Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
“Olw’okukkiriza, Musa bwe yakula yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo.”
1, 2. (a) Bwe yali wa myaka 40, kiki Musa kye yasalawo okukola? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki Musa yasalawo okuyisibwa obubi awamu n’abantu ba Katonda?
MUSA yali amanyi bulungi obulamu bwe yandibaddemu singa yasigala mu Misiri. Yalabanga amayumba g’Abamisiri abagagga agaali galabika obulungi ennyo. Yali atwalibwa ng’omulangira mu Misiri era yali ‘ayigiriziddwa mu magezi gonna ag’e Misiri,’ oboolyawo omwali ebikwata ku mmunyeenye, okubala, n’ebirala. (Bik. 7:22) Tewali kubuusabuusa nti Musa kyandimwanguyidde okufuna eby’obugagga, ettutumu, n’enkizo Abamisiri bangi ze baali batasobola kufuna!
2 Kyokka bwe yali wa myaka 40, Musa yasalawo okukola ekintu ekiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Falaawo awamu n’ab’omu maka ge. Yaleka obulamu obulungi bwe yalimu mu Misiri n’asalawo okubeera n’abantu ba Katonda abaali abaddu! Lwaki? Kubanga Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi. (Soma Abebbulaniya 11:24-26.) Olw’okuba yalina okukkiriza okw’amaanyi, Musa yali ng’alaba Yakuwa, “Oyo atalabika,” era yali akkiririza mu bisuubizo bye.
3. Bibuuzo ki ebisatu ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Okufaananako Musa, naffe tusaanidde okulaba “Oyo atalabika.” Tulina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. (Beb. 10:38, 39) Okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe, ka twetegereze ebyo ebyogerwa ku Musa ebiri mu Abebbulaniya 11:24-26. Nga twetegereza ebintu ebyo, tugenda kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Okukkiriza kwayamba kutya Musa okwewala okwegomba okw’omubiri? Musa bwe yavumibwa, okukkiriza kwamuyamba kutya okutwala enkizo ze yalina nga za muwendo? Era lwaki Musa “yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa”?
YEEWALA OKUTWALIRIZIBWA OKWEGOMBA OKW’OMUBIRI
4. Kiki Musa kye yali amanyi ku “ssanyu ly’ekibi”?
4 Olw’okuba yalina okukkiriza, Musa yali akimanyi nti ‘essanyu ly’ekibi’ lya kaseera buseera. Kyokka abalala bayinza okuba ng’ebintu baali babiraba bulala. Baali bakirabye nti ensi ya Misiri, eyali ejjudde okusinza ebifaananyi n’ebikolwa eby’obusamize, yali efuuse ggwanga kirimaanyi ate ng’abantu ba Katonda baali baddu era nga babonaabona. Naye Musa yali akimanyi nti Katonda yali asobola okukyusa ebintu. Wadde ng’abantu ababi baali balabika ng’abali obulungi, Musa yali mukakafu nti baali bajja kuzikirizibwa. N’olwekyo, Musa teyatwalirizibwa “ssanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera.”
5. Kiki ekinaatuyamba okwewala okutwalirizibwa ‘essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera’?
5 Oyinza otya okwewala okutwalirizibwa ‘essanyu ly’ekibi ery’akaseera obuseera’? Kijjukirenga nti essanyu omuntu ly’afuna ng’akoze ekibi liba lya kaseera buseera. Okukkiriza kusobola okukuyamba okukiraba nti “ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo.” (1 Yok. 2:15-17) Lowooza ku ekyo ekigenda okutuuka ku bantu abakola ebibi naye ne bagaana okwenenya. Abantu ng’abo bali “mu bifo eby’obuseerezi: . . . entiisa zibamalirawo ddala!” (Zab. 73:18, 19) N’olwekyo, bw’okemebwa okukola ekibi osaanidde okwebuuza, ‘Ebiseera byange eby’omu maaso nnandyagadde bibeere bitya?’
6. (a) Lwaki Musa “yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo”? (b) Lwaki ekyo Musa kye yasalawo okukola kyali kya magezi?
