“Muliba Bajulirwa Bange”
“[Yesu] n’abagamba nti: ‘. . . Muliba bajulirwa bange . . . okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.’”
1, 2. (a) Ani ‘mujulirwa omwesigwa era ow’amazima’? (b) Erinnya Yesu litegeeza ki, era Omwana wa Katonda yatuukana atya n’erinnya eryo?
BWE yali awozesebwa, Yesu yagamba Piraato, gavana Omuruumi owa Yuda, nti: “Nze nnazaalirwa ekyo era nnajja ku nsi okutegeeza amazima.” (Soma Yokaana 18:33-37.) Nga wayiseewo emyaka mingi, omutume Pawulo yayogera ku buvumu Yesu bwe yayoleka ku olwo n’agamba nti, ‘yawa obujulirwa mu lujjudde eri Pontiyo Piraato.’ (1 Tim. 6:13) Tuli mu nsi efugibwa Sitaani era ejjudde abantu abakambwe. N’olwekyo, okusobola okuwa obujulirwa, kitwetaagisa okuba abavumu nga Yesu ‘omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.’
2 Okuva bwe kiri nti Yesu yali Muyudaaya, yali mujulirwa wa Yakuwa okuviira ddala mu buto bwe. (Is. 43:10) Mu butuufu, Yesu ye mujulirwa wa Yakuwa eyasingayo okuweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa. Yesu yatwala erinnya Katonda lye yamuwa nga kkulu nnyo. Yesu bwe yali tannazaalibwa, malayika yagamba Yusufu nti: “[Maliyamu] ajja kuzaala omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma erinnya Yesu, kubanga alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe.” (Mat. 1:20, 21) Abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti erinnya Yesu liva mu linnya ery’Olwebbulaniya Yeshua, eritegeeza “Yakuwa Bwe Bulokozi.” Ng’atuukana n’amakulu g’erinnya lye, Yesu yayamba Abayudaaya, “endiga ez’ennyumba ya Isiraeri ezaabula,” okwenenya ebibi byabwe basobole okuddamu okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. (Mat. 10:6; 15:24; Luk. 19:10) Yabuulira n’obunyiikivu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omuwandiisi w’Enjiri Makko yagamba nti: “Yesu n’agenda e Ggaliraaya ng’abuulira amawulire amalungi agakwata ku Katonda, ng’agamba nti: ‘Ekiseera ekigereke kituuse, era obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye era mukkirize amawulire amalungi.’” (Mak. 1:14, 15) Ate era Yesu yayoleka obuvumu ng’anenya abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, era ekyo kye kimu ku bintu ebyabaleetera okumutta.
‘EBINTU BYA KATONDA EBY’EKITALO’
3. Kiki ekyaliwo ku lunaku olw’okusatu oluvannyuma lwa Yesu okuttibwa?
3 Nga wayise ennaku ssatu oluvannyuma lwa Yesu okuttibwa, waliwo ekintu ekyewuunyisa ekyaliwo. Yakuwa yamuzuukiza ng’alina omubiri ogw’omwoyo, so si ogw’ennyama. (1 Peet. 3:18) Okusobola okuyamba abayigirizwa be okukiraba nti yali azuukidde, Mukama waffe Yesu, yabalabikira mu mubiri ogw’ennyama. Ku lunaku lwennyini lwe yazuukira, yalabikira abayigirizwa be abatali bamu emirundi ng’etaano.
4. Kiki ekyaliwo Yesu bwe yalabikira abayigirizwa be, era buvunaanyizibwa ki bwe yabakwasa?
4 Ku mulundi ogw’okutaano, Yesu yalabikira abatume be n’abayigirizwa be abalala abaaliko we bakuŋŋaanidde. Yabayamba okwongera okutegeera Ebyawandiikibwa. Bayibuli egamba nti: “N’abikkula amagezi gaabwe basobole okutegeera amakulu g’Ebyawandiikibwa.” Bwe kityo, baasobola okutegeera nti okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe byali byayogerwako dda mu Byawandiikibwa. Ku nkomerero y’olukuŋŋaana olwo olwali olukulu ennyo, Yesu yategeeza abayigirizwa be obuvunaanyizibwa bwe baalina. Yabagamba nti “mu linnya lye, obubaka obw’okwenenya okusonyiyibwa ebibi bwandibuuliddwa mu mawanga gonna,” okutandikira mu Yerusaalemi. Yagattako nti: “Mujja kuba bajulirwa b’ebintu ebyo.”
