Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?

Onoosigala ng’Oli “Bulindaala”?

“Mubeere bulindaala kubanga temumanyi lunaku wadde essaawa.”MAT. 25:13.

1, 2. (a) Kiki Yesu kye yagamba nti kyandibaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?

KUBA akafaananyi nga Yesu atudde ku Lusozi olw’Emizeyituuni. Yesu ali wamu ne Peetero, Andereya, Yakobo, ne Yokaana. Bonna bawuliriza bulungi nga Yesu ayogera ku bintu ebyandibaddewo mu kiseera eky’omu maaso. Ababuulira ebintu bingi ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero ey’enteekateeka eno ey’ebintu, nga mu kiseera ekyo yandibadde afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Abagamba nti mu kiseera ekyo ekyandibadde ekikulu ennyo, ‘omuddu we omwesigwa era ow’amagezi’ yandimukiikiridde wano ku nsi, ng’awa abaweereza be emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.Mat. 24:45-47.

2 Mu bunnabbi obwo bwennyini, Yesu yagera n’olugero olukwata mu bawala ekkumi embeerera. (Soma Matayo 25:1-13.) Kati ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bino: (1) Bubaka ki obukulu obuli mu lugero olwo? (2) Abaafukibwako amafuta abeesigwa bakoledde batya ku lugero olwo, era biki ebivuddemu? (3) Kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okuyigira ku lugero lwa Yesu olwo?

BUBAKA KI OBUKULU OBULI MU LUGERO LWA YESU?

3. Edda, ebitabo byaffe byannyonnyolanga bitya olugero olukwata ku bawala ekkumi embeerera, era kiki ekiyinza okuba nga kyavaamu?

3 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita ennaku zino omuddu omwesigwa akyusizza mu ngeri gy’annyonnyolamu ebyo ebiri mu Byawandiikibwa. Kati essira alissa ku ebyo bye tuyinza okuyiga ebisobola okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo mu kifo ky’okulissa ku bintu ne kye bikiikirira. Ng’ekyokulabirako, edda ebitabo byaffe bwe byabanga binnyonnyola olugero lwa Yesu olukwata ku bawala ekkumi embeerera, byateranga okulaga nti buli kimu ekyogerwako mu lugero olwo kirina kye kikiikirira, nga mw’otwalidde n’obuntu obutono gamba ng’ettaala, amafuta, n’amacupa. Naye kyandiba nti okussa essira ku kunnyonnyola buli kintu ekyogerwako mu lugero olwo kyalemesanga obubaka obukulu obuli mu lugero olwo okuvaayo obulungi? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kitukwatako.

4. Mu lugero lwa Yesu (a) omugole omusajja y’ani? (b) abawala embeerera be baani?

4 Kati ka twetegereze obubaka obukulu obuli mu lugero lwa Yesu olwo. Okusookera ddala, lowooza ku baani aboogerwako mu lugero olwo. Omugole omusajja ayogerwako mu lugero y’ani? Kya lwatu nti ye Yesu. Ekyo kiri kityo, kubanga lumu Yesu yeeyogerako ng’omugole omusajja! (Luk. 5:34, 35) Ate abawala embeerera be baani? Mu lugero olwo, Yesu akiraga nti abawala embeerera balina okuba abeetegefu, ettaala zaabwe zibe nga zaaka omugole omusajja w’atuukira. Lowooza ku bigambo Yesu bye yagamba ‘ab’ekisibo ekitono,’ nga bano be bagoberezi be abaafukibwako amafuta. Yabagamba nti: “Mweteeketeeke era n’ettaala zammwe muzikuume nga zaaka, era mubeere ng’abantu abalindirira mukama waabwe okudda okuva ku mbaga ey’obugole.” (Luk. 12:32, 35, 36) Okugatta ku ekyo, omutume Pawulo n’omutume Yokaana, bombi baaluŋŋamizibwa okugeraageranya abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta ku bawala embeerera. (2 Kol. 11:2; Kub. 14:4) Ekyo kiraga bulungi nti ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 25:1-13 bikwata ku bagoberezi be abaafukibwako amafuta.

