Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 3 2017 | Ddala Bayibuli Yava eri Katonda?

Bayibuli yava eri Katonda, oba erimu ndowooza za bantu?

Magazini ya “Zuukuka!” eno erimu obukakafu bwa mirundi esatu obulaga nti ddala Bayibuli yava eri Katonda.

 

OMUTWE OGULI KUNGULU

Bayibuli—Ddala ‘Yaluŋŋamizibwa Katonda’?

Abamu bakkiriza nti Bayibuli yava eri Katonda. Ate abalala balowooza nti Bayibuli ejjudde nfumo ez’edda, ebyafaayo, n’amateeka, ebyawandiikibwa abantu.

OMUTWE OGULI KUNGULU

Bayibuli—Byonna by’Eyogera Bituufu

Bayibuli ntuufu bwe kituuka ku ssaayansi, ebyafaayo, ne ku bunnabbi, era eddamu ebibuuzo ebikulu abantu bye beebuuza.

EBIYAMBA AMAKA

Kikulu Okuyigiriza Abaana Emirimu gy’Awaka

Abazadde, mwewala okuwa abaana bammwe emirimu gy’awaka? Bwe kiba kityo, mulowooze ku ngeri okukola emirimu gy’awaka gye kiyinza okuyamba abaana bammwe okuba ab’obuvunaanyizibwa era n’engeri gye kiyinza okubaleetera essanyu.

Obusimu obw’Omu Lubuto ne mu Byenda—Bukola Butya ng’Obwongo?

Obusimu obwo okusingira ddala busangibwa mu lubuto. Mulimu ki obusimu obwo gwe bukola?

OKUBUUZA EBIBUUZO

Omukugu mu Kuyiiya Programu za Kompyuta Annyonnyola Ebikwata ku Nzikiriza Ye

Fan Yu yali akkiriza nti ebintu byajjawo byokka. Naye kati akkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. Lwaki?

BAYIBULI KY'EGAMBA

Bamalayika

Waliwo ebifaananyi bingi, firimu, n’ebitabo ebyogera oba ebikwata ku bamalayika. Kiki Ebyawandiikibwa kye byogera ku bamalayika?

KYAJJAWO KYOKKA?

Obwoya bw’Eŋŋonge ez’Omu Nnyanja

Ensolo ezimu ezibeera mu mazzi ziba n’amasavu mangi wansi w’oluliba lwazo agaziyamba okusigala nga zibuguma. Naye yo eŋŋonge ey’omu nnyanja erina kintu kirala ekigiyamba okusigala ng’ebuguma.

Ebirala Ebyajulizibwako mu Magazini Eyakubibwa mu Kyapa

Nnyinza Ntya Okufuna Eddembe Erisingawo?

Oyinza okuba ng’owulira nti osaanidde okuyisibwa ng’omuntu omukulu, naye bazadde bo bayinza obutakiraba bwe batyo. Biki by’oyinza okukola bazadde bo okusobola okukwesiga?

Ani Yawandiika Bayibuli?

Bwe kiba nti yawandiikibwa bantu, kiba kituufu okugiyita Ekigambo kya Katonda? Tukakasa tutya nti ebirimu byava eri Katonda?