Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu

Weeyongere Okubuulira n’Obunyiikivu

OMULIMU gw’okubuulira amawulire amalungi gwe mulimu ogusingayo obukulu ogukolebwa mu nsi leero. Ng’omu ku baweereza ba Yakuwa, oteekwa okuba ng’ogitwala nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu ogw’okufuula abantu abayigirizwa. Kyokka oteekwa okuba ng’okimanyi nti bapayoniya n’ababuulizi abalala tekitera kubanguyira kusigala nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.

Biki ebinaakuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu?

Ababuulizi abamu bwe baba bagenze okubuulira nnyumba ku nnyumba, tebatera kusanga bantu waka. Ate abamu ku abo be basanga awaka baba tebaagala kuwuliriza, ate abalala baba bakambwe nnyo. Kyokka ababuulizi abalala ekitundu mwe babuulira kinene nnyo era mulimu abantu bangi abawuliriza ne kibaleetera n’okulowooza nti bayinza obutasobola kumalako kitundu kyabwe. Ate waliwo ababuulizi abamu abamaze emyaka mingi nga babuulira ne batuuka n’okuggwamu amaanyi olw’okuba balaba ng’enkomerero eruddewo okutuuka.

Kyanditwewuunyisizza okukimanya nti abantu ba Yakuwa bonna boolekagana n’okusoomooza okutali kumu okuyinza okubaleetera okuba nga tebakyabuulira na bunyiikivu? Nedda. Mu butuufu, tetusuubira nti kijja kutwanguyira okubuulira amawulire amalungi mu nsi eno efugibwa “omubi,” Sitaani Omulyolyomi.1 Yok. 5:19.

K’obe ng’oyolekagana na kusoomooza ki ng’obuulira amawulire amalungi, ba mukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kw’oyinza okwolekagana nakwo. Kati olwo biki ebiyinza okukuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu? Ka tulabeyo ebimu ku byo.

YAMBA ABO ABATALINA BUMANYIRIVU

Buli mwaka abantu nkumi na nkumi beewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Bw’oba nga waakabatizibwa, waliwo ebintu bingi by’osobola okuyigira ku abo abamaze ebbanga eddene nga babuulira. Ate bwe kiba nti omaze emyaka mingi ng’obuulira, osobola okutendeka abo abaakatandika okubuulira. Okukola ekyo kijja kukuleetera essanyu lingi.

Yesu yakiraba nti kyali kyetaagisa okutendeka abayigirizwa be basobole okukola obulungi omulimu gw’okubuulira era yafuba okubatendeka. (Luk. 8:1) Ne leero, ababuulizi abakyali abapya beetaaga okutendekebwa okusobola okufuuka ababuulizi abalungi.

Tetusaanidde kulowooza nti okugenda obugenzi okubuulira kye kijja okuyamba omubuulizi omupya okufuuka omubuulizi omulungi. Mu butuufu, omubuulizi yenna atalina bumanyirivu aba yeetaaga okutendekebwa mu mulimu gw’okubuulira. Omubuulizi alina obumanyirivu asaanidde okutendeka oyo atalina bumanyirivu (1) engeri y’okuteekateekamu ennyanjula, (2) engeri y’okubuuliramu abantu baaba asanze awaka oba baaba asanze mu kkubo, (3) engeri y’okugabamu ebitabo, (4) engeri y’okuyambamu omuntu aba alaze nti ayagala okumanya ebisingawo, ne (5) engeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli. Oyo atendekebwa bw’akolera ku ebyo by’aba ayigirizibwa era n’akoppa oyo amuyigiriza, asobola okufuuka omubuulizi omulungi. (Luk. 6:40) Kya lwatu nti, omubuulizi omupya kimusanyusa nnyo okubuulirako n’omuntu asobola okumuyamba. Ate era omubuulizi omupya aganyulwa nnyo omubuulizi alina obumanyirivu bw’amusiima era n’amulaga ne we yeetaaga okulongoosamu.Mub. 4:9, 10.

