Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | GAVUMENTI ETERIBAAMU KULYA NGUZI

Obwakabaka bwa Katonda—Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi

Obwakabaka bwa Katonda—Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi

Omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti ya Nicaragua bwe yali ayogera ku nsonga lwaki kizibu okumalawo obulyi bw’enguzi mu gavumenti yagamba nti: “Ensonga enkulu eviirako abakungu ba gavumenti okulya enguzi eri nti abantu aba bulijjo nabo balya enguzi.”

Okuva bwe kiri nti abantu balya enguzi, gavumenti yonna gye bateekawo erina okubaamu obulyi bw’enguzi. Kati olwo gavumenti eteribaamu bulyi bwa nguzi eriva wa? Bayibuli eraga nti Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti yokka eteribaamu bulyi bwa nguzi, era Yesu yakubiriza abagoberezi be okusaba gavumenti eyo ejje.Matayo 6:9, 10.

Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala era kati efugira mu ggulu. Ejja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna, yo efuge ensi yonna. (Zabbuli 2:8, 9; Okubikkulirwa 16:14; 19:19-21) Ekimu ku bintu Obwakabaka obwo kye bujja okukola kwe kuggyawo obulyi bw’enguzi bwonna. Ka tulabe ebintu mukaaga ebitukakasa nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo obulyi bw’enguzi.

1. OBUYINZA

GAVUMENTI Z’ABANTU: Gavumenti z’abantu ziyimirizibwawo bantu baazo, okusingira ddala nga bayitira mu kusasula emisolo. Engeri ssente ezo gye zikuŋŋaanyizibwamu ereetera abakozi ba gavumenti abamu okuzibba, so ng’abalala bakkiriza enguzi ebaweebwa abo abaagala okubakendeereza ku misolo gye baba balina okusasula. Ekyo kiviirako gavumenti okwongeza emisolo esobole okuzzaawo ssente z’efiirwa, kyokka ekyo ne kireetera obulyi bw’enguzi okweyongera. Mu mbeera ng’eyo abawi b’omusolo be basinga okunyigirizibwa.

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Obuyinza Obwakabaka bwa Katonda bwe bulina buva eri Yakuwa Katonda, omuyinza w’ebintu byonna. * (Okubikkulirwa 11:15) Obwakabaka obwo tekibwetaagisa kusolooza misolo okusobola okuddukanya emirimu gyabwo. Olw’okuba Katonda alina ‘amaanyi mangi nnyo’ era nga mugabi, Obwakabaka bwe bujja kukola ku byetaago bya buli muntu.Isaaya 40:26; Zabbuli 145:16.

2. ABAFUZI

GAVUMENTI Z’ABANTU: Susan Rose-Ackerman, ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko yagamba nti okumalawo obulyi bw’enguzi “kulina kutandikira ku bafuzi.” Abantu baba tebakyesiga gavumenti bwe zifuba okulwanyisa obulyi bw’enguzi mu poliisi oba mu bitongole ebikola ku misolo naye ate ne zireka abamu ku bakungu baazo okulya enguzi. Ate era omufuzi ne bw’aba mulungi nnyo, naye aba tatuukiridde. Bayibuli egamba nti, “tewali muntu mutuukirivu ku nsi akola ebirungi n’atayonoona.”Omubuulizi 7:20.

Sitaani yagezaako okugulirira Yesu, naye Yesu yagaana

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Obutafaananako bantu abatatuukiridde, Yesu Kristo, oyo Katonda gwe yalonda okuba Omufuzi w’Obwakabaka bwa Katonda, tayinza kukola kintu kibi. Sitaani, omufuzi w’ensi bwe yagezaako okugulirira Yesu ng’ayagala Yesu amusinze, yamusuubiza “obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo.” Naye Yesu yagaana. (Matayo 4:8-10; Yokaana 14:30) Yesu ne bwe yali atulugunyizibwa ng’awanikiddwa ku muti, yagaana okunywa envinnyo eyali etabuddwamu ekintu ekikaawa eyandikendeezezza ku bulumi bwe yalimu kyokka nga yandimuleetedde obutalowooza bulungi. (Matayo 27:34) Katonda yazuukiza Yesu n’addayo mu ggulu. Ebyo byonna bikakasa nti Yesu y’agwanidde okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda.Abafiripi 2:8-11.

3. OBUWANGAAZI

GAVUMENTI Z’ABANTU: Mu nsi nnyingi abantu balonda nga balowooza nti bajja kufuna abakulembeze abatali balyi ba nguzi. Naye ekituufu kiri nti, kampeyini n’okulonda nabyo bibaamu okulya enguzi, era ekyo kibaawo ne mu nsi ezitwalibwa ng’ezaakula. Mu kampeyini, abagagga abamu bagulirira abantu basobole okulonda oyo bo gwe baba baagala.

John Paul Stevens, eyaliko omulamuzi w’omu kkooti enkulu ey’Amerika yawandiika nti gavumenti ezirondebwa mu ngeri eyo “ziba nnafu kuba ziba tezeetengeredde era abantu baba tebazeesiga.” Tekyewuunyisa nti abantu bangi okwetooloola ensi yonna bagamba nti ebibiina by’obufuzi bye bisinga okubaamu obulyi bw’enguzi.

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Obwakabaka bwa Katonda bugenda kubeerawo emirembe gyonna, era ekyo kitegeeza nti tewajja kubaawo bulyi bwa nguzi obubaawo mu biseera bya kampeyini n’okulonda. (Danyeri 7:13, 14) Omufuzi w’Obwakabaka obwo abantu si be baamulonda era tebasobola kumuggyako. Olw’okuba Obwakabaka bwa Katonda bujja kubeerawo emirembe gyonna, bye bunaakola bijja kuganyula abantu emirembe gyonna.

4. AMATEEKA

Obwakabaka bwa Katonda gavumenti ya ddala era kati efugira mu ggulu

GAVUMENTI Z’ABANTU: Oluusi abantu baba balowooza nti singa bassaawo amateeka amapya embeera eyinza okutereera. Naye abakugu bakizudde nti amateeka bwe geeyongera n’obulyi bw’enguzi bweyongera. Ate era, kitwala ssente nnyingi okubaga n’okukwasisa amateeka agakwata ku bulyi bw’enguzi kyokka ng’oluusi tegalina kya maanyi kye gakola.

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Amateeka g’Obwakabaka bwa Katonda gasingira wala aga gavumenti z’abantu. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okussaawo etteeka ku buli kintu kye tulina okwewala ne kye tulina okukola, Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.” (Matayo 7:12) N’ekisinga obukulu, amateeka g’Obwakabaka bwa Katonda gakwata nnyo ku biruubirirwa by’abantu n’ebikolwa byabwe. Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” (Matayo 22:39) Katonda y’asobola okussaawo amateeka ng’ago kubanga amanyi ekiri mu mitima gy’abantu.1 Samwiri 16:7.

5. EBIRUUBIRIRWA

GAVUMENTI Z’ABANTU: Abantu okwefaako bokka n’okuba n’omululu bye biviiriddeko obulyi bw’enguzi okweyogera. Abakungu ba gavumenti n’abantu ba bulijjo batera okwoleka engeri ezo embi. Ekizimbe kye twogeddeko ekyagwa mu kibuga Seoul ne kitta abantu, kyagwa kubanga kampuni eyakizimba yawa abakungu ba gavumenti enguzi esobole okukozesa ebizimbisibwa eby’essente entono era ebitali ku mutindo.

N’olwekyo okumalawo obulyi bw’enguzi, abantu baba balina okuyigirizibwa obutaba ba mululu n’obuteefaako bokka. Naye gavumenti z’abantu tezirina busobozi kuyigiriza bantu kwewala mululu n’obutefaako bokka.

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Obwakabaka bwa Katonda bujja kumalawo obulyi bw’enguzi kubanga ne mu kiseera kino buyigiriza abantu okweggyamu endowooza eziyinza okubaviirako okulya enguzi. * Obuyigirize obwo buyamba abantu “okufuulibwa abaggya mu maanyi agafuga ebirowoozo byabwe.” (Abeefeso 4:23) Mu kifo ky’okuba n’omululu n’okwefaako bokka, bayiga okufaayo ku balala.Abafiripi 2:4; 1 Timoseewo 6:6.

6. ABAFUGIBWA

GAVUMENTI Z’ABANTU: Abantu abamu ne bwe bayigirizibwa empisa ennungi era ne babeera mu bantu abeeyisa obulungi, tebaba beesigwa era balya enguzi. Abakugu bagamba nti eyo ye nsonga lwaki gavumenti z’abantu tezisobola kumalawo bulyi bwa nguzi. Ekintu kyokka gavumenti kye zisobola okukola, kwe kukendeeza ku bulyi bw’enguzi n’ebizibu ebivaamu.

OBWAKABAKA BWA KATONDA: Mu lukuŋŋaana olumu lukwata ku bulyi bw’enguzi, Ekibiina ky’Amawanga Amagatte kyagamba nti okusobola okumalawo obulyi bw’enguzi, gavumenti zisaanidde okukubiriza abakungu baazo okuba “abeesigwa era ab’obuvunaanyizibwa.” Wadde ng’ekyo kigendererwa kirungi, Obwakabaka bwa Katonda tebukoma ku kukubiriza bantu okuba n’engeri ezo naye era abo be bunaafuga kibakakatako okuba nazo. Bayibuli egamba nti “ab’omululu” “n’abalimba” tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.1 Abakkolinso 6:9-11; Okubikkulirwa 21:8.

Abantu basobola okunywerera ku mitindo gino egy’empisa ng’Abakristaayo abasooka bwe baakola. Ng’ekyokulabirako, omuyigirizwa ayitibwa Simooni bwe yagezaako okuwa abatume enguzi basobole okumuwa amaanyi g’omwoyo omutukuvu, bagaana era ne bamugamba nti: “Weenenye ekibi kyo.” Simooni bwe yakiraba nti kye yali akoze kyali kikyamu, yeenenya era n’asaba abatume bamusabire.Ebikolwa 8:18-24.

NAAWE OSOBOLA OKUFUGIBWA OBWAKABAKA BWA KATONDA

K’obe ng’oli wa ggwanga ki, osobola okuba omu ku abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Ebikolwa 10:34, 35) Obwakabaka bwa Katonda butaddewo enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna esobola okukuyamba okufuna ebisaanyizo eby’okufugibwa Obwakabaka obwo. Abajulirwa ba Yakuwa balina enteekateeka ey’okuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere, era ng’ekyo basobola n’okukikola mu ddakiika kkumi buli wiiki. Ebimu ku by’ojja okuyiga mwe muli “amawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda,” n’engeri gye bunaggyawo obulyi bw’enguzi. (Lukka 4:43) Tukusaba otuukirire Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo oba ogende ku Mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org.

Wandyagadde okuyigirizibwa Bayibuli ku bwereere?

^ lup. 8 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

^ lup. 22 Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Kisoboka Okuba Omwesigwa mu Nsi Omuli Obulyi bw’Enguzi?” mu magazini ya Watchtower eya Okitobba 1, 2012.