EBYAFAAYO
Eky’Obusika Ekiganyudde Emirembe Musanvu
Abantu bagamba nti nnafaanana kitange, naddala engeri gye nnyimiriramu, gye nsaagamu, n’amaaso gange. Naye waliwo eky’obusika kitange ky’ampadde ekiganyudde emirembe musanvu egy’ab’omu maka gaffe. Ka ndukuviire ku ntono.
Nga Jjanwali 20, 1815, omu ku bajjajjange ayitibwa Thomas(1) * Williams yazaalibwa mu kabuga Horncastle, ak’omu Bungereza. Nga wayiseewo emyaka ebiri, maama we yafa, era ye ne bato be abasatu baakuzibwa kitaabwe ayitibwa John Williams. Kitaabwe yatendeka Thomas omulimu gw’okubajja, naye ye Thomas yalina omulimu omulala gwe yali ayagala okukola.
Mu kiseera ekyo, waaliwo enjawukana mu madiini mu Bungereza. Omubuulizi w’enjiri John Wesley yeeyawula ku ddiini y’Abapolotesitanti n’atandikawo eddiini y’Abamesodisiti, era abantu abaagirimu essira baalissanga ku kusoma Bayibuli n’okubuulira enjiri. Mu kaseera katono, enjigiriza za Wesley zaabuna mu bitundu bingi, era n’ab’omu maka ga Williams baatandika okuzikkiririzaamu. Thomas yatandika okubuulira enjigiriza za Wesley, era amangu ddala yeewaayo okuba nnakyewa aweereze ng’omuminsani mu bizinga ebiri mu bukiikaddyo bw’oguyanja Pacific. Mu Jjulaayi 1840, ye ne mukyala we, Mary,(2) baagenda ku kizinga ekiyitibwa Lakeba, * eky’omu Fiji, era nga mu kiseera ekyo abaakibeerangako baalyanga abantu.
OKUBEERA MU BANTU ABALYA ABANTU
Mu myaka egyasooka nga bali mu Fiji, Thomas ne Mary baayolekagana n’ebizibu bingi. Baakoleranga mu mbeera embi ne mu bbugumu eringi. Ate era waaliyo ebikolwa ebibi ennyo gamba ng’okutuga bannamwandu, okutta abaana abawere, entalo, n’okulya abantu, ate nga n’okutwalira awamu abantu baali tebaagala bubaka bwabwe. Mary ne John mutabani we omuggulanda, baalwala ne babulako katono okufa. Mu 1843, Thomas yawandiika nti: “Nnayisibwa bubi nnyo. . . . Nnali mweraliikirivu nnyo.” Naye Thomas ne Mary baagumira embeera eyo olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina mu Yakuwa Katonda.
Olw’okuba Thomas yali mubazzi mukugu, yazimba ennyumba ng’akoppa enzimba y’omu Bulaaya era ng’ennyumba ey’ekika ekyo ye yasookera ddala mu Fiji. Yaliko ebintu bingi eby’enjawulo ebyaleetera abantu b’omu kitundu ekyo okwewuunya ennyo. Ng’ennyumba eyo eneetera okumalirizibwa, Mary yazaala omwana ow’obulenzi ow’okubiri ayitibwa Thomas Whitton 3 Williams, era nga y’omu ku bajjajjange.
Mu 1843, Thomas Williams yayambako mu kuvvuunula Enjiri ya Yokaana mu lulimi Olufiji, naye ng’omulimu ogwo tegwamubeerera mwangu. * Ate era yanoonyerezanga n’ategeera bulungi embeera z’abantu. Ebyo bye yanoonyerezaako yabiwandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Fiji and the Fijians (ekya 1858), era kya muwendo nnyo kubanga kinnyonnyola bulungi ebikwata ku bantu abaali mu Figi mu kyasa 19.
