Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Akumanyi Bulungi

Katonda Akumanyi Bulungi

“Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.”ZABBULI 139:1.

“Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira.”ZABBULI 139:16

ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Bangi balowooza nti Katonda talina kalungi konna k’alaba mu bantu, era nti bonna abatwala ng’abonoonyi era abatasaanira mu maaso ge. Kendra abeera mu Amerika, yali mwennyamivu nnyo olw’okuba yali takyasobola kuweereza Katonda mu bujjuvu. N’ekyavaamu, yalekera awo okusaba Katonda.

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Wadde nga ffenna tetutuukiridde, Yakuwa atunuulira emitima gyaffe n’amanya ekyo kye tuli. Bayibuli egamba nti: “Amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.” Ate era tatubonereza “ng’ebibi byaffe bwe biri,” naye atusonyiwa bwe tuba twenenyezza.Zabbuli 103:10, 14.

Lowooza ku Kabaka Dawudi owa Isiraeri gwe twayogeddeko mu kitundu ekisooka. Bwe yali asaba Katonda, Dawudi yagamba nti: “Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa . . . Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange.” (Zabbuli 139:16, 23) Wadde nga Dawudi yali tatuukiridde era ng’emirundi egimu yakolanga ebibi eby’amaanyi, yali akimanyi nti bwe yandyenennyezzanga Yakuwa yandikebeddenga omutima gwe n’amusonyiwa.

Yakuwa akumanyi bulungi okusinga omuntu omulala yenna. Bayibuli egamba nti: “Abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” (1 Samwiri 16:7) Katonda amanyi ebikuleetera okweyisa mu ngeri gye weeyisaamu. Amanyi engeri gye watondebwamu, engeri gye wakuzibwamu, gye wakulira, n’embeera zo zonna. Alaba nti ofuba okukola ebirungi wadde nga totuukiridde.

Naye, Katonda ayinza kukubudaabuda atya ng’asinziira ku ebyo by’akumanyiiko?