“Tukusaba Otukkirize Tukomewo Eka”
Semberera Katonda
“Tukusaba Otukkirize Tukomewo Eka”
Wali oweerezzaako Yakuwa? Wali olowoozezza ku ky’okuddamu okumuweereza naye nga weebuuza obanga anaakukkiriza oddemu okumuweereza? Osabibwa okusoma n’obwegendereza ekitundu kino n’ekyo ekikiddirira. Okusingira ddala, byategekebwa kuyamba ggwe.
OMUKYALA omu eyali alekedde awo okuweereza Yakuwa yagamba nti: “Nnasaba Yakuwa anzikirize nkomewo eka era ansonyiwe olw’okukola ebintu ebyamulumya.” Muli owulira ng’omusaasira? Wandiba nga weebuuza nti: ‘Katonda alowooza atya ku abo abaali bamuweereza? Akyabajjukira? Ayagala “bakomewo eka”?’ Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka twetegereze ebigambo Yeremiya bye yawandiika. Tewali kubuusabuusa nti eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kukuzzaamu nnyo amaanyi.—Soma Yeremiya 31:18-20.
Lowooza ku mbeera eyaliwo Yeremiya we yawandiikira ebigambo ebyo. Mu mwaka gwa 740 E.E.T. (ng’Embala Eno Tennatandika), nga wayiseewo emyaka egiwerako era nga Yeremiya tannatandika buweereza bwe, Yakuwa yakkiriza obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi okuwambibwa Abasuuli. * Katonda okuleka abantu be bawambibwe, yali abakangavvula kubanga baali bakola ebibi eby’amaanyi, nga tebafaayo ku kulabula kwe yabawanga olutatadde okuyitira mu bannabbi be. (2 Bassekabaka 17: 5-18) Embeera enzibu abantu abo gye baalimu mu buwaŋŋanguse, obutaba na nkolagana ne Katonda waabwe, n’okuggibwa mu nsi yaabwe, byabaleetera okwenenya? Yakuwa yabeerabira? Yandibakkirizza okuddayo mu nsi yaabwe baddemu okumuweereza?
“Nneenenya”
Abantu abaali mu buwambe baalaba ensobi yaabwe ne beenenya. Yakuwa yakiraba nti baali beekubye mu kifuba. Weetegereze Yakuwa ky’ayogera ku ndowooza n’enneewulira y’Abaisiraeri abaali mu buwaŋŋanguse, aboogerwako nga Efulayimu.
Yakuwa agamba nti,“mazima ddala mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako.” (Olunyiriri 18) Yawulira Abaisiraeri nga bakaaba olw’ebyo ebyali bivudde mu kwonoona kwabwe. Omwekenneenya omu agamba nti ekigambo “yeekaabirako” kiyinza okutegeeza “okunyeenya omutwe oba okukankana.” Baalinga omwana omwonoonyi anyeenya omutwe ng’alowooza ku bizibu bye yeeretedde era nga yeegomba okudda mu bulamu bwe yalimu eka. (Lukka 15:11-17) Abantu abo baali bagamba ki?
“Onkangavvudde . . . ng’ennyana etemanyidde kikoligo.” (Olunyiriri 18) Abantu abo baakitegeera nti baali beetaaga okukangavvulwa. Ggwe ate oba, baali ng’ennyana etatendekeddwa. Ekitabo ekimu kigamba nti okugerageranya kuno kuyinza okutegeeza nti bandibadde ng’ennyana ‘etandikubiddwa singa mu kusooka teyagaana kwetikka kikoligo.’
‘Nkyusa ggwe, nange nnaakyusibwa; kubanga ggwe Mukama Katonda wange.’ (Olunyiriri 18)
Beetoowaza ne bakaabirira Katonda. Baali boonoonye era nga bavudde ku Katonda, naye kati baali bamwegayirira abayambe basobole okuddamu okusiimibwa mu maaso ge. Enzivvuunula emu egamba nti: “Ggwe Katonda waffe—tukusaba otukkirize tukomewo eka.”—Contemporary English Version.‘Nneenenya; nnakwatibwa ensonyi, weewaawo, nnaswala.’ (Olunyiriri 19) Abantu abo baanakuwala nnyo olw’okuba baali boonoonye. Bakkiriza ensobi yaabwe. Baawulira nga bakwatiddwa ensonyi era nga baswadde.—Lukka 15:18, 19, 21.
