Salawo mu Ngeri ey’Amagezi ng’Okyali Muvubuka
“Abavubuka n’abawala . . . batendereze erinnya lya Mukama.”
1. Bintu ki abavubuka bangi Abakristaayo bye bakola leero?
EKISEERA kye tulimu kikulu nnyo. Waliwo abantu bangi nnyo abajja mu kusinza okw’amazima. (Kub. 7:9, 10) Abavubuka bangi bayamba abantu okuyiga amazima era ekyo kibaleetedde essanyu lingi nnyo. (Kub. 22:17) Bayambye abantu okuyiga Bayibuli ne kisobozesa abantu abo okuba n’obulamu obulungi. Abavubuka abamu bafubye okuyiga ennimi endala basobole okubuulira abantu aboogera ennimi ezo. (Zab. 110:3; Is. 52:7) Kiki ky’oyinza okukola okusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu abantu ba Yakuwa gwe bakola leero?
2. Ekyokulabirako kya Timoseewo kiraga kitya nti Yakuwa ayagala nnyo okuwa abavubuka obuvunaanyizibwa? (Laba ekifaananyi waggulu.)
2 Abavubuka, musobola okusalawo mu ngeri eneebasobozesa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Timoseewo, omuvubuka eyali abeera mu Lusitula eyasalawo mu ngeri ey’amagezi era ekyo ne kimusobozesa okufuna enkizo okuweereza ng’omuminsani, oboolyawo nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagiweza. (Bik. 16:1-3) Kirabika nti bwe waali wayise emyezi mitono, oluvannyuma lw’okuyigganyizibwa okw’amaanyi okuleetera Pawulo okuva mu Ssessaloniika, Pawulo yalagira Timoseewo okugenda mu kibiina ky’e Ssessaloniika ekyali kyakatandikibwawo azzeemu ab’oluganda amaanyi. (Bik. 17:5-15; 1 Bas. 3:1, 2, 6) Olowooza Timoseewo yawulira atya ng’aweereddwa enkizo eyo?
EKINTU EKISINGAYO OBUKULU KYE MUYINZA OKUSALAWO
3. Kintu ki ekisingayo obukulu ky’oyinza okusalawo okukola, era ddi lw’oyinza okusalawo okukikola?
3 Bw’oba oli muvubuka, kijjukire nti waliwo ebintu bingi ebikulu by’olina okusalawo mu bulamu. Kyokka okuweereza Yakuwa kye kintu ekisingayo obukulu ky’oyinza okusalawo okukola. Ddi lw’osaanidde okusalawo okuweereza Yakuwa? Bayibuli egamba nti: “Ojjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” (Mub. 12:1) Engeri esingayo obulungi gy’oyinza ‘okujjukiramu’ Yakuwa kwe kumuweereza mu bujjuvu. (Ma. 10:12) Mu butuufu, teriiyo kintu kisinga bukulu nga kusalawo kuweereza Yakuwa n’omutima gwo gwonna. Ekyo kijja kukwata ku biseera byo eby’omu maaso.
4. Bintu ki ebikulu by’olina okusalawo ebikwata ku ngeri gy’onooweerezaamu Katonda?
4 Kya lwatu nti okusalawo okuweereza Yakuwa si kye kintu kyokka ekikwata ku biseera byo eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga weebuuza: ‘Nnaawasa oba nnaafumbirwa? Nnaawasa ani oba nnaafumbirwa ani? Nnaakola mulimu ki okusobola okweyimirizaawo?’ Kikulu nnyo okusalawo ku bintu ebyo, naye ekyo nga tonnakikola olina okusooka okusalawo obanga oyagala okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. (Ma. 30:19, 20) Lwaki? Kubanga ebintu ebyo byonna bikwatagana. Ekyo ky’osalawo ku bikwata ku bufumbo ne ku mulimu gw’onookola kijja kukwata ku ngeri gy’oweerezaamu Katonda. Ate era engeri gy’oweerezaamu Katonda ejja kukwata ku ebyo by’osalawo ku bikwata ku bufumbo ne ku mulimu gw’onookola. (Geraageranya ne Lukka 14:16-20.) N’olwekyo, salawo kintu ki ky’onookulembeza mu bulamu bwo.
ONOOKOZESA OTYA EMYAKA GYO EGY’OBUVUBUKA?
5, 6. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okusalawo mu ngeri ey’amagezi kivaamu emikisa mingi? (Laba n’ekitundu “Kye Nnasalawo Okukola nga Nkyali Muto,” mu magazini eno.)