5, 6. (a) Lwaki Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Muliba bajulirwa bange”? (b) Kintu ki ekirala abayigirizwa ba Yesu kye baalina okutandika okubuulira abalala?
5 Nga wayise ennaku 40, Yesu bwe yalabikira abatume be omulundi ogusembayo, yagamba nti: “Muliba bajulirwa bange mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Ekiragiro ekyo abatume bateekwa okuba nga baakitegeera bulungi. Lwaki Yesu yagamba nti: “Muliba bajulirwa bange,” so si ba Yakuwa? Okuva bwe kiri nti be yali ayogera nabo baali Baisiraeri, Yesu yali teyeetaaga kubagamba kuba bajulirwa ba Yakuwa. Ekyo kiri kityo, kubanga buli Muisiraeri yabanga mujulirwa wa Yakuwa.
6 Kati abayigirizwa ba Yesu baali balina okutandika okumanyisa abantu ku kintu ekirala ekikwata ku kigendererwa kya Yakuwa, era ng’ekintu ekyo kisingira wala okununulibwa kw’Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri n’oluvannyuma okuva mu buwambe e Babulooni. Yesu bwe yafa era n’azuukira, kyasobozesa abantu okuba n’essuubi ery’okusumululwa okuva mu buddu obusingirayo ddala okuba obw’amaanyi, nga buno bwe buddu bw’ekibi n’okufa. Ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., abayigirizwa ba Yesu abaali bafukiddwako amafuta baategeeza abantu “ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.” Bangi ku bantu abaawulira ku bintu ebyo beenenya ebibi byabwe era ne batandika okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu. Yesu, eyali azzeeyo mu ggulu, kati Yakuwa yali amuwadde obuyinza obusingawo era ng’amukozesa okununula enkumi n’enkumi z’abantu ku nsi.
“EKINUNULO KU LW’ABANGI”
7. Ebyo ebyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. byalaga ki?
7 Ebyo ebyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E. byalaga nti Yakuwa yali akkirizza omuwendo gwa ssaddaaka ya Yesu etuukiridde okuba ekinunulo olw’ebibi by’abantu. (Beb. 9:11, 12, 24) Nga Yesu bwe yagamba, teyajja “kuweerezebwa wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.” (Mat. 20:28) Mu ‘bangi’ abo abandiganyuddwa mu kinunulo kya Yesu, mwandibaddemu Abayudaaya n’abatali Bayudaaya. Ekyo kiri kityo kubanga Katonda ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa,” era ekinunulo kya Yesu ‘kiggyawo ebibi by’ens!’
8. Abayigirizwa ba Yesu baawa obujulirwa kwenkana wa, era ekyo baasobola batya okukikola?
8 Abayigirizwa ba Yesu abo abaasooka baasobola okwoleka obuvumu nga bawa obujulirwa obumukwatako? Yee, naye ekyo tebaakikola mu maanyi gaabwe. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwe gwabasobozesa okweyongera okuwa obujulirwa. (Soma Ebikolwa 5:30-32.) Oluvannyuma lw’emyaka nga 27 okuva ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., kyali kisobola okugambibwa nti ‘obubaka obw’amazima obw’amawulire amalungi’ bwali butuuse mu Bayudaaya ne mu b’amawanga “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”
9. Nga bwe kyalagulwa, kiki ekyatuuka ku kibiina Ekikristaayo?
9 Eky’ennaku kiri nti ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, wajjawo obwakyewaggula mu kibiina Ekikristaayo. (Bik. 20:29, 30; 2 Peet. 2:2, 3; Yud. 3, 4) Nga Yesu bwe yagamba, obwakyewaggula obwo, obwaleetebwawo “omubi,” Sitaani, bwandigenze bweyongera ne bubuutikira Obukristaayo obw’amazima okutuukira ddala ku mafundikira g’enteekateeka ey’ebintu. (Mat. 13:37-43) Awo, Yakuwa yandituuzizza Yesu ku ntebe y’Obwakabaka. Ekyo kyaliwo mu Okitobba 1914, era eyo ye yali entandikwa ‘y’ennaku ez’oluvannyuma’ ez’enteekateeka y’ensi ya Sitaani.
