Yakuwa Atuwa Obulagirizi nga Tukola Omulimu gw’Okubuulira
“Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.”
1. Bizibu ki Abakristaayo bye boolekaganye nabyo nga bakola omulimu gw’okubuulira mu kiseera kyaffe?
ABAYIZI ba Bayibuli * bwe baatandika okubuulira amawulire amalungi, emyaka nga 130 emabega, baayolekagana n’ebizibu bingi. Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, nabo baali balangirira obubaka bangi bwe baali tebaagala kuwulira. Baali batono nnyo, ate ng’okutwalira awamu abantu mu nsi babatwala ng’abataasoma. Okugatta ku ekyo, Sitaani Omulyolyomi yali anaatera okuboolekeza “obusungu” bwe. (Kub. 12:12) Ate era omulimu gwabwe ogw’okubuulira gwali gwa kukolebwa ne “mu nnaku ez’oluvannyuma,” ekiseera ekyandibadde ekizibu ennyo.
2. Kiki Yakuwa ky’akoze okusobozesa omulimu gw’okubuulira okukolebwa mu kiseera kyaffe?
2 Yakuwa ayagala abantu be leero babuulire amawulire amalungi ku kigero ekisingayo okuba ekya waggulu, era tewali kintu kyonna kisobola kulemesa kigendererwa kye ekyo kutuukirira. Nga bwe yanunula Kub. 18:1-4) Atuyigirizza ebintu ebituganyula, atuwadde emirembe, era atuyambye okuyigiriza abalala ebimukwatako. (Soma Isaaya 48:16-18.) Kyokka ekyo tekitegeeza nti Yakuwa ayingira mu buli mbeera eriwo mu nsi atusobozese okubuulira amawulire amalungi. Wabaddewo ebintu ebimu mu nsi ebikifudde ekyangu eri abaweereza ba Katonda okubuulira. Wadde kiri kityo, kikulu okukijjukira nti Yakuwa y’atuyambye okugumira okuyigganyizibwa n’embeera endala enzibu ne tusobola okubuulira amawulire amalungi mu nsi eno eri mu buyinza bwa Sitaani.
3. Okumanya okutuufu kweyongedde kutya leero?
3 Yakuwa yaluŋŋamya nnabbi Danyeri okugamba nti mu nnaku ez’enkomerero okumanya okutuufu kwandyeyongedde. (Soma Danyeri 12:4.) Yakuwa yayamba Abayizi ba Bayibuli okutegeera amazima agaali gamaze emyaka mingi nga gabuutikiddwa enjigiriza za Kristendomu ez’obulimba. Leero akozesa abantu be okumanyisa abantu mu nsi yonna amazima. Mu butuufu, tulaba obunnabbi bwa Danyeri nga butuukirira. Kati abantu nga 8,000,000 be bakkirizza amazima agali mu Bayibuli era bagabuulirako abalala mu nsi yonna. Ebimu ku bintu ebiyambye abaweereza ba Katonda leero okukola omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna bye biruwa?
OMULIMU OGW’OKUVVUUNULA BAYIBULI
4. Mu kyasa ekya 19, Bayibuli yavvuunulwa mu nnimi mmeka?
4 Ekimu ku bintu ebikifudde ekyangu okubuulira amawulire amalungi kwe kuba nti abantu bangi balina Bayibuli. Okumala ebyasa bingi, abakulembeza b’amadiini ga Kristendomu baali tebakkiriza bantu kusoma Bayibuli, era baawoma n’omutwe mu kuttibwa kw’abamu ku abo abaagivvuunulanga. Kyokka mu kyasa ekya 19, waaliwo ebibiina ebyavvuunula Bayibuli era ne bigikuba mu kyapa mu nnimi nga 400. Ekyasa ekya 19 we kyagwerako, abantu bangi baalina Bayibuli naye nga tebalina kumanya kutuufu okuli mu Byawandiikibwa.
