Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Bannamukadde?
Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Bannamukadde?
KU MWALO gw’ekibuga California, eky’omu Amerika, we wasangibwa omuti ogukyasinze okukubibwa ebifaananyi mu nsi yonna. Omuti guno guyitibwa Lone Cypress. Kigambibwa nti omuti guno gwakamala emyaka egisukka mu 250. Eky’okuba nti gubaddewo okumala ebbanga ddene kireetedde abantu bangi okugufaako mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, baguwaniridde nga bagusibako waya era nga baguzizika amayinja.
Omuti guno, Lone Cypress, gutuleetera okulowooza ku bannamukadde Abakristaayo ababadde abeesigwa okumala ebbanga ddene. Engeri emu kino gye bakyoleseemu kwe kulangirira amawulire amalungi. Nnabbi Yoweeri yalagula nti “abakadde” bandirangiridde obubaka bwa Baibuli. (Yo. 2:28-32; Bik. 2:16-21) Lowooza ku ssaawa enkumu bannamukadde ze bamala nga bayamba abantu okuyiga ebikwata ku ‘mawulire amalungi ag’obwakabaka’! (Mat. 24:14) Abamu ku bannamukadde abo bagumidde okuyigganyizibwa n’ebizibu ebirala bingi. Bwe kiba nti omuti obuti bagufaako nnyo bwe batyo nga bagusiba waya era nga baguzizika amayinja, naffe tetwandifubye nnyo okufaayo ku bannamukadde abali mu kibiina n’okubassaamu ekitiibwa!
Yakuwa Katonda yalagira abantu be ab’edda nti: “Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g’omukadde.” (Leev. 19:32) Mu baweereza ba Yakuwa leero, mulimu abo ababadde abeesigwa nga ‘batambula ne Katonda’ okumala emyaka mingi. (Mi. 6:8) Bwe bongera okukolera ku misingi gy’Ebyawandiikibwa, emitwe gyabwe egiriko envi mazima ddaala giba “ngule ya kitiibwa.”—Nge. 16:31.
Omutume Pawulo yagamba Timoseewo eyali akyali omuto nti: “Omusajja omukadde tomunenyanga na bukambwe.” Mu kifo ky’ekyo, Timoseewo yalina ‘okumubuuliriranga nga taata era n’abakazi abakulu nga bamaama.’ (1 Tim. 5:1, 2) Bwe kityo, Timoseewo yalina ‘okuseguliranga’ abo abalina envi. N’olwekyo, Yakuwa atusuubira okwogera ne bannamukadde mu ngeri eraga nti tubassaamu ekitiibwa.
Abaruumi 12:10 wagamba nti: “Mu kuwa abalala ekitiibwa mmwe muba musooka.” Abalabirizi mu kibiina bafuba okussa ekitiibwa mu bannamukadde Abakristaayo. Naye buli omu ku ffe alina okufuba okuwa abalala ekitiibwa.
Kya lwatu nti buli omu alina okufuba okulabirira bazadde be ne bajjajja be. Abantu bafubye okulaba engeri gye bayinza okulabiriramu omuti oguyitibwa Lone Cypress, era bakyeyongera okugulabirira. Naffe tusaanidde okulaba engeri gye tuyinza okulabiriramu bazadde baffe ne bajjajjaffe abakaddiye. Ng’ekyokulabirako, okubawuliriza obulungi kijja kutuyamba okwewala okukola ebintu nga bwe twagala nga tetufuddeeyo ku nneewulira zaabwe.—Nge. 23:22; 1 Tim. 5:4.
Bannamukadde abali mu kibiina ba muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa, era tayinza kubaabulira. (Zab. 71:18) Katonda ow’amazima abawa amaanyi okusobola okumuweereza n’obwesigwa. Naffe ka tufube okuyamba bannamukadde abo n’okubassaamu ekitiibwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]
Ng’omuti oguyitibwa Lone Cypress bwe gwetaaga okulabirirwa, ne bannamukadde beetaaga okussibwaamu ekitiibwa
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
American Spirit Images/age fotostock