Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beewaayo Kyeyagalire—Mu New York

Beewaayo Kyeyagalire—Mu New York

EMYAKA mitono emabega, Cesar ne mukyala we, Rocio, baali babeera mu California era nga bali bulungi mu by’enfuna. Cesar yalina omulimu ogw’ekiseera kyonna ng’akola mu kkolero erikola ebyuma ebiyingiza empewo mu bizimbe. Ate Rocio yalina omulimu ogutali gwa kiseera kyonna mu ddwaliro. Baalina ennyumba eyaabwe ku bwabwe era nga tebalina baana. Naye waliwo ekintu ekyaliwo ekyakyusa obulamu bwabwe. Kintu ki ekyo?

Mu Okitobba 2009, ofiisi y’ettabi ey’omu Amerika yawandiikira ebibiina byonna mu Amerika ebbaluwa, nga basaba ab’oluganda abalina obukugu mu bintu ebitali bimu okwewaayo okuweereza ng’Ababeseri abatali ba nkalakkalira basobole okuyambako mu kugaziya Wallkill, New York, awakubirwa ebitabo. N’ab’oluganda abaalina emyaka egisukka ku egyo abayitibwa ku Beseri gye balina okuba nagyo, baali basobola okujjuza foomu. Cesar ne Rocio baagamba nti: “Okuva bwe kiri nti twali tukuze, twakiraba nti bwe tutakozesa kakisa ako, twali tuyinza obutaddamu kukafuna.” Cesar ne Rocio baawaayo okusaba kwabwe.

Abamu ku abo abakola ogw’okuzimba mu Warwick

Waayita omwaka nga gumu nga Cesar ne Rocio tebannayitibwa ku Beseri. Wadde kyali kityo, baliko enkyukakyuka ze baakola basobole okutuuka ku kiruubirirwa kyabwe. Cesar agamba nti: “Twalongoosa ggalagi yaffe ne tutandika okusula omwo ate ennyumba yaffe ennene gye twali tusulamu ne tugipangisa omuntu omulala. Okukola enkyukakyuka ezo kyatuyamba okuba abeetegefu okugenda okuweereza ku Beseri nga tuyitiddwa.” Kiki ekyaddirira? Rocio agamba nti: “Bwe twatandika okusula mu ggalagi, waayitawo omwezi gumu gwokka ne tuyitibwa okugenda okuweereza mu Wallkill ng’Ababeseri abatali ba nkalakkalira. Twakiraba nti Yakuwa yatuwa emikisa olw’okuba twalina kye twali tukozeewo okusobola okutuuka ku kiruubirirwa kyaffe.”

Jason, Cesar, ne William

BAFUNYE EMIKISA MINGI OLW’OKWEFIIRIZA

Okufaananako Cesar ne Rocio, waliwo bakkiriza bannaffe bangi abeefiirizza okusobola okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu New York. Abamu bayambako mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu Wallkill, ate abalala bafunye enkizo okuyambako mu kuzimba awagenda okubeera ekitebe kyaffe ekikulu mu Warwick. * Waliwo ab’oluganda bangi abaleseewo amayumba gaabwe amalungi, emirimu gyabwe egisasula obulungi, n’embwa zaabwe oba kapa zaabwe ze baagala ennyo, okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe. Ab’oluganda abo aboolese omwoyo ogw’okwefiiriza, Yakuwa abawadde emikisa mingi!

Way

Ng’ekyokulabirako, Way, omukugu mu by’amasannyalaze, ne mukyala we Debra, bombi abanaatera okuweza emyaka 60, baatunda ennyumba yaabwe eyali mu Kansas n’ebintu byabwe ebisinga obungi ne bagenda okuweereza mu Wallkill, naye nga tebasula ku Beseri. * Wadde ng’ekyo kyali kibeetaagisa okwefiiriza ennyo, bafunye emikisa mingi. Ng’ayogera ku buweereza bwabwe ku Beseri, Debra agamba nti: “Oluusi, bwe tuba tuzimba mpulira ng’ali mu nsi empya nga tukola omulimu ogw’okuzimba, nga bwe kitera okulagibwa mu bitabo byaffe ne mu vidiyo zaffe!”

Melvin ne Sharon baatunda ennyumba yaabwe eyali mu South Carolina awamu n’ebintu byabwe ebirala basobole okuyambako mu mulimu gw’okuzimba mu Warwick. Wadde nga beefiiriza ebintu bingi, bagitwala nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu ogwo. Bagamba nti: “Kitusanyusa nnyo okuba nti tukola emirimu egiganyula ekibiina kya Yakuwa okwetooloola ensi yonna.”

