Tuyinza Tutya Okulaga nti Twagala Yakuwa?
“Ffe tulina okwagala kubanga ye yasooka okutwagala.”—1 YOK. 4:19.
ENNYIMBA: 56, 138
1, 2. Katonda yatuyamba atya okumanya engeri gye tuyinza okukyolekamu nti tumwagala?
ENGERI esingayo obulungi taata gy’ayinza okuyigirizaamu abaana be kwe kubateerawo ekyokulabirako. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Tulina okwagala kubanga [Katonda] ye yasooka okutwagala.” (1 Yok. 4:19) Mu butuufu, Yakuwa atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okwagala era ekyo naffe kisobola okutukubiriza okumwagala.
2 Mu ngeri ki Katonda gye “yasooka okutwagala”? Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.” (Bar. 5:8) Bwe yawaayo Omwana we omu yekka nga ssaddaaka ku lw’abantu abamukkiririzaamu, Yakuwa yalaga kye kitegeeza okuba n’okwagala okwa nnamaddala. Oyo aba n’okwagala ng’okwo, aba mugabi era aba n’omwoyo ogw’okwefiiriza. Yakuwa bwe yeefiiriza n’awaayo Omwana we, yatusobozesa okumusemberera era yatuyamba n’okumanya engeri naffe gye tuyinza okukyolekamu nti tumwagala.—1 Yok. 4:10.
3, 4. Tukiraga tutya nti twagala Katonda?
3 Okwagala ye ngeri ya Yakuwa esingayo obukulu. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yesu bwe yali ayogera ku tteeka erisingayo Mak. 12:30) Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebyo, Katonda ayagala tumwagale n’omutima gwaffe gwonna. Singa tetumwagala na mutima gwaffe gwonna, tetusobola kusiimibwa mu maaso ge. Kyokka era tulina okwagala Katonda n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna. Ekyo kiraga nti okwagala kwe tulina eri Katonda tekulina kukoma ku nneewulira eba mu mutima gwaffe. Tulina n’okukwoleka mu bye tulowooza ne mu bye tukola. Okusinziira ku nnabbi Mikka, ekyo kyennyini Yakuwa ky’ayagala.—Soma Mikka 6:8.
obukulu yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (4 Tuyinza tutya okukiraga nti ddala twagala Kitaffe ow’omu ggulu? Tulina okumwagala obuteerekaamu. Nga Yesu bwe yagamba, ebyo bye tukola, enneewulira yaffe, ne bye tulowooza birina okukyoleka nti twagala Katonda. Mu kitundu ekyayita, twalaba engeri Yakuwa gy’akyoleseemu nti ayagala nnyo abaana be. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukiraga nti twagala Yakuwa era tugenda kulaba n’ebyo ebinaatuyamba okwongera okumwagala.
KIRAGE NTI OSIIMA EBINTU YAKUWA BY’AKUWA
5. Kiki kye tusaanidde okukola olw’ebintu ebirungi byonna Yakuwa by’atukoledde?
5 Bw’oweebwa ekirabo, kiki ky’okola? Kya lwatu nti obaako engeri gy’okiraga nti osiimye ekirabo ekyo. Ate era olw’okuba ekirabo ekyo okitwala nga kya muwendo, ofuba okukikozesa obulungi. Yakobo yagamba nti: “Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka ebiri ku ggulu, era ye takyukakyuka ng’ekisiikirize.” (Yak. 1:17) Yakuwa atuwa byonna bye twetaaga okusobola okuba abalamu n’okuba abasanyufu. Ekyo tekyandituleetedde naffe okumwagala?
6. Kiki Abaisiraeri kye baalina okukola okusobola okwongera okufuna emikisa gya Yakuwa?
6 Yakuwa yawa Abaisiraeri ebintu ebirungi bingi. Okumala emyaka mingi Yakuwa yabalabirira mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (Ma. 4:7, 8) Kyokka okusobola okweyongera okufuna emikisa gya Katonda, Abaisiraeri baalina okukwata Amateeka ge, omwali n’eryo eryali likwata ku kuwaayo eri Yakuwa ebibala ebibereberye ebisingayo obulungi. (Kuv. 23:19) Mu kukola batyo, Abaisiraeri bandikiraze nti basiima Yakuwa olw’okwagala kwe yali abalaga n’emikisa gye yali abawa.—Soma Ekyamateeka 8:7-11.
