1. Musisi
1. Musisi
“Walibaawo musisi ow’amaanyi.”—LUKKA 21:11.
● Omwana ayitibwa Winnie, ow’omwaka nga gumu n’ekitundu, yaggibwa mu bitafaali by’ennyumba eyagwa oluvannyuma lwa musisi okuyita mu nsi eyitibwa Haiti. Bannamawulire ba ttivi abaali mu kifo awaagwa ekikangabwa kino baawulira ng’omwana akaaba. Omwana yawonawo, naye bazadde be baafa.
OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Musisi ow’amaanyi ennyo bwe yayita mu Haiti mu Jjanwali 2010, abantu abasoba mu 300,000 be baafa. Abantu abalala abawerera ddala akakadde kamu mu emitwalo asatu basigala nga tebalina wa kusula. Wadde nga yali wa maanyi, musisi eyayita mu Haiti si ye yekka eyaliwo. Wakati wa Apuli 2009 ne Apuli 2010, waaliwo musisi ow’amaanyi wa mirundi 18 okwetooloola ensi yonna.
ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Musisi teyeeyongedde bweyongezi mu kiseera kino, wabula enkulaakulana eriwo leero mu bya tekinologiya y’esobozesa abantu okumanya ebikwata ku musisi okusinga bwe kyali edda.
ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Lowooza ku kino: Obungi bwa musisi eyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma Bayibuli si bw’essaako essira. Wabula, egamba nti wandibaddewo ‘musisi ow’amaanyi mu bifo ebitali bimu,’ ng’eraga nti kye kimu ku bintu ebyeraliikiriza ebyandibaddewo mu kiseera kino ekizibu mu byafaayo by’omuntu.—Makko 13:8; Lukka 21:11.
GGWE OLOWOOZA OTYA? Musisi gwe tulaba wa maanyi nga Bayibuli bwe yalagula?
Musisi si bwe bukakafu bwokka obulaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma. Wabula, bwe bumu ku bunnabbi obutuukiriziddwa mu kiseera kino. Lowooza ku bunnabbi buno obuddirira.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
“Ffe [bannasayansi] tumuyita musisi ow’amaanyi. Abalala bonna bamuyita wa ntiisa.”—KEN HUDNUT, OW’EKITONGOLE KYA U.S. GEOLOGICAL SURVEY.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
© William Daniels/Panos Pictures