Kenneth

Kenneth, omuzimbi eyali yawummula, ne Maureen, abali mu myaka 50, baava e California ne bagenda okuweereza mu Warwick. Okusobola okugenda, baasaba mwannyinaffe omu mu kibiina ekimu okusigala mu nnyumba yaabwe era ne basaba ab’eŋŋanda zaabwe okubayambako okulabirira taata wa Kenneth akaddiye. Bejjusa olw’okwefiiriza ne basobola okugenda okuweereza ku Beseri? Nedda! Kenneth agamba nti: “Wadde nga twolekagana n’okusoomooza okutali kumu nga tuweereza ku Beseri, emikisa gye tufuna mingi nnyo era tukubiriza n’abalala okulowoozaako ku ky’okuweereza ku Beseri.”

OKWAŊŊANGA OKUSOOMOOZEBWA

Bangi ku abo abeewaayo okuyambako mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu New York baalina okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, William ne Sandra, abali mu myaka 60, abaali babeera mu Pennsylvania, baali bulungi mu by’enfuna. Baalina kampuni ekola ebyuma ebya sipeeya era ng’ekozesa abantu 17. Ekibiina mwe baali, kye kibiina mwe baali babadde okuviira ddala mu buto. Ate era baali babeera kumpi n’ab’eŋŋanda zaabwe abasinga obungi. N’olwekyo, akakisa bwe kajja okuweereza mu Wallkill baakiraba nti baalina okuleka abantu be baali bamanyidde. William agamba nti: “Okusoomooza okusingayo okuba okw’amaanyi kwe twayolekagana nakwo kwe kuva mu bulamu bwe twali tumanyidde.” Kyokka oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa, William ne Sandra baasalawo okugenda, era tebejjusangako olw’okusalawo okukola ekyo. William agamba nti: “Essanyu lye tufunye nga tukolera wamu n’Ababeseri tetuyinza kuligeraageranya ku kintu kirala kyonna. Nze ne Sandra tetubangako basanyufu nga bwe tuli kati!”

Abamu ku abo abakola ogw’okuzimba mu Wallkill

Ricky, eyali maneja w’ekitongole ekimu ekizimba amayumba eky’omu Hawaii, yayitibwa okuweereza ku Beseri asobole okuyambako mu mulimu gw’okuzimba mu Warwick. Wadde nga mukyala we, Kendra, yali ayagala nnyo bagende, baalina ekintu ekyali kibeeraliikiriza ennyo. Baalina mutabani waabwe Jacob ow’emyaka 11. Baali beebuuza obanga kyali kya magezi okusengukira mu New York era obanga mutabani waabwe yandisobodde okumanyiira obulamu mu kitundu ekyo ekipya.

Ricky yagamba nti: “Twali twagala okufuna ekibiina ekirimu abaana abakola obulungi mu by’omyoyo. Twali twagala, Jacob afune emikwano emirungi.” Kyokka ekibiina kye baafuna, kyalimu abaana batono nnyo naye nga mulimu Ababeseri bangi. Ricky yagamba nti: “Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana lwe twasooka okufuna mu kibiina ekipya, nnabuuza Jacob engeri gye yali asanzeemu ekibiina ekyo, okuva bwe kiri nti temwalimu mwana n’omu wa myaka gye. Yaŋŋamba nti, ‘Tofaayo taata, Ababeseri abakyali abato be bajja okufuuka mikwano gyange.’”

Jacob ne bazadde be nga bali wamu n’Ababeseri abali mu kibiina kyabwe

Mu butuufu, Ababeseri abakyali abato bafuuse mikwano gya Jacob. Kiki ekivuddemu? Ricky agamba nti “Lumu ekiro, nnayita ku kisenge kya mutabani wange ne ndaba ng’etaala ekyaliko. Nnalowooza nti ŋŋenda kumusanga ng’azaanya emizannyo gya kompyuta, kyokka nneewuunya nnyo okumusanga ng’asoma Bayibuli! Bwe nnamubuuza lwaki yali asoma Bayibuli ku ssaawo ezo, Jacob yaŋŋamba nti, ‘Ndi Mubeseri omuto, njagala kusoma Bayibuli njimaleko mu mwaka gumu.’” Tewali kubuusabuusa nti Ricky ne Kendra basanyufu nnyo okuba nti Ricky ayambako mu mulimu gw’okuzimba mu Warwick ate nga ne mutabani waabwe yeeyongedde okukulaakulana mu by’omwoyo.Nge. 22:6.