Thomas yamala emyaka 13 mu Fiji ng’akakaalukana, era ekyo kyanafuya nnyo obulamu bwe. N’olwekyo, ye
n’ab’omu maka ge baasengukira mu Australia. Thomas yamala ekiseera kiwanvu ng’aweereza ng’omukulembeze w’eddiini, era yafiira mu kitundu ekiyitibwa Ballarat, mu ssaza lya Victoria, mu 1891.“ZZAABU” MU BUGWANJUBA
Mu 1883, Thomas Whitton Williams, mukyala we Phoebe, 4 n’abaana baabwe baasengukira mu kibuga Perth, ekiri mu ssaza lya Western Australia. Mu kiseera ekyo mutabani waabwe ow’okubiri, Arthur Bakewell 5Williams, era nga naye y’omu ku bajjajjange, yalina emyaka mwenda egy’obukulu.
Nga Arthur wa myaka 22 egy’obukulu, yagenda okukolera mu kabuga akayitibwa Kalgoorlie akaasimibwangamu zzaabu, akali mayiro nga 370 mu buvanjuba bw’ekibuga Perth. Ng’ali eyo, yasoma ebimu ku bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa, mu kiseera ekyo abaali bayitibwa Bible Students (Abayizi ba Bayibuli). Ate era yasaba okufunanga akatabo akaali kayitibwa Zion’s Watch Tower. Olw’okuba yakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yali asoma, Arthur yatandika okubibuulirako abalala n’okutegeka enkuŋŋaana mwe baakubaganyizanga ebirowoozo ku Bayibuli. Eyo ye yali entandikwa y’omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogukolebwa leero mu ssaza lya Western Australia.
Arthur bye yali ayiga yabibuulirako n’ab’ewaabwe. Kitaawe, Thomas Whitton, yawagira Arthur okweyongera okukolagana n’Abayizi ba Bayibuli naye oluvannyuma lw’akaseera katono kitaawe yafa. Maama we Phoebe, ne bannyina, Violet ne Mary, nabo baafuuka Abayizi ba Bayibuli. Violet yafuuka omubuulizi w’enjiri ow’ekiseera kyonna, oba payoniya. Arthur yagamba nti Violet yali “payoniya mulungi nnyo era nga y’asingayo obunyiikivu mu ssaza lya Western Australia.” Wadde nga Arthur ayinza okuba nga yasavuwaza, obunyiikivu bwa Violet bwayamba nnyo ab’omulembe ogwaddawo abaava mu lunyiriri lwabwe.
Oluvannyuma Arthur yawasa era n’asengukira mu kabuga Donnybrook akali mu bukiikaddyo bw’ebugwanjuba bw’essaza lya Western Australia, akaalimibwangamu nnyo ebibala. Ng’ali eyo, baamukazaako erinnya “Old Mad 1914!” (Nnamukadde Omulalu 1914!) olw’okuba yalangiriranga n’obunyiikivu obunnabbi bwa Bayibuli obwali busonga ku mwaka 1914. * Naye Ssematalo I bwe yabalukawo, baalekera awo okumuyita erinnya eryo. Arthur yabuulirangako abantu abajjanga ku dduuka lye, era yateekanga n’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu ddirisa we baabanga basobola okubirabira. Mu ddirisa eryo era yateekamu akapande akaali kalaga nti omuntu yenna eyandimukakasizza nti enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu ntuufu, yandimuwadde pawundi 100. Enjigiriza eyo teri mu Bayibuli era Arthur yali tagikkiririzaamu. Tewali yasobola kutwala ssente ezo.
Williams n’abalala baatandika okukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli, n’okuba n’enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo mu maka ge. Oluvannyuma, Arthur yazimba Ekizimbe ky’Obwakabaka, oba ekifo eky’okukuŋŋaaniramu, era nga kye kimu ku byasooka okuzimbibwa mu ssaza lya Western Australia. Ne ku myaka 70 egy’obukulu, yayambalanga essuuti ye n’ettaayi, yatuulanga ku mbalaasi ye eyali eyitibwa Doll, olwo nno n’agenda
ng’abuulira mu buli kanyomero mu disitulikiti ya Donnybrook.Abaana ba Arthur baakwatibwako nnyo olw’engeri ennungi kitaabwe ze yalina, kubanga yali mukkakkamu, nga wa buvunaanyizibwa, era nga munyiikivu mu buli ky’akola. Muwala we Florence 6 yaweereza ng’omuminsani mu Buyindi. Okufaananako kitaabwe, Arthur Lindsay 7 ne Thomas baamala ekiseera kiwanvu nga baweereza ng’abakadde mu kibiina.
OMUTI OGWAKAZIBWAKO LADY WILLIAMS
Arthur Lindsay Williams, omu ku bajjajjange, yali wa kisa era ng’abantu bamwagala nnyo. Yafissizangawo abantu akadde era yabawanga ekitiibwa. Ate era yali mukugu mu kutema emiti ng’akozesa embazzi, era mu myaka 12, empaka z’okutematema emiti yaziwangula emirundi 18.
Naye ate ekyewuunyisa, Arthur yayisibwa bubi mutabani we ow’emyaka ebiri, Ronald8 (jjajja wange), bwe yagezaako okutema akati ka apo akaali awaka. Maama wa Ronald yasiba akati ako n’obwegendereza, era kaakula ne kafuuka omuti omunene. Gwatandika okubala apo eziwooma ennyo. Omuti ogwo ogwakazibwako erinnya Lady Williams, oluvannyuma gwakozesebwa okufunayo ekika ekirala ekya apo ekiyitibwa Cripps Pink, ekimu ku bika bya apo ebisinga okwettanirwa mu nsi yonna.
Jjajja omusajja Ronald ne jjajja omukazi, baamala emyaka mingi nga bakola nga bannakyewa mu kuzimba ebizimbe ebikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu Australia ne ku bizinga ebiyitibwa Solomon Islands. Kati jjajja omusajja wa myaka nga 80 egy’obukulu, naye akyaweereza ng’omukadde mu kibiina era akyayambako mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mu ssaza lya Western Australia.
EKY’OBUSIKA KYANGE NKITWALA NGA KYA MUWENDO
Nga bakoppa bajjajjaffe, bazadde baffe Geoffrey 9 ne Janice10 Williams bafubye okutukuza, nze ne mwannyinaze Katharine, mu mpisa ez’okutya Katonda. Lumu bwe nnagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Ekikristaayo, omu ku boogezi, John E. Barr, eyali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, yakubiriza abavubuka ng’agamba nti: “Temulagajjalira kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye mulina—enkizo ey’okumanya Yakuwa n’okumwagala.” Ekiro ekyo kyennyini, nneewaayo eri Yakuwa era ne ntandika okumuweereza. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 13. Nga wayiseewo emyaka ebiri, nnatandika okuweereza nga payoniya oba omubuulizi ow’ekiseera kyonna.
N’okutuusa leero, nze12 ne mukyala wange Chloe,11 tuweereza ng’ababuulizi ab’ekiseera kyonna mu kabuga Tom Price, akali mu bukiikakkono bw’ebugwanjubwa bwa Western Australia. Tukola omulimu ogutali gwa kiseera kyonna okusobola okwebeesaawo. Bazadde bange, mwannyinaze Katharine, ne bbaawe Andrew nabo baweereza nga bapayoniya mu kabuga Port Hedland, akeesudde mayiro nga 260 mu bukiikakkono. Ate era nze ne kitange tuweereza ng’abakadde mu kibiina.
Emirembe musanvu emabega, omu ku bajjajjange Thomas Williams yaweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ab’emirembe egizze gibaawo baakoppa obunyiikivu bwe, era nange ŋŋanyuddwa nnyo. Ngitwala nga nkizo ya maanyi okuba n’eky’obusika ekyo eky’eby’omwoyo.
^ Ennamba eba eragiddwa ku linnya ly’omuntu y’eraga ekifaananyi ky’omuntu oyo ku lupapula 12 oba 13.
^ Mu kusooka, ekizinga ekyo kyayitibwanga Lakemba, era kisangibwa mu buvanjuba bwa Fiji.
^ Omuminsani ayitibwa John Hunt ye yavvuunula ekitundu ekisinga obunene eky’Endagaano Empya ey’olulimi Olufiji, eyafulumizibwa mu 1847. Ekyewuunyisa, enkyusa eyo eya Bayibuli erimu erinnya lya Katonda, “Jiova” (mu lulimi Olufiji).
^ Laba Ebyongerezeddwako “1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa Baibuli” mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa, era osobola okukafuna ne ku mukutu www.jw.org.