Yesu Kristo Ebibuuzo Ebimukwatako Biddibwamu
Yesu Kristo Ebibuuzo Ebimukwatako Biddibwamu
“Abantu bagamba nti nze ani?”—LUKKA 9:18.
YESU yabuuza abayigirizwa be ekibuuzo ekyo kubanga yali akimanyi nti abantu bamulinako endowooza za njawulo. Kyokka, tewaaliwo nsonga lwaki bandibadde babuzaabuzibwa. Yesu teyeekwekanga bantu era teyakolanga bintu mu nkukutu. Yabeeranga n’abantu mu byalo byabwe ne mu bibuga byabwe. Yabuuliranga era yayigirizanga mu lujjudde kubanga yali ayagala abantu bamanye amazima agamukwatako.—Lukka 8:1.
Tusobola okumanya amazima agakwata ku Yesu bwe twekenneenya ebigambo bye n’ebikolwa bye ebiri mu bitabo by’Enjiri ebina ebya Bayibuli—Matayo, Makko, Lukka, ne Yokaana. Ebyawandiikibwa mu bitabo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bye tugenda okusinziirako okuddamu ebibuuzo ebikwata ku Yesu. *—Yokaana 17:17.
EKIBUUZO: Ddala Yesu yaliwo ku nsi?
EKY’OKUDDAMU: Yee. Bannabyafaayo abatali bamu, nga mw’otwalidde Josephus ne Tacitus abaaliwo mu kyasa ekyasooka, boogera ku Yesu ng’omuntu eyaliwo ddala. Ekisingira ddala obukulu, Enjiri zikyoleka bulungi nti Yesu yali muntu wa ddala, so si lufumo bufumo. Ebiri mu Njiri byogera ku kifo n’ekiseera kyennyini ebintu ebyogerwako we byabeererawo. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi w’Enjiri ayitibwa Lukka bwe yali alaga omwaka Yesu lwe yatandika obuweereza bwe, yayogera ku bafuzi musanvu abaali bafuga mu kiseera ekyo era nga ne bannabyafaayo baakakasa amannya gaabwe.—Lukka 3:1, 2, 23.
Obukakafu obuliwo bukyoleka kaati nti ddala Yesu yaliwo ku nsi. Ekitabo ekiyitibwa Evidence for the Historical Jesus kigamba nti: “Abeekenneenya abasinga obungi bakkiriza nti omusajja amanyiddwa nga Yesu Omunazaaleesi yaliwo mu kyasa ekyasooka.”
EKIBUUZO: Ddala Yesu ye Katonda?
EKY’OKUDDAMU: Nedda. Yesu yali teyeetwala nti yenkanankana ne Katonda. Emirundi mingi Yesu yakiraga nti Yakuwa amusinga. * Ng’ekyokulabirako, Yesu yayogera ku Yakuwa nga “Katonda wange” ne “Katonda omu ow’amazima.” (Matayo 27:46; Yokaana 17:3) Oyo yekka ali wansi w’obuyinza bw’omulala, y’ayinza okukozesa ebigambo ng’ebyo. Omukozi bw’ayita oyo amukozesa nti, “mukama wange” oba “ankulira” aba akiraga bulungi nti ali wansi w’obuyinza bwe.
Ate era, Yesu yakiraga nti ye ne Katonda ba njawulo. Lumu, Yesu bwe yali addamu abaali bamuwakanya yagamba nti: “Kyawandiikibwa mu Mateeka gammwe nti, ‘Obujulirwa obw’abantu ababiri bwa mazima.’ Nze nneewaako obujulirwa, era ne Kitange eyantuma naye ampaako obujulirwa.” (Yokaana 8:17, 18) Yesu ne Yakuwa bateekwa okuba nga ba njawulo. Ggwe ate, bandisobodde batya okubeera abajulirwa ababiri? *
EKIBUUZO: Yesu yali bubeezi muntu mulungi?
EKY’OKUDDAMU: Nedda. Yesu teyali bubeezi muntu mulungi. Yali akimanyi nti alina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo era obukulu ennyo mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Buno bwe bumu ku buvunaanyizibwa obwo:
● “Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka.” (Yokaana 3:18) Yesu yali amanyi gye yava. Yaliwo nga tannaba kuzaalibwa ku nsi. Yagamba nti: “Nnava mu ggulu.” (Yokaana 6:38, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Katonda yasooka kutonda Yesu era Yesu yamuyambako mu kutonda ebintu ebirala byonna. Olw’okuba Katonda kennyini ye yamutonda, kyali kituufu Yesu okuyitibwa “omwana kitaawe gwe yazaala omu yekka.”—Yokaana 1:3, 14; Abakkolosaayi 1:15, 16.