5. Abajulirwa ba Yakuwa beenyigidde batya mu mulimu gw’okuvvuunula Bayibuli?
5 Abayizi ba Bayibuli baali bakimanyi nti baalina okubuulira, era baafuba okuyigiriza abantu Bayibuli. Okugatta ku ekyo, abantu ba Yakuwa bakozesezza enkyusa za Bayibuli ezitali zimu era ne bazibunyisa. Okuva mu 1950, abaweereza ba Yakuwa bakubye mu kyapa Bayibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya mu bulambalamba oba mu bitundutundu mu nnimi ezisukka mu 120. Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Olungereza eya 2013 ekozesa olulimi olwangu okutegeera era kijja kuba kyangu okugivvuunula mu nnimi endala nnyingi. Ate era okukozesa Bayibuli ennyangu okutegeera, kikifuula kyangu gye tuli okukola omulimu gw’okubuulira.
EBISEERA EBY’EMIREMBE
6, 7. (a) Ntalo ki ezibaddewo mu myaka 100 egiyise? (b) Emirembe emisaamusaamu egibaddewo mu nsi ezitali zimu gituyambye gitya okukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira?
6 Oyinza okuba nga weebuuza, ‘Ddala mu nsi mubaddemu emirembe?’ Mu myaka 100 egiyise wabaddewo entalo nnyingi, gamba nga Ssematalo I ne Ssematalo II, era abantu bukadde na bukadde bafiiridde mu ntalo ezo. Naye Ssematalo II bwe yali agenda mu maaso mu 1942, Ow’oluganda Nathan Knorr, mu kiseera ekyo eyali atwala obukulembeze mu Bajulirwa ba Yakuwa, yawa emboozi ku lukuŋŋaana olunene, eyalina omutwe “Emirembe
7 Ssematalo II bwe yaggwa, ensi yonna teyajjula mirembe. Okunoonyereza okumu okwakolebwa kwalaga nti wakati w’omwaka 1946 Isaaya 60:22.) Mu butuufu, mu biseera eby’emirembe tuba tusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nnyo.
ne 2013, wabaddewo entalo nga 331 ez’enjawulo era nti abantu bukadde na bukadde baafiira mu ntalo ezo. Kyokka mu myaka egyo wabaddewo emirembe emisaamusaamu mu nsi nnyingi era abantu ba Katonda bakozesezza akakisa ako okubuulira amawulire amalungi. Biki ebivuddemu? Mu 1944, waaliwo ababuulizi b’Obwakabaka nga 110,000 mu nsi yonna. Naye leero ababuulizi b’Obwakabaka bali nga 8,000,000! (SomaEBY’ENTAMBULA
8, 9. Nkulaakulana ki ebaddewo mu by’entambula, era ekyo kituyambye kitya mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?
8 Okuva bwe kiri nti eby’entambula birongoose nnyo leero, kituyambye okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Mu 1900, nga waakayita emyaka nga 21 gyokka bukya Omunaala gw’Omukuumi gutandika okukubibwa, Amerika yonna yalimu emmotoka nga 8,000 era n’enguudo ennungi zaali ntono ddala. Leero mu nsi yonna mulimu emmotoka ezisukka mu kawumbi akamu n’ekitundu, era waliwo n’enguudo ennungi nnyingi nnyo. Ekyo kituyambye okutuusa amawulire amalungi mu bitundu by’ensi ebyesudde. Kyokka ne bwe kiba nti eby’entambula si birungi mu kitundu gye tubeera, tulina okukola kyonna ekisoboka okufuula abantu abayigirizwa, ne bwe kiba nga kitwetaagisa okutambula eŋŋendo empanvu ku bigere.
9 Waliwo n’engeri endala ez’eby’entambula ezituyambye ennyo mu mulimu gwaffe. Birukululana, emmeeri, n’eggaali z’omukka bitusobozesa okutuusa ebitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli mu bitundu ebyesudde mu kiseera kitono. Ate ennyonyi zisobozesa abalabirizi b’ebitundu, abo abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abaminsani, n’ab’oluganda abalala okugenda ku nkuŋŋaana ennene mu bitundu ebiri ewala n’okuddukanya emirimu emirala egiba gibaweereddwa. Okugatta ku ekyo, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi n’abo ababa bakiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu bakozesa ennyonyi okugenda mu nsi ezitali zimu okuzzaamu ab’oluganda amaanyi n’okubawa obulagirizi. N’olwekyo, okuba nti eby’entambula byeyongedde okulongooka kiyambye abantu ba Yakuwa okwongera okuba obumu.