5. Yesu yalaga atya ekiseera ebyo ebiri mu lugero lwe lwe byandituukiridde?

5 Eky’okubiri, lowooza ku kiseera ebyo ebiri mu lugero olwo lwe byandituukiridde. Kiseera ki ekyo? Ebyo Yesu bye yayogera ng’anaatera okukomekkereza olugero olwo bisobola okutuyamba okukitegeera. Yagamba nti: “Omugole omusajja n’atuuka.” (Mat. 25:10) Nga bwe twalaba mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, obunnabbi bwa Yesu obuli mu Matayo essuula 24 ne 25 bwogera ku “kujja” oba ku “kukomawo” kwa Yesu emirundi munaana. Mu kwogera ku kujja kwe oba okukomawo kwe, Yesu yali ayogera ku ekyo ekyandibaddewo mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene bwe yandizze okulamula n’okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu. Ekyo kiraga nti ebyo ebiri mu lugero olwo byandituukiridde mu nnaku ez’enkomerero, kyokka byandibadde bituukirira mu bujjuvu mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene.

6. Okusinziira ku nnyiriri eziriraanyeewo, bubaka ki obukulu obuli mu lugero lwa Yesu?

6 Bubaka ki obukulu obuli mu lugero olwo? Lowooza ku nnyiriri eziriraanyeewo. Yesu yali yaakamala okwogera ku ‘muddu we omwesigwa era ow’amagezi.’ Omuddu oyo be basajja Abakristaayo abaafukibwako amafuta abatonotono abandibadde batwala obukulembeze mu bagoberezi ba Kristo mu nnaku ez’oluvannyuma. Yesu yagamba abasajja abo nti balina okuba abeesigwa. Oluvannyuma, Yesu yagera olugero olukwata ku bawala ekkumi embeerera ng’alabula abagoberezi be bonna abaafukibwako amafuta abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero. Yali ayagala ‘babeere bulindaala’ baleme kufiirwa mpeera yaabwe ey’omuwendo. (Mat. 25:13) Kati ka twetegereze olugero olwo era tulabe engeri abaafukibwako amafuta gye bakoledde ku ebyo ebiri mu lugero olwo.

ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BAKOLEDDE BATYA KU EBYO EBIRI MU LUGERO LWA YESU?

7, 8. (a) Lwaki abawala ab’amagezi baali beetegekedde okujja kw’omugole omusajja? (b) Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakiraze batya nti beetegefu?

7 Olugero Yesu lwe yagera lulaga nti, obutafaananako abawala abasirusiru, abawala ab’amagezi baali beetegekedde okujja kw’omugole omusajja. Lwaki? Kubanga baali beetegese bulungi era nga bali bulindaala. Abawala bonna ekkumi embeerera baalina okusigala nga bali bulindaala era ng’ettaala zaabwe zaaka ekiro kyonna okutuusa omugole omusajja lwe yandizze. Obutafaananako abawala abasirusiru, abawala abataano ab’amagezi bo baali beeteeseteese, nga balina amafuta amalala ge banditadde mu ttaala zaabwe ng’agalimu gaweddemu. Okufaananako abawala abo ab’amagezi, abaafukibwako amafuta bakiraze batya nti beetegefu?

8 Mu butuufu, abaafukibwako amafuta bakiraze nti beetegefu! Bakiraze nti beetegefu okukola omulimu ogwabakwasibwa okutuukira ddala ku nkomerero. Bakimanyi nti okusobola okuweereza Katonda mu bujjuvu, kibeetaagisa okwerekereza ebintu bingi ebiri mu nsi era ekyo bakikoze. Bamalirivu okweyongera okuweereza Yakuwa, si lwa kuba nti enkomerero eri kumpi kutuuka, naye lwa kuba nti baagala Yakuwa era baagala n’Omwana we. Basigala nga beesigwa eri Yakuwa, nga beewala okutwalirizibwa omwoyo gw’ensi ogw’okwagala ebintu, ebikolwa eby’obugwenyufu, n’omwoyo ogw’okwerowoozaako bokka. Mu ngeri eyo bakiraga nti beetegefu, era nti baakaayakana ng’ettaala, nga balindirira okujja kw’omugole omusajja ne bwe kirabika ng’aluddewo okutuuka.Baf. 2:15.

