Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okuziyiza Ebikemo!

Osobola Okuziyiza Ebikemo!

“Lumu bwe nnali ku Intaneeti, waliwo akabokisi akajja ku kompyuta yange. Bwe nnakaggula, nnalaba ebifaananyi eby’obuseegu wadde nga si bye nnali ŋŋenderedde okulaba.”—CODY. *

“Omuwala omu alabika obulungi gwe nnali nkola naye yatandika okuzannyirira nange. Lumu yansaba tugendeko mu wooteeri emu ‘twesanyuseemu.’ Nnamanyirawo kye yali ayagala.”—DYLAN.

ABANTU abamu bagamba nti: “Nsobola okuziyiza ekintu ekirala kyonna naye sisobola kuziyiza kikemo.” Ekyo kiraga nti abantu ng’abo bwe bakemebwa tebafuba kuziyiza bikemo. Kyokka, abalala bakola kyonna ekisoboka okubiziyiza. Ggwe olowooza otya? Wandifubye okuziyiza ebikemo?

Kya lwatu, si buli kikemo nti kiviirako omuntu okufuna ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, bw’onywa akajiiko ka sukaali kamu kokka ng’omusawo yamukugaana, oyinza obutafuna kizibu kya maanyi. Naye waliwo ebintu ebimu by’oyinza okukola n’ofuna ebizibu eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “Ayenda ku mukazi talina kutegeera: ayagala okuzikiriza obulamu bwe [y’akola] bw’atyo.”Engero 6:32, 33.

Bw’okemebwa okwenda, kiki ky’osaanidde okukola? Bayibuli egamba nti: “Katonda ky’ayagala kye kino: mutukuzibwe, mwewale obwenzi, buli omu ku mmwe amanye engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa.” (1 Abassessaloniika 4:3, 4) Biki ebinaakuyamba okufuga omubiri gwo osobole okwewala obwenzi? Ka tulabe ebintu bisatu.

Ekisooka: Weegendereze by’Olaba

Okulaba ebifaananyi eby’obuseegu kireetera omuntu okufuna okwegomba okubi. Yesu yalaga nti waliwo akakwate wakati w’okulaba n’okwegomba. Yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” Ate era yagattako nti: “Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likwesittaza, liggyemu olisuule.” (Matayo 5:28, 29) Kiki kye tuyiga mu bigambo bya Yesu ebyo? Okusobola okwewala obwenzi, tusaanidde okwewalira ddala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.

Bw’olaba ebifaananyi eby’obuseegu ggyayo amaaso go mu bwangu

Ekyokulabirako: Singa oba ogenze we bookera ebyuma, osobola okutunuulira enkaliriza ebimyanso ebiva ku byuma ebyo? Nedda. Oggyayo mangu amaaso go, kubanga bw’otokola bw’otyo, amaaso go gayinza okufa. Mu ngeri y’emu, bw’oba osoma empapula z’amawulire, ng’olaba ttivi, oba ng’oli ku intaneeti n’olaba ekifaananyi eky’obuseegu, ggyayo amaaso go mu bwangu. Bw’okola bw’otyo, ebirowoozo byo tebyonoonebwa. Juan, eyalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu agamba nti: “Bwe ndaba omukazi alabika obulungi, mba saagala kulekera awo kumutunuulira. Naye nfuba okutunula ebbali, era amangu ddala ne nsaba Yakuwa. Bwe mmala okusaba ebirowoozo byange bitereera.”Matayo 6:9, 13; 1 Abakkolinso 10:13.

Yobu, omusajja eyali omwesigwa, yagamba nti: ‘Nnalagaana endagaano n’amaaso gange; kale nnandiyinzizza ntya okutunuulira omukazi?’ (Yobu 31:1) Yobu yeewalanga okutunuulira omukazi n’amwegomba. Naawe beera mumalirivu nga Yobu.

Kola kino: Bw’olaba ebifaananyi eby’obuseegu, ggyayo amaaso go mu bwangu. Beera ng’omuwandiisi wa Bayibuli omu eyasaba Katonda ng’agamba nti: “Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu.”Zabbuli 119:37.