NYUMYAKO N’OYO GW’OBUULIRA NAYE

Wadde ng’osaanidde okufuba okwogera n’abantu bangi nga bwe kisoboka ng’obuulira, kikulu nnyo n’okunyumyako n’oyo gw’obuulira naye. Kijjukire nti Yesu bwe yali atuma abayigirizwa be okugenda okubuulira, yabatuma “babiri babiri.” (Luk. 10:1) Ekyo yakikola basobole okuyambagana n’okuziŋŋanamu amaanyi nga babuulira. N’olwekyo, ekiseera ky’omala ng’obuulira ne mukkiriza munno kibawa akakisa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’Bar. 1:12.

Bintu ki bye muyinza okwogerako? Muyinza okwogera ku byokulabirako ebizzaamu amaanyi. Muyinza okwogera ku bintu ebirungi bye mwayize nga mwesomesa oba mu kusinza kw’amaka. Muyinza n’okwogera ku bintu bye mwayize mu nkuŋŋaana ebyabazizzaamu amaanyi. Oluusi oyinza okuba ng’obuulidde n’omuntu gw’ototera kubuulira naye. Omanyi engeri omuntu oyo gye yajja mu mazima? Kiki ekyamuleetera okukakasa nti kino kye kibiina kya Yakuwa? Nkizo ki z’afunye mu kibiina kya Yakuwa era bintu ki by’ajjukira ebibaddewo okuva lwe yayiga amazima? Oboolyawo naawe osobola okumubuulira ku ebyo by’oyiseemu ng’oweereza Yakuwa. Ka kibe nti abantu be mubuulira bawuliriza oba nedda, bw’oba n’omuntu gw’obuulira naye, kibawa akakisa buli omu ‘okuzimba’ munne.1 Bas. 5:11.

BA N’ENTEEKATEEKA ENNUNGI EY’OKWESOMESA

Bwe tuba ab’okweyongera okubuulira n’obunyiikivu, tulina okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era ne tuginywererako. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. (Mat. 24:45) N’olwekyo, tulina ebintu bingi nnyo bye tusobola okusomako. Ka twetegerezeeyo ekimu ku byo: Lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo? Akasanduuko akali ku lupapula 16 kalaga ensonga lwaki kikulu okubuulira n’obunyiikivu.

Okwekenneenya ensonga eziri mu kasanduuko ako kisobola okukukubiriza okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Osobola okweteerawo ekiruubirirwa okunoonyereza ne ku nsonga endala ezisobola okukuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu? Fumiitiriza ku nsonga ezo awamu n’ebyawandiikibwa ebiziwagira. Tewali kubuusabuusa nti okukola ekyo kijja kukubiriza okweyongera okubuulira n’obunyiikivu.

BA MWETEGEFU OKUKOLERA KU MAGEZI AGATUWEEBWA

Ekibiina kya Yakuwa buli kiseera kituwa amagezi agasobola okutuyamba okulongoosa mu buweereza bwaffe. Ng’ekyokulabirako, ng’oggyeko okubuulira nnyumba ku nnyumba, tukubirizibwa n’okukozesa engeri endala ez’okubuulira, gamba ng’okuwandiika amabaluwa, okukozesa essimu, okubuulira ku nguudo oba mu bifo ebya lukale ebirala, n’okubuulira embagirawo. Tusobola n’okukola enteekateeka okugenda okubuulira mu bitundu ebitatera kubuulirwamu.

Oli mwetegefu okukolera ku magezi ng’ago agatuweebwa? Olina ge watandika edda okukolerako? Abo abafubye okukolera ku magezi ng’ago, bafunye emikisa mingi. Lowooza ku byokulabirako bino ebisatu.

Mwannyinaffe ayitibwa April yakolera ku magezi agaafulumira mu kapapula Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akaalimu ekitundu ekikwata ku kutandika okuyigiriza abantu Bayibuli. Mwannyinaffe oyo yategeeza bakozi banne basatu ku nteekateeka ey’okubayigiriza Bayibuli. Yasanyuka nnyo bonna abasatu bwe bakkiriza okutandika okuyiga Bayibuli era ne batandika n’okugenda mu nkuŋŋaana.

