Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
“Omukazi” ayogerwako mu Isaaya 60:1 y’ani, ‘ayimuka’ atya era ‘ayaka atya’?
Isaaya 60:1 lugamba nti: “Yimuka ggwe omukazi, yaka, kubanga ekitangaala kyo kituuse. Ekitiibwa kya Yakuwa kikwakaayakanirako.” Ennyiriri eziriraanyewo ziraga nti “omukazi” ayogerwako ye Sayuuni, oba Yerusaalemi ekyali ekibuga ekikulu ekya Yuda mu kiseera ekyo. (Is. 60:14; 62:1, 2) Yerusaalemi kyali kikiikirira eggwanga lyonna erya Isirayiri. Ebigambo bya Isaaya ebyo bireetawo ebibuuzo bibiri: Ekisooka, ddi era mu ngeri ki Yerusaalemi gye kyayimuka era ne kyaka mu ngeri ey’akabonero? Eky’okubiri, ebigambo bya Isaaya ebyo bituukirira ne mu kiseera kyaffe?
Ddi era mu ngeri ki Yerusaalemi gye kyayimuka era ne kyaka mu ngeri ey’akabonero? Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu byali matongo okumala emyaka 70, Abayudaaya bwe baali mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Abameedi n’Abaperusi bwe baawamba ekibuga Babulooni, Abayisirayiri bonna abaali mu matwale gonna aga Babulooni baateebwa era ne bakkirizibwa okuddayo e Yerusaalemi okuzzaawo okusinza okw’amazima. (Ezr. 1:1-4) Okuva mu mwaka gwa 537 E.E.T., Abayisirayiri abeesigwa okuva mu bika byonna 12 baatandika okuddayo e Yerusaalemi. (Is. 60:4) Baatandika okuwangayo ssaddaaka eri Yakuwa, okukwatanga embaga ezaalagirwa, n’okuddamu okuzimba yeekaalu. (Ezr. 3:1-4, 7-11; 6:16-22) Ekitiibwa kya Yakuwa kyaddamu okwakira Yerusaalemi, kwe kugamba, okwakira abantu abaali bakomyewo okuva mu buwambe. Abantu abo nabo baafuuka kitangaala mu ngeri eya kabonero eri amawanga agaali mu kizikiza eky’eby’omwoyo.
Kyokka obunnabbi bwa Isaaya obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima tebwatuukirira mu bujjuvu ku Yerusaalemi eky’edda. Okutwalira awamu, Abayisirayiri abasinga obungi tebaasigala nga beesigwa eri Yakuwa. (Nek. 13:27; Mal. 1:6-8; 2:13, 14; Mat. 15:7-9) Oluvannyuma baagaana n’okukkiriza Yesu Kristo nga Masiya. (Mat. 27:1, 2) Mu mwaka gwa 70 E.E., Yerusaalemi ne yeekaalu yaamu byaddamu ne bizikirizibwa.
Okuyitira mu bannabbi be, Yakuwa yali yakiraga dda nti Yerusaalemi kyandizeemu okuzikirizibwa. (Dan. 9:24-27) Kyeyoleka lwatu nti tekyali kigendererwa kya Yakuwa ekibuga Yerusaalemi eky’oku nsi okutuukiriza obunnabbi bwonna obukwata ku kuzzibwawo kw’okusinza okw’amazima okwogerwako mu Isaaya essuula 60.
Obunnabbi obuli mu Isaaya essuula 60 butuukirira ne mu kiseera kyaffe? Yee, naye butuukirira ku mukazi omulala ow’akabonero, kwe kugamba, “Yerusaalemi ekya waggulu.” Omutume Pawulo yamwogerako nti: “Ye nnyaffe.” (Bag. 4:26) Yerusaalemi ekya waggulu ye nteekateeka ya Yakuwa ey’omu ggulu erimu ebitonde ebyesigwa eby’omwoyo. “Abaana” baakyo bazingiramu Yesu n’Abakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000. Era okufaananako omutume Pawulo, balina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakola “eggwanga ettukuvu,” nga ye “Isirayiri wa Katonda.”—1 Peet. 2:9; Bag. 6:16.
