Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amagezi Agatuyamba Okukolagana Obulungi n’Abalala

Amagezi Agatuyamba Okukolagana Obulungi n’Abalala

Omutonzi waffe atubuulira engeri gye tusobola okubeera n’enkolagana ennungi n’abalala, ka kibe mu maka, ku mulimu, oba wakati waffe ne mikwano gyaffe. Weetegereze agamu ku magezi agayambye abantu bangi.

Sonyiwanga

“Mweyongere . . . okusonyiwagananga, omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:13.

Ffenna tukola ensobi. Tuyinza okukola ebintu ebinyiiza abalala oba bo bayinza okukola ebintu ebitunyiiza. Ekyo kiraga nti ffenna twetaaga okusonyiyibwa n’okusonyiwa abalala. Bwe tusonyiwa omuntu aba akoze ebintu ebitunyiiza tetumusibira kiruyi. ‘Tetumukola kintu kibi olw’okuba naye atukoze ekibi,’ era buli kiseera tuba tetumujjukiza bintu bibi by’aba yakola oba obunafu bw’alina. (Abaruumi 12:17) Naye watya singa omuntu ky’aba atukoze kituluma nnyo ne kiba nti tetusobola kulekera awo kukirowoozaako? Awo tuba tulina okwogerako n’omuntu oyo, naye mu ngeri ennungi. Ekiruubirirwa kyaffe kirina kuba kya kuzzaawo mirembe, so si okulaga nti ffe batuufu.​—Abaruumi 12:18.

Beera Mwetoowaze era Wa Abalala Ekitiibwa

‘Mu buwombeefu mukitwale nti abalala babasinga.’​—ABAFIRIPI 2:3.

Bwe tuba abeetoowaze era nga tuwa abalala ekitiibwa, abantu baba banyumirwa okubeera naffe. Baba bakimanyi nti tujja kubayisa mu ngeri ey’ekisa, tujja kufaayo ku nneewulira yaabwe, era nti tetujja kukola bintu bibalumya mu bugenderevu. Naye bwe tuba nga twetwala nti tuli ba waggulu ku balala, oba nga buli kiseera tukalambira ku ebyo ffe bye twagala, kimalawo emirembe. Abantu baba batwewala, era tuba n’emikwano mitono nnyo, si na kindi n’obutabeerera ddala na mikwano.

Weewale Okusosola

“Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.”​—EBIKOLWA 10:34, 35.

Omutonzi waffe tatwala bantu bamu nti basinga abalala olw’eggwanga lyabwe, olulimi lwabwe, embeera yaabwe ey’eby’enfuna, oba olwa langi yaabwe. “Yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu.” (Ebikolwa 17:26) N’olwekyo, abantu bonna ba luganda. Bwe tuwa abantu bonna ekitiibwa era ne tubayisa mu ngeri ey’ekisa, kibaleetera essanyu. Ate era naffe kitusobozesa okweyongera okuba abasanyufu, era kisanyusa n’Omutonzi waffe.

Beera Mukkakkamu

“Mwambale . . . obukkakkamu.”​—ABAKKOLOSAAYI 3:12.

Bwe tuba abakkakkamu, abalala tebakaluubirirwa kubeera naffe. Tebatya kwogera naffe oba okutuwabula, kubanga bakimanyi nti tujja kusigala nga tuli bakkakkamu. Omuntu bw’atusunguwalira ne tumuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu, kiyinza okumuyamba okukkakkana. Engero 15:1 wagamba nti: “Okuddamu n’eggonjebwa kukkakkanya ekiruyi, naye ekigambo eky’ekkayu kireeta obusungu.”

Beera Mugabi, era Weebazenga

“Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”​—EBIKOLWA 20:35.

Abantu bangi leero balina omululu era beerowoozaako bokka. Naye abantu abagabi be balina essanyu erya nnamaddala. (Lukka 6:38) Abantu abagabi baba basanyufu, kubanga baagala abantu okusinga ebintu. Era okwagala okwo kubaleetera okwebaza abalala, era n’okubasiima nga baliko kye babakoledde. (Abakkolosaayi 3:15) Weebuuze, ‘Muntu ki gwe njagala okuba naye, omukodo era ateebaza, oba omugabi era eyeebaza?’ Ekyo kituyigiriza ki? Nga bw’oyagala abalala babe, naawe bw’otyo bw’oba oba.​—Matayo 7:12.