Abaisiraeri beenenya. Baanakuwala nnyo, baayatula ebibi byabwe eri Katonda, era baakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi. Okwenenya kwabwe kwandireetedde Katonda okubasonyiwa? Yandibakkirizza okukomawo eka?
“Sirirema Kumukwatirwa Kisa”
Yakuwa yalina enkolagana ey’enjawulo n’Abaisiraeri. Yagamba nti: “Kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.” (Yeremiya 31:9) Ddala taata ow’okwagala yandigaanye omwana eyeenenyezza mu bwesimbu okukomawo eka? Weetegereze engeri Yakuwa gy’ayolekamu enneewulira ey’ekizadde eri abantu be.
“Efulayimu mwana wange omwagalwa? Mwana ansanyusa? Kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini.” (Olunyiriri 20) Ebigambo ebyo nga biraga obusaasizi bwa Yakuwa! Ng’omuzadde atekkiriranya naye nga wa kwagala, Katonda kyali kimwetaagisa okwogera “obubi” ku baana be, ng’abalabula enfunda n’enfunda ku bikwata ku makubo gaabwe amabi. Bwe baagaana okumuwuliriza, yabaleka okutwalibwa mu buwaŋŋanguse, mu ngeri eyo n’aba ng’eyakkiriza baggibwe awaka. Wadde nga yalina okubabonereza, teyabeerabira. Yali tayinza kukola kintu ng’ekyo. Taata ayagala ennyo abaana be tasobola kubeerabira. Kati olwo, Yakuwa yawulira atya bwe yalaba nga abaana be beenenyezza mu bwesimbu?
“Omwoyo gwange kyeguvudde gunnuma ku lulwe; sirirema kumukwatirwa kisa.” (Olunyiriri 20) Olw’okuba abaana be beenenya mu bwesimbu, Yakuwa yakwatibwako nnyo era yayagala nnyo baddemu okumuweereza. Okufaananako taata w’omwana omujaajaamya ayogerwako mu lugero lwa Yesu, Yakuwa ‘yabasaasira’ era yali ayagala nnyo abaana be bakomewo eka.—Lukka 15:20.
“Yakuwa Yanzikiriza ne Nkomawo Eka!”
Ebigambo ebiri mu Yeremiya 31:18-20 bituyamba okutegeera obulungi obusaasizi bwa Yakuwa n’ekisa kye. Katonda teyeerabira abo abaali bamuweerezzaako. Kiba kitya singa abantu ng’abo baba baagala okuddamu okumuweereza? Katonda ‘mwetegefu okubasonyiwa.’ (Zabbuli 86:5, NW) Akkiriza abo abeenenya mu bwesimbu. (Zabbuli 51:17) Ate era asanyuka nnyo bwe bakomawo eka oba bwe baddamu okumuweereza.—Lukka 15:22-24.
Omukyala eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino yafuba okudda eri Yakuwa. Yaddamu okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kye. Mu kusooka, kyali kimwetaagisa okweggyamu enneewulira embi gye yalina. Agamba nti, “Nnali mpulira nga sikyali wa mugaso.” Naye abakadde abatwala obukulembeze mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa baamubudaabuda era baamuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo. Ng’alaga okusiima kwe, agamba nti, “Kyansanyusa nnyo okulaba nti Yakuwa yanzikiriza okukomawo eka!”
Bw’oba nga wali oweerezzaako Yakuwa era ng’olowoozezza ku ky’okuddamu okumuweereza, tukukubiriza okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo. Kijjukire nti Yakuwa musaasizi era wa kisa eri abo bonna abeenenya era abamwegayirira nti, “Tukusaba otukkirize tukomewo eka.”
[Obugambo obuli wansi]
^ Ebyasa ebiwerako emabega, mu mwaka gwa 997 E.E.T., Abaisiraeri baayawulwamu obwakabaka bwa mirundi ebiri. Obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri obw’omu bukiika ddyo, n’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi obw’omu bukiika kkono, era obuyitibwa Efulayimu, olw’okuba kye kika ekyali kisingayo okuba eky’amaanyi.