Biki Ebinaavaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda Buzze?
“Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.”
ENNYIMBA: 134, 24
1, 2. (a) Mu ngeri ki ensi ya Sitaani gy’eyinza okugeraageranyizibwa ku mumenyi w’amateeka asaliddwa omusango? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Abaweereza ba Katonda mu ggulu ne ku nsi banaawulira batya ng’ensi ya Sitaani ezikiriziddwa?
KUBA akafaananyi ng’omumenyi w’amateeka aggibwa mu kkomera era ng’abakuumi b’ekkomera baleekaanira waggulu nti, “Laba omulambo ogutambula!” Lwaki abakuumi abo boogera batyo? Wadde ng’omumenyi w’amateeka oyo mulamu era ng’alabika talina bulwadde bwonna, asaliddwa ogw’okufa era bamutwala kuttibwa. Wadde ng’akyali mulamu, olw’okuba agenda kuttibwa, mu maaso gaabwe kyenkana mufu. *
2 Ensi ya Sitaani efaananako omumenyi w’amateeka oyo eyasalirwa ogw’okufa. Ensi ya Sitaani yasalirwa dda omusango era enaatera okuweebwa ekibonerezo ekyagisalirwa. Bayibuli egamba nti: “Ensi eggwaawo.” (1 Yok. 2:17) Ekyo ekigenda okutuuka ku nsi tekibuusibwabuusibwa. Waliwo enjawulo wakati w’ekyo ekigenda okutuuka ku nsi n’ekyo ekiyinza okutuuka ku musibe ayogeddwako waggulu. Omusibe bw’aba agenda okuttibwa wayinza okubaawo abawakanya ekibonerezo ekyo nga balaba nti tekisaanidde era nga basuubira nti ayinza okuweebwa ekibonerezo ekirala ekitali kya kuttibwa. Kyokka yo ensi, oyo eyagisalira omusango Mulamuzi atuukiridde, Omufuzi w’obutonde bwonna. (Ma. 32:4) Omusango ogwagisalirwa teguyinza kuddibwamu kuwulirwa kubanga gwasalibwa mu bwenkanya. Bw’eneemala okuweebwa ekibonerezo ekyagisalirwa, ebitonde byonna ebitegeera bijja kubeera bimativu nti ekibonerezo ekyo kyali kigigwanidde. Awatali kubuusabuusa wajja kubaawo obuweerero!
3. Bintu ki ebina bye tugenda okulaba ebigenda okuvaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda buzze?
3 Naye biki ebizingirwa mu ‘nsi eggwaawo’? Bingi ku bintu abantu leero bye batwala ng’ebigenda okubeerawo emirembe n’emirembe bigenda kuvaawo. Ekyo kyanditunakuwazza? Nedda! Mu butuufu ago ge gamu ku ‘mawulire amalungi ag’Obwakabaka’ agalangirirwa. (Mat. 24:14) Kati ka tulabe ebintu ebigenda okuvaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda buzze. Tugenda kulaba ebintu bina: abantu ababi, ebibiina by’abantu ebibi, ebikolwa ebibi, n’embeera embi. Era tugenda kulaba (1) engeri ebintu ebyo gye bikwata ku bulamu bwaffe kati, (2) kiki Yakuwa ky’agenda okukolawo, (3) n’engeri gy’agenda okuleeta ebintu ebirungi abizze mu kifo ky’ebyo ebibi.
ABANTU ABABI
4. Ebintu ebibi abantu ababi bye bakola bitukosa bitya?
4 Ebintu ebibi abantu ababi bye bakola bitukosa bitya? Omutume Pawulo yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero “ebiseera biriba bizibu.” Era yagamba nti: “Abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi.” (2 Tim. 3:1-5, 13) Ebigambo ebyo obirabye nga bituukirira? Bangi ku ffe tukoseddwa ebintu ebibi ebikolebwa abantu, gamba ng’abo abayiikiriza abalala, abasosoze, n’abamenyi b’amateeka. Abamu ku bantu abo ebintu ebibi babikola kyere ate abala babikola mu nkukutu. Wadde ng’oluusi tuyinza okuba nga tetukosebwa butereevu bintu abantu abo bye bakola, mu ngeri emu oba endala, ffenna bitukosa. Bwe tuwulira ebikolobero bye bakola, kitunakuwaza nnyo. Engeri abantu ababi gye babonyaabonyaamu abaana, bannamukadde, n’abalala abataliiko mwasirizi yennyamiza. Abantu ababi booleka omwoyo ogutali gwa buntu, ogulinga ogw’ensolo, era ogwa badayimooni. (Yak. 3:15) Wadde embeera eri bw’etyo, Ekigambo kya Katonda kirimu amawulire amalungi.
5. (a) Kakisa ki ababi ke bakyalina? (b) Kiki ekinaatuuka ku babi abagaana okukyusa amakubo gaabwe?
5 Kiki Yakuwa ky’agenda okukola abantu ababi? Mu kiseera kino, Yakuwa awadde abantu ababi akakisa okukyusa enneeyisa yaabwe. (Is. 55:7) Abantu abo kinnoomu tannabasalira musango. Ensi ya Sitaani gye yamala edda okusalira omusango. Naye kiki ekinaatuuka ku bantu abagaana okukyusa amakubo gaabwe ne beeyongera okuwagira enteekateeka ya Sitaani okutuukira ddala ku kibonyoobonyo ekinene? Yakuwa yasuubiza nti ajja kuzikiriza abantu bonna ababi. (Soma Zabbuli 37:10.) Abantu ababi bayinza okulowooza nti tebalizikirizibwa. Bangi ku bo bakweka ebyo bye bakola era emirundi egimu tebabonerezebwa olw’ebintu ebibi bye bakola. (Yob. 21:7, 9) Naye Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Katonda galaba amakubo g’omuntu, era alaba empenda ze zonna. Teri kizikiza oba kisiikirize ababi gye bayinza okwekweka.” (Yob. 34:21, 22) Tewali kifo kyonna omuntu mw’ayinza kwekweka Yakuwa n’atamulaba. Omuntu ne bw’aba mukujjukujju atya, tayinza kulimba Yakuwa; era ne bw’akola ekibi mu nzikiza ekutte ennyo, amaaso ga Yakuwa gaba gamulaba. Oluvannyuma lw’olutalo Amagedoni, tujja kutunula ababi we baabeeranga naye tebalibaawo. Baliba bazikiriziddwa!
6. Baani abanaasigalawo ng’ababi bazikiriziddwa, era lwaki ago mawulire malungi?
6 Baani abanaasigalawo ng’abantu ababi bazikiriziddwa? Yakuwa agamba nti: “Abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.” Era agamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zab. 37:11, 29) ‘Abawombeefu n’abatuukirivu’ be baani? Abawoombeefo beebo abakkiriza okuyigirizibwa Yakuwa era abakkiriza obulagirizi obuva gy’ali; abatuukirivu beebo abaagala okukola Yakuwa Katonda by’ayagala. Leero abantu ababi be basinga abatuukirivu obungi. Naye mu nsi empya mujja kubaamu bantu bawombeefu era batuukirivu bokka, era bajja kufuula ensi olusuku lwa Katonda.
EBIBIINA BY’ABANTU EBIBI
7. Ebibiina by’abantu ebibi bitukosa bitya leero?
7 Ebibiina by’abantu ebibi bitukosa bitya? Ebintu ebibi ebisinga ebikolebwa mu nsi tebikolebwa bantu kinnoomu wabula ebibiina by’abantu ebibi. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku biibiina by’eddiini ebirimba obukadde n’obukadde bw’abantu, nga bibayigiriza eby’obulimba ku Katonda, nga bibaleetera obuteesiga Bayibuli, era nga bibalimba ku ekyo ekigenda okutuuka ku nsi ne ku bantu mu biseera eby’omu maaso. Era lowooza ku gavumenti z’abantu ezikubiriza entalo, ezinyigiriza abaavu, era ezirya enguzi. Ate era lowooza ku bibiina by’abantu ebyonoona obutonde era ebinyuunyuunta abantu, ekiviiriddeko abantu abatono okugaggawala ennyo ate abalala ne basigala nga baavu lunkupe. Tewali kubuusabuusa nti ebibiina by’abantu ebibi bireetedde abantu leero okubonaabona ennyo.
8. Okusinziira ku Bayibuli, kiki ekijja okutuuka ku bibiina by’abantu ebibi wadde nga birabika ng’ebigenda okubaawo emirembe n’emirembe?
8 Kiki Yakuwa ky’ajja okukola? Ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika nga gavumenti z’abantu zirumba amadiini ag’obulimba, Bayibuli g’eyita malaaya era Babulooni Ekinene. (Kub. 17:1, 2, 16; 18:1-4) Eddiini zonna ez’obulimba zijja kusaanyizibwawo. Ate byo ebibiina by’abantu ebirala ebibi? Ng’ekozesa olulimi olw’akabonero, Bayibuli egeraageranya ebibiina by’abantu ku nsozi n’ebizinga, kubanga mu maaso g’abantu birabika ng’ebigenda okubaawo emirembe n’emirembe. (Soma Okubikkulirwa 6:14.) Naye Bayibuli eraga nti gavumenti z’abantu n’ebibiina by’abantu ebitawagira Bwakabaka bwa Katonda bijja kuzikirizibwa. Ekyo kijja kubaawo ku ntikko y’ekibonyoobonyo ekinene. (Yer. 25:31-33) Oluvannyuma lw’ekibonyoobonyo ekinene, tewajja kubaawo bibiina by’abantu ebibi.
9. Kiki ekiraga nti ensi empya ejja kuba ntegeke bulungi?
9 Kiki ekinadda mu kifo ky’ebibiina by’abantu ebibi? Oluvannyuma lwa Amagedoni, waliwo ekibiina kyonna ekinaabeera ku nsi? Bayibuli egamba nti: “Nga bwe yasuubiza, tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe bulibeera.” (2 Peet. 3:13) Eggulu ekkadde n’ensi enkadde, kwe kugamba, gavumenti z’abantu n’abantu ababi be zifuga, bijja kuba bisaanyiziddwaawo. Kiki ekijja okudda mu kifo ky’eggulu ekkadde n’ensi enkadde? Ebigambo “eggulu eriggya n’ensi empya” bitegeeza nti wajja kubaawo gavumenti empya n’abantu abalungi abanaafugibwa gavumenti eyo. Obwakabaka bwa Katonda obukwasiddwa Yesu Kristo bujja kufuga abantu mu ngeri Katonda ow’entegeka gy’ayagala. (1 Kol. 14:33) N’olwekyo, “ensi empya” ejja kuba ntegeke bulungi. Wajja kubaawo abasajja abalungi abajja okuddukanya ebintu ku nsi. (Zab. 45:16) Bajja kuba bakolera ku bulagirizi bwa Yesu Kristo ne banne 144,000 baagenda okufuga nabo. Lowooza ku kiseera ekyo ng’ensi efugibwa gavumenti emu, eri obumu, era etasobola kwonoonebwa.
EBIKOLWA EBIBI
10. Bikolwa ki ebibi ebikolebwa abantu mu kitundu gy’obeera, era kiki ggwe n’ab’omu maka go kye musaanidde okukola?
10 Ebikolwa ebibi bitukosa bitya? Leero ensi ejjudde ebikolwa ebibi. Obugwenyufu, obutali bwesigwa, n’ebikolwa eby’obukambwe biri buli wamu. Abazadde kibeetaagisa okufuba ennyo okukuuma abaana baabwe baleme kwonoonebwa bikolwa ebyo. Bannakatemba ne bannabyamizannyo baleetera abantu okulowooza nti ebikolwa ebyo ebibi birungi, era banyoomoola emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (Is. 5:20) Abakristaayo beewala okutwalirizibwa ebikolwa ebyo ebibi. Bafuba okukuuma enkolagana yaabwe ne Katonda mu nsi eno embi etassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.
11. Ekyo Yakuwa kye yakola Sodomu ne Ggomola kituyigiriza ki?
11 Kiki Yakuwa ky’anaakola bwe kituuka ku bikolwa ebibi? Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yakolawo ebikolwa ebibi bwe byayitirira mu Sodomu ne Ggomola. (Soma 2 Peetero 2:6-8.) Omusajja omutuukirivu Lutti n’ab’omu maka ge baayisibwa bubi nnyo olw’ebikolwa ebibi ebyali bikolebwa abantu abaali babeetoolodde. Yakuwa bwe yazikiriza ebibuga ebyo yamalawo ebikolwa ebyo ebibi. Ate era mu kuzikiriza ebibuga ebyo, yalaga “ekyo ekinaatuuka ku bantu abatatya Katonda.” Nga Yakuwa bwe yamalawo ebikolwa ebibi mu kiseera ekyo, era bw’atyo bw’ajja okumalawo ebikolwa ebibi ebiriwo leero bw’anaazikiriza ensi ya Sitaani embi.
12. Ebimu ku bintu bye weesunga okukola mu nsi empya bye biruwa?
12 Kiki ekijja okudda mu kifo ky’ebikolwa ebibi? Mu nsi empya tujja kuba n’emirimu mingi egituleetera essanyu. Tujja kukola omulimu ogw’okufuula ensi olusuku lwa Katonda era tujja kwezimbira amayumba era tuzimbire n’abaagalwa baffe. Lowooza ku ssanyu lye tulifuna nga twaniriza abantu baffe abaafa abanaaba bazuukiziddwa, era nga tubayigiriza amakubo ga Yakuwa n’ebyo by’azze akolera abantu. (Is. 65:21, 22; Bik. 24:15) Tujja kuba n’eby’okukola bingi ebijja okutuleetera essanyu era ebijja okuleetera Yakuwa ettendo!