5 Bw’osalawo okuweereza Katonda, lowooza ku ebyo by’ayagala okole, era osalewo n’engeri gy’onoomuweerezaamu. Ow’oluganda omu enzaalwa ya Japan yagamba nti: “Lumu, nga ndi wa myaka 14, nnabuulirako n’omukadde mu kibiina kyaffe naye n’akiraba nti nnali sinyumirwa kubuulira. Yaŋŋamba nti: ‘Yuichiro, ddayo eka, otuule ofumiitirize ku bintu Yakuwa by’akukoledde.’ Ekyo nnakikola. Mu butuufu, nnamala ennaku eziwerako nga nfumiitiriza era nga nsaba. N’ekyavaamu, endowooza yange yakyuka. Nnatandika okunyumirwa okuweereza Yakuwa. Nnasoma ebikwata ku baminsani era ne ntandika okulowooza ku ngeri gye nnyinza okuweerezaamu Katonda mu bujjuvu.”
6 Yuichiro agamba nti: “Nnatandika okweteekateeka nsobole okuweereza mu nsi endala. Ng’ekyokulabirako, nnatandika okuyiga Olungereza. Bwe nnamala okusoma, nnafuna omulimu ogutaali gwa kiseera kyonna nga nsomesa Olungereza ng’eno bwe mpeereza nga payoniya. Bwe nnali wa myaka 20, nnatandika okuyiga Olumongoliya era ne nkyalirako ekibinja ekyali kyogera Olumongoliya. Mu 2007, nga waakayita emyaka ebiri, nnagendako e Mongolia. Nga ndi eyo, nnabuulirako ne bapayoniya. Bwe nnakiraba nti abantu bangi baali baagala nnyo okuyiga amazima, nnawulira nga njagala okuweereza mu kitundu ekyo. Nnaddayoko e Japan ne nkola enteekateeka okugenda okuweereza e Mongolia. Okuva mu Apuli 2008, mbadde mpeereza nga payoniya mu Mongolia. Kyo kituufu nti obulamu si bwangu mu nsi eno. Naye abantu baagala nnyo amazima era njagala okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ssejjusa olw’ekyo kye nnasalawo okukola.”
7. Bintu ki buli omu ku ffe by’alina okwesalirawo, era tuyinza tutya okukoppa Musa?
7 Buli Mujulirwa wa Yakuwa alina okwesalirawo engeri gy’anaakozesaamu obulamu bwe. (Yos. 24:15) Tetusobola kukusalirawo kuwasa oba kufumbirwa, ani gw’onoowasa oba gw’onoofumbirwa, oba mulimu ki gw’onookola. Onoosalawo okukola omulimu ogutakwetaagisa kumala kiseera kiwanvu ng’otendekebwa? Abamu ku mmwe abavubuka Abakristaayo muva mu maka amaavu ate abalala muva mu maka amagagga. Mulina engeri za njawulo, obusobozi bwa njawulo, mutendekeddwa mu ngeri za njawulo, bye mwagala bya njawulo, n’okukkiriza kwammwe tekwenkanankana. Ng’abavubuka bangi Abebbulaniya abaali mu Misiri bwe baali baawukana ku Musa, nammwe mwawukana mu ngeri nnyingi. Olw’okuba Musa yali atwalibwa ng’omwana wa muwala wa Falaawo, yali mugagga ate ng’Abebbulaniya abalala baddu. (Kuv. 1:13, 14; Bik. 7:21, 22) Abebbulaniya abo ebiseera bye baalimu byali bikulu nnyo. (Kuv. 19:4-6) Buli muvubuka Omwebbulaniya yalina okusalawo engeri gye yandikozesezzaamu obulamu bwe. Musa yasalawo mu ngeri ey’amagezi n’aweereza Yakuwa.
8. Kiki ekisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi?
8 Yakuwa asobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ng’okyali muvubuka. Asobola okukuwa obulagirizi obusobola okukuyamba mu bulamu bwo. (Zab. 32:8) Ate era, bazadde bo Abakristaayo awamu n’abakadde mu kibiina basobola okukuyamba okulaba engeri gy’osobola okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwo. (Nge. 1:8, 9) Kati ka twetegerezeeyo emisingi gya Bayibuli esatu egisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.
EMISINGI GYA BAYIBULI ESATU EGISOBOLA OKUKUYAMBA
9. (a) Yakuwa atuwadde atya eddembe ery’okwesalirawo? (b) Bwe ‘tukulembeza Obwakabaka’ kiba kiraga ki?