7. Tuyinza tutya okukozesa ebintu byaffe eby’omuwendo okukiraga nti twagala Yakuwa?
7 Ate ffe? Wadde nga leero tetuwaayo ssaddaaka ng’Abaisiraeri bwe baakolanga, tusobola okukiraga nti twagala Katonda nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo. (Nge. 3:9) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu kwe kuwaayo ku bintu byaffe okuwagira omulimu gw’Obwakabaka mu kibiina kyaffe ne mu nsi yonna. Bwe tukola tutyo, tuba tukiraga nti twagala Yakuwa, ka kibe nti tulina ebintu bingi oba bitono. (2 Kol. 8:12) Kyokka waliwo n’engeri endala gye tuyinza okukiraga nti twagala Yakuwa.
8, 9. Kakwate ki akali wakati w’okwesiga Yakuwa nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye n’okumwagala? Waayo ekyokulabirako.
8 Yesu yakubiriza abagoberezi be okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe n’okwewala okweraliikirira eby’okulya n’eby’okwambala. Kitaffe ow’omu ggulu asuubiza okutuwa bye twetaaga. (Mat. 6:31-33) Tusobola okukiraga nti twagala Yakuwa nga tumwesiga nti ajja kutuukiriza ekisuubizo kye ekyo, kubanga mu mbeera eya bulijjo bw’oba oyagala omuntu, oba omwesiga. Tetusobola kwagala muntu gwe tuteesiga. (Zab. 143:8) Tusaanidde okwebuuza: ‘Ebiruubirirwa byange n’engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange ddala biraga nti njagala Yakuwa? Nkiraga mu bulamu bwange nti nneesiga Yakuwa nti asobola okukola ku byetaago byange?’
9 Ow’oluganda ayitibwa Mike yakiraga nti ddala ayagala Yakuwa era nti amwesiga. Bwe yali ng’akyali muto, Mike yalina ekiruubirirwa eky’okugenda okuweereza mu nsi endala. Ekiseera kyatuuka n’awasa era n’afuna abaana babiri, naye ekiruubirirwa kye ekyo tekyakyuka. Mike n’ab’omu maka ge bwe baasoma ku b’oluganda abatali bamu abaweereza mu nsi awali obwetaavu obusingako, baasalawo okubaako ebintu bye beerekereza. Baatunda ennyumba yaabwe ne batandika okubeera mu muzigo. Ate era Mike yakendeeza ku bizineesi gye yali akola era n’ayiga n’engeri gy’ayinza okugiddukanyaamu ng’ali mu nsi endala ng’akozesa Intaneeti. Mike n’ab’omu maka ge baasobola okugenda okuweereza mu nsi endala awali obwetaavu obusingako era oluvannyuma lw’emyaka ebiri, Mike yagamba nti: “Tukirabye nti ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:33 ddala bituufu.”
FUMIITIRIZA KU BINTU YAKUWA BY’AKUYIGIRIZA
10. Okufaananako Kabaka Dawudi, lwaki kikulu nnyo okufumiitiriza ku bintu bye tuyiga ebikwata ku Yakuwa?
10 Emyaka nga 3,000 emabega, Kabaka Dawudi yakwatibwako nnyo olw’ebyo bye yalaba ng’atunuulidde eggulu. Yawandiika nti: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.” Ate bwe yafumiitiriza ku magezi ageeyolekera mu Mateeka ga Katonda, yagamba nti: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.” Dawudi bwe yafumiitiriza ku bintu ebyo, kiki ekyavaamu? Yagamba nti: “Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.” Kyeyoleka lwatu nti enkolagana eyali wakati wa Dawudi ne Katonda yeeyongera okunywera.—Zab. 19:1, 7, 14.
