Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mwasumululwa olw’Ekisa kya Katonda eky’Ensusso

Mwasumululwa olw’Ekisa kya Katonda eky’Ensusso

“Ekibi tekirina kubafuga, kubanga . . . mufugibwa ekisa eky’ensusso.”​—BAR. 6:14.

ENNYIMBA: 2, 61

1, 2. Lwaki ebyo ebiri mu Abaruumi 5:12 bikulu nnyo eri Abajulirwa ba Yakuwa?

SINGA obadde osabiddwa okunokolayo ebyawandiikibwa Abajulirwa ba Yakuwa bye batera okukozesa, byawandiikibwa ki bye wandyogeddeko? Kyandiba nti wandyogedde ku Abaruumi 5:12? Lowooza ku mirundi gy’okozesezza ekyawandiikibwa ekyo. Kigamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.”

2 Olunyiriri olwo lukozesebwa emirundi egiwerako mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Bw’oba okozesa akatabo ako okusomesa abaana bo oba abantu abalala, mujja kusoma Abaruumi 5:12 nga muyiga ku kigendererwa kya Katonda eri ensi, ku kinunulo, ne ku mbeera y’abafu mu ssuula eya 3, 5, ne 6. Naye olowooza ebyo ebiri mu Abaruumi 5:12 bikwata bitya ku nkolagana yo ne Yakuwa, ku bikolwa byo, ne ku ssuubi ly’olina erikwata ku biseera eby’omu maaso?

3. Bwe kituuka ku kibi, kiki kye tusaanidde okumanya?

3 Ffenna twasikira ekibi era tusobya buli lunaku. Naye Katonda ajjukira nti tuli nfuufu, era mwetegefu okutulaga ekisa. (Zab. 103:13, 14) Mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, Yesu yatugamba tusabe Katonda nti: “Otusonyiwe ebibi byaffe.” (Luk. 11:2-4) N’olwekyo, Yakuwa bw’amala okutusonyiwa, tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku nsobi z’aba amaze okutusonyiwa. Kyokka kituganyula nnyo bwe tulowooza ku ngeri Katonda gy’asobola okutusonyiwamu n’engeri gye yatusonyiwamu.

TWASONYIYIBWA OLW’EKISA EKY’ENSUSSO

4, 5. (a) Kiki ekisobola okutuyamba okutegeera obulungi ebigambo ebiri mu Abaruumi 5:12? (b) “Ekisa eky’ensusso” ekyogerwako mu Abaruumi 3:24 kye ki?

4 Waliwo ebintu ebikulu bye tuyigira mu nnyiriri eziriraanye ebigambo Pawulo bye yayogera mu Abaruumi 5:12. Ennyiriri ezo zituyamba okumanya engeri Yakuwa gy’asobola okutusonyiwamu. Mu ssuula 3, tusoma nti: “Bonna baayonoona . . . , era baaweebwa buwa ekirabo eky’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso era baasumululwa ekinunulo Kristo Yesu kye yasasula.” (Bar. 3:23, 24) Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ku ‘kisa eky’ensusso’? Okusinziira ku kitabo ekimu, ekigambo ky’Oluyonaani Pawulo kye yakozesa kitegeeza “okulaga abalala ekisa nga tosuubira kusasulwa.” Ekisa ekyo baba tebakikoleredde era kiba tekibagwanira.

5 Omusajja omuyivu ayitibwa John Parkhurst yagamba nti: “[Mu Bayibuli ekigambo ekyo eky’Oluyonaani] bwe kikozesebwa ku Katonda oba ku Yesu, kiba kitegeeza ekisa Katonda ne Yesu kye baalaga abantu okusobola okubanunula okuva mu kibi, wadde ng’ekisa ekyo baali tebagwana kukiragibwa.” N’olwekyo, kituukirawo okuba nti mu Nkyusa ey’Ensi Empya ekigambo ekyo kivvuunulwa nga “ekisa eky’ensusso.” Naye Katonda yatulaga atya ekisa eky’ensusso? Era ekyo kikwata kitya ku biseera byaffe eby’omu maaso ne ku nkolagana yaffe ne Yakuwa? Ka tulabe.