10. (a) Kiseera ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kyaffe kye baayogerako ng’ekyabulayo ebbanga? (b) Kiki ekyaliwo mu Okitobba 1914, era ekyo kyeyolese kitya?
10 Abakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kiseera kyaffe baali baakiraga dda nti waliwo ekintu eky’enjawulo ekyandibaddewo mu Okitobba 1914. Ekyo baakyogera nga basinziira ku bunnabbi bwa Danyeri Dan. 4:16) Mu bunnabbi obukwata ku kubeerawo kwe ‘n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu,’ ebiseera ebyo omusanvu, Yesu yabiyita “ebiseera ebigereke eby’amawanga.” Ebyo ebibaddewo mu nsi okuva mu 1914 biraga kaati nti Yesu kati Kabaka. (Mat. 24:3, 7, 14; Luk. 21:24) Okuva mu mwaka ogwo, mu “bintu bya Katonda eby’ekitalo” ebibadde bibuulirwa mwe muli n’eky’okuba nti Yakuwa yatuuza Yesu ku ntebe y’Obwakabaka mu 1914.
obukwata ku muti omunene ogwatemebwa era ne guddamu okumera oluvannyuma ‘lw’ebiseera omusanvu.’ (11, 12. (a) Kiki ekyaliwo mu 1919? (b) Kintu ki ekyeyoleka okuva mu 1935? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)
11 Oluvannyuma lw’okufuuka Kabaka, Yesu Kristo, yatandika okununula abagoberezi be abaafukibwako amafuta okuva mu “Babulooni Ekinene.” (Kub. 18:2, 4) Mu 1919, Ssematalo I nga yaakaggwa, abaafukibwako amafuta baafuna eddembe erisingawo okuwa obujulirwa mu nsi yonna. Baawa obujulirwa obukwata ku kinunulo ne ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baakozesa eddembe eryo okuwa obujulirwa, era ekyo kyasobozesa abaafukibwako amafuta abalala okukuŋŋaanyizibwa.
12 Okuva mu 1935, kyeyoleka lwatu nti Kristo yali atandise okukuŋŋaanya ‘ab’endiga endala,’ abandifuuse “ekibiina ekinene” eky’abantu okuva mu mawanga gonna. Nga bakolera wamu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, ab’ekibiina ekinene nabo bakoppa ekyokulabirako kya Yesu nga babuulira mu lujjudde nti obulokozi bwabwe buva eri Katonda ne Kristo. Ab’ekibiina ekinene bakimanyi nti bwe beeyongera okukola omulimu ogw’okuwa obujulirwa era ne beeyongera okukkiririza mu kinunulo kya Kristo, bajja kufuna enkizo ey’ekitalo okuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene,” ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa.
‘FUNA OBUVUMU OSOBOLE OKUBUULIRA AMAWULIRE AMALUNGI’
13. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola, era tuyinza tutya okukoppa Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka?
13 Ffenna tusaanidde okweyongera okuwa obujulirwa ku ‘bintu eby’ekitalo’ Yakuwa Katonda by’akoze ne ku bisuubizo bye eby’omu biseera eby’omu maaso. Kyo kituufu nti oluusi omulimu gw’okuwa obujulirwa teguba mwangu. Bangi ku bakkiriza bannaffe babuulira mu bitundu omuli abantu abataagala kuwuliriza, ababavuma, oba ababayigganya. Singa twesanga mu mbeera ng’eyo, tusaanidde okukola ekyo omutume Pawulo ne banne kye baakola. Pawulo yagamba nti: “Twafuna obuvumu okuva eri Katonda waffe ne tubabuulira amawulire ga Katonda amalungi mu kufuba okw’amaanyi 1 Bas. 2:2) N’olwekyo, tetusaanidde kulekulira. Nga bwe tulindirira enteekateeka ya Sitaani okuzikirizibwa, ka tube bamalirivu okutuukiriza ekyo kye tweyama nga twewaayo eri Katonda. (Is. 6:11) Kyokka, ekyo tetusobola kukikola mu maanyi gaffe. Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu tusobole okufuna “amaanyi agasinga ku ga bulijjo.”