6 Okukkiriza Musa kwe yalina kwamuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Bayibuli egamba nti: “Olw’okukkiriza, Musa bwe yakula yagaana okuyitibwa mutabani wa muwala wa Falaawo.” (Beb. 11:24) Musa teyalowooza nti yali asobola okuweereza Katonda ng’eno bw’aweereza ne mu lubiri, oboolyawo asobole okukozesa obuyinza n’eby’obugagga bye yalina okuyamba Baisiraeri banne. Mu kifo ky’ekyo, Musa yali mumalirivu okwagala Yakuwa n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna n’amaanyi ge gonna. (Ma. 6:5) Ekyo Musa kye yasalawo okukola kyamuwonya ebizibu bingi. Bingi ku bintu by’e Misiri Musa bye yeerekereza, Abaisiraeri bwe baali bava e Misiri baagenda nabyo. (Kuv. 12:35, 36) Falaawo yaswala nnyo era yafiira mu nnyanja. (Zab. 136:15) Kyokka ye Musa yawonawo era Katonda yamukozesa okukulembera eggwanga lya Isiraeri nga bava e Misiri. Mu butuufu, obulamu bwe bwali bwa makulu.
7. (a) Okusinziira ku Matayo 6:19-21, lwaki tusaanidde okweterekera eby’obugagga eby’olubeerera? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga enjawulo eri wakati w’okweterekera eby’obugagga eby’akaseera obuseera n’okweterekera eby’obugagga eby’olubeerera.
7 Bwe kiba nti oli muweereza wa Yakuwa era ng’okyali muvubuka, okukkiriza kuyinza kutya okukuyamba ng’osalawo omulimu gw’onookola? Kiba kya magezi okwetegekera ebiseera eby’omu maaso. Okukkiririza mu bisuubizo bya Katonda kisobola okukuyamba okweterekera eby’obugagga eby’olubeerera mu kifo ky’okweterekera ebyo eby’akaseera obuseera. (Soma Matayo 6:19-21.) Ekyo kyennyini mwannyinaffe Sophie, eyali omuzinyi omukugu, kye yakola. Yaweebwa sikaala okuva mu kampuni ezitali zimu mu Amerika era ne bamusuubiza emirimu emisava. Sophie agamba nti: “Olw’okuba nnali wa ttutumu, abantu bangi baali banneegomba. Mu butuufu, nnawuliranga nga nsukkulumye ku bavubuka bannange. Wadde kyali kityo, saali musanyufu.” Lumu Sophie yalaba vidiyo eyitibwa Young People Ask
8. Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okuyamba abavubuka okusalawo ku ngeri gye banaakozesaamu obulamu bwabwe?
8 Yakuwa amanyi ebyo ebisobola okukuganyula. Musa yagamba nti: “Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, okwekuumanga ebiragiro bya Mukama n’amateeka ge, bye nkulagira leero, olw’obulungi bwo.” (Ma. 10:12, 13) Bw’oba oli muvubuka era ng’olowooza ku mulimu gw’onookola, fuba okulonda ogwo ogunaakusobozesa okwagala Yakuwa n’okumuweereza “n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.” Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna emikisa mingi.
ENKIZO ZE YALINA YALI AZITWALA NGA ZA MUWENDO
9. Lwaki obuvunaanyizibwa Musa bwe yali akwasiddwa tebwali bwangu kutuukiriza?
9 “Okuvumibwa [Musa] kwe yayolekagana nakwo ng’oyo Eyafukibwako Amafuta yakutwala ng’eky’obugagga ekisinga obugagga bw’e Misiri.” (Beb. 11:26) Musa ayitibwa “oyo Eyafukibwako Amafuta,” oba “Kristo,” olw’okuba Yakuwa yamulonda okukulembera Abaisiraeri nga bava e Misiri. Musa yali akimanyi nti obuvunaanyizibwa obwali bumukwasiddwa tebwandibadde bwangu kutuukiriza. Yali akimanyi nti yandibadde ‘avumibwa,’ kwe kugamba, yandibadde ayigganyizibwa. Emabegako, omu ku Baisiraeri banne yamugamba nti: “Ani eyakuwa obukulu n’okutulamula ffe?” (Kuv. 2:13, 14) Ne Musa kennyini yabuuza Yakuwa nti: “Falaawo anampulira atya nze?” (Kuv. 6:12) Okusobola okwetegekera okuyigganyizibwa, Musa yategeeza Yakuwa ebyali bimweraliikiriza. Yakuwa yayamba atya Musa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obutaali bwangu?
