Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBINAAKUYAMBA MU KWESOMESA

Bayibuli Gikozese ng’Endabirwamu

Bayibuli Gikozese ng’Endabirwamu

Omuyigirizwa Yakobo yageraageranya Bayibuli ku ndabirwamu etuyamba okulaba ekyo kye tuli munda. (Yak. 1:​22-25) Bayibuli tuyinza kugikozesa tutya ng’endabirwamu?

Gisome n’obwegendereza. Bwe tweraba mu ndabirwamu nga tupapa, tuyinza obutalaba bintu bye twetaaga kutereeza. Mu ngeri y’emu, bwe tusoma Bayibuli nga twanguyiriza, tuyinza obutalaba we twetaaga kutereezaamu. N’olwekyo, tusaanidde okugisoma n’obwegendereza.

Weetegereze ebyo by’olina okutereeza so si ebyo abalala bye beetaaga okutereeza. Emirundi egimu bwe tuba tweraba mu ndabirwamu tusobola n’okulaba abalala era essira ne tulissa ku ebyo bye baba beetaaga okutereeza. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tusoma Bayibuli tuyinza okussa ebirowoozo ku ebyo abalala bye beetaaga okutereeza. Naye ekyo tekituyamba kulaba wa we twetaaga kutereeza.

Togwa lubege. Bwe tumalira ebirowoozo ku bintu bye tutaagala bye tuba twerabyeko, tuyinza okuggwaamu amaanyi. Bwe kityo bwe kiri ne ku kusoma Bayibuli. Bwe tuba tugisoma tetusaanidde kwesuubiramu kisukka ku ekyo Yakuwa ky’atusuubiramu.—Yak. 3:17.