OLULIMI OLUNGEREZA N’OMULIMU OGW’OKUVVUUNULA EBITABO
10. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Olungereza lwe lulimi olusinga okwogerwa mu nsi yonna?
10 Mu kyasa ekyasooka, abantu abasinga obungi mu bwakabaka bwa Rooma baali boogera
Oluyonaani. Leero, abantu bangi okwetooloola ensi boogera Olungereza. Ekitabo ekiyitibwa English as a Global Language kigamba nti: “Kumpi abantu kimu kya kuna okwetooloola ensi yonna basobola okwogera Olungereza.” Abantu abasinga bayize Olungereza olw’okuba lwe lulimi olusinga okukozesebwa mu bizineesi, mu by’obufuzi, mu bya ssaayansi, ne mu bya tekinologiya.11. Abantu ba Yakuwa bakozesezza batya Olungereza okutumbula okusinza okw’amazima?
11 Okuba nti abantu bangi leero boogera Olungereza kiyambye amazima okusaasaana mu bitundu bingi. Okumala emyaka mingi, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo byaffe ebirala byali bikubibwa mu Lungereza mwokka. Olungereza lwe lulimi olutongole olukozesebwa ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era Olungereza lwe lulimi olukozesebwa mu masomero gaffe agabeera ku Watchtower Educational Center mu Patterson, New York, Amerika.
12. Abaweereza ba Yakuwa ebitabo byabwe babivvuunudde mu nnimi mmeka, era enkulaakulana mu bya tekinologiya ebayambye etya mu mulimu ogwo?
12 Olw’okuba tulina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu mawanga gonna, tuvvuunudde ebitabo byaffe mu nnimi nga 700. Enkulaakulana mu bya tekinologiya etusobozesezza okufuna kompyuta ez’omulembe n’okuyiiya programu za kompyuta, gamba nga MEPS (Multilanguage Electronic Publishing System). Ekyo kituyambye nnyo mu mulimu gwaffe ogw’okuvvuunula ebitabo. Ate era kituyambye okubunyisa amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okwongera okuba obumu. Kyokka ekintu ekisinze okutuyamba okuba obumu kwe kuba nti twogera “olulimi olulongoofu,” nga gano ge mazima agali mu Kigambo kya Katonda.
AMATEEKA
13, 14. Amateeka g’ensi gaganyudde gatya Abakristaayo leero?
13 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Abakristaayo abaasooka baaganyulwa nnyo mu mateeka ga Rooma agaali gakola mu matwale ga Rooma gonna. Mu ngeri y’emu, n’Abakristaayo leero baganyulwa mu mateeka g’ensi. Ng’ekyokulabirako, mu Amerika, awali ekitebe kyaffe ekikulu, amateeka gawa abantu eddembe ery’okusinza n’okukuŋŋaana. Ekyo kisobozesezza bakkiriza bannaffe mu Amerika okuba n’enkuŋŋaana zaabwe awatali abakuba ku mukono n’okubuulira abalala ku ebyo bye bayiga. Wadde kiri kityo, oluusi wabaddewo ebiseera lwe kibeetaagisizza okulwanirira Baf. 1:7) Ebiseera ebimu mu Amerika wabaddewo abaagala okuwera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa, naye bakkiriza bannaffe ne bajulira mu kkooti enkulu era ne bawangula.
amawulire amalungi n’okuganyweza okuyitira mu mateeka. (14 Ne kkooti z’amateeka mu nsi endala nazo ziyambye Abajulirwa ba Yakuwa obutaggibwako ddembe lyabwe ery’okusinza n’okubuulira. Mu nsi ezimu, tuwanguddwa mu kkooti z’amateeka, naye ne tujulira mu kkooti y’ensi yonna. Ng’ekyokulabirako, omwezi gwa Jjuuni 2014 we gwatuukira, twali tuwangudde emisango 57 mu kkooti y’ensi yonna eyitibwa European Court of Human Rights. Wadde nga ‘tukyayibwa amawanga gonna,’ tusobodde okuwangula emisango mingi mu kkooti z’amateeka mu nsi ezitali zimu, ekyo ne kitusobozesa okusigaza eddembe lyaffe ery’okusinza.
