamu. Abajulirwa ba Yakuwa bagondera ebiragiro ebyo, nga bwe bafuba okukola kyonna ekisoboka okufuna enkuŋŋaana zaabwe mu ngeri etassa bulamu bwabwe mu kabi. Bafuna enkuŋŋaana zaabwe nga bakozesa programu za videoconference, gamba nga Zoom.
Okusobola okufuna enkuŋŋaana zaffe obutayosa awatali kutaataaganyizibwa, Akakiiko Akafuzi kakkiriza nti ezimu ku ssente eziweebwayo zikozesebwe okuggulirawo ebibiina akawunta ku Zoom. Ekyo kyayamba nnyo ebibiina ebimu ebitandisobodde kufuna ssente eziri wakati wa ddoola 15 na 20 oba n’okusingawo, okusobola okuggulawo akawunta ku Zoom. Ebibiina ebyo byali bikozesa programu ya Zoom ey’obwereere essa ekkomo ku muwendo gw’abantu abagyeyungako era nga teyeesigika. Naye kati ebibiina byonna ebikozesa Zoom y’ekibiina bigisanga nga nnyangu okukozesa era abantu bangi basobola okweyunga ku nkuŋŋaana. Mu kiseera kino, ebibiina ebisukka mu 65,000 mu nsi ezisukka mu 170 bikozesa akawunta za Zoom ekibiina ze kyagula.
Ekibiina kya Kairagi ekiri mu Indonesia, kyalekera awo okukozesa Zoom ey’obwereere ne kidda ku Zoom y’ekibiina. Ow’oluganda Hadi Santoso agamba nti: “Ne baganda baffe ne bannyinnaffe abaali bazibuwalirwa okukozesa amasimu ne tabbuleeti kati banyumirwa enkuŋŋaana, kubanga kati tekikyabeetaagisa kweyunga ku lukuŋŋaana emirundi egiwera.”
Ow’oluganda Lester Jijón, Jr., omukadde mu kibiina kya Guayacanes Oeste ekiri mu kibuga Guayaquil ekya Ecuador, agamba nti: “Olw’embeera baganda baffe ne bannyinnaffe bangi gye balimu mu by’enfuna, ebibiina ebimu tebyandisobodde kusasula layisinsi ya Zoom esobozesa ab’oluganda bonna mu kibiina okweyunga ku nkuŋŋaana. Naye olw’okuba Zoom gye tulina kati ekkiriza abantu bangi okugyeyungako, tusobola okuyunga abantu bangi ku nkuŋŋaana era nga tetweraliikirira nti ejja kuvaako.”
Ate Ow’oluganda Johnson Mwanza, omukadde mu kibiina kya Ngwerere North ekiri mu kibuga Lusaka ekya Zambia, agamba nti: “Ab’oluganda ne bannyinnaffe bangi batera okugamba nti, ‘enteekateeka y’ekibiina ey’okukozesa Zoom etuyamba okuwulira nti tuli kumpi nnyo ne baganda baffe ne bannyinnaffe, era tuwulira nti Yakuwa atwagala nnyo era atufaako.’”
Ssente ekibiina ze kyakozesa okuggulawo akawunta ku Zoom zaggibwa ku ezo eziweebwayo okudduukirira ababa bakoseddwa obutyabaga. Ssente ezo ziweebwayo kyeyagalire okuwagira omulimu okukolebwa mu nsi yonna. Ezimu ku ssente ezo ziweebwayo okuyitira ku donate.jw.org. Tubeebaza nnyo olwa ssente ze muwaayo, era ezitusobozesa okudduukirira ababa bakoseddwa obutyabaga.—2 Abakkolinso 8:14.