Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Lwaki tusaanidde okusaba Katonda?

Yakuwa Katonda ayagala tumusabenga buli lunaku. (Lukka 18:1-7) Awulira okusaba kwaffe kubanga atufaako. Okuva bwe kiri nti Kitaffe ow’omu ggulu ayagala tumusabe, tetusaanidde kutya kumusaba.​—Soma Abafiripi 4:6.

Bwe tusaba Katonda atuwa bye twetaaga. Ate era okusaba kutusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. (Zabbuli 8:3, 4) Buli lunaku bwe tubuulira Katonda ebituli ku mutima, tufuuka mikwano gye egy’oku lusegere.​—Soma Yakobo 4:8.

Tusaanidde kusaba tutya?

Bwe tuba tusaba, Katonda tayagala twogere bigambo bingi nnyo, oba tuddiŋŋane essaala ze twakwata obukusu. Ate era, tusobola okumusaba nga tutudde, nga tuyimiridde, oba mu n’engeri endala yonna. Katonda ayagala tumusabe nga bye tumusaba biviira ddala ku mitima gyaffe. (Matayo 6:7) Ng’ekyokulabirako, mu Isiraeri ey’edda, Kaana yasaba Katonda amuyambe mu kizibu ekyali mu maka ge ekyali kimweraliikiriza. Katonda bwe yaddamu essaala ye, Kaana yasaba nga yeebaza Katonda.​—Soma 1 Samwiri 1:10, 12, 13, 26, 27; 2:1.

Ng’okusaba nkizo ya maanyi nnyo! Tusobola okubuulira Omutonzi waffe kyonna ekitweraliikiriza. Ate era tusobola okumutendereza n’okumwebaza olw’ebirungi by’atukolera. N’olwekyo tusaanidde okusaba buli lunaku.​—Soma Zabbuli 145:14-16.