6. Ekisa kya Katonda eky’ensusso kiganyula kitya abantu?

6 Ekibi n’okufa ‘byayingira mu nsi’ okuyitira mu “muntu omu” Adamu. Bwe kityo “olw’ekibi ky’omuntu omu okufa kwafuga nga kabaka.” Pawulo yagamba nti: “Ekisa [kya Katonda] eky’ensusso” kyalagibwa “okuyitira mu muntu omu, Yesu Kristo.” (Bar. 5:12, 15, 17) Ekisa kya Katonda eky’ensusso kiviiriddemu abantu emiganyulo mingi. Bayibuli egamba nti: “Obuwulize bw’omuntu omu [Yesu] bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” Mu butuufu, ekisa kya Katonda eky’ensusso kitutuusa “mu bulamu obutaggwaawo okuyitira mu Yesu Kristo.”​—Bar. 5:19, 21.

7. Lwaki tuyinza okugamba nti Katonda yatulaga ekisa ekitatugwanira bwe yawaayo ekinunulo ku lwaffe?

7 Yakuwa kyali tekimukakatako kusindika Mwana we ku nsi aweeyo ekinunulo. Ate era, abantu abatatuukiridde baali tebagwana kulagibwa kisa Katonda ne Yesu kye baabalaga bwe bawaayo ekinunulo abantu basobole okusonyiyibwa ebibi. Mu butuufu, okuba nti tusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe n’okuba nti tulina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna, kisa ekitatugwanira. Tulina okweyisa mu ngeri eraga nti tusiima ekisa eky’ensusso Katonda kye yatulaga.

ENGERI GYE TUYINZA OKULAGA NTI TUSIIMA EKISA KYA KATONDA EKY’ENSUSSO

8. Ndowooza ki enkyamu abamu gye balina ku kukola ebintu ebibi?

8 Olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu, twonoona. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kumala gakola bintu bibi nga tulowooza nti Katonda ajja kutulaga ekisa kye eky’ensusso atusonyiwe. Abakristaayo abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka nabo baalina endowooza ng’eyo enkyamu. (Soma Yuda 4.) Tulina okwegendereza, tuleme kuba na ndowooza ng’eyo oba okuleka abalala okugituteekamu.

9, 10. Pawulo n’Abakristaayo abalala baasumululwa batya okuva mu kibi n’okufa?

9 Tusaanidde okwewala okugamba nti: ‘Katonda antegeera. Ajja kubuusa amaaso ebikolwa byange ebibi.’ Lwaki tusaanidde okwewala endowooza ng’eyo? Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti baali ‘baafa ku bikwata ku kibi.’ (Soma Abaruumi 6:1, 2.) Abakristaayo abo bayinza batya okuba nga ‘baali baafa ku bikwata ku kibi’ ate nga baali bakyali balamu ku nsi?

10 Ng’asinziira ku kinunulo, Katonda yasonyiwa ebibi bya Pawulo n’Abakristaayo abalala abaaliwo mu kyasa ekyasooka, n’abafukako omwoyo omutukuvu, era n’abalonda okuba abaana be. Bwe kityo, baafuna essuubi ery’okugenda mu ggulu. Bwe bandisigadde nga beesigwa eri Yakuwa, bandifugidde wamu ne Kristo mu ggulu. Kyokka Pawulo yagamba nti Abakristaayo abo baali ‘baafa ku bikwata ku kibi,’ wadde nga baali bakyali balamu era nga baweereza Katonda ku nsi. Pawulo yakozesa ekyokulabirako kya Yesu eyafa mu mubiri era n’azuukizibwa mu mwoyo n’aweebwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa mu ggulu. Okufa kwali tekukyalina buyinza ku Yesu. Bwe kityo bwe kyali n’eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abaali basobola okugamba nti baali “bafu ku bikwata ku kibi” naye nga balamu ku bikwata ku ‘kukola Katonda by’ayagala okuyitira mu Kristo Yesu.’ (Bar. 6:9, 11) Obulamu bwabwe bwali tebukyali nga bwe bwali emabega. Baali tebakyagoberera kwegomba okubi okw’emibiri gyabwe. Baali bafu ku bikwata ku bikolwa byabwe eby’edda.