EMBEERA EMBI
13. Biki ebyava mu bujeemu bwa Sitaani, Adamu, ne Kaawa?
13 Embeera embi eriwo mu nsi etukosa etya? Abantu ababi, ebibiina by’abantu ebibi, n’ebikolwa ebibi, bireeseewo embeera embi mu nsi. Mu ngeri emu oba endala ffenna tukosebwa entalo, obwavu, n’obusosoze. Ffenna tulwala era tufiirwa. Embeera embi eriwo mu nsi yajjawo oluvannyuma lwa Sitaani, Adamu, ne Kaawa okujeemera Yakuwa. Ffenna tukosebwa olw’embeera eyo eyajjawo olw’obujeemu.
14. Bwe kituuka ku mbeera embi eriwo mu nsi, kiki Yakuwa ky’anaakola? Waayo ekyokulabirako.
14 Bwe kituuka ku mbeera embi eriwo mu Zabbuli 46:8, 9.) Ate obulwadde? Yakuwa ajja kubuggyawo. (Is. 33:24) Ate okufa? Yakuwa ajja kumira okufa emirembe gyonna! (Is. 25:8) Ate era ajja kumalawo obwavu. (Zab. 72:12-16) Era Yakuwa ajja kumalawo n’ebintu ebirala byonna ebituleetera ennaku. Ajja kumalawo n’omwoyo gw’ensi oguva eri Sitaani ne badayimooni be.
15. Ebimu ku bintu ebijja okuvaawo oluvannyuma lwa Amagedoni bye biruwa?
15 Lowooza ku ngeri obulamu gye bunaaba mu nsi empya! Ensi tejja kubaamu ntalo, ndwadde, wadde okufa. Tewajja kubaawo magye, ka gabe ga ku nnyanja oba ag’omu bbanga. Tewajja kubaawo byakulwanyisa era tetujja kujjukira bulumi bwe twafuna olw’entalo. Tewajja kubaawo malwaliro, basawo, mawanika, abakola ku by’okuziika, wadde ebiggya! Ate era olw’okuba obumenyi bw’amateeka bunaaba buweddewo, tewajja kubaawo bitongole bikuuma ddembe, makufulu, wadde ebikomera ebitangira ababbi! Mu kiseera ekyo, tujja kuba tetukyalina bitweraliikiriza.
16, 17. (a) Buweerero ki abo abanaawonawo ku Amagedoni bwe bagenda okufuna? Waayo ekyokulabirako. (b) Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba ab’okuwonawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa?
16 Obulamu buliba butya ng’embeera embi evuddewo? Ekyo si kyangu kuteebereza. Tumaze ekiseera kiwanvu nga tubonaabona ne kiba nti ebintu ebimu ebitunyiga tetubirowoozanako. Kino kiyinza okugeraageranyizibwa ku bantu ababeera okumpi n’oluguudo oluyisa emmotoka ennyingi oba ababeera okumpi n’ekifo omusuulibwa kasasiro. Ekiseera kituuka ne baba nga tebakyawulira mmotoka ezo oba okuwunyirwa ekivundu. Naye singa emmotoka zirekera awo okuyita ku luguudo olwo oba singa kasasiro oyo aggibwawo, abantu abo bafuna obuweerero obw’amaanyi!
17 Kiki ekinadda mu kifo ky’ennaku gye tulimu leero? Zabbuli 37:11 wagamba nti: “[Abawombeefu] baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.” Ebigambo ebyo tebikuleetera essanyu? Ekyo kyennyini Yakuwa ky’akwagaliza. N’olwekyo, kola kyonna ekisoboka okunywerera ku Yakuwa ne ku kibiina kye mu nnaku zino ez’enkomerero enzibu ennyo! Nyweza essuubi ly’olina, lifumiitirizengako, era nyiikira okubuulirako abalala ku bintu Yakuwa by’atusuubizza! (1 Tim. 4:15, 16; 1 Peet. 3:15) Bw’onookola bw’otyo, tojja kusaanawo ng’ensi eno eyasalirwa omusango eggibwawo. Mu kifo ky’ekyo, ojja kubeerawo emirembe gyonna ng’oli musanyufu!
^ lup. 1 Akatundu kano koogera ku nkola eyaliwo edda mu makomera mu bitundu ebimu eby’Amerika.