Obadde Okimanyi?
Mu kiseera kya Yesu, abantu baawangayo batya ebiweebwayo mu yeekaalu?
Eggwanika lya yeekaalu lyali mu kifo ekyayitibwanga Oluggya lw’Abakazi. Ekitabo ekiyitibwa The Temple—Its Ministry and Services kigamba nti: “Okuliraana awo waaliwo olukuubo, nga ku luuyi olumu mpagi ate nga ku luuyi olulala kisenge. Ku kisenge ekyo kwaliko obusanduuko kkumi na busatu mwe baateeekanga ssente, era bwayitibwanga ‘amakondeere.’”
Obusanduuko obwo bwayitibwanga makondeere olw’okuba bwali bwakula ng’amakondeere, nga waggulu butono, ate nga wansi bunene. Buli kasanduuko kaaliko ebigambo ebiraga ssente ezaateekebwangamu kye zaakolanga. Yesu yali mu kifo ekyo we yalabira abantu bangi, nga mw’otwalidde ne nnamwandu omwavu, nga bateekamu ssente.—Lukka 21:1, 2.
Obusanduuko obubiri obusooka bwateekebwangamu omusolo gwa yeekaalu—akamu omusolo ogw’omwaka gwe baabangamu, akalala omusolo ogw’omwaka ogw’emabega. Akasanduuko 3 okutuuka ku 7 bwateekebwangamu ssente z’amayiba, ez’enjiibwa, ez’enku, ez’obubaane, n’ez’ebibya ebya zzaabu, nga bwe bigenda biddiriŋŋana. Omuntu bwe yagulanga ekiweebwayo olw’ekibi, ssente ze yafissangawo yaziteekanga mu kasanduuko 8. Akasanduuko 9 okutuuka ku 12 bwateekebwangamu ssente omuntu ze yafissangawo ng’aguze ebiweebwayo olw’omusango, ebiweebwayo eby’ebinyonyi, n’eby’Abanaziri. N’abo abaabanga bawonyezeddwa ebigenge mwe baateekanga ssente ze baabanga bafissizzaawo nga baguze ebiweebwayo. Akasanduuko 13 kaali ka ssente omuntu ze yawangayo kyeyagalire.
Ddala ebitabo bya Bayibuli Lukka bye yawandiika bituufu?
Lukka ye yawandiika ekitabo kya Bayibuli ekiyitibwa Lukka n’ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume. Lukka agamba nti ebyo bye yawandiika ‘yabinoonyereza n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo,’ naye abawandiisi b’ebitabo abamu bawakanya ebyo bye yawandiika. (Lukka 1:3) Kati olwo, tukakasiza ku ki nti ebyo bye yawandiika bituufu?
Waliwo obukakafu obulaga nti ebyo bye yawandiika bituufu. Ng’ekyokulabirako, mu Luyonaani lwe yakozesa ng’awandiika, yakozesa ebitiibwa ebitali bimu ebyaweebwanga abakungu Abaruumi, gamba ng’ebyo ebyaweebwanga abakulembe b’ebibuga, abakulembeze b’ebyalo, n’abateesiteesi b’emyoleso, wadde nga leero abantu bangi tebamanyi bitiibwa ebyo. (Ebikolwa 16:20; 17:6; 19:31) Kerode Antipa ne Serugiyo Pawulo, buli omu Lukka yamuyita “ow’essazza.”—Ebikolwa 13:1, 7.
Lukka yakozesanga ebitiibwa ebituukirawo kubanga amatwale ng’Abaruumi bwe gaakyukanga, n’ebitiibwa ebyaweebwanga abakulembeze baago nabyo byakyukanga. Omwekenneenya ayitibwa Bruce Metzger agamba nti: ‘Ebitiibwa ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, bikwataganira ddala n’ebifo era n’ebiseera abakulembeze abo we baabeererawo.’ Omundiisi w’ebitabo ayitibwa William Ramsay agamba nti Lukka “yali munnabyafaayo omukugu.”