● “Omwana w’omuntu.” (Matayo 8:20) Emirundi mingi Yesu yeeyogerako nga “Omwana w’omuntu,” era ng’ebigambo ebyo bisangibwa mu bitabo by’Enjiri emirundi nga 80. Ebigambo ebyo biraga nti Yesu yali muntu yennyini so si Katonda eyali mu kifaananyi ky’omuntu. Kyajja kitya Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, okuzaalibwa ng’omuntu? Ng’akozesa omwoyo omutukuvu, Yakuwa yakyusa obulamu bw’Omwana we n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, Omuyudaaya eyali embeerera, n’asobola okufuna olubuto. N’ekyavaamu, Yesu yazaalibwa talina kibi era ng’atuukiridde.—Matayo 1:18; Lukka 1:35; Yokaana 8:46.
● “Muyigiriza.” (Yokaana 13:13) Yesu yakiraga bulungi nti omulimu Katonda gwe yamuwa gwali gwa ‘kuyigiriza n’okubuulira amawulire amalungi’ ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 4:23; Lukka 4:43) Mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi, Yesu yannyonnyola Obwakabaka bwa Katonda kye buli ne kye bunaakola okusobola okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa.—Matayo 6:9, 10.
● “Kigambo.” (Yokaana 1:1) Yesu ye yali Omwogezi wa Katonda, kwe kugamba, Katonda gwe yayitirangamu okutuusa obubaka bwe n’obulagirizi bwe ku balala. Yakuwa yakozesa Yesu okutuusa obubaka bwe ku bantu.—Yokaana 7:16, 17.
EKIBUUZO: Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa?
EKY’OKUDDAMU: Yee. Bayibuli yalagula ku kujja kwa Masiya oba Kristo, nga byombi bitegeeza, “Eyafukibwako Amafuta.” Masiya eyasuubizibwa yandibadde n’ekifo kikulu nnyo mu kutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa. Lumu, omukazi Omusamaliya yagamba Yesu nti “Nkimanyi nti Masiya ayitibwa Kristo ajja.” Yesu kwe kumugamba kaati nti: “Ye nze ayogera naawe.”—Yokaana 4:25, 26.
Waliwo obukakafu bwonna obulaga nti ddala Yesu ye yali Masiya? Waliwo obukakafu obw’enkukunala bwa mirundi esatu naye nga bwonna bwogera ku muntu y’omu—Yesu. Weetegereze:
● Olunyiriri lw’obuzaale bwe. Bayibuli yalagula nti Masiya yandivudde mu Ibulayimu okuyitira mu lunyiriri lwa Dawudi. (Olubereberye 22:18; Zabbuli 132:11, 12) Yesu yali muzzukulu waabwe bombi.—Matayo 1:1-16; Lukka 3:23-38.
● Obunnabbi obwatuukirizibwa. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya birimu obunnabbi bungi nnyo obukwata ku bulamu bwa Masiya ku nsi, nga mw’otwalidde ne kalonda yenna akwata ku kuzaalibwa kwe n’okufa kwe. Yesu yatuukiriza obunnabbi obwo bwonna. Buno bwe bumu ku bwo: Yazaalibwa mu Besirekemu (Mikka 5:2; Lukka 2:4-11), Yayitibwa okuva e Misiri (Koseya 11:1; Matayo 2:15), era yattibwa nga tewali ggumba lye nnalimu limenyeddwa (Zabbuli 34:20; Yokaana 19:33, 36). Tewali ngeri yonna Yesu gye yandikyusizzaamu bulamu bwe asobole okutuukiriza obunnabbi obukwata ku Masiya. *
● Obukakafu obuva eri Katonda kennyini. Yesu bwe yazaalibwa, Katonda yatuma bamalayika okutegeeza abasumba nti Masiya yali azaaliddwa. (Lukka 2:10-14) Emirundi egitali gimu nga Yesu ali mu buweereza bwe wano ku nsi, Katonda kennyini yayogerera mu ggulu, ng’alaga nti asiima Yesu. (Matayo 3:16, 17; 17:1-5) Yakuwa yasobozesa Yesu okukola ebyamagero eby’amaanyi ne kyongera okulaga nti Yesu ye yali Masiya.—Ebikolwa 10:38.
EKIBUUZO: Lwaki Yesu yalina okubonyabonyezebwa era n’okufa?
EKY’OKUDDAMU: Olw’okuba Yesu teyalina kibi, kyali tekimugwanira kubonaabona. Ate era, yali tagwana kukomererwa ku muti ng’omumenyi w’amateeka ne kiba nti afiira okwo mu ngeri y’obuswavu. Wadde kyali kityo, Yesu yali asuubira okuyisibwa mu ngeri eyo era yeewaayo kyeyagalire.—Matayo 20:17-19; 1 Peetero 2:21-23.
Obunnabbi obukwata ku Masiya bwalaga nti Masiya yandibonyaabonyezeddwa era n’afa okusobola okuggyawo ebibi by’abalala. (Isaya 53:5; Danyeri 9:24, 26) Yesu kennyini yagamba nti yajja “okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Matayo 20:28) Abo abakkiririza mu kinunulo kya Yesu eky’omuwendo ennyo, balina essuubi ery’okununulibwa okuva mu kibi n’okufa n’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi. *—Yokaana 3:16; 1 Yokaana 4:9, 10.
EKIBUUZO: Ddala Yesu yazuukizibwa?
EKY’OKUDDAMU: Yee. Yesu yali akimanyi nti yandizuukiziddwa. (Matayo 16:21) Kyokka, weetegereze nti k’abe Yesu oba abawandiisi ba Bayibuli, tewali n’omu yagamba nti Yesu yandibadde azuukira ku lulwe nga tewali amuzuukizza. Ekintu ng’ekyo tekyandisobose. Bayibuli egamba nti: “Katonda yamuzuukiza ng’amusumulula mu bulumi bw’okufa.” (Ebikolwa 2:24) Bwe tuba tukkiriza nti Katonda gyali era nti ye Mutonzi w’ebintu byonna, tuba tulina ensonga kwe tusinziira okukkiriza nti yali asobola okuzuukiza Omwana we.—Abebbulaniya 3:4.
Waliwo obukakafu obulaga nti Yesu yazuukizibwa? Lowooza ku buno:
● Obujulizi bw’abo abaaliwo. Nga wayiseewo emyaka nga 22 oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, omutume Pawulo yawandiika nti waaliwo abantu abasukka mu 500 abaalaba Yesu ng’azuukidde era abasinga obungi ku bo baali bakyali balamu Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo. (1 Abakkolinso 15:6) Bw’aba omujulizi omu oba babiri bokka, kiyinza okuba ekyangu okugaana obujulizi bwabwe, naye ani ayinza okugaana obujulizi bw’abantu abasukka mu 500 abaamulaba?
● Abajulizi abeesigika. Abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka abaamanyiira ddala ekyaliwo, baalangirira n’obuvumu nti Yesu yazuukizibwa. (Ebikolwa 2:29-32; 3:13-15) Mu butuufu, baali bakitwala nti okukkiririza mu kuzuukira kwa Yesu kikulu nnyo mu nzikiriza y’Ekikristaayo. (1 Abakkolinso 15:12-19) Abayigirizwa abo baali beetegefu okufa mu kifo ky’okwegaana Yesu. (Ebikolwa 7:51-60; 12:1, 2) Waliwo omuntu yenna eyandyewaddeyo okufiirira ekintu ky’amanyi nti kya bulimba?
Tulabye eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu mukaaga ebikwata ku Yesu. Eby’okuddamu ebyo bitusobozesa okutegeera obulungi ekyo Yesu ky’ali. Naye ddala kikulu okufaayo ku by’okuddamu? Mu ngeri endala, ky’oba osazeewo okukkiririzaamu ku bikwata ku Yesu kirina engeri yonna gye kikukwatako?
[Obugambo obuli wansi]
^ Okumanya ebisingawo ku ngeri ebitabo by’enjiri ebiri mu Bayibuli gye byawukana ku bitabo by’Enjiri ebipya ebyefaanaanyirizaako ebyo ebiri mu Bayibuli, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Ebitabo by’Enjiri Ebipya—Birimu Amazima Agakwata ku Yesu Agatali mu Bayibuli?” ekiri ku lupapula 18-19.
^ Mu Bayibuli, Yakuwa lye linnya lya Katonda.
^ Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Okukubaganya Ebirowoozo—Yesu Ye Katonda?” ekiri ku lupapula 20-22.
^ Okumanya obumu ku bunnabbi obwatuukirizibwa ku Yesu, laba olupapula 200 olw’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
^ Okumanya ebisingawo ku bikwata ku kinunulo kya Yesu, laba essuula 5 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?