Eky’okubiri: Fuga Ebirowoozo Byo

Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, ebiseera ebimu tuyinza okufuna ebirowoozo ebibi. Bayibuli egamba nti: “Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe. Oluvannyuma okwegomba bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.” (Yakobo 1:14, 15) Kiki ekinaakuyamba okufuga ebirowoozo byo?

Buli lw’ofuna ebirowoozo ebibi, amangu ddala saba Katonda akuyambe

Bw’ofuna ebirowoozo ebibi, fuba okubirwanyisa osobole okubyeggiramu ddala. Troy, eyalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu ku intaneeti agamba nti: “Nnafubanga okweggyamu ebirowoozo ebibi nga ndowooza ku bintu ebirungi byokka. Tekyali kyangu era oluusi nnalemererwanga. Naye mpolampola, nnayiga okufuga ebirowoozo byange.” Omukyala omu ayitibwa Elsa, eyeegombanga okwenyigira mu bukaba ng’akyali mutiini agamba nti: “Okuba n’eby’okukola ebingi n’okusaba Yakuwa byannyamba okwewala okulowooza ku bintu ebibi.”

Kola kino: Buli lw’ofuna ebirowoozo ebibi, saba Katonda mu bwangu. Fuba okulowooza ku bintu “byonna ebituufu, ebikulu, ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, ebyogerwako obulungi, ebirungi, n’ebitenderezebwa.”Abafiripi 4:8.

Eky’okusatu: Weewale Embeera Eziyinza Okukuviirako Okukemebwa

Omuntu bw’akemebwa okukola ekintu ekibi ky’abadde yeegomba, kiba kyangu okukikola. (Engero 7:6-23) Kati olwo oyinza otya okwewala okugwa mu mitawaana?

“Sikozesa intaneeti okuggyako nga waliwo abalala”

Bayibuli egamba nti: “Omuntu omuteegevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.” (Engero 22:3) N’olwekyo, lowooza ku mbeera eziyinza okukuviirako okukemebwa, era ozeewale. (Engero 7:25) Filipe, eyavvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, agamba nti: “Kompyuta nnagiteeka mu kifo buli omu ali mu nnyumba w’asobola okulabira kye mba nkola, era sikozesa intaneeti nga ndi nzekka mu nnyumba. Ate era nnagiteekako programu etangira ebintu ebikyamu.” Mu ngeri y’emu, Troy, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Nneewala okulaba firimu ezirimu eby’obuseegu era sikolagana na bantu abawemula. Nneewala embeera yonna eyinza okunviirako okukemebwa.”

Kola kino: Manya obunafu bwo, era lowooza ku mbeera eziyinza okukuviirako okukemebwa.Matayo 6:13.

TOGGWAAMU MAANYI

Watya singa okola ekibi wadde ng’ofubye okukiziyiza? Toggwaamu maanyi era tolekulira. Bayibuli egamba nti: “Omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n’ayimuka nate.” (Engero 24:16) Kitaffe ow’omu ggulu atukubiriza ‘okuyimuka.’ Onokkiriza akuyambe? Bwe kiba bwe kityo, nyiikira okumusaba. Nyweza okukkiriza kwo ng’osoma Ekigambo kye, era toyosa kugenda mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Bulijjo jjukiranga ekisuubizo kya Katonda kino: ‘Nnaakuwanga amaanyi; weewaawo, nnaakuyambanga.’Isaaya 41:10.

Cody, eyayogeddwako agamba nti: “Nnalina okufuba ennyo okusobola okuvvuunuka omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Emirundi mingi nnalemererwanga, naye Katonda yannyamba ne nsobola okuvvuunuka omuze ogwo.” Dylan, naye eyayogeddwako, agamba nti: “Kyandibadde kyangu okwegatta n’omuwala gwe nnali nkola naye. Naye nnasigala nga ndi munywevu era nnamugamba nti ekyo sisobola kukikola. Ndimusanyufu olw’okuba nnina omuntu ow’omunda omuyonjo. N’ekisingira ddala obukulu, nnasanyusa Yakuwa.”

Bw’onoofuba okuziyiza ebikemo, naawe ojja kusanyusa Katonda!Engero 27:11.

^ lup. 2 Amannya mu kitundu kino gakyusiddwa.