EKITUNDU EKY’OKUSOMA 38
Weeyise mu Ngeri ey’Amagezi mu Kiseera eky’Emirembe
“Ensi yalimu emirembe; era teyalina ntalo mu myaka egyo, kubanga Yakuwa yamuwa ekiwummulo.”—2 BYOM. 14:6.
OLUYIMBA 60 Tutaase Obulamu Bwabwe
OMULAMWA *
1. Ddi lwe kiyinza obutaba kyangu kuweereza Yakuwa?
OLOWOOZA ddi lwe kiyinza obutaba kyangu kuweereza Yakuwa; ng’oyolekagana n’ebizibu eby’amaanyi oba ng’olina emirembe emisaamusaamu? Bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu twesigama nnyo ku Yakuwa. Naye kiki kye tukola mu kiseera nga tetulina bizibu bya maanyi? Kyandiba nti tuwugulibwa ne tulekera awo okuweereza Yakuwa mu bujjuvu? Yakuwa yalabula Abayisirayiri ku kabi ako.—Ma. 6:10-12.
2. Kyakulabirako ki Kabaka Asa kye yassaawo?
2 Kabaka Asa yeeyisa mu ngeri ey’amagezi kubanga yeesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna. Yaweereza Yakuwa mu biseera ebizibu ne mu biseera eby’emirembe. Bayibuli egamba nti: “Asa yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna, obulamu bwe bwonna.” (1 Bassek. 15:14) Engeri emu gye yakiragamu nti yali yeemalidde ku Yakuwa kwe kuba nti yasaanyaawo okusinza okw’obulimba mu Yuda. Bayibuli egamba nti “yaggyawo ebyoto bya bakatonda abalala n’ebifo ebigulumivu, n’abetenta empagi ezisinzibwa era n’atemaatema n’ebikondo ebisinzibwa.” (2 Byom. 14:3, 5) Yaggya ne jjajjaawe Maaka ku bwa nnamasole. Lwaki? Kubanga Maaka yali aleetera abantu okusinza ekifaananyi.—1 Bassek. 15:11-13.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Asa teyakoma ku kusaanyaawo kusinza okw’obulimba. Era yayamba abantu b’omu Yuda okuddamu okusinza Yakuwa. Yakuwa yawa Asa n’Abayisirayiri omukisa ne baba n’emirembe * Okumala emyaka kkumi mu bufuzi bwa Asa, “ensi yalimu emirembe.” (2 Byom. 14:1, 4, 6) Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Asa gye yakozesaamu ekiseera ekyo eky’emirembe. Ate era tugenda kulaba ekyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, nabo okufaananako Asa abaakozesa obulungi ekiseera eky’emirembe. Oluvannyuma tujja kuddamu ekibuuzo kino: Bw’oba ng’obeera mu nsi ewa abantu eddembe ery’okusinza, oyinza otya okukozesa obulungi ekiseera ekyo eky’emirembe?
okumala ekiseera.ENGERI ASA GYE YAKOZESAAMU EKISEERA EKY’EMIREMBE
4. Okusinziira ku 2 Ebyomumirembe 14:2, 6, 7, Asa yakozesa atya ekiseera eky’emirembe?
4 Soma 2 Ebyomumirembe 14:2, 6, 7. Asa yagamba abantu nti Yakuwa ye yali abawadde “ekiwummulo okwetooloola wonna.” Asa teyakitwala nti ekiseera ekyo kyali kya kubeera mu ggandaalo. Mu kifo ky’ekyo, yakozesa ekiseera ekyo okuzimba ebibuga, bbugwe, eminaala, n’emiryango. Yagamba abantu b’omu Yuda nti: “Ensi ekyali mu buyinza bwaffe.” Kiki Asa kye yali ategeeza? Yali ategeeza nti abantu baali basobola okwetaaya mu nsi Katonda gye yali abawadde era nti baali basobola okuzimba awatali kuziyizibwa balabe baabwe. Yakubiriza abantu okukozesa obulungi ekiseera ekyo eky’emirembe.