10. Yakuwa yayamba atya Musa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe?
10 Okusookera ddala, Yakuwa yagamba Musa nti: “Ndibeera wamu naawe.” (Kuv. 3:12) Eky’okubiri, Yakuwa yanyweza okukkiriza kwa Musa ng’amubuulira agamu ku makulu g’erinnya lye. Yagamba Musa nti: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera.” * (Kuv. 3:14, NW) Eky’okusatu, Yakuwa yawa Musa amaanyi okukola ebyamagero, ekyalaga nti Musa yali asindikiddwa Katonda. (Kuv. 4:2-5) Eky’okuna, Yakuwa yalonda Alooni okuba omwogezi wa Musa, asobole okumuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe. (Kuv. 4:14-16) Musa we yafiira, yali mukakafu nti Katonda awa abaweereza be ebyo bye beetaaga okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bw’aba abawadde. Yagamba Yoswa eyamuddira mu bigere nti: “Mukama ye wuuyo abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga: totya so totekemuka.”
11. Lwaki obuvunaanyizibwa Musa bwe yaweebwa yabutwala nga bwa muwendo nnyo?
11 Obuvunaanyizibwa Musa bwe yaweebwa yabutwala nga bwa muwendo nnyo ‘okusinga obugagga bw’e Misiri.’ Lwaki? Kubanga, yakiraba nti okuweereza Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna kyali kya muwendo nnyo okusinga okuweereza Falaawo. Era yakiraba nti enkizo Yakuwa gye yali amuwadde ey’okukulembera Abaisiraeri yali ya muwendo nnyo okusinza okuba omulangira mu Misiri. Mu butuufu, Musa yafuna emikisa mingi olw’okwoleka endowooza ennuŋŋamu. Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, oyo eyamuwa amaanyi ag’ekitalo n’asobola okukulembera Abaisiraeri nga bagenda mu Nsi Ensuubize.
12. Nkizo ki Yakuwa z’atuwadde?
12 Naffe Yakuwa alina omulimu gw’atuwadde. Okufaananako omutume Pawulo n’abalala, naffe Yakuwa atukwasizza “obuweereza,” okubuulira amawulire amalungi. (Soma 1 Timoseewo 1:12-14.) Ffenna tulina enkizo eyo. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Okugatta ku ekyo, abamu ku ffe bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Bakkiriza bannaffe abamu abakuze mu by’omwoyo, baweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina. Kyokka, ab’eŋŋanda zo abatali bakkiriza n’abantu abalala bayinza obutalaba mugaso guli mu kuba na nkizo ng’ezo. Bayinza n’okukuvuma olw’okubaako ebintu bye weefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (Mat. 10:34-37) Singa obakkiriza okukumalamu amaanyi, oyinza okutandika okwebuuza obanga ddala kya magezi okweyongera okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza n’okwetikka obuvunaanyizibwa Yakuwa bw’akuwadde. Singa ekyo kikutuukako, okukkiriza kuyinza kutya okukuyamba okusigala ng’oli munywevu?