EBIRALA EBITUYAMBYE
15. Nkulaakulana ki ebaddewo mu mulimu gw’okukuba ebitabo, era ekyo kituganyudde kitya?
15 Enkulaakulana ebaddewo mu mulimu gw’okukuba ebitabo nayo etusobozesezza okukola obulungi omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka abantu baali bakozesa enkola ey’okukuba ebitabo Johannes Gutenberg gye yayiiya mu mwaka gwa 1450. Naye mu myaka 200 egiyise wabaddewo enkulaakulana ya maanyi mu mulimu gw’okukuba ebitabo. Leero bayiiyiizaayo ebyuma eby’omulembe ebikuba ebitabo ne kiba nti kati kisoboka okukuba ebitabo bingi mu kiseera kitono ate nga biri ku mutindo gwa waggulu. Okugatta ku ekyo, leero kyeyongedde okuba ekyangu okukola empapula n’okuzikolamu ebitabo. Ekyo kituyambye kitya mu mulimu gwaffe ogw’okukuba ebitabo? Lowooza ku kino: Kopi z’Omunaala gw’Omukuumi ogwasooka okukubibwa mu Jjulaayi 1879 zaali 6,000, nga temuli bifaananyi, ate nga ziri mu Lungereza mwokka. Leero, oluvannyuma lw’emyaka 136, buli mwezi kopi z’Omunaala gw’Omukuumi ezikubibwa zisukka mu 50,000,000. Ate era magazini y’Omunaala gw’Omukuumi kati ekubibwa mu nnimi ezisukka mu 200 ate ng’erimu ebifaananyi ebiri mu langi ezirabika obulungi.
16. Ebimu ku bintu ebituyambye okukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira mu nsi yonna bye biruwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 24.)
16 Waliwo ebintu bingi ebikoleddwa mu myaka 200 egiyise ebiyambye abantu ba Katonda mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Twogedde ku mmotoka, eggaali z’omukka, n’ennyonyi, naye era waliwo n’ebintu ebirala, gamba ng’eggaali, ebyuma ebikuba tayipu, ebyuma ebikuba ebitabo bya bamuzibe, gramufomu, amasimu, kamera, ebyuma ebikwata amaloboozi n’ebifaananyi ku butambi, leediyo, ttivi, kompyuta, ne Intaneeti. Mu ngeri emu oba endala, ebintu ebyo bituyambye okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Okuba nti tukozesezza ebintu by’amawanga, gamba nga tekinologiya ow’omulembe, okukuba Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, kituukirizza bulungi obunnabbi bwa Bayibuli obulaga nti abaweereza ba Yakuwa ‘bandiyonse amata g’amawanga.’
17. (a) Ebyo bye tutuuseeko mu mulimu gw’okubuulira biraga ki? (b) Lwaki Yakuwa atukkiriza ‘okukolera awamu naye’?
17 Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa y’atusobozesezza okukola omulimu ogw’okubuulira. Yakuwa atukkirizza ‘okukolera awamu naye’ omulimu ogwo si lwa kuba nti tasobola kugwekolera naye lwa kuba nti atwagala nnyo. Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira kiba kiraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe. (1 Kol. 3:9; Mak. 12:28-31) N’olwekyo, ka tukozese buli kakisa ke tufuna okukola omulimu gw’okubuulira, nga guno gwe mulimu ogusingayo obukulu ogulina okukolebwa mu nsi leero. Ate era, ka tukole kyonna ekisoboka okukiraga nti tusiima obulagirizi n’emikisa Yakuwa gy’atuwa nga tukola omulimu gwaffe ogw’okubuulira!