11. Okwagala kwe tulina eri Katonda kwanditukubirizza kukozesa tutya okumanya okungi kw’atuyambye okufuna? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)
11 Leero, tulina ebintu bingi bye tumanyi ebikwata ku bintu Yakuwa bye yatonda n’ebikwata ku kigendererwa kye. Abantu bangi mu nsi bakubirizibwa okufuna obuyigirize obwa waggulu. Naye kyeyolese kaati nti abo abafuna obuyigirize obwa waggulu emirundi mingi okukkiriza kwabwe n’okwagala kwe balina eri Katonda bikendeera. Bayibuli etukubiriza obutanoonya kumanya kwokka, naye era etukubiriza n’okunoonya amagezi n’okutegeera. Ekyo kiraga nti Katonda ayagala tukolere ku kumanya kw’atuwadde era tukukozese n’okuyamba abalala. (Nge. 4:5-7) Katonda “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Tusobola okukiraga nti twagala Katonda nga tunyiikira okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okubayamba okutegeera ekigendererwa kye eri abantu.—Soma Zabbuli 66:16, 17.
12. Mwannyinaffe omu omuto yakiraga atya nti asiima ebintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa?
12 N’abaana abato nabo basobola okwoleka okwagala kwe balina eri Yakuwa nga bakiraga nti basiima ebintu eby’omwoyo by’atuwa. Shannon agamba nti bwe yali wa myaka 11, ye ne muganda we ow’emyaka 10 baagenda ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti ne Questions Young People Ask—Answers That Work. Ekyo kyakwata kitya ku Shannon? Agamba nti: “Ku olwo nnakakasa nti Yakuwa wa ddala era nti anjagala nnyo.” Agattako nti: “Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa Katonda waffe atuwa ebirabo ng’ebyo ebirungi ennyo!”
bazadde baabwe. Mu kitundu ekimu eky’olukuŋŋaana, abaana bonna baasabibwa okutuula mu kifo eky’enjawulo. Shannon agamba nti wadde nga yawulira ng’atiddemu, yagenda n’atuula mu kifo ekyo. Yeewuunya nnyo bwe yalaba nga buli mwana bamukwasa akatabo akaalina omutweKKIRIZA OKUWABULWA N’OKUKANGAVVULA KATONDA KW’AKUWA
13, 14. Engeri gye tweyisaamu nga Yakuwa atuwabudde eraga ki ku kwagala kwe tulina gy’ali?
13 Bayibuli egamba nti: “Abo Yakuwa b’ayagala abanenya, nga taata bw’anenya omwana amusanyusa.” (Nge. 3:12, NW) Bwe tukolera ku kukangavvula Yakuwa kw’atuwa, era ne tukkiriza okukangavvula okwo okututendeka, kituyamba okukola ekituufu n’okuba mu mirembe. Kyo kituufu nti, “okukangavvula kwonna okw’omu kiseera kino tekulabika nga kwa ssanyu, wabula kwa nnaku.” (Beb. 12:11) Naye tusaanidde kweyisa tutya nga Yakuwa atukangavvudde? Bwe tuba nga ddala twagala Yakuwa, tetujja kunyiiga ng’atukangavvudde. Mu kifo ky’ekyo, tujja kukkiriza okukangavvula okwo, wadde ng’ekyo oluusi kiyinza obutatwanguyira.
14 Mu kiseera kya Malaki, Abayudaaya bangi Katonda bwe yabawabulanga, baagaananga okumuwuliriza. Baali bamanyi etteeka lya Katonda erikwata ku kuwaayo ssaddaaka naye ne bagaana okulikolerako, ekyaviirako Yakuwa okubanenya. (Soma Malaki 1:12, 13.) Lwaki kye baali bakola kyali kibi nnyo? Lowooza ku bigambo bino Yakuwa bye yabagamba: “Ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga [ekiragiro kyange] temukissa ku mwoyo.” (Mal. 2:1, 2) Tewali kubuusabuusa nti bwe tugaana okukolera ku kuwabula Yakuwa kw’atuwa, kivaamu emitawaana mingi.