13. Yakuwa atuyamba atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’atuwa?
13 Kikulu nnyo okusaba Yakuwa n’omutegeeza ebyo ebikweraliikiriza. Yakuwa ye yakukwasa obuvunaanyizibwa bw’olina mu kibiina kye era ajja kukuyamba okubutuukiriza obulungi. Nga bwe yayamba Musa, naawe bw’ajja okukuyamba. Okusookera ddala, Yakuwa akugamba nti: “Naakuwanga amaanyi; weewaawo, naakuyambanga; weewaawo, naakuwaniriranga n’omukono ogwa ddyo ogw’obutuukirivu bwange.” (Is. 41:10) Eky’okubiri, Yakuwa akukakasa nti ebisuubizo bye byesigika. Agamba nti: “Nnayogera, n’okutuukiriza ndituukiriza; nnateesa, n’okukola ndikola.” (Is. 46:11) Eky’okusatu, Yakuwa akuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” okukuyamba okutuukiriza obuweereza bwo. (2 Kol. 4:7) Eky’okuna, okusobola okukuyamba okweyongera okumuweereza n’obwesigwa, Kitaffe ow’omu ggulu akuwadde bakkiriza banno mu nsi yonna abasobola ‘okukubudaabuda n’okukuzimba.’ (1 Bas. 5:11) Okukimanya nti Yakuwa akuwa byonna bye weetaaga okusobola okutuukiriza obuweereza bwo, kisobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo era ne kikuyamba okutwala enkizo z’olina nga za muwendo nnyo okusinga ekintu kyonna ky’oyinza okufuna mu nsi.
“YEEKALIRIZA EMPEERA EYALI EY’OKUMUWEEBWA”
14. Lwaki Musa yali mukakafu nti yandifunye empeera?
14 Musa “yeekaliriza empeera eyali ey’okumuweebwa.” (Beb. 11:26) Wadde ng’ebyo Musa bye yali amanyi ku biseera eby’omu maaso byali bitono nnyo, ebintu ebyo byamuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Okufaananako jjajjaawe Ibulayimu, Musa yali mukakafu nti Yakuwa asobola okuzuukiza abafu. (Luk. 20:37, 38; Beb. 11:17-19) Okukkiriza kwe yalina mu bisuubizo bya Katonda kwamuyamba obutakitwala nti emyaka 40 gye yamala nga mmomboze n’emyaka 40 gye yamala mu ddungu gyali gifiiridde bwereere. Wadde nga yali tamanyidde ddala ngeri Yakuwa gye yandituukirizzaamu bisuubizo bye byonna, Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi ne kiba nti yali ng’alaba empeera eyali ey’okumuweebwa.
15, 16. (a) Lwaki tusaanidde ‘okwekaliriza empeera ey’okutuweebwa’? (b) Mikisa ki gye weesunga okufuna mu nsi empya?
Mak. 13:32, 33) Wadde nga tetumanyi buli kimu ekikwata ku Lusuku lwa Katonda, ebyo bye tumanyi bingi nnyo ku ebyo Musa bye yali amanyi. Yakuwa atuyambye okumanya ebintu bingi Obwakabaka bwe bye bunaakola ne kiba nti tusobola bulungi ‘okwekaliriza empeera ey’okutuweebwa.’ Bwe tutegeera obulungi ebikwata ku nsi empya, kisobola okutuyamba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. Mu ngeri ki? Lowooza ku kino: Osobola okugula ennyumba nga tosoose kutegeera bulungi bigikwatako? Kya lwatu nti ekyo tosobola kukikola. Mu ngeri y’emu, tetusobola kumala biseera byaffe nga tuluubirira ekintu kye tutakakasa nti kijja kubaawo. Okukkiriza kwe tulina kusaanidde okutuyamba okulaba obulungi engeri obulamu gye bunaabamu mu Bwakabaka bwa Katonda.
