Baibuli Osobola Okugitegeera
Baibuli Osobola Okugitegeera
BAIBULI erimu obubaka obukulu ennyo obuva eri Katonda. Etubuulira ekigendererwa ky’obulamu, ekiviirako abantu okubonaabona, n’essuubi ly’ebiseera eby’omu maaso. Etubuulira engeri gye tusobola okufunamu essanyu, okukola emikwano, era n’engeri y’okugonjoolamu ebizibu. N’ekisinga obukulu etubuulira ebikwata ku Mutonzi waffe, Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa. Bwe tumanya ebintu ng’ebyo, kituleetera essanyu era tuba n’ekigendererwa mu bulamu.
Okusoma ebikwata ku Katonda Baibuli ekugeraageranya ku kulya emmere. Ng’ekyokulabirako, Yesu yagamba: “Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4; Abaebbulaniya 5:12-14) Nga bwe twetaaga okulya emmere buli lunaku tusobole okuba balamu, mu ngeri y’emu twetaaga okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.
Yakuwa yatukola mu ngeri nti twetaaga okulya era bwe tulya tuwulira bulungi. Kyokka, waliwo n’ekintu ekirala ekikulu kye twetaaga mu bulamu era nga nakyo kisobola okutuleetera essanyu. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, kubanga obwakabaka obw’omu ggulu bwabwe.” (Matayo 5:3, NW) N’olwekyo, tusobola okufuna essanyu bwe tusoma Ekigambo kya Katonda era ne tukitegeera.
Kyo kituufu nti waliwo ebintu mu Baibuli ebiyinza okuzibuwalira abamu okutegeera. Ng’ekyokulabirako, waliwo ebyawandiikibwa ebyogera ku bintu ebyakolebwanga abantu abaaliwo mu biseera Baibuli bwe yawandiikibwa, oba ebyo ebikozesa olulimi olw’akabonero. Ate era waliwo obunnabbi omuntu bw’atayinza kutegeera okuggyako ng’asomye Danyeri 7:1-7; Okubikkulirwa 13:1, 2) Wadde kiri kityo, osobola okutegeera Baibuli. Naye osobola otya okuba omukakafu nti kino kisoboka?
ebyawandiikibwa birala ebyogera ku kintu kye kimu. (Buli Omu Asobola Okutegeera Baibuli
Baibuli Kigambo kya Katonda. Etubuulira ebigendererwa bye. Olowooza Katonda ayinza okutuwa ekitabo kye tutasobola kutegeera oba ekisobola okutegeerwa abayivu bokka? Nedda, Yakuwa tasobola kukola bw’atyo. Kristo Yesu yagamba nti: “Ani ku mmwe kitaawe w’omuntu omwana we bw’alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? Oba ekyennyanja, n’amuwa omusota mu kifo ky’ekyennyanja? Oba bw’alisaba eggi, n’amuwa enjaba? Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.” (Lukka 11:11-13) Ebigambo ebyo biraga nti, singa osaba Katonda mu bwesimbu, ajja kukuyamba osobole okutegeera Ekigambo kye, Baibuli. Mu butuufu, n’abaana abato basobola okutegeera enjigiriza za Baibuli ezisookerwako.—2 Timoseewo 3:15.
Wadde nga kyetaagisa okufuba okusobola okutegeera Baibuli, ebivaamu bya muganyulo nnyo. Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yalabikira abayigirizwa be babiri era n’abannyonnyola obumu ku bunnabbi bwa Baibuli. Lukka agamba nti: “N’asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n’abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye.” Baakwatibwako batya? Ku lunaku olwo lwe nnyini akawungeezi bwe baali banyumya ku bye yababuulidde, baagamba nti: “Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo, ng’atubikkulira ebyawandiikibwa?” (Lukka 24:13-32) Abayigirizwa abo ababiri baafuna essanyu olw’okutegeera Ekigambo kya Katonda. Ate era kyabayamba okwongera okukakasa nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirizibwa.
Tetusaanidde kukitwala nti tetusobola kutegeera Kigambo kya Katonda, ng’abamu bwe balowooza. Kyokka omuntu bw’akitegeera, kimuleetera okufuna essanyu n’emiganyulo ng’omuntu alidde emmere ewooma era erimu kiriisa. Osaanidde kukola ki okusobola okutegeera Baibuli? Ekitundu ekiddako kiraga engeri gy’oyinza okufuna essanyu eriva mu ‘kumanya Katonda.’—Engero 2:1-5.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Okufaananako taata alina okwagala, Yakuwa atuwa omwoyo omutukuvu tusobole okutegeera Baibuli