9. (a) Yesu yakiraga atya nti n’Abakristaayo abeesigwa basobola okuwugulibwa? (b) Kiki abaafukibwako amafuta kye bakoze oluvannyuma lw’okuwulira nti: “Omugole omusajja atuuse”? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

9 Ekintu eky’okubiri ekyayamba abawala ab’amagezi okuba nga beetegekedde okujja kw’omugole omusajja kwe kuba nti baali bulindaala. Ddala kisoboka Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuwugulibwa nga balindirira okujja kwa Kristo? Yee kisoboka. Weetegereze nti Yesu yagamba nti bwe baali balindirira okujja kw’omugole omusajja, abawala ‘bonna ekkumi baasumagira era ne beebaka.’ Yesu yali akimanyi nti n’omuntu omwesimbu era eyeesunga okujja kw’omugole omusajja asobola okuggwaamu amaanyi era n’awugulibwa. Ensonga eyo abaafukibwako amafuta abeesigwa bagikuumira mu birowoozo era bwe kityo bafuba nnyo okusigala nga bali bulindaala. Mu lugero lwa Yesu abawala bonna ekkumi balina kye bakolawo bwe bawulira nti: “Omugole omusajja atuuse!” Naye abawala ab’amagezi bo basigala nga bali bulindaala okutuukira ddala ku nkomerero. (Mat. 25:5, 6; 26:41) Mu ngeri y’emu, abaafukibwako amafuta abeesigwa ababaddewo mu nnaku ez’oluvannyuma, balina kye bakozeewo oluvannyuma lw’okulaba obukakafu obw’amaanyi obulaga nti “omugole omusajja” anaatera okutuuka. * Kati ka twetegereze ebigambo Yesu bye yakomekkereza nabyo mu lugero olwo.

ABAWALA AB’AMAGEZI BAWEEBWA EMPEERA ATE ABASIRUSIRU BABONEREZEBWA

10. Ebyo abawala ab’amagezi n’abasirusiru bye boogera bireetawo kibuuzo ki?

10 Ekintu ekimu ekyewuunyisa mu lugero olwo, bye bigambo abawala ab’amagezi n’abawala abasirusiru bye boogera. (Soma Matayo 25:8, 9.) Ebigambo ebyo bireetawo ekibuuzo kino: “Ddi abaweereza ba Katonda abeesigwa lwe bajja okugaana okuyamba abo abanaaba babasaba okubayamba?” Okulowooza ku kiseera ebyo ebiri mu lugero olwo lwe bituukirira kituyamba okufuna eky’okuddamu. Kijjukire nti Yesu, Omugole Omusajja, ajja okulamula ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. N’olwekyo, ebigambo ebyo biraga ekyo ekinaabaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okuggwaako. Lwaki? Kubanga ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira, abaafukibwako amafuta bajja kuba bamaze okuteekebwako akabonero akasembayo.

11. (a) Kiki ekinaabaawo ng’ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutandika? (b) Kiki abawala ab’amagezi kye baali bategeeza bwe baagamba abawala abasirusiru okugenda okwegulira amafuta?

