Abazadde —Muyambe Abaana Bammwe mu by’Omwoyo
“Osaanidde okumanya obulungi ekisibo kyo bwe kifaanana.”
1, 2. (a) Obumu ku buvunaanyizibwa abasumba Abaisiraeri bwe baalina bwe buliwa? (b) Abazadde bafaananako batya abasumba?
MU ISIRAERI ey’edda, abasumba baabanga n’obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Baalinanga okulunda endiga zaabwe obudde ne bwe bwabanga bwa bbugumu oba nga bunnyogovu. Era baalinanga okukuuma endiga zaabwe obutabbibwa oba obutaliibwa. Abasumba beekebejjanga endiga zaabwe obutayosa era ne bajjanjaba endiga yonna eyabanga endwadde oba eyabanga efunye obuvune. Baafangayo nnyo ku ndiga ento kubanga zaabanga nnafu nnyo bw’ozigeraageranya ku ndiga enkulu.
2 Mu ngeri emu oba endala, Abazadde Abakristaayo balinga abasumba. Balina obuvunaanyizibwa okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era balina okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Obuvunaanyizibwa obwo bwangu okutuukiriza? Nedda! Abaana basobola okutwalirizibwa obutali butuukirivu bwabwe n’obulimba obuva eri Sitaani. (2 Tim. 2:22; 1 Yok. 2:16) Bw’oba olina abaana, oyinza otya okubayamba? Ka twetegereze ebintu bisatu by’oyinza okukola: (1) tegeera bulungi abaana bo, (2) baliise, ne (3) bawe obulagirizi.
TEGEERA BULUNGI ABAANA BO
3. Abazadde bayinza batya okutegeera obulungi abaana baabwe?
3 Omusumba omulungi afuba okwekebejja buli emu ku ndiga ze okukakasa nti nnamu bulungi. Naawe osobola okukola kye kimu eri abaana bo. Bayibuli egamba nti: “Osaanidde okumanya obulungi ekisibo kyo bwe kifaanana.” (Nge. 27:23, NW) Ekyo okusobola okukikola, olina okwetegereza ebyo abaana bo bye bakola, okumanya ebyo bye balowooza, n’enneewulira zaabwe. Engeri emu ekyo gy’oyinza okukikolamu kwe kunyumya n’abaana bo obutayosa.
4, 5. (a) Bintu ki by’oyinza okukola okuleetera abaana bo okukweyabiza? (Laba ekifaananyi ku lupapula 17.) (b) Kiki ky’okoze okuyamba abaana bo okukweyabiza?
4 Abazadde bangi bakirabye nti abaana baabwe bwe bavubuka balekera awo okubeeyabiza. Bwe kiba nti abaana bo bwe batyo bwe bali, kiki ky’oyinza okukola? Tosaanidde kulowooza nti okusobola okuyamba mutabani wo oba muwala wo, olina buli kiseera okumutuuza wansi omale ekiseera kiwanvu ng’oyogera naye. Mu kifo ky’ekyo, gezaako okukozesa buli kakisa k’ofuna okwogera naye. (Ma. 6:6, 7) Kiyinza okukwetaagisa okufuba okubaako ebintu by’okolera awamu n’omwana wo. Osobola okutambulako awamu naye, okuzannyako naye, oba okukolerako awamu naye emirimu gy’awaka. Ekyo kisobola okuleetera omwana wo avubuse okukweyabiza.
5 Watya singa oluvannyuma lw’okukola ebyo byonna era omwana wo tekimwanguyira kukweyabiza? Oyinza okugezaako amagezi gano. Mu kifo ky’okubuuza omwana wo engeri olunaku lwe bwe lwabadde, gezaako okumubuulira ku ebyo bye wayiseemu mu lunaku. Ekyo kiyinza okumuleetera naye okukubuulira ku ebyo bye yayiseemu. Oba bw’oba oyagala okutegeera ekyo omwana wo ky’alowooza ku nsonga emu, buuza ebibuuzo ebikwata ku nsonga eyo, mu kifo ky’okubuuza ebyo ebikwata ku ye. Osobola okumubuuza ekyo mikwano gye kye balowooza ku nsonga eyo. Oluvannyuma oyinza okumubuuza magezi ki g’ayinza okubawa.