11. Mu ngeri ki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna gye ‘baafa ku bikwata ku kibi’?

11 Ate abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna? Bwe baali tebannafuuka Bakristaayo, baakolanga ebintu ebibi, oboolyawo nga n’ebimu tebamanyi nti bibi bya maanyi mu maaso ga Katonda. Baali ‘baddu b’obutali bulongoofu n’obujeemu.’ Tuyinza n’okugamba nti baali “baddu ba kibi.” (Bar. 6:19, 20) Naye bwe baayiga amazima agali mu Bayibuli, baakola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, ne beewaayo eri Katonda, era ne babatizibwa. Okuva olwo babadde bafuba okugondera Katonda okuviira ddala ku mutima. ‘Baggibwa mu buddu bw’ekibi’ ne ‘bafuuka abaddu b’obutuukirivu.’ (Bar. 6:17, 18) N’olwekyo, tusobola okugamba nti nabo ‘baafa ku bikwata ku kibi.’

12. Kiki buli omu ku ffe ky’alina okusalawo?

12 Kati lowooza ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Temuleka kibi kweyongera kufuga nga kabaka mu mibiri gyammwe egifa, nga mugondera okwegomba kwagyo.” (Bar. 6:12) Okusinziira ku bigambo ebyo, singa tukola ebintu byonna omubiri gwaffe ogutatuukiridde bye gwagala tuba ‘tulese ekibi okweyongera okutufuga.’ Okuva bwe kiri nti tusobola okuleka ekibi okutufuga oba obutatufuga, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Kiki ddala kye njagala? Oluusi ndeka okwegomba okubi okuyingira mu birowoozo byange era ne nkukolerako? Ddala ndi mufu ku bikwata ku kibi? Nkola Katonda by’ayagala okuyitira mu Kristo Yesu?’ Bwe tuba nga ddala tusiima ekisa eky’ensusso Katonda ky’atulaze, tetujja kukkiriza kibi kutufuga.

TUSOBOLA OKULEKERA AWO OKUFUGIBWA EKIBI

13. Bukakafu ki obulaga nti tusobola okulekera awo okufugibwa ekibi?

13 Abantu ba Yakuwa baalekera awo okubala ebibala ebibi bye baabalanga nga tebannamanya Katonda, nga tebannamwagala, era nga tebannatandika kumuweereza. Ebimu ku bintu bye baakolanga kati ‘bibakwasa n’ensonyi’ era byandibadde bibaviirako n’okufa. (Bar. 6:21) Naye kati baakyuka. Bwe kityo bwe kyali n’eri Abakristaayo bangi abaali mu Kkolinso. Abamu ku bo baali basinza ebifaananyi, baali benzi, baali balyi ba bisiyaga, baali babbi, era baali batamiivu. Naye ‘baanaazibwa era ne batukuzibwa.’ (1 Kol. 6:9-11) Kirabika n’Abakristaayo abamu mu Rooma nabo bwe batyo bwe baali. Pawulo yabawandiikira ebbaluwa n’abagamba nti: “Temuwaayo mibiri gyammwe eri ekibi okuba eby’okulwanyisa ebitali bya butuukirivu, naye mweweeyo eri Katonda ng’abalamu abaava mu kufa, era emibiri gyammwe mugiweeyo eri Katonda okuba eby’okulwanyisa eby’obutuukirivu.” (Bar. 6:13) Pawulo yali mukakafu nti Abakristaayo abo baali basobola okusigala nga bayonjo mu by’omwoyo, bwe kityo ne basobola okweyongera okuganyulwa mu kisa kya Katonda eky’ensusso.

14, 15. Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

14 Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ab’oluganda ne bannyinaffe abamu bayinza okuba nga baali ng’Abakristaayo abaali mu Kkolinso. Naye oluvannyuma lw’okuyiga ebikwata ku Yakuwa baalekayo amakubo gaabwe amabi ne ‘banaazibwa.’ Kyokka ffenna tulina enkyukakyuka ze twakola okusobola okusanyusa Yakuwa. Era tusaanidde okweyongera okukiraga nti tusiima ekisa kya Katonda eky’ensusso. Tulina okuba abamalirivu okulwanyisa okwegomba okubi, tukozese obulamu bwaffe okuweereza Yakuwa.

15 Tulina okwewala okukola ebibi eby’amaanyi abamu ku abo abaali mu Kkolinso bye baakolanga nga tebannafuuka Bakristaayo. Tetusobola kweyongera kukola bibi ng’ebyo ne tusuubira Yakuwa okutulaga ekisa kye eky’ensusso n’okutusonyiwa. Naye buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza nti, ‘Ndi mumalirivu okugondera Katonda okuviira ddala ku mutima nga nfuba okwewala n’okukola ebibi abamu bye batwala ng’ebitali bya maanyi?’​—Bar. 6:14, 17.

16. Tukimanya tutya nti Abakristaayo balina okwewala okukola ebibi eby’amaanyi n’ebitali bya maanyi?

16 Lowooza ku mutume Pawulo. Yagamba nti: “Ndi wa mubiri era nnatundibwa mu kibi. Kye nkola sikitegeera. Kubanga kye njagala si kye nkola, naye kye saagala kye nkola.” (Bar. 7:14, 15) Kya lwatu nti omutume Pawulo yali takola bibi eby’amaanyi ebyogerwako mu 1 Abakkolinso 6:9-11. Wadde kyali kityo yalaga nti naye yali akola ebibi. Kyokka olw’okuba yali ayagala okusanyusa Yakuwa, yafubanga okwewala okukola ebibi ebyo. (Soma Abaruumi 7:21-23.) Naffe bwe tuba ab’okugondera Katonda okuviira ddala ku mutima, tulina n’okwewala okukola ebibi ebirabika ng’ebitono.

17. Lwaki osaanidde okuba omwesigwa?

17 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nsonga y’okuba abeesigwa. Abakristaayo balina okuba abeesigwa. (Soma Engero 14:5; Abeefeso 4:25.) Sitaani “ye kitaawe w’obulimba.” Ate era, Ananiya ne mukyala we baafa olw’okuba baalimba. Tetwagala kukoppa Sitaani n’abantu ng’abo abatali beesigwa. Twewalira ddala okulimba. (Yok. 8:44; Bik. 5:1-11) Mu butuufu bwe tuba abeesigwa, kiba kiraga nti tusiima Katonda olw’ekisa eky’ensusso kye yatulaga.

18, 19. Bwe tuba ab’okuba abeesigwa, lwaki tetulina kukoma bukomi ku kwewala kulimba butereevu?

18 Okulimba kwe kwogera ekintu ekitali kituufu. Kyokka, ng’oggyeeko okwewala okulimba obutereevu, Yakuwa alina n’ekintu ekirala ky’ayagala abaweereza be beewale. Yagamba Abayisirayiri nti: “Mubenga batukuvu kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe ndi mutukuvu.” Oluvannyuma yababuulira ebimu ku bintu bye baalina okukola okusobola okuba abatukuvu. Yabagamba nti: “Temubbanga era temulimbanga, era tewabangawo n’omu akuusakuusa munne.” (Leev. 19:2, 11) Omuntu asobola okwewala okulimba obutereevu, naye mu bukuusa n’alimba abalala.