5. Lwaki Asa yanyweza eggye lye?
5 Ate era Asa yakozesa ekiseera eky’emirembe okunyweza eggye lye. (2 Byom. 14:8) Ekyo kitegeeza nti yali teyeesiga Yakuwa? Nedda. Asa yali akimanyi nti bwali buvunaanyizibwa bwe nga kabaka okuyamba abantu okweteekerateekera ebiseera ebizibu ebyali biyinza okujja. Yali akimanyi nti emirembe abantu b’omu Yuda gye baalimu gyali giyinza obutabaawo kiseera kyonna, era yali mutuufu.
ENGERI ABAKRISTAAYO AB’OMU KYASA EKYASOOKA GYE BAAKOZESAAMU EKISEERA EKY’EMIREMBE
6. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakozesa batya ekiseera eky’emirembe?
6 Wadde ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayigganyizibwa nnyo, waliwo ebiseera lwe baabeeranga n’emirembe. Baakozesa batya ebiseera ebyo? Abasajja n’abakazi abo abeesigwa baabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi. Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kigamba nti ‘baatambulira mu kutya Yakuwa.’ Beeyongera okubuulira amawulire amalungi, era n’ekyavaamu beeyongera okuba abangi. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa yawa omukisa okufuba kwe baakola okubuulira mu kiseera eky’emirembe.—Bik. 9:26-31.
7-8. Kiki Pawulo n’abalala kye baakola nga bafunye akakisa? Nnyonnyola.
7 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baakozesa buli kakisa ke baafuna okubuulira amawulire amalungi. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo bwe yakiraba nti oluggi olunene lwali lumugguliddwawo ng’ali mu Efeso, yakozesa akakisa ako okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa mu kibuga ekyo.—1 Kol. 16:8, 9.
8 Ate era Pawulo n’Abakristaayo abalala baafuna akakisa okubuulira abantu bangi oluvannyuma lw’ensonga ekwata ku kukomolebwa okugonjoolwa mu mwaka gwa 49 E.E. (Bik. 15:23-29) Oluvannyuma lw’ekyo ekyali kisaliddwawo okutegeezebwa ebibiina, abayigirizwa baanyiikira okubuulira “amawulire amalungi ag’ekigambo kya Yakuwa.” (Bik. 15:30-35) Biki ebyavaamu? Bayibuli egamba nti ‘ebibiina byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza gweyongeranga buli lunaku.’—Bik. 16:4, 5.
OKUKOZESA EBISEERA EBY’EMIREMBE LEERO
9. Embeera eri etya mu nsi nnyingi leero, era kiki kye tusaanidde okwebuuza?
9 Mu nsi nnyingi leero, tusobola okubuulira awatali kuziyizibwa. Ensi gy’obeeramu ewa abantu eddembe ly’okusinza? Bwe kiba kityo weebuuze, ‘Nkozesa ntya eddembe eryo?’ Mu nnaku zino ez’enkomerero ekibiina kya Yakuwa kikola omulimu gw’okubuulira ku kigero ekitabangawo mu byafaayo. (Mak. 13:10) Waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola mu mulimu guno.
10. Kiki kye tukubirizibwa okukola mu 2 Timoseewo 4:2?
10 Oyinza otya okukozesa obulungi ekiseera eky’emirembe? (Soma 2 Timoseewo 4:2.) Lwaki totunula mu mbeera yo n’olaba obanga ggwe oba omu ku b’omu maka go asobola okugaziya ku buweereza bwe, si na kindi okuweereza nga payoniya? Kino si kye kiseera okwetuumako eby’obugagga oba ebintu, kubanga ebintu ebyo tebijja kuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene.—Nge. 11:4; Mat. 6:31-33; 1 Yok. 2:15-17.
11. Kiki abamu kye bakoze okutuusa amawulire amalungi ku bantu bangi nga bwe kisoboka?
11 Ababuulizi bangi bayize olulimi olulala basobole okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Ekibiina kya Yakuwa kibawagira nga kifulumya ebitabo ne vidiyo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi nnyingi. Ng’ekyokulabirako, mu 2010, ebitabo byaffe byali mu nnimi nga 500. Leero ebitabo byaffe biri mu nnimi ezisukka mu 1,000!
12. Abantu baganyulwa batya bwe bawulira amawulire amalungi mu lulimi lwabwe? Waayo ekyokulabirako.
12 Abantu bakwatibwako batya bwe bawulira amazima agali mu Kigambo kya Katonda
mu lulimi lwabwe? Lowooza ku mwannyinaffe omu eyaganyulwