Wandyewoze Ssente?
“Okwewola kulinga mbaga; okusasula kulinga kukungubaga.”
—Olugero lw’Ekiswayiri.
ABANTU bangi mu buvanjuba bwa Afirika bamanyi olugero olwo, era lwoleka endowooza y’abantu bangi okwetooloola ensi yonna. Naawe bw’otyo bw’owulira nga weewoze ssente? Wadde ng’oluusi kiyinza okukwetaagisa okwewola ssente, wandizeewoze? Kabi ki akali mu kwewola ssente?
Olugero lw’Ekiswayiri olulala lulaga akabi akali mu kwewola. Lugamba nti: “Okwewola n’okuwola bitta omukwano.” Mu butuufu, amabanja gayinza okwonoona enkolagana ab’emikwano gye baba nayo. Wadde nga tuyinza okuba nga tukoze enteekateeka ennungi era nga tulina ebiruubirirwa ebirungi, oluusi ebintu biyinza obutagenda nga bwe tusuubira. Ng’ekyokulabirako, singa ekiseera kiyitawo nga tetunnasasula bbanja, eyatuwola ayinza okunyiiga. Wayinza okubaawo obukyayi, era enkolagana wakati w’oyo eyawola ne gwe baawola awamu n’ab’omu maka gaabwe eyinza okwonooneka. Okuva bwe kiri nti okwewola kuyinza okuleetawo enjawukana, si kye twandisoose okulowoozaako nga tufunye ekizibu.
Okwewola kuyinza n’okwonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda. Mu ngeri ki? Bayibuli egamba nti omuntu omubi y’agaana okusasula amabanja ge. (Zabbuli 37:21) Ate era egamba nti: “Eyeewola aba muddu w’awola.” (Engero 22:7) Omuntu eyeewola bw’aba tannasasula bbanja aba ng’omuddu w’oyo eyamuwola. Olugero olumu olw’omu Senegal lugamba nti: “Bwe weewola amagulu g’omuntu, olina okugenda buli gy’akulagira okugenda.” Olugero olwo lulaga nti omuntu alina amabanja taba na ddembe kukola by’ayagala.
N’olwekyo omuntu bw’aba alina ebbanja asaanidde okufuba okulisasula, kubanga bw’atakikola kiyinza okuvaamu ebizibu. Omuntu bw’aba n’amabanja ayinza okwennyamira, okubulwa otulo, okukola ekisukkiridde, okufuna obutategeeragana mu bufumbo, amaka okusattulukuka, si na kindi okutwalibwa mu kkooti oba okusibibwa mu kkomera. Mu Abaruumi waliwo amagezi amalungi ennyo. Wagamba nti: “Temubanga na bbanja eri omuntu yenna, wabula mwagalanenga.” 13:8
DDALA KYETAAGISA OKWEWOLA SSENTE?
Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tekiba kya magezi kumala geewola ssente. Sooka weebuuze: Ddala nneetaaga okwewola ssente? Kyandiba nti nneetaaga okukendeeza ku nsaasaanya yange nsobole okukozesa ssente ezo zokka ze nfuna? Oba kyandiba nti njagala bwagazi kubeera mu bulamu bwa kwejalabya? Mu kifo ky’okwewola, kiba kirungi okuba abamativu n’ebyo bye tulina.
Kyo kituufu nti tuyinza okufuna ekizibu ne kiba nga kitukakatako okwewola. Bwe tusalawo okwewola, tusaanidde okuba abeesimbu era abeesigwa. Mu ngeri ki?
Ekisooka, teweewola ku muntu olw’okuba alabika ng’ali obulungi okusinga abalala. Tetusaanidde kulowooza nti olw’okuba omuntu mugagga, aba alina okutuyamba mu bizibu byaffe. Ate era tetusaanidde kulowooza nti omuntu ng’oyo bw’atuwola tekitukakatako kumusasula. Abo abali obulungi mu by’enfuna tobakwatirwa buggya.
Eky’okubiri, fuba okusasula ebbanja, ate okikole mu budde. Oyo akuwoze bw’atakuwa lunaku lwa kumusasulirako, ggwe lumuwe era ofube okumusasula mu budde. Kiba kirungi bye mukkiriziganyizzaako ne mubiteeka mu buwandiike okusobola okwewala enkaayana. (Yeremiya 32:9, 10) Bwe kiba kisoboka, ggwe kennyini zzaayo ssente ze weewola osobole okwebaza eyazikuwola. Oyo gwe weewolako bw’omusasula mu budde, enkolagana yammwe yeeyongera okunywera. Yesu yagamba nti: “Ekigambo kyammwe Yee, kibeerenga Yee, n’ekigambo kyammwe Nedda, kibeerenga Nedda.” (Matayo 5:37) Ate era yagamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.”
BAYIBULI ESOBOLA OKUKUYAMBA
Bwe kituuka ku by’enfuna Bayibuli etuwa amagezi gano: “Mazima ddala, okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba.” (1 Timoseewo 6:6) Okuba abamativu n’ebyo bye tulina ye ngeri esingayo ey’okwewalamu ebizibu ebiva mu kwewola. Wadde kiri kityo, si kyangu kuba bamativu mu nsi eno ejjudde ebintu ebisikiriza. Eyo ye nsonga lwaki twetaaga “okwemalira ku Katonda.” Ekyo kituyamba kitya?
Lowooza ku mwami omu ne mukyala we Abakristaayo ababeera mu Asiya. Bwe baali bakyali bavubuka, beegombanga nnyo abantu abalina ennyumba ezaabwe ku bwabwe. Beewola ssente mu bbanka ne ku b’eŋŋanda zaabwe ne bazigatta ku ezo ze baali batereseewo, ne bagula ennyumba. Kyokka oluvannyuma lw’akaseera katono, kyabazibuwalira okusasula ebisale ebya buli mwezi. Baatandika okukola ennyo ne baba nga tebakyafuna budde kubeerako wamu na baana baabwe. Omwami yagamba nti: “Nnali nkoowa nnyo, nga nneeraliikira, nga sifuna tulo, era nga mpulira nga gwe batisse ejjinja eddene ennyo.”
“Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kya bukuumi”
Oluvannyuma lw’ekiseera, baalowooza ku magezi agali mu 1 Timoseewo 6:6 ne basalawo okutunda ennyumba yaabwe. Kyabatwalira emyaka ebiri okusasula amabanja ge baalina. Kiki abafumbo abo kye baayiga? Baagamba nti “Okukolera ku magezi agali mu Bayibuli kya bukuumi.”
Abantu bangi bamanyi olugero olw’Ekiswayiri olwogeddwako ku ntadikwa y’ekitundu kino. Wadde kiri kityo abamu bakyeyongera okwewola ssente. Okusinziira ku magezi agali mu Bayibuli ge tulabye, kikulu okwebuuza nti, Nnandyewoze ssente?