6. Omuzadde ayinza atya okulaga abaana be nti mwetegefu okubawa ebiseera era nti atuukirikika?
6 Kya lwatu nti abaana bo bwe baba ab’okukweyabiza, balina okukiraba nti oli mwetegefu okubawa ebiseera era nti otuukirikika. Abazadde buli kiseera bwe balabika ng’abalina eby’okukola ebingi, abaana baabwe kiyinza okubazibuwalira okubabuulira ebizibu byabwe. Oyinza otya okukiraga nti otuukirikika? Tokoma ku kugamba bugambi baana bo nti, “Musobola okuntuukirira essaawa yonna.” Mu kifo ky’ekyo abaana bo basaanidde okukiraba nti ensonga zaabwe ojja kuzitwala nga nkulu era nti tojja kuva mu mbeera nga balina kye bakugambye. Abazadde bangi bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Kayla ow’emyaka 19 agamba nti: “Taata wange nsobola okumubuulira buli kimu. Bwe mbaako kye mmubuulira, tansala kirimi, tansalira musango, era ampuliriza bulungi. Ate era bulijjo ampa amagezi amalungi.”
7. (a) Abazadde bayinza batya okwewala okugwa olubege nga boogera n’abaana baabwe ku nsonga, gamba ng’eyo ekwata ku kwogerezeganya? (b) Abazadde bayinza batya okuleetera abaana baabwe okulekera awo okubeebuuzaako?
7 Ebiseera ebimu kiba kikwetaagisa okwogera n’abaana bo ku nsonga eziyinza obutaba nnyangu kwogerako, gamba ng’eyo ekwata ku kwogerezeganya. Mu mbeera ng’eyo, fuba okulaba nti oyamba abaana bo okutegeera ekituufu eky’okukola. Ng’ekyokulabirako, watya singa ogenda mu wooteeri okulya emmere naye nga buli mmere gy’osaba, abakola mu wooteeri eyo bakugamba nti eyinza okuba ey’obulabe eri obulamu bwo. Oyinza okusalawo okuva mu wooteeri eyo n’ogenda okulya mu wooteeri endala. Mu ngeri y’emu, singa abaana bo buli lwe bajja gy’oli okukwebuuzaako, ekintu kyokka ky’okola kwe kuvumirira obuvumirizi ekyo kye baba baagala okukola, ekyo kiyinza okubaleetera okulekera awo okukwebuuzaako. Abakkolosaayi 3:21.) N’olwekyo, weewale okugwa olubege. Mwannyinaffe Emily ow’emyaka 25 agamba nti: “Bazadde bange bwe baba bambuulira ebikwata ku kwogerezeganya, tebakyogerako bubi. Bakiraga nti kirungi okutegeera obulungi omuntu gw’oba oyagala okufumbiriganwa naye. Ekyo kinnyambye obutatya kwogera nabo ku nsonga eyo. Mu butuufu, sitya kubabuulira bikwata ku mikwano gyange gyonna.”
(Soma8, 9. (a) Birungi ki ebiyinza okuvaamu singa omuzadde awuliriza bulungi omwana we? (b) Birungi ki by’ofunye mu kuwuliriza obulungi abaana bo?
8 Omuzadde asobola okukiraga nti atuukirikika ng’afuba okuwuliriza obulungi abaana be. (Soma Yakobo 1:19.) Katia, maama ali obwannamunigina, agamba nti: “Edda saabanga mugumiikiriza eri muwala wange. Olw’okuba oluusi nnabanga nkooye era nga saagala kuntawaanya, saamuwanga kakisa kumalayo bye yabanga aŋŋamba. Okuva bwe kiri nti kati muwuliriza bulungi, naye kati anneeyabiza.”
9 Omuzadde omulala ayitibwa Ronald yagamba nti: “Lumu muwala wange bwe yaŋŋamba nti alina omulenzi gwe yeegwanyiza ku ssomero, mu kusooka nnanyiiga nnyo. Naye bwe nnalowooza ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu obugumiikiriza ng’akolagana n’abaweereza be, nnakiraba nti kyali kinneetaagisa okuwa muwala wange akakisa okumbuulira ekimuli ku mutima nga sinnaba kumuwabula. Ekyo bwe nnakikola, nnasobola okutegeera obulungi muwala wange. Bwe yamala okwogera, kyannyanguyira okwogera naye mu ngeri ey’ekisa. Kyansanyusa nnyo okuba nti yakolera ku magezi ge nnamuwa era n’akiraga nti yali mwetegefu okukyusa mu nneeyisa ye.” Bulijjo abazadde bwe bafuba okwogera n’abaana baabwe, kibayamba okutegeera obulungi ebyo bye balowooza n’enneewulira zaabwe. Ekyo kiyamba abazadde okuwa abaana baabwe amagezi amalungi. *
LIISA ABAANA BO
10, 11. Oyinza otya okuyamba abaana bo okunywerera mu mazima?
10 Omusumba omulungi aba akimanyi nti buli emu ku ndiga ze esobola okuwaba n’eva mu kisibo. Endiga eyinza okweyawula ku kisibo ng’eyagala okulya omuddo gw’erabye okumpi awo, n’egenda nga yeeyongerayo okutuusa lw’ebulira ddala. Mu ngeri y’emu, omwana ayinza okutandika mpolampola okukwata ekkubo ekyamu n’atuuka n’okuva mu mazima. Ayinza okutwalirizibwa emikwano emibi oba eby’okwesanyusaamu ebitasaana. (Nge. 13:20) Oyinza otya okwewala embeera ng’eyo okubaawo?
2 Peet. 1:5-8) Ekiseera ky’okusinza kw’amaka kisobola okukuyamba okukola ekyo. Mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, Okitobba 2008 mwalimu amagezi gano: “Emitwe gy’amaka bakubirizibwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe eri Yakuwa nga bafuba okulaba nti baba n’okusinza kw’amaka obutayosa.” Ofuba okukozesa enteekateeka eyo okuyamba abaana bo mu by’omwoyo? Ba mukakafu nti abaana bo kibasanyusa nnyo bwe bakiraba nti ofaayo ku byetaago byabwe eby’omwoyo.
12. (a) Okusinza kw’amaka kuyambye kutya abaana? (Laba n’akasanduuko “Basiima Enteekateeka y’Okusinza kw’Amaka.”) (b) Okusinza kw’amaka kukuganyudde kutya?
12 Lowooza ku ebyo Carissa ow’emyaka 19 bye yayogera ku ngeri okusinza kw’amaka gye kuganyuddemu amaka gaabwe. Yagamba nti: “Kinsanyusa nnyo bwe tutuulako awamu ne tubaako bye tuyiga. Ekyo kituyambye okwongera okunyweza enkolagana yaffe. Taata afuba okulaba nti tetwosa kuba na kusinza kw’amaka. Kinsanyusa nnyo okulaba nti enteekateeka eyo agitwala nga nkulu nnyo, era ekyo nange kindeetedde okugitwala nga nkulu. Ate era kindeetedde okwongera okumussaamu ekitiibwa.” Mwannyinaffe Brittney ow’emyaka 23 yagamba nti: “Okusinza kw’amaka kunyambye okuba n’enkolagana ennungi ne bazadde bange. Kunnyambye okukiraba nti baagala okumanya ebizibu byange era nti banfaako.” Tewali kubuusabuusa nti bw’oliisa abaana bo mu by’omwoyo, naddala ng’oyitira mu kusinza kw’amaka, kijja kukuyamba okuba omusumba omulungi. *
WA ABAANA BO OBULAGIRIZI
13. Omuzadde ayinza atya okuyamba omwana we okwagala okuweereza Yakuwa?
13 Omusumba omulungi akozesa omuggo gwe okukuuma ekisibo kye n’okukiwa obulagirizi. Ekimu ku bintu ebikulu omusumba by’akola kwe kutwala endiga ze awali “omuddo omulungi.” (Ez. 34:13, 14) Omuzadde, oyinza otya okuba ng’omusumba oyo? Osaanidde okuwa abaana bo obulagirizi basobole okuweereza Yakuwa. Tewali kubuusabuusa nti oyagala abaana bo bawulire ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Nsanyuka okukola by’oyagala, Ai Katonda wange; weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” (Zab. 40:8) Abaana bo bwe bafuna endowooza ng’eyo kisobola okubakubiriza okwewaayo eri Yakuwa era ne babatizibwa. Kya lwatu nti abaana bo basaanidde okuba abakulu ekimala okusobola okwesalirawo okuweereza Yakuwa era ekyo basaanidde okukikola olw’okuba bamwagala.
14, 15. (a) Kiki abazadde Abakristaayo kye basaanidde okufuba okukola? (b) Lwaki abavubuka abamu bayinza okulabika ng’ababuusabuusa nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima?
14 Watya singa abaana bo balabika ng’abatakulaakulana mu by’omwoyo, oboolyawo nga balimu n’okubuusabuusa nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima? Fuba okubayamba okwagala Yakuwa Katonda n’okusiima ebyo byonna by’abakoledde. (Kub. 4:11) Ekyo kiyinza okubakubiriza okusalawo okuweereza Yakuwa.
15 Bwe kiba nti abaana bo babuusabuusa nti Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima, ba mugumiikiriza era ofube okubawa obulagirizi obwetaagisa. Bayambe okukiraba nti okuweereza Yakuwa kijja kubayamba okuba n’obulamu obusingayo okuba obulungi era nti kijja kubaganyula emirembe gyonna. Fuba okumanya ensonga lwaki balina okubuusabuusa ng’okwo. Ng’ekyokulabirako, kyandiba nti omwana wo takkiriza ebyo Bayibuli by’eyigiriza, oba kyandiba nti atya buti okubibuulirako banne? Kyandiba
nti abuusabuusa obanga kya magezi okukolera ku mitindo gya Katonda, oba kyandiba nti atya buti okulabika nga wa njawulo ku banne?16, 17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okufuula amazima agaabwe?
16 Ka kibe ki ekiba kireetedde omwana wo okubuusabuusa enzikiriza ye, olina ky’osobola okukola okumuyamba. Kiki ky’oyinza okukola? Abazadde bangi bafubye okumanya ekyo ekiri ku mutima gw’abaana baabwe nga bababuuza ebibuuzo nga bino: “Owulira otya okuba nti oli Mukristaayo? Miganyulo ki egiri mu kuba Omukristaayo? Kusoomooza ki Omukristaayo kw’ayinza okwolekagana nakwo? Okiraba nti emiganyulo gy’ofuna mu kiseera kino n’egyo gy’onoofuna mu biseera eby’omu maaso gisingira wala okusoomoozebwa kwonna kw’ofuna mu kiseera kino?” Kya lwatu nti bw’oba obuuza ebibuuzo ebyo ojja kufuba okubiteeka mu bigambo byo era obibuuze mu ngeri ey’ekisa, nga tolinga asoya omwana wo ebibuuzo. Oyinza okukubaganya ebirowoozo n’omwana wo ku ebyo ebiri mu Makko 10:29, 30. Oyinza okumusaba okuwandiika enkalala bbiri, ng’olumu lulaga emiganyulo egiri mu kuweereza Yakuwa ate ng’olulala lulaga okusoomooza okulimu. Ekyo kiyinza okukuyamba okutegeera ebizibu abaana bo bye boolekagana nabyo n’okumanya engeri gy’oyinza okubayambamu. Bwe kiba nti ofuba okuyigiriza abalala Bayibuli ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ne “Kwagala kwa Katonda,” olowooza tewandikoze kye kimu eri abaana bo! Ekyo ofuba okukikola?
17 Abaana bo bwe bagenda bakula, basaanidde okwesalirawo ku lwabwe okuweereza Yakuwa. Tolowooza nti bajja kusalawo okuweereza Yakuwa olw’okuba naawe wasalawo okumuweereza. Balina okufuula amazima agaabwe. (Nge. 3:1, 2) Bw’okiraba nti omwana wo tayagala kusalawo kuweereza Yakuwa kiki ky’oyinza okukola? Oyinza okumuyamba okufumiitiriza ku bibuuzo nga bino: “Nkakasa ntya nti Katonda gy’ali? Nkakasiza ku ki nti Yakuwa Katonda antwala okuba ow’omuwendo gy’ali? Lwaki okukolera ku mitindo gya Yakuwa kya muganyulo nnyo gye ndi?” Kirage nti oli musumba mulungi ng’oyamba abaana bo okukiraba nti okuweereza Yakuwa kijja kubayamba okuba n’obulamu obusingayo okuba obulungi. *
18. Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa, Omusumba Omukulu?
18 Abakristaayo bonna basaanidde okukoppa Yakuwa, Omusumba Omukulu. (Bef. 5:1; 1 Peet. 2:25) Abazadde basaanidde okufuba okumanya ekisibo kyabwe, nga bano be baana baabwe. Basaanidde okufuba okuwa abaana baabwe obulagirizi obunaabasobozesa okufuna emikisa Yakuwa gy’atusuubizza. N’olwekyo, kola kyonna ekisoboka okuyamba abaana bo okweyongera okutambulira mu mazima!
^ lup. 9 Okumanya ebisingawo, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 1, 2008, olupapula 18-20.
^ lup. 12 Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Okusinza kw’Amaka Kuyamba mu Kuwonawo!” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Okitobba 15, 2009, olupapula 29-31.
^ lup. 17 Okumanya ebisingawo ku nsonga eno laba Watchtower eya Febwali 1, 2012, olupapula 18-21.