TEBEERALIIKIRIRA KINAABAAWO MU MAASO

Luis ne Dale

Omulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu Wallkill ne mu Warwick gujja kutuuka ekiseera guggwe, era n’abo abagukola ekyo bakimanyi bulungi. Kyokka bakkiriza bannaffe abo si beeraliikirivu olw’ekyo kye banaakola ng’omulimu ogwo guwedde! Bangi balina endowooza ng’eya John, eyali maneja w’ekitongole ekimu ekizimba amayumba, ne mukyala we, Carmen, abaava mu Florida, ne bagenda okuweereza mu Warwick. Bagamba nti: “Tulabye engeri Yakuwa gy’atulabiriddemu. Tuli bakakafu nti Yakuwa tasobola kutuleeta wano ate oluvannyuma n’atwabulira.” (Zab. 119:116) Luis, omukugu mu kukola ebyuma ebizikiza omuliro, ne mukyala we, Quenia, abaweerereza mu Wallkill, bagamba nti: “Tulabye engeri Yakuwa gy’abadde akola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Wadde nga tetumanyi wa gye tunaabeera, na kiki kye tunaakola okweyimirizaawo, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okutulabirira.”Zab. 34:10; 37:25.

YAKUWA AJJA KUKUWA EMIKISA MINGI

John ne Melvin

Bangi ku abo abeewaayo okuyambako mu mulimu gw’okuzimba mu New York baali balina ensonga ezitali zimu ze baali basobola okwekwasa obutagenda. Kyokka, baasalawo okugezesa Yakuwa, nga ffenna bw’atukubiriza okukola. Agamba nti: ‘Mungezese mulabe obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.’Mal. 3:10.

Naawe onoogezesa Yakuwa olabe emikisa entoko gy’anaakuwa? Saba Yakuwa era otunule mu mbeera yo olabe kiki ky’oyinza okukola okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu New York oba awalala wonna awazimbibwa ebizimbe ebikozesebwa mu mulimu gw’Obwakabaka.Mak. 10:29, 30.

Gary

Dale, yinginiya, ne mukyala we, Cathy, okuva mu Alabama, bakubiriza n’abalala okwenyigira mu buweereza buno. Bwe baba boogera ku ky’okuweereza mu Wallkill, bagamba nti: “Bw’oyoleka obuvumu n’ova mu bulamu bw’obadde omanyidde, ojja kulaba engeri omwoyo gwa Yakuwa gye gukolamu.” Kiki kye weetaaga okukola okusobola okwewaayo okuweereza mu ngeri eno? Dale agamba nti: ‘Olina okuba omwetegefu okwefiiriza n’okwerekereza. Bw’okola bw’otyo, tojja kwejjusa!’ Gary, okuva mu North Carolina, amaze emyaka 30 ng’akola mu by’okuzimba. Ye ne mukyala we, Maureen, ogumu ku mikisa gye bafunye mu kuweereza mu Warwick kwe “kukolerako awamu n’ab’oluganda abamaze emyaka emingi nga baweereza Yakuwa ku Beseri.” Gary agattako nti: “Okusobola okuweereza ku Beseri, olina okweggyamu omwoyo gw’okwagala ebintu, ate ng’ekyo ffenna kye twetaaga okukola mu nnaku zino ez’enkomerero.” Jason, omukugu mu by’amasannyalaze, ne mukyala we, Jennifer, okuva mu Illinois abayambako mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu Wallkill, bagamba nti omulimu ogwo gubaleetedde okwongera ‘okulowooza ku ngeri obulamu gye bunaabamu mu nsi empya.’ Jennifer agattako nti: “Kitusanyusa nnyo okukimanya nti buli kimu kye tukola Yakuwa akisiima era nti ajja kutuwa emikisa emirembe n’emirembe.”

^ lup. 6 Laba akatabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 2014, olupapula 12-13.

^ lup. 7 Ababeseri abatali ba kiseera kyonna era abatasula ku Beseri beesasulira aw’okusula n’ebintu ebirala bye beetaaga mu bulamu. Baweereza ku Beseri olunaku lumu oba okusingawo buli wiiki.