14, 15. (a) Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baayisibwanga batya, era Peetero yabazzaamu atya amaanyi? (b) Abantu bwe batuyigganya olw’okuba tuli Bajulirwa ba Yakuwa, kiki kye tusaanidde okujjukira?
14 Leero, waliwo abantu bukadde na bukadde abeeyita Abakristaayo, “naye [beegaana Katonda] mu bikolwa byabwe kubanga bagwagwa era bajeemu era tebasaanira mulimu mulungi gwa ngeri yonna.” (Tit. 1:16) Kikulu okukijjukira nti ne mu kyasa ekyasooka, abantu bangi baali tebaagala Bakristaayo ab’amazima. Eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yagamba nti: “Bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo muba basanyufu, kubanga . . . omwoyo gwa Katonda guli ku mmwe.”
15 Abajulirwa ba Yakuwa leero nabo bavumibwa “olw’erinnya lya [Yesu] Kristo”? Yee, kubanga ng’oggyeko okuwa obujulirwa ku Yakuwa, bawa n’obujulirwa ku Yesu n’obufuzi bwe. Yesu naye yayigganyizibwa olw’okuwa obujulirwa ku Yakuwa. Yagamba abo abaali bamuyigganya nti: “Nzize mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza.” (Yok. 5:43) N’olwekyo, singa tuyigganyizibwa olw’okuwa obujulirwa, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Bwe tuyigganyizibwa, kiba kiraga nti tusiimibwa mu maaso ga Katonda era nti ‘omwoyo gwa Katonda guli ku ffe.’
16, 17. (a) Kiki abantu ba Yakuwa mu bitundu by’ensi ebitali bimu kye balaba? (b) Kiki ky’omaliridde okukola?
16 Ate era kikulu okukijjukira nti waliwo abantu bangi abakyeyongera okwegatta ku kusinza okw’amazima mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Ne mu bitundu Abajulirwa ba Yakuwa bye babuuliddemu ennyo, mukyalimu abantu abawuliriza obubaka bwaffe. N’olwekyo, bwe tusanga abantu ng’abo tusaanidde okubaddiŋŋana era bwe kiba kisoboka tutandike okubayigiriza Bayibuli basobole okukulaakulana, beeweeyo eri Yakuwa, era babatizibwe. Naawe oyinza okuba ng’owulira nga Mwannyinaffe Sarie abeera mu South Africa, amaze emyaka egisukka mu 60 ng’aweereza Yakuwa. Agamba nti: “Ndi musanyufu okuba nti okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, nsobola okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, Omuyinza w’ebintu byonna, era nti nsobola okumanyisa abalala erinnya lye ery’ekitiibwa.” Sarie wamu n’omwami we, Martinus, basobodde okuyamba abantu bangi nga mw’otwalidde n’abaana baabwe abasatu okufuuka abaweereza ba Yakuwa. Sarie agattako nti: “Tewali kireeta ssanyu lisinga eryo eriva mu mulimu gw’okubuulira, era okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, ffenna Yakuwa atuwa amaanyi ageetaagisa ne tusobola okweyongera okukola omulimu guno oguwonya obulamu.”
17 K’obe nga wamala dda okubatizibwa oba ng’oluubirira okutuuka ku ddaala eryo, osaanidde okusiima ennyo enkizo ey’okubeera omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. N’olwekyo, weeyongere okuwa obujulirwa mu bujjuvu era ofube okusigala ng’oli muyonjo mu nsi ya Sitaani eno eteri nnyonjo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuweesa Kitaffe ow’omu ggulu ekitiibwa, oyo atuwadde enkizo okuyitibwa erinnya lye ery’ekitiibwa.