15. Tuyinza tutya okwewala okwefaananyiriza abantu b’omu nsi eno embi?
Bar. 12:2) Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuwa obulagirizi ku bintu, gamba ng’engeri y’okukolaganamu n’abo be tutafaanaganya nabo kikula, ku mikwano, ne ku by’okwesanyusaamu. Bwe tukkiriza obulagirizi ng’obwo era ne tubukolerako, tuba tukiraga nti ddala tusiima Yakuwa era nti tumwagala n’omutima gwaffe gwonna.—Yok. 14:31; Bar. 6:17.
15 Mu nsi eno ejjudde abantu ab’amalala era abeerowoozaako bokka, abantu abasinga obungi tebaagala kuwabulwa wadde okunenyezebwa. N’abo abakkiriza okuwabulwa oba okukangavvulwa emirundi mingi bakikola beemulugunya. Naye Abakristaayo bakubirizibwa ‘okulekera awo okwefaananyiriza enteekateeka eno ey’ebintu.’ Balina okumanya ekyo “Katonda ky’ayagala.” (WEESIGE YAKUWA NTI AJJA KUKUYAMBA ERA NTI AJJA KUKUKUUMA
16, 17. (a) Lwaki tusaanidde okumanya endowooza ya Yakuwa nga tulina kye tusalawo? (b) Abaisiraeri baakiraga batya nti baali tebaagala Yakuwa era nti baali tebamwesiga?
16 Abaana abato bwe balaba akabi, baddukira eri bazadde baabwe basobole okubayamba n’okubawa obukuumi. N’abantu abakulu oluusi nabo beebuuza ku bazadde baabwe. Wadde nga basobola okwesalirawo, bakimanyi nti bazadde baabwe basobola okubawa amagezi amalungi. Kitaffe ow’omu ggulu Yakuwa atuwadde eddembe ly’okwesalirawo. Naye okuva bwe kiri nti tumwesiga era nga tumwagala tufuba okumusaba okutuwa obulagirizi era tufuba okumanya endowooza ye nga tetunnaba kusalawo. Bwe tukiraga nti twesiga Yakuwa, ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okukola ekituufu.—Baf. 2:13.
17 Lumu mu kiseera kya Samwiri, Abafirisuuti baalwanyisa eggwanga lya Isiraeri era ne baliwangula. Abantu ba Katonda baali beetaaga nnyo obuyambi n’obukuumi okuva eri Katonda. Kiki kye baakola? Baagamba nti: “Tukime essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga tugiggya mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ffe etulokole mu mukono gw’abalabe baffe.” Biki ebyavaamu? Abattibwa baali bangi nnyo; Abayisirayiri abaafa baali abasirikale 30,000 abatambuza ebigere. Okugatta ku ekyo, Ssanduuko ya Katonda yawambibwa. (1 Sam. 4:2-4, 10, 11) Abaisiraeri bwe baatwala Ssanduuko ya Katonda mu ddwaniro, kyalabika ng’abaali banoonya obuyambi okuva eri Yakuwa, naye ekituufu kiri nti baali tebamwebuuzizzaako. Baali bakolera ku magezi gaabwe era ebyavaamu tebyali birungi n’akamu.—Soma Engero 14:12.
18. Kiki Bayibuli ky’etugamba bwe kituuka ku kwesiga Yakuwa?
18 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Lindirira Katonda, kubanga nja kuddamu mmutendereze ng’Omulokozi wange. Ai Katonda wange, mpeddemu essuubi. Eyo ye nsonga lwaki [nkujjukira].” (Zab. 42:5, 6, NW) Ng’omuwandiisi wa Zabbuli oyo yali ayagala nnyo Yakuwa! Naawe Kitaffe ow’omu ggulu omwagala nnyo era omwesiga? Ne bwe kiba nti ogamba nti yee, osobola okwongera okumwesiga kubanga Bayibuli egamba nti: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”—Nge. 3:5, 6.
19. Onookiraga otya nti oyagala nnyo Yakuwa?
19 Okuba nti Yakuwa ye yasooka okutwagala, yatulaga engeri naffe gye tusobola okwoleka okwagala kwaffe gy’ali. N’olwekyo, ka bulijjo tufube okumukoppa. Era ka bulijjo tufube okukiraga nti twagala Katonda ‘n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna, n’amaanyi gaffe gonna.’—Mak. 12:30.