Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Tunuulira Obulungi bwa Yakuwa’

‘Tunuulira Obulungi bwa Yakuwa’

Ffenna tusobola okufuna ebizibu. Ebizibu, bisobola okutweraliikiriza, okutumalamu amaanyi, n’okutumalamu essuubi. Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yafuna ebizibu bingi. Kiki ekyamuyamba okwolekagana n’ebizibu ebyo? Yagamba nti: “Nkaabira Mukama n’eddoboozi lyange; n’eddoboozi lyange neegayirira Mukama. Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza. Omwoyo gwange bwe gwazirika mu nda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange.” Dawudi bwe yafuna ebizibu, yasaba Yakuwa amuyambe.Zab. 142:1-3.

Bwe yafunanga ebizibu, Dawudi yasabanga Yakuwa amuyambe

Mu zabbuli endala, Dawudi yagamba nti: “Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, [n’okusanyukira okulaba ku] yeekaalu ye.” (Zab. 27:4) Dawudi teyali Muleevi. Naye kuba akafaananyi ng’ayimiridde wabweru w’oluggya olutukuvu okumpi ne weema entukuvu. Dawudi ayagala nnyo okusinza okw’amazima, era awulira ng’ayagala okubeera awo ennaku zonna ‘ng’atunuulira obulungi bwa Yakuwa.’

Ekigambo eky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “obulungi” kisobola okutegeeza “ekintu ekireetera omuntu okusanyuka oba okuwulira obulungi.” Dawudi yasanyukiranga okusinza okw’amazima. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nange nninga Dawudi?’

“OKUSANYUKIRA” OKUSINZA OKW’AMAZIMA

Leero okusinza Yakuwa tekwesigamiziddwa ku yeekaalu erabikako, wabula kwesigamiziddwa ku yeekaalu ey’eby’omwoyo, nga kuno kwe kusinza okw’amazima. * Bwe ‘tusanyukira’ okusinza okw’amazima, naffe tusobola ‘okutunuuliranga obulungi bwa Yakuwa.’

Lowooza ku kyoto eky’ekikomo eky’ebiweebwayo ebyokebwa ekyabanga mu maaso g’omulyango oguyingira mu weema entukuvu. (Kuv. 38:1, 2; 40:6) Ekyoto ekyo kyali kikiikirira eky’okuba nti Katonda yali mwetegefu okukkiriza obulamu bwa Yesu obwandiweereddwayo nga ssaddaaka. (Beb. 10:5-10) Ekyo kitegeeza ki gye tuli? Omutume Pawulo yawandiika nti: “Bwe twali tukyali balabe twatabaganyizibwa ne Katonda okuyitira mu kufa kw’Omwana we.” (Bar. 5:10) Bwe tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, tusiimibwa mu maaso ga Katonda. N’ekivaamu, tufuuka “mikwano gya Yakuwa egy’oku lusegere.”Zab. 25:14, NW.

Olw’okuba ebibi byaffe ‘biggibwawo,’ ‘Yakuwa atuwa ebiro eby’okuwummuliramu.’ (Bik. 3:19) Embeera gye tulimu efaananako ey’omusibe eyejjusa olw’ebikolwa bye ebibi era n’akola enkyukakyuka ez’amaanyi nga bw’alindirira okuttibwa. Ekyo omulamuzi ow’ekisa bw’akiraba, asalawo okumusonyiwa era n’amuggyako ogw’okufa. Ng’omusibe oyo awulira essanyu lingi nnyo! Okufaananako omulamuzi oyo, Yakuwa asonyiwa abantu ababa beenenyezza n’abaggyako ogw’okufa.

SANYUKIRA OKUSINZA OKW’AMAZIMA

Ebimu ku bintu Dawudi bye yalabanga ng’agenze ku nnyumba ya Yakuwa mwe mwali okulaba Baisiraeri banne nga bakuŋŋaanye wamu, okusoma Amateeka n’okugannyonnyola, okwokya obubaane, n’okulaba bakabona n’Abaleevi nga baweereza. (Kuv. 30:34-38; Kubal. 3:5-8; Ma. 31:9-12) Ebintu ebyo ebyaliwo mu kusinza okw’amazima mu Isiraeri ey’edda bifaananako n’ebyo ebiriwo leero.

Ne mu kiseera kyaffe kisanyusa nnyo ‘okulaba ab’oluganda nga batudde wamu nga batabaganye.’ (Zab. 133:1) Leero waliwo abantu bangi okwetooloola ensi abayize amazima ne bafuuka ‘baganda baffe.’ (1 Peet. 2:17) Mu nkuŋŋaana zaffe, Ekigambo kya Katonda kisomebwa era ne kinnyonnyolwa. Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuyigirizza ebintu bingi. Ate era tulina ebitabo bingi bye tusobola okukozesa mu kwesomesa ne mu kusinza kw’amaka. Ow’oluganda omu eyali ku Kakiiko Akafuzi yagamba nti: ‘Okusoma Ekigambo kya Yakuwa, okukifumiitirizaako, n’okunoonyereza ku ebyo ebikirimu kinnyambye okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa era kindeetedde essanyu lingi.’ Mu butuufu, okumanya kusobola okusanyusa omutima gwaffe.Nge. 2:10.

Abaweereza ba Yakuwa bamusaba buli lunaku. Essaala zaabwe ziringa akaloosa akava ku bubaane obuteekeddwateekeddwa obulungi. (Zab. 141:2) Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa Katonda ayagala nnyo tumutuukirire okuyitira mu kusaba!

Musa yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ekisa kya Yakuwa Katonda waffe ka kitubeereko; emirimu gy’emikono gyaffe ka girabe omukisa.” (Zab. 90:17, NW) Yakuwa atuwa emikisa nga tukola omulimu gw’okubuulira. (Nge. 10:22) Tuyinza okuba nga tulina abantu be tuyambye okuyiga amazima. Tuyinza okuba nga tumaze emyaka mingi nga tubuulira wadde ng’abantu tebatuwuliriza, nga tuli balwadde, nga tulina ebitweraliikiriza, oba nga tuyigganyizibwa. (1 Bas. 2:2) Wadde kiri kityo, tuteekwa okuba nga tulabye ‘obulungi bwa Yakuwa’ era nga tukirabye nti Kitaffe oyo ow’omu ggulu asiima ebyo byonna bye tukola nga tumuweereza.

Dawudi yagamba nti: “Mukama gwe mugabo ogw’obusika bwange n’ogw’ekikompe kyange: ggwe okuuma ebyange. Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; mazima nnina obusika obulungi.” (Zab. 16:5, 6) Dawudi yasanyukiranga “omugabo” gwe, kwe kugamba, enkolagana ennungi gye yalina ne Yakuwa n’enkizo gye yalina ey’okumuweereza. Okufaananako Dawudi, naffe tuyinza okwolekagana n’ebizibu ebitali bimu, naye tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa atuwadde emikisa mingi. N’olwekyo, ka tweyongere okusanyukira okusinza okw’amazima era ka bulijjo ‘tutunuulire obulungi’ bwa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo.

^ lup. 6 Laba Watchtower eya Jjulaayi 1, 1996, olupapula 14-24.