Yerusaalemi ekya waggulu ‘kyayimuka’ kitya era ne ‘kyaka’? Kino kyaliwo okuyitira mu baana baakyo, Abakristaayo abaafukibwako. Laba engeri ebyo ebyabatuukako gye bikwatagana n’obunnabbi obwogerwako mu Isaaya essuula 60.
Abakristaayo abaafukibwako amafuta baalina ‘okuyimuka,’ kubanga baali mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Ekyo kyali bwe kityo, kubanga mu kyasa ekyokubiri E.E., obwakyewaggula obugeraageranyizibwa ku muddo bwasaasaana oluvannyuma lw’abatume okufa. (Mat. 13:37-43) N’olwekyo, Abakristaayo abo baatwalibwa mu buwambe obw’eby’omwoyo mu Babulooni Ekinene, nga gano ge madiini gonna ag’obulimba. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baasigala mu buwambe obwo okutuukira ddala mu kiseera ‘ky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu,’ era ng’ekiseera ekyo kyatandika mu mwaka gwa 1914. (Mat. 13:39, 40) Mu 1919, Abakristaayo abo baateebwa okuva mu buwambe mu Babulooni Ekinene, era baatandika okusaasaanya ekitangaala eky’eby’omwoyo nga beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. a Emyaka bwe gizze giyitawo, abantu okuva mu mawanga gonna bazze mu kitangaala kino eky’eby’omwoyo, nga mwotwalidde n’abakyasigaddewo ku Isirayiri wa Katonda, era nga bano be “bakabaka” aboogerwako mu Isaaya 60:3.—Kub. 5:9, 10.
Mu biseera eby’omu maaso, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bajja kwongera okusaasaanya ekitangaala kya Yakuwa ku kigero ekisingawo. Mu ngeri ki? Bwe bafa ne bagenda mu ggulu, baba kitundu kya “Yerusaalemi Ekiggya,” oba omugole wa Kristo, nga bano be Bakristaayo abaafukibwako amafuta 144,000 abaweerereza awamu ne Yesu Kristo nga bakabaka era nga bakabona.—Kub. 14:1; 21:1, 2, 24; 22:3-5.
Yerusaalemi Ekiggya kirina kinene nnyo kye kigenda okukola mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi obuli mu Isaaya 60:1. (Geraageranya Isaaya 60:1, 3, 5, 11, 19, 20 ne Okubikkulirwa 21:2, 9-11, 22-26.) Nga bakabaka ba Isirayiri ey’edda bwe baafugiranga mu Yerusaalemi, Yerusaalemi Ekiggya ne Kristo kye kijja okufuuka gavumenti ey’enteekateeka y’ebintu empya. Yerusaalemi Ekiggya ‘kikka kitya okuva mu ggulu ewa Katonda’? Nga kibaako ebintu bye kikola ebikwata ku bantu ba Katonda abali ku nsi. Abantu abatya Katonda okuva mu mawanga gonna ‘bajja kutambulira mu kitangaala kyakyo.’ Bajja kuba tebakyali mu buddu bw’ekiba n’okufa. (Kub. 21:3, 4, 24) Mu ngeri eyo, ‘ebintu byonna bijja kuzzibwa buggya,’ nga Isaaya ne bannabbi abalala bwe baagamba. (Bik. 3:21) Okuzza obuggya okwo kwatandika Yesu Kristo bwe yafuuka Kabaka era kujja kukomekkerezebwa ku nkomerero y’Obufuzi Bwe ebw’Emyaka Olukumi.
a Okuzzibwa obuggya mu by’omwoyo kwaliwo mu 1919 era kwogerwako mu Ezeekyeri 37:1-14 ne Okubikkulirwa 11:7-12. Nnabbi Ezeekyeri yakiraga nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bonna bandizziddwa buggya mu by’omwoyo oluvannyuma lw’okubeera mu buwambe obw’eby’omwoyo okumala ekiseera kiwanvu. Obunnabbi obuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa, bwogera ku kuzaalibwa okw’akabonero okw’Abakristaayo abatonotono abaafukibwako amafuta abaali batwala obukulembeze, abaamala akaseera nga tebasobola kuweereza Yakuwa olw’okuba baasibibwa mu kkomera nga bavunaanibwa emisango gye batazza. Mu 1919, baalondebwa okuweereza nga “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”—Mat. 24:45; laba ekitabo Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!, lup. 118.