11 N’olwekyo, ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaaba tekinnatandika, abaafukibwako amafuta bonna abanaaba bakyali ku nsi bajja kuteekebwako akabonero akasembayo. (Kub. 7:1-4) Oluvannyuma lw’okuteekebwako akabonero ako, bajja kuba bakakasiddwa ddala nti ba kugenda mu ggulu. Naye lowooza ku myaka egyo ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Kiki ekinaatuuka ku baafukibwako amafuta abanaaba batali bulindaala era nga si beesigwa? Bajja kufiirwa enkizo ey’okugenda mu ggulu. Kya lwatu nti tebajja kuteekebwako kabonero akasembayo ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika. Mu kiseera ekyo, Abakristaayo abalala abeesigwa bajja kuba bafukiddwako amafuta. Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaatandika, abasirusiru abo bajja kukubwa entiisa okulaba nga Babulooni ekinene kizikirizibwa. Mu kiseera ekyo, bajja kukiraba nti tebeetegekedde kujja kw’Omugole Omusajja. Kati olwo, kiki ekinaabaawo bwe banaasaba obuyambi mu kiseera ekyo? Olugero lwa Yesu lutuyamba okufuna eky’okuddamu. Abawala ab’amagezi baagaana okuwa abawala abasirusiru amafuta gaabwe ne babagamba bagende gye bagatunda beegulire. Naye kijjukire nti obudde bwali bwa ‘kiro mu ttumbi.’ Bandisobodde okusanga abo abatunda amafuta ku ssaawa ezo? Nedda. Kubanga obudde bwali bugenze nnyo.

12. (a) Mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, kiki ekinaatuuka ku abo abaali baafukibwako amafuta naye ne bafuuka abatali beesigwa nga tebannateekebwako kabonero akasembayo? (b) Kiki ekinaatuuka ku abo abalinga abawala abasirusiru?

12 Mu ngeri y’emu, mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, abaafukibwako amafuta abeesigwa tebajja kusobola kuyamba muntu yenna agaanye okuba omwesigwa eri Katonda. Tewajja kuba buyambi bwonna busobola kuweebwa bantu ng’abo. Mu butuufu, obudde bujja kuba buyise. Kati olwo kiki ekinaatuuka ku bantu ng’abo? Yesu alaga ekyo ekyaliwo ng’abawala abasirusiru bagenze okugula amafuta. Agamba nti: ‘Omugole omusajja yatuuka, era abawala abaali beetegese ne bayingira naye mu nnyumba omwali ekijjulo ky’embaga; oluggi ne luggalwawo.’ Ekibonyoobonyo ekinene bwe kinaaba kinaatera okuggwaako, Kristo ajja kujjira mu kitiibwa kye akuŋŋaanye abaafukibwako amafuta bonna abeesigwa abanaaba bakyali ku nsi abatwale mu ggulu. (Mat. 24:31; 25:10; Yok. 14:1-3; 1 Bas. 4:17) Bwe kityo, oluggi lujja kuba nga lugaddwawo. Okufaananako abawala abasirusiru, abo abataali beesigwa bajja kuba nga tebakyasola kuyingira. Mu kiseera ekyo, bajja kuba ng’abagamba nti: “Ssebo, ssebo, tuggulirewo!” Naye eky’okuddamu kye bajja okufuna kifaananako n’ekyo abo abalinga embuzi kye bajja okufuna mu kiseera ekyo. Yesu ajja kubagamba nti: “Mazima mbagamba nti sibamanyi.” Ng’ekyo kiriba kya nnaku nnyo!Mat. 7:21-23; 25:11, 12.

13. (a) Lwaki tekiba kituufu kulowooza nti bangi ku bagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta bandifuuse abatali beesigwa? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti okulabula okuli mu lugero lwa Yesu kulaga nti yeesiga Abakristaayo abaafukibwako amafuta? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)

13 Kati olwo okusinziira ku ebyo bye tulabye, tuwunzike tutya? Kyandiba nti Yesu yali agamba nti bangi ku baafukibwako amafuta bandifuuse abatali beesigwa ne kiba nga kyetaagisa okufunayo abalala okudda mu kifo kyabwe? Nedda. Kijjukire nti Yesu yali yaakalabula “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okwewala okufuuka omuddu omubi. Naye yali tategeeza nti omuddu oyo yandifuuse mubi. Mu ngeri y’emu, mu kugera olugero olukwata ku bawala ekkumi embeerera, Yesu yali awa kulabula. Okuva bwe kiri nti abawala abataano baali ba magezi ate ng’abalala abataano baali basirusiru, kiraga nti buli omu ku baafukibwako amafuta asobola okusalawo okusigala nga mwetegefu era ng’ali bulindaala oba asobola okusalawo okulekera awo okuba omwesigwa. N’omutume Pawulo yawa Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta okulabula okufaananako ng’okwo. (Soma Abebbulaniya 6:4-9; geraageranya ne Ekyamateeka 30:19.) Weetegereze nti wadde nga Pawulo yalabula bakkiriza banne abo, yali mukakafu nti bandifunye empeera yaabwe. Mu ngeri y’emu, n’okulabula Yesu kwe yawa abagoberezi be tekulaga nti yali abuusabuusa obwesigwa bwabwe. Kristo akimanyi nti buli omu ku bagoberezi be abaafukibwako amafuta asobola okusigala nga mwesigwa era n’afuna empeera!

KIKI ‘AB’ENDIGA ENDALA’ KYE BAYIGIRA KU EBYO EBIRI MU LUGERO LWA YESU?

14. Lwaki ebyo ebiri mu lugero lw’abawala ekkumi embeerera biganyula ‘n’ab’endiga endala’?

14 Okuva bwe kiri nti ebyo ebiri mu lugero olw’abawala ekkumi embeerera bikwata ku baafukibwako amafuta, tugambe nti ‘ab’endiga endala’ tebalina kye babiyigirako? (Yok. 10:16) Nedda! Olugero olwo lwalimu obubaka buno obukulu: “Mubeere bulindaala.” Ate era lumu Yesu yagamba nti: “Kye mbabuulira mmwe nkibuulira bonna, Mubeere bulindaala.” (Mak. 13:37) N’olwekyo, Yesu ayagala abagoberezi be bonna okuba obulindaala. Era Abakristaayo bonna basobola okukoppa ekyokulabirako ekirungi abaafukibwako amafuta kye bataddewo nga bakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Kijjukire nti abawala abasirusiru baasaba abawala ab’amagezi okubawa ku mafuta gaabwe naye ne batagabawa. Ekyo kiraga nti buli omu ku ffe alina okufuba okusigala nga mwesigwa, nga mwetegefu, era ng’ali bulindaala. Ebintu ebyo tewali n’omu asobola kubitukolera. Buli omu ku ffe ajja kulamulwa ku lulwe mu maaso g’Omulamuzi Yakuwa gw’alonze, Yesu Kristo. Tulina okuba abeetegefu, kubanga anaatera okujja okulamula!

Abawala abasirusiru obutaweebwa mafuta kiraga nti buli omu ku ffe alina okusigala ng’ali bulindaala era nga mwesigwa, kuba ekyo tewali ayinza kukitukolera

15. Lwaki embaga ya Kristo n’omugole we ejja kuleetera Abakristaayo bonna ab’amazima essanyu?

15 Embaga eyogerwako mu lugero lwa Yesu ejja kuleetera Abakristaayo bonna essanyu. Oluvannyuma lw’olutalo Kalumagedoni, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kufuuka omugole wa Kristo. (Kub. 19:7-9) Buli omu anaabeera ku nsi mu kiseera ekyo, ajja kuganyulwa mu mbaga eyo kubanga oluvannyuma lw’embaga eyo abantu bonna bajja kufugibwa gavumenti etuukiridde. N’olwekyo, ka kibe nti tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna tusaanidde okuba abamalirivu okusigala nga tuli beetegefu era nga tuli bulindaala. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kusobola okufuna emikisa egy’ekitalo Yakuwa gy’atusuubizza!

^ lup. 9 Mu lugero lwa Yesu olwo, oluvannyuma lw’okuwulira oluyoogaano ng’omugole omusajja ajja (olunyiriri 6) wayitawo ekiseera omugole omusajja n’alyoka atuuka (olunyiriri 10). Okuva ennaku ez’enkomerero bwe zaatandika, abaafukibwako amafuta babadde bulindaala. Bakirabye bulungi nti ebyo ebiri mu nsi biraga nti okubeerawo kwa Kristo kwatandika. Bakimanyi bulungi nti kati Yesu afuga nga Kabaka mu Bwakabaka bwa Katonda. Kyokka balina okubeera obulindaala okutuusa lw’anajja, oba lw’anaatuuka.