9 Sooka onoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. (Soma Matayo 6:19-21, 24-26, 31-34.) Yakuwa akuwadde eddembe ery’okwesalirawo. Yakuwa takubuulira kiseera kyenkana wa ky’olina kumala ng’obuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Yesu yatukubiriza okusooka okunoonya Obwakabaka. Bw’okolera ku bigambo bya Yesu ebyo, kiba kiraga nti oyagala Katonda ne bantu banno, era nti osiima ekirabo Katonda ky’atusuubizza eky’obulamu obutaggwaawo. Kati weebuuze, ‘Engeri gye nnaasalawo ku bikwata ku bufumbo oba ku mulimu gwe nnaakola eneeraga nti nkulembeza byetaago byange eby’omubiri oba nkulembeza Bwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe?’
10. Kiki ekyaleetera Yesu essanyu, era biki by’osobola okukola okusobola okufuna essanyu?
10 Okuweereza abalala kireeta essanyu. (Soma Ebikolwa 20:20, 21, 24, 35.) Yesu yatuyigiriza omusingi ogwo omukulu ennyo. Yesu yali musanyufu nnyo kubanga yakola ebyo Kitaawe by’ayagala, so si ebyo ye bye yali ayagala. Kyamusanyusanga nnyo okulaba abantu abawombeefu nga bakkiriza amawulire amalungi. (Luk. 10:21; Yok. 4:34) Oboolyawo naawe ofunye ku ssanyu eriva mu kuyamba abalala. Bw’onookolera ku misingi Yesu gye yayigiriza ng’oliko by’osalawo mu bulamu, ojja kufuna essanyu lingi era ojja kusanyusa ne Yakuwa.
11. Lwaki Baluki yali takyalina ssanyu, era kiki Yakuwa kye yamugamba?
11 Essanyu erya nnamaddala liva mu kuweereza Yakuwa. (Nge. 16:20) Naye kirabika nti ekyo lumu omuwandiisi wa Yeremiya ayitibwa Baluki yali akyerabidde. Ekiseera kyatuuka n’atandika okulowooza ennyo ku ebyo bye yali ayagala mu kifo ky’okulowooza ku ebyo Yakuwa by’ayagala. Ekyo Yakuwa yakiraba era n’agamba Baluki nti: “Weenoonyeza ebikulu? Tobinoonya: kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, . . . naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago.” (Yer. 45:3, 5) Olowooza kiki ekyandiyambye Baluki okufuna essanyu? Kukola ye by’ayagala n’azikirira oba kukola Katonda by’ayagala n’awonawo nga Yerusaalemi kizikirizibwa?
12. Kiki Ramiro kye yasalawo okukola ekimuleetedde essanyu?
12 Omu ku b’oluganda abafunye essanyu mu kuweereza abalala ye Ramiro. Agamba nti: “Nnazaalibwa ku kyalo ekimu ekisangibwa mu nsozi za Andes, era amaka gaffe gaali
maavu nnyo. Muganda wange omukulu yali asazeewo okumpeerera ku yunivasite. Naye mu kiseera ekyo nnali nnaakamala okubatizibwa era nga waliwo payoniya eyali ansabye okugenda okubuulira naye mu kabuga akamu akaali keesudde. Bwe nnagenda mu kabuga ako, nnayiga okusala enviiri era ne ntandikawo ssaaluuni eyandinnyambye okweyimirizaawo. Abantu bangi mu kabuga ako baali baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma, nneegatta ku kibiina ekyali kyakatandikibwawo ekyali kikozesa olulimi olwogerwa abantu ab’omu kitundu ekyo. Kati mmaze emyaka kkumi nga mpeereza nga payoniya. Tewali mulimu mulala gwandisobodde kundeetera ssanyu ng’eryo lye nfunye mu kuyamba abantu okuyiga amazima mu lulimi lwabwe.”13. Lwaki kirungi okutandika okuweereza Yakuwa mu bujjuvu ng’okyali muvubuka?
13 Weereza Yakuwa ng’okyali muvubuka. (Soma Omubuulizi 12:1.) Tosaanidde kulowooza nti olina kusooka kufuna mulimu mulungi olyoke otandike okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Ekiseera ekisingayo obulungi eky’okuweererezaamu Yakuwa kyekyo ng’okyali muvubuka. Abavubuka bangi tebalina maka ga kulabirira, balamu bulungi, ate balina amaanyi. Kiki kye wandyagadde okukolera Yakuwa ng’okyali muvubuka? Oboolyawo oyagala okuweereza nga payoniya. Oyinza okuba ng’oyagala okubuulira abantu aboogera ennimi endala, oba ng’oyagala okukola ekisingawo mu kibiina kyo. K’obe ng’olina kiruubirirwa ki, weetaaga okufuna engeri y’okweyimirizaawo. Weebuuze, ‘Mulimu ki gwe nnaakola era nneetaaga kutendekebwa kwa ngeri ki okusobola okukola omulimu ogwo?’
SALAWO NG’OSINZIIRA KU MISINGI GYA BAYIBULI
14. Bw’oba olowooza ku mulimu gw’onookola, kiki ky’osaanidde okujjukira?
14 Emisingi gya Bayibuli esatu gye tulabye gisobola okukuyamba okusalawo mulimu ki 1 Yok. 2:15-17) Bw’ossa essira ku bintu ensi by’eyagala kisobola okukulemesa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.
15, 16. Baani abasobola okukuwa amagezi amalungi ng’olonda omulimu gw’onookola?
15 Bw’omala okumanya emirimu egy’enjawulo gy’oyinza okukola, weetaaga okufuna obulagirizi obwesigika. (Nge. 1:5) Baani abasobola okukuyamba okugoberera emisingi gya Bayibuli ng’olonda omulimu gw’onookola? Wuliriza abo abaagala Yakuwa, abakwagala, abakumanyi obulungi, era abategeera obulungi embeera yo. Abantu ng’abo basobola okukuyamba okwekebera mu bwesimbu nga tonnasalawo mulimu ki gw’onookola. Oboolyawo ebyo bye boogera bisobola okukuyamba okusalawo obulungi. Bazadde bo bwe baba nga baagala Yakuwa, basobola okukuyamba okusalawo obulungi. Abakadde mu kibiina nabo basobola okukuwa amagezi amalungi. Ate era osobola okwogerako ne bapayoniya oba abalabirizi abakyalira ebibiina. Basabe bakubuulire ensonga lwaki baasalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Baatandika batya okuweereza nga bapayoniya? Beeyimirizaawo batya? Era mikisa ki gye bafunye?
16 Abo abakumanyi obulungi basobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ng’ekyokulabirako, watya singa oyagala kuva mu ssomero otandike okuweereza nga payoniya olw’okuba owulira nti emisomo gitandise okukuzibuwalira? Omuntu akwagala ayinza okumanya ensonga lwaki oyagala okuva mu ssomero era n’akuyamba okukiraba nti obuzibu bw’osanga mu misomo gyo busobola okukuyamba okuyiga okuba omugumiikiriza, engeri eyeetaagisa ennyo okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.
17. Mirimu gya ngeri ki gye tulina okwewala?
17 Kyo kituufu nti abaweereza ba Yakuwa bonna boolekagana n’embeera eziyinza okubaleetera okufiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa. (1 Kol. 15:33; Bak. 2:8) Naye emirimu egimu gikifuula kizibu nnyo eri omuntu okukuuma enkolagana ye ne Yakuwa okusinga emirala. Olinayo ab’oluganda b’omanyi abaafuna omulimu ne gubaleetera okuddirira mu by’omwoyo oba okuva mu mazima? (1 Tim. 1:19) Nga kiba kya magezi okwewala okukola omulimu oguyinza okukuleetera okufiirwa enkolagana yo ne Katonda!
WEEREZA YAKUWA NG’OKYALI MUVUBUKA
18, 19. Bw’oba owulira nga tonnayagala kuweereza Yakuwa mu bujjuvu, kiki ky’oyinza okukola?
18 Bw’oba nga ddala owulira nti oyagala okuweereza Yakuwa, kozesa emyaka gyo egy’obuvubuka okumuweereza. Salawo mu ngeri eneekusobozesa okuweereza Yakuwa mu bujjuvu mu kiseera kino ekikulu ennyo.
19 Watya singa owulira nga tonnayagala kutandika kuweereza Yakuwa mu bujjuvu? Fuba okwongera okunyweza okukkiriza kwo. Omutume Pawulo yalaga ekyo kye yakola okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa. Yagamba nti: “Bwe muba nga mulina endowooza eyawukana ku eno, Katonda ajja kubabikkulira endowooza entuufu. Ku kigero kyonna kye tutuuseeko mu kukulaakulana, ka tweyongere okutambula obulungi mu nkola y’emu.” (Baf. 3:15, 16) Kijjukire nti Yakuwa akwagala nnyo era nti amagezi agava gy’ali ge gasingayo okuba amalungi. N’olwekyo, kkiriza Yakuwa akuyambe okusalawo mu ngeri ey’amagezi mu kiseera kino ng’okyali muvubuka.