15 Naawe ‘weekaliriza empeera ey’okukuweebwa’? Okufaananako Musa, naffe waliwo ebintu ebikwata ku bisuubizo bya Katonda bye tutamanyi. Ng’ekyokulabirako, tetumanyi ‘kiseera’ kyennyini ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira. (16 Okusobola okutegeera obulungi engeri obulamu gye bunaabamu mu Bwakabaka bwa Katonda, kikulu ‘okwekaliriza empeera ey’okukuweebwa,’ kwe kugamba, okukuba akafaananyi ng’oli mu Lusuku lwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, bw’oba osoma ku baweereza ba Katonda ab’edda, lowooza ku ebyo by’oyinza okubabuuza nga bazuukidde. Lowooza ku ebyo nabo bye bayinza okukubuuza ebikwata ku ngeri gye watambuzaamu obulamu bwo mu nnaku ez’oluvannyuma. Lowooza ku ngeri gy’onoowuliramu ng’osisinkanye bajjajjaabo ne bajjajja ba bajjajjaabo era n’engeri gy’onoobayambamu okutegeera ebyo Katonda by’abakoledde. Lowooza ku ssanyu ly’onoofuna ng’oyiga ebisingawo ebikwata ku nsolo ez’enjawulo mu nsi empya. Fumiitiriza ku ngeri enkolagana yo ne Yakuwa gy’ejja okweyongera okunywera ng’ogenda weeyongera okufuuka omuntu atuukiridde.
17. Okufumiitiriza ku mikisa gye tunaafuna mu biseera eby’omu maaso kituganyula kitya?
17 Okufumiitiriza ku mikisa gye tunaafuna mu biseera eby’omu maaso kituyamba okugumira ebizibu, okusigala nga tuli basanyufu, n’okusalawo mu ngeri eraga nti twagala okufuna obulamu obutaggwaawo. Pawulo yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Bwe tusuubira kye tutalaba, tukirindirira n’obugumiikiriza.” (Bar. 8:25) Ebigambo bya Pawulo ebyo bikwata ne ku Bakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Wadde nga tetunnafuna mpeera yaffe, okukkiriza kwe tulina kutuyamba okulindirira n’obugumiikiriza ‘empeera ey’okutuweebwa.’ Okufaananako Musa, naffe ekiseera kye tumaze nga tuweereza Yakuwa tetukitwala nti kifiiridde bwereere. Mu kifo ky’ekyo, tuli bakakafu nti “ebintu ebirabika bya kaseera buseera, naye ebitalabika bya lubeerera.”
18, 19. (a) Lwaki tulina okufuba ennyo okunyweza okukkiriza kwaffe? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?
18 Okukkiriza kusobola okutuyamba okuba “abakakafu ddala ku bintu wadde nga tebinnalabibwa.” (Beb. 11:1) Omuntu atalina ndowooza nnuŋŋamu, eky’okuweereza Yakuwa takitwala ng’ekintu ekikulu. Omuntu ng’oyo eby’obugagga eby’omwoyo abitwala nga “bya busirusiru.” (1 Kol. 2:14) Naye ffe tulina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna n’okulaba abantu abaafa nga bazuukidde. Ebintu ebyo abantu abatamanyi Yakuwa tebabitegeera. Okufaananako abafirosoofo abaaliwo mu kyasa ekyasooka abaagamba nti Pawulo yali ajoboja bujoboja, ne leero bwe tuba tubuulira, abantu abasinga obungi balowooza nti bye twogera tebiriimu nsa.
19 Okuva bwe kiri nti leero abantu bangi tebalina kukkiriza, buli omu ku ffe asaanidde okufuba ennyo okunyweza okukkiriza kwe. Saba Yakuwa akuyambe “okukkiriza kwo kuleme okuggwaawo.” (Luk. 22:32) Okufaananako Musa, bulijjo fumiitiriza ku nkizo gy’olina ey’okuweereza Yakuwa ne ku ssuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Era bulijjo kijjukire nti okukola ekibi tekivaamu kalungi konna. Kyokka waliwo n’ekintu ekirala kye tusobola okuyigira ku Musa. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri okukkiriza gye kwayambamu Musa okulaba “Oyo atalabika.”
^ lup. 10 Ng’ayogera ku bigambo bya Katonda ebiri mu Okuva 3:14, omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Tewali kiyinza kulemesa Katonda kutuukiriza kigendererwa kye . . . Erinnya [Yakuwa] lyali lya kuba kigo eri Abaisiraeri, era lyandibayambye okuba n’essuubi n’okubudaabudibwa.”