Ekyokulabirako eky’okubiri kikwata ku kugaba magazini zaffe. Twakubirizibwa okunoonya abantu abayinza okunyumirwa okusoma ebitundu ebitali bimu ebiba bifulumidde mu magazini zaffe. Omulabirizi w’ekitundu omu mu Amerika yagamba nti waliwo ekitundu ekikwata ku mipiira gy’emmotoka ekyafulumira mu magazini ya Awake! n’asalawo okutwalira bamaneja b’amaduuka agatunda emipiira gy’emmotoka magazini eyo. Ye ne mukyala we era baasalawo okutwalira abasawo abasukka mu 100 abali mu kitundu kyabwe magazini ya Awake! eyalina omutwe: “Okutegeera Obulungi Omusawo Wo.” Agamba nti: ‘Okugaba magazini mu ngeri eyo kiyambye abantu okutegeera Abajulirwa ba Yakuwa n’okwagala okusoma ebitabo byaffe. Oluvannyuma lw’okufuula abantu abo mikwano gyaffe, kitubeeredde kyangu okuddayo gye bali okubayigiriza ebisingawo.’

Ekyokulabirako ekyokusatu kikwata ku kubuulira nga tukozesa essimu. Mwannyinaffe ayitibwa Judy yawandiika ebbaluwa ku kitebe kyaffe ekikulu ng’asiima amagezi amalungi agaaweebwa agakwata ku kukozesa essimu nga tubuulira. Judy yagamba nti wadde nga maama we ow’emyaka 86 yali atawaanyizibwa obulwadde obutali bumu, yateranga okubuulira ng’akozesa essimu. N’ekyavaamu, maama wa Judy yafuna omukyala ow’emyaka 92 gwe yatandika okuyigiriza Bayibuli!

Mu butuufu, bwe tukolera ku magezi agali mu bitabo byaffe, tufuna emikisa mingi. Fuba okukolera ku magazi ago, kubanga gasobola okukuyamba okweyongera okubuulira n’obunyiikivu.

WEETEEREWO EBIRUUBIRIRWA

Yakuwa okusobola okusiima obuweereza bwaffe, tekisinziira ku bitabo bimeka bye tuba tugabye, ku bayizi ba Bayibuli bameka be tulina, oba ku bantu bameka be tuba tuyambye okufuuka abaweereza be. Lowooza ku Nuuwa. Ng’oggyeko ab’omu maka ge, bantu bameka be yayamba okufuuka abaweereza ba Yakuwa? Tewali n’omu. Wadde kyali kityo, Yakuwa yasiima obuweereza bwe. Ekisinga obukulu kwe kuba nti tuweereza Yakuwa n’obwesigwa.1 Kol. 4:2.

Ababuulizi bangi bakirabye nti okweteerawo ebiruubirirwa kibayambye okusigala nga banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Biruubirirwa ki bye tuyinza okweteerawo? Ebimu ku byo biragiddwa mu kasanduuko akali ku lupapula luno.

Saba Yakuwa akuyambye okweyongera okubuulira n’obunyiikivu. Bw’onootuuka ku biruubirirwa byo, ojja kufuna essanyu olw’okukimanya nti okoze kyonna ekisoboka okubuulira amawulire amalungi.

Kyo kituufu nti twolekagana n’okusoomooza okutali kumu nga tubuulira amawulire amalungi. Wadde kiri kityo, waliwo ebintu bingi ebisobola okutuyamba okubuulira n’obunyiikivu. Fuba okunyumya ebintu ebizimba n’oyo gw’obuulira naye, ba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era oginywerereko, kolera ku magezi agatuweebwa omuddu omwesigwa, era weeteerewo ebiruubirirwa. N’ekisinga obukulu, kijjukire nti Yakuwa Katonda akuwadde enkizo ey’omuwendo ennyo ey’okubuulira amawulire amalungi ng’omu ku Bajulirwa be. (Is. 43:10) Mu butuufu, bw’oneeyongera okubuulira n’obunyiikivu, ojja kufuna essanyu lingi nnyo!