Tuli bamalirivu okwewala obulimba n’obukuusa? (Laba akatundu 19)

19 Ng’ekyokulabirako, omusajja omu asobola okugamba mukama we oba bakozi banne nti enkya tajja kusobola kujja ku mulimu oba nti ajja kukolako kitundu kya lunaku olw’okuba alina okulaba omusawo. Kyokka ayinza okuba ng’agenda kuyitako buyisi ku ddwaliro agule buguzi eddagala, naye ng’ensonga enkulu lwaki tagenda kukola eri nti, alina gy’ayagala okugenda era ng’ayagala asimbule nga bukyali, oba ayinza okuba ng’agenda kwesanyusaamu n’ab’omu maka ge. Kyo kituufu nti aba agenzeeko mu ddwaliro, naye ddala tuyinza okugamba nti abadde mwesigwa? Oba abadde mukuusa? Wayinza n’okuba nga waliwo embeera endala ng’ezo z’oyinza okulowoozaako. Omuntu ayinza okulimba ng’ayagala okwewala okubonerezebwa oba ng’alina by’ayagala okwefunira. Omuntu ne bw’aba nga talimbye butereevu ekyo tekisanyusa Katonda, kubanga Katonda atugamba nti: “Temulimbanga”? Ate era lowooza ku bigambo ebiri mu Abaruumi 6:19, awagamba nti: “Muweeyo emibiri gyammwe okuba abaddu b’obutuukirivu musobole okukola ebikolwa ebitukuvu.”

20, 21. Ekisa kya Katonda eky’ensusso kyanditukubiriza kwewala ki?

20 Tukiraga nti tusiima ekisa kya Katonda eky’ensusso nga tetukoma bukomi ku kwewala bibi eby’amaanyi, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu, obutamiivu, n’ebirala ebiri ng’ebyo abamu mu Kkolinso bye baakolanga nga tebannafuuka Bakristaayo. Tulina n’okwewala eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu. Bwe tuba ab’okuwaayo emibiri gyaffe okuba abaddu b’obutuukirivu tetujja kukoma bukomi ku kwewala kutamiira, naye era tujja kwewala okunywa ennyo oboolyawo ne tubulako katono okutamiira. Wadde nga kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo okulwanyisa ebikolwa ebyo ebibi; tusobola okuwangula.

21 Tulina okwewala okukola ebibi eby’amaanyi n’ebibi ebitali bya maanyi. Wadde nga si kyangu kwewalira ddala kukola bintu bibi, okufaananako Pawulo, tulina okufuba okubyewalira ddala. Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Temuleka kibi kweyongera kufuga nga kabaka mu mibiri gyammwe egifa, nga mugondera okwegomba kwagyo.” (Bar. 6:12; 7:18-20) Bwe tufuba okwewala okukola ebibi, ka bibe bya maanyi oba nga si bya maanyi, tuba tulaga nti tusiima ekisa eky’ensusso Katonda kye yatulaga okuyitira mu Kristo.

22. Mikisa ki abo abalaga nti basiima ekisa kya Katonda eky’ensusso gye bajja okufuna?

22 Okuyitira mu kisa kya Katonda eky’ensusso, ebibi byaffe byasonyiyibwa era Katonda asobola okwongera okutusonyiwa. N’olwekyo, ka tukirage nti tusiima ekisa kya Katonda eky’ensusso nga twewala okukola ebibi, nga mw’otwalidde n’ebyo abalala bye batwala ng’ebitali bya maanyi. Bwe tukola bwe tutyo, mikisa ki gye tujja okufuna? Pawulo yagamba nti: “Olw’okuba mwaggibwa mu buddu bw’ekibi ne mufuuka abaddu ba Katonda, ekibala kye mubala bwe butukuvu bwammwe, era kituusa mu bulamu obutaggwaawo.”​—Bar. 6:22.