Okukolera Awamu ne Katonda—Kituleetera Essanyu Lingi
“Nga tukolera wamu naye, naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso muleme kusubwa kigendererwa kyakyo.”—2 KOL. 6:1.
ENNYIMBA: 75, 74
1. Wadde nga Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna, kakisa ki k’awadde abalala?
YAKUWA ye Muyinza w’Ebintu Byonna, ye yatonda ebintu byonna, era y’asingayo amagezi n’amaanyi. Ekyo Yobu yakitegeera bulungi. Oluvannyuma lwa Yakuwa okubuuza Yobu ebibuuzo ebikwata ku bintu bye yatonda, Yobu yagamba nti: “Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.” (Yob. 42:2) Wadde nga Yakuwa asobola okukola ebyo byonna by’ayagala nga tewali amuyambyeko, okuviira ddala ku lubereberye abadde awa abalala akakisa okukolerako awamu naye okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.
2. Mulimu ki omukulu Yakuwa gwe yawa Yesu?
2 Ekitonde Katonda kye yasooka okutonda ye Mwana we eyazaalibwa omu yekka. Oluvannyuma Yakuwa yasalawo okukolera awamu n’Omwana we oyo mu kutonda ebintu ebirala byonna, ebirabika n’ebitalabika. (Yok. 1:1-3, 18) Ng’ayogera ku Yesu, omutume Pawulo yagamba nti: “Okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika, ka zibe ntebe za bwakabaka oba bwami oba bufuzi oba buyinza. Ebintu ebirala byonna byatondebwa okuyitira mu ye era ku lulwe.” (Bak. 1:15-17) Yakuwa teyakoma ku kuwa Mwana we mulimu ogwo naye era yamanyisa abalala omulimu Yesu gwe yakola. Nga Yakuwa yawa Omwana we enkizo ey’amaanyi!
3. Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Adamu, era lwaki?
3 Yakuwa yawa n’abantu akakisa okukolera awamu naye. Ng’ekyokulabirako, yawa Adamu omulimu gw’okutuuma ensolo amannya. (Lub. 2:19, 20) Nga kiteekwa okuba nga kyaleetera Adamu essanyu lingi okwetegereza ensolo ezo, okulaba engeri gye zeeyisaamu, n’okuzituuma amannya agazisaanira! Yakuwa yali asobola okusalawo okwetuumira ensolo ezo amannya, kubanga ye yazitonda. Kyokka omulimu ogwo yaguwa Adamu. Katonda era yawa Adamu omulimu gw’okugaziya olusuku Adeni. (Lub. 1:27, 28) Eky’ennaku, Adamu yajeemera Katonda n’alekera awo okukolera awamu naye, era ekyo kyamuviiramu emitawaana mingi awamu n’abaana be.—Lub. 3: 17-19, 23.
4. Waayo ebyokulabirako by’abantu abaakolera awamu ne Katonda mu kutuukiriza ebigendererwa bye.
4 Waliwo n’abantu abalala Katonda be yawa emirimu egitali gimu okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Ng’ekyokulabirako, Nuuwa yazimba eryato eryamusobozesa okuwonawo mu Mataba awamu n’ab’omu maka ge. Musa yanunula Abaisiraeri okuva e Misiri. Yoswa yayingiza Abaisiraeri mu Nsi Ensuubize. Sulemaani yazimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ate Maliyamu yazaala Yesu. Abantu abo bonna abeesigwa baakolera wamu ne Yakuwa mu kutuukiriza ebigendererwa bye.
5. Mulimu ki buli omu ku ffe gw’asobola okwenyigiramu, era Yakuwa kyali kimwetaagisa okutuwa omulimu ogwo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)
5 Yakuwa atuwadde akakisa okuwagira Obwakabaka bwa Masiya. Leero tusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri ezitali zimu. Wadde nga ffenna tetusobola kumuweereza mu ngeri y’emu, ffenna tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Kya lwatu nti Yakuwa yali asobola okwekolera omulimu ogwo. Yali asobola okwogera butereevu eri abantu ku nsi ng’asinziira mu ggulu. Yesu yagamba nti Yakuwa yali asobola n’okukozesa amayinja okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka. (Luk. 19:37-40) Kyokka Yakuwa yatuwa enkizo ‘okukolera awamu naye.’ (1 Kol. 3:9) Omutume Pawulo yagamba nti: “Nga tukolera wamu naye, naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso muleme kusubwa kigendererwa kyakyo.” (2 Kol. 6:1) Nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Katonda era ekyo kituleetera essanyu lingi. Ka tulabeyo ensonga ezimu lwaki ekyo kituleetera essanyu lingi.
