Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Tategeerekeka

Obulimba Obuleetera Abantu Okulowooza nti Katonda Tategeerekeka

BANGI KYE BAKKIRIZA

Amadiini g’Ekikristaayo “agasinga okumanyibwa, kwe kugamba, ey’Abakatuliki, ey’Abasodokisi, n’ey’Abapolotesitanti bakkiriza nti Katonda ali omu mu basatu: Katonda Kitaffe, Katonda Mwana, ne Katonda Mwoyo Mutuukirivu. Bagamba nti abo si bakatonda basatu wabula mbu abo abasatu bali omu.”​—The New Encyclopædia Britannica.

AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI

Yesu, Omwana wa Katonda, teyakitwalanga nti yenkana ne Kitaawe. Wabula yagamba nti: “Ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga.” (Yokaana 14:28) Ate era yagamba omu ku bagoberezi be nti: “Ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange era Katonda wammwe.”​—Yokaana 20:17.

Ate omwoyo omutukuvu kye ki? Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka “bajjula omwoyo omutukuvu,” ate era Yakuwa yagamba nti: “Ndifuka omwoyo gwange ku balina omubiri aba buli ngeri.” (Ebikolwa 2:1-4, 17) N’olwekyo omwoyo omutukuvu si Katonda, wabula ge maanyi Katonda g’akozesa.

LWAKI KIKULU OKUMANYA AMAZIMA?

Karl Rahner ne Herbert Vorgrimler, abakugu mu kunoonyereza ku nzikiriza z’Ekikatuliki, bannyonnyola nti enjigiriza ya Tiriniti “tosobola kugitegeera awatali kubikkulirwa era nti ne bw’obikkulirwa osigala togitegedde bulungi.” Ddala oyinza okwagala omuntu gw’otamanyi oba atategeerekeka? N’olwekyo, enjigiriza ya Tiriniti eremesa abantu okumanya Katonda n’okumwagala.

Marco, eyayogeddwako waggulu yakiraba nti enjigiriza ya Tiriniti yali emulemesa okutegeera Katonda. Agamba nti: “Nnali ndowooza nti Katonda tayagala mmumanye, era ekyo kyandeetera okwongera okulowooza nti tatufaako, era nti tategeerekeka.” Kyokka Bayibuli egamba nti Katonda “tali wala wa buli omu ku ffe.” (Ebikolwa 17:27) Ayagala tumumanye. Yesu yagamba nti: “Tusinza kye tumanyi.”​—Yokaana 4:22.

Marco agamba nti: “Bwe nnakimanya nti Katonda tali mu busatu, nnatandika okumwagala.” Yakuwa bwe tumutwala nga wa ddala, kitwanguyira okumwagala. Bayibuli egamba nti: “Oyo atalina kwagala tamanyanga Katonda, kubanga Katonda kwagala.”​—1 Yokaana 4:8.