EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | WANDYAGADDE OKUYIGIRIZIBWA BAYIBULI?
Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?
-
Obulamu bulina kigendererwa ki?
-
Lwaki abantu babonaabona era ne bafa?
-
Kisoboka okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi?
-
Ddala Katonda anfaako?
Wali weebuuzizzaako ebibuuzo ng’ebyo? Bwe kiba bwe kityo, toli wekka. Abantu bangi okwetooloola ensi babyebuuza. Kisoboka okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ng’ebyo?
Kisoboka, kubanga abantu bukadde na bukadde bafunye eby’okuddamu ebimatiza mu Bayibuli. Wandyagadde okumanya ebiri mu Bayibuli? Bwe kiba bwe kityo, Abajulirwa ba Yakuwa * bajja kukuyamba kubanga balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere.
Bwe kituuka ku kuyigirizibwa Bayibuli, abantu abamu batera okugamba nti: “Sirina biseera.” “Bayibuli nzibu okutegeera.” “Saagala kwegatta ku ddiini yammwe.” Naye, abalala balina endowooza ya njawulo. Bakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli. Abamu ku bo bagamba bwe bati:
-
“Nnasinzizaako mu Bakatuliki, mu Bapolotestanti, . . . mu abo abasinza Bbuda, era ku yunivasite nnasomerera bya ddiini. Wadde kyali kityo, saafuna byakuddamu mu bibuuzo ebikwata ku Katonda bye nnali nneebuuza. Lumu, Omujulirwa wa Yakuwa yakyala mu maka gange n’addamu ebibuuzo byange ng’akozesa Bayibuli. Nneewuunya nnyo era nnakkiriza okutandika okuyigirizibwa Bayibuli.”—Gill, Bungereza.
-
“Waliwo ebibuuzo bingi ebikwata ku bulamu bye nnali nneebuuza, naye engeri omusumba wange gye yanziramu yali tematiza. Kyokka, Omujulirwa wa Yakuwa yanziramu ebibuuzo ebyo ng’akozesa Bayibuli yokka. Bwe yambuuza obanga nnali njagala okuyiga ebisingawo, nnakkiriza.”—Koffi, Benin.
-
“Nnali njagala nnyo okumanya embeera abafu gye balimu. Nnali ndowooza nti abafu basobola okulumya abantu abalamu, naye nga njagala okumanya ekyo Bayibuli ky’egamba. Bwe kityo, mukwano gwange Omujulirwa wa Yakuwa yatandika okunjigiriza Bayibuli.”—José, Brazil.
-
“Nnagezaako okusoma Bayibuli naye nga sigitegeera. Oluvannyuma, Abajulirwa ba Yakuwa bankyalira ne bannyinnyola bulungi obunnabbi bwa Bayibuli obutali bumu. Nnali njagala okuyiga ebisingawo.”—Dennize, Mexico.
-
“Nnali nneebuuza obanga ddala Katonda anfaako. Bwe ntyo nnasalawo okusaba Katonda ayogerwako mu Bayibuli. Olunaku olwaddako, Abajulirwa ba Yakuwa bankyalira era nnakkiriza okuyigirizibwa Bayibuli.”—Anju, Nepal.
Ebyokulabirako ebyo bitujjukiza ebigambo bya Yesu bino: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Matayo 5:3) Abantu baatondebwa nga balina obwetaavu obw’okuyiga ebikwata ku Katonda. Katonda yekka y’asobola okukola ku bwetaavu obwo, era ekyo akikola okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli.
Kati olwo, okuyigirizibwa Bayibuli kizingiramu ki? Kinaakuganyula kitya? Ebibuuzo bino bigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
^ lup. 8 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.