OKUKOLERA AWAMU NE KATONDA KITULEETERA ESSANYU LINGI
6. Omwana wa Katonda yayogera ki ku ngeri gye yawuliramu ng’akolera wamu ne Kitaawe?
6 Okuva edda n’edda, abaweereza ba Yakuwa babaddenga bafuna essanyu lingi mu kukolera awamu naye. Bwe yali tannajja ku nsi, Omwana wa Katonda omubereberye yagamba nti: ‘Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera nga ndi awo gy’ali ng’omukoza: era bulijjo yansanyukiranga, nga njaguliza bulijjo mu maaso ge.’ (Nge. 8:22, 30) Yesu kyamuleetera essanyu lingi okukolera awamu ne Kitaawe. Yafuna essanyu okuva mu mirimu gye yakola era n’olw’okukimanya nti Kitaawe yali amwagala nnyo. Ate ffe?
7. Lwaki omulimu gw’okubuulira gutuleetera essanyu lingi?
7 Yesu yalaga nti okugaba n’okuweebwa byombi bireeta essanyu. (Bik. 20:35) Kyatusanyusa nnyo okuyigirizibwa amazima era naffe kituleetera essanyu okugayigiriza abalala. Bwe tuba tuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli, tulaba abantu abalina ennyonta ey’eby’omwoyo nga basanyuka nnyo okutegeera ebikwata ku Katonda waffe n’amazima agali mu Kigambo kye. Kituleetera essanyu lingi okulaba abantu abo nga bakyusa endowooza yaabwe era nga bakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. Tukiraba nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mukulu nnyo. Gusobozesa abantu okutabagana ne Katonda ne baba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (2 Kol. 5:20) Tewali mulimu gusobola kutuleetera ssanyu ng’eryo lye tufuna nga tukola omulimu ogusobozesa abantu okutandika okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo.
8. Kiki abamu kye boogedde ku ssanyu lye bafuna mu kukolera awamu ne Yakuwa?
8 Wadde nga kitusanyusa nnyo okulaba ng’abantu bakkiriza obubaka bwaffe, ekisinga okutuleetera essanyu kwe kukimanya nti Yakuwa asiima ebyo bye tukola nga tumuweereza. (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Marco, abeera mu Italy, agamba nti: “Kindeetera essanyu eritagambika okukimanya nti Yakuwa gwe mpa ekyo ekisingayo obulungi, so si omuntu omulala yenna ayinza n’okwerabira ebyo bye mba mmukoledde.” Ate Franco, naye abeera mu Italy, agamba nti: “Okuyitira mu Kigambo kye awamu n’ekibiina kye, bulijjo Yakuwa atujjukiza nti atwagala era nti asiima ebyo byonna bye tumukolera, ne bwe tuba nga ffe tubitwala ng’ebitono. Eyo ye nsonga lwaki kindeetera essanyu lingi okukolera awamu ne Katonda era kindeetedde okuba n’obulamu obw’amakulu.”
OKUKOLERA AWAMU NE KATONDA KITULEETERA OKUBA N’ENKOLAGANA EY’OKU LUSEGERE NAYE AWAMU N’ABALALA
9. Nkolagana ki eri wakati wa Yakuwa ne Yesu, era enkolagana eyo yajjawo etya?
9 Okukolera awamu n’abo be twagala kituyamba okunyweza enkolagana yaffe nabo n’okweyongera okubamanya obulungi. Tumanya bye baagala okukola n’engeri gye baagala okubikolamu. Yesu yamala emyaka mingi nnyo ng’akolera wamu ne Yakuwa, era ekyo kyanyweza enkolagana ye ne Yakuwa. Ng’ayogera ku nkolagana ey’oku lusegere gy’alina ne Yakuwa, Yesu yagamba nti: “Nze ne Kitange tuli omu.” (Yok. 10:30) Baakoleranga wamu nga bali bumu.
10. Lwaki okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda awamu n’abalala?
10 Yesu yasaba Yakuwa akuume abayigirizwa be. Lwaki yamusaba abakuume? Yagamba nti: “Basobole okuba omu nga ffe bwe tuli.” (Yok. 17:11) Bwe tutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era ne twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, kituyamba okutegeera obulungi engeri ze. Kituyamba okulaba ensonga lwaki kya magezi okumwesiga n’okukolera ku bulagirizi bw’atuwa. Bwe tweyongera okusemberera Katonda, naye yeeyongera okutusemberera. (Soma Yakobo 4:8.) Era kituyamba okwongera okunyweza enkolagana yaffe ne bakkiriza bannaffe kubanga tulina ebiruubirirwa bye bimu, ebintu ebituleetera essanyu bye bimu, era n’ebizibu bye tutera okufuna bifaanagana. Tukolera wamu, tusanyukira wamu, era tugumira wamu ebizibu. Octavia, abeera mu Bungereza, agamba nti: “Okukolera awamu ne Yakuwa kinnyambye okunyweza enkolagana yange n’abalala, . . . kubanga nze ne mikwano gyange tulina ebiruubirirwa bye bimu era tugoberera obulagirizi bwe bumu.” Naawe bw’otyo bw’owulira? Okulaba engeri bakkiriza banno gye bafuba okuweereza Yakuwa tekikuleetera kwongera kubaagala?
11. Lwaki enkolagana yaffe ne Yakuwa awamu ne bantu bannaffe ejja kweyongera okunywera mu nsi empya?
11 Tuyinza okuba nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda awamu ne bantu bannaffe leero, naye enkolagana eyo ejja kweyongera okuba ey’amaanyi n’okusingawo mu nsi empya. Lowooza ku mirimu gye tujja okukola mu nsi empya! Tujja kwaniriza abantu abaafa abanaaba bazuukiziddwa era tubayigirize amakubo ga Yakuwa. Tujja kwenyigira mu mulimu gw’okufuula ensi olusuku lwa Katonda. Kijja kutuleetera essanyu lingi okukolera awamu n’abalala nga bwe tugenda tufuuka abantu abatuukiridde mu Bwakabaka bwa Masiya! Buli lukya enkolagana wakati w’abantu ne bantu bannaabwe era n’enkolagana wakati w’abantu ne Katonda waabwe ejja kweyongera okunywera. Mu kiseera ekyo Katonda ajja kwanjuluza engalo ze ‘akkuse buli kintu ekiramu bye kyagala.’—Zab. 145:16.
OKUKOLERA AWAMU NE KATONDA KITUKUUMA
12. Omulimu gw’okubuulira gutukuuma gutya?
12 Tulina okufuba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okuva bwe kiri nti tuli mu nsi efugibwa Sitaani Omulyolyomi era nga tetutuukiridde, kyangu okutwalirizibwa endowooza n’empisa z’ensi. Omwoyo gw’ensi guyinza okugeraageranyizibwa ku mayengo g’ennyanja agaagala okututwala gye tutaagala kugenda. Okusobola okwewala okutwalibwa amayengo ago, kiba kitwetaagisa okufuba ennyo okuwuga nga tudda gye twagala okugenda. Mu ngeri y’emu, kitwetaagisa okufuba ennyo obutatwalirizibwa mwoyo gwa nsi ya Sitaani. Bwe tuba tubuulira, kituyamba okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi era ebizimba, so si ku bintu ebiyinza okunafuya okukkiriza kwaffe. (Baf. 4:8) Okubuulira kutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe kubanga kutusobozesa okukuumira ebirowoozo byaffe ku bisuubizo bya Katonda ne ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Era kutuyamba okukuuma ekyambalo kyaffe eky’eby’okulwanyisa eby’omwoyo nga kiri mu mbeera nnungi.—Soma Abeefeso 6:14-17.
13. Omuweereza wa Yakuwa omu abeera mu Australia ayogera ki ku mulimu gw’okubuulira?
13 Bwe tuba n’eby’okukola ebingi mu mulimu gw’okubuulira ne mu mirimu emirala egy’Obwakabaka, kituyamba obutamalira birowoozo ku bizibu bye tulina, era ekyo kitukuuma. Joel, abeera mu Australia, agamba nti: “Okubuulira kinnyamba okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu. Kinnyamba okumanya ebizibu abantu bye boolekagana nabyo n’okulaba emiganyulo gye nfuna mu kukolera ku misingi gya Bayibuli. Omulimu gw’okubuulira gunnyamba okusigala nga ndi mwetoowaze; gumpa akakisa okwesigama ennyo ku Yakuwa n’okukiraba nti nneetaaga bakkiriza bannange.”
14. Okuba nti tweyongedde okubuulira awatali kulekulira kiraga kitya nti omwoyo gwa Katonda gwe gutuyamba okukola omulimu ogwo?
14 Omulimu gw’okubuulira era gutuyamba okukiraba nti Yakuwa atuwa omwoyo gwe. Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa bakukwasa omulimu gw’okugabira abantu emmere erimu ebiriisa. Era bakugamba nti togenda kusasulwa era nti ggwe alina okwerabirira. Bw’otandika okukola omulimu ogwo, okizuula nti abantu abasinga tebaagala mmere eyo era nga n’abamu bakukyawa olw’okukola omulimu ogwo. Olowooza omulimu ogwo wandigukoledde bbanga ki? Oboolyawo mu kiseera kitono wandibadde oggwaamu amaanyi era n’olekera awo okugukola. Naye kirowoozeeko: Bangi ku ffe tumaze emyaka
mingi nga tubuulira awatali kusasulwa wadde ng’abantu abamu batusekerera era nga batukyawa. Ekyo kiraga bulungi nti omwoyo gwa Katonda gwe gutuyamba okukola omulimu ogw’okubuulira.OKUKOLERA AWAMU NE KATONDA KIRAGA NTI TUMWAGALA ERA NTI TWAGALA N’ABALALA
15. Kakwate ki akali wakati w’omulimu gw’okubuulira n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda?
15 Ate lowooza ku kakwate akali wakati w’omulimu gw’okubuulira n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. Yakuwa yali ayagala abantu babeere ku nsi nga tebafa. Wadde nga Adamu yajeemera Katonda, Katonda teyakyusa kigendererwa kye ekyo. (Is. 55:11) Mu kifo ky’ekyo, yakola enteekateeka okununula abantu okuva mu kibi n’okufa. Kiki kye yakola? Yatuma Omwana we, Yesu, okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu abawulize. Kyokka abantu okusobola okubeera abawulize, baalina okusooka okumanya Katonda by’ayagala. Bwe kityo, Yesu yayigiriza abantu Katonda by’ayagala era n’alagira n’abayigirizwa be okukola kye kimu. Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira era ne tuyamba abantu okutabagana ne Katonda, tuba tukolera wamu ne Katonda mu kutuukiriza ekigendererwa kye eky’okununula abantu okuva mu kibi n’okufa.
16. Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira kiraga kitya nti tugondera amateeka agasingayo obukulu?
16 Bwe tuyamba abalala okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo, kiba kiraga nti twagala bantu bannaffe awamu ne Yakuwa, oyo “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.” (1 Tim. 2:4) Bwe yabuuzibwa etteeka erisingayo obukulu mu mateeka agaaweebwa Abaisiraeri, Yesu yagamba nti: “‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino, ‘Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala wekka.’” (Mat. 22:37-39) Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira kiba kiraga nti tugondera amateeka ago.—Soma Ebikolwa 10:42.
17. Enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi ogitwala otya?
17 Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo! Yakuwa atuwadde omulimu ogutuleetera essanyu, ogutuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye awamu ne bantu bannaffe, era ogutukuuma mu by’omwoyo. Omulimu gw’okubuulira era gutuwa akakisa okukyoleka nti twagala Katonda ne bantu bannaffe. Wadde ng’embeera z’abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna zaawukana, bonna, abato n’abakulu, abagagga n’abaavu, ab’amaanyi n’abanafu, bakozesa buli kakisa ke bafuna okubuulira abalala amawulire amalungi. Naawe oyinza okuba ng’okkiriziganya n’ebigambo bya mwannyinaffe Chantel, abeera mu Bufalansa. Agamba nti: “Oyo asingayo amaanyi, Omutonzi w’ebintu byonna, era Katonda omusanyufu, aŋŋamba nti: ‘Genda! Yogera! Yogera eri abantu ku lwange; yogera okuva ku ntobo y’omutima gwo. Nkuwa amaanyi, Ekigambo kyange Bayibuli, obuyambi bwa bamalayika, baweereza banno ku nsi, okutendekebwa okutali kumu, n’obulagirizi obujjira mu kiseera ekituufu.’ Nga nkizo ya maanyi okukola Yakuwa Katonda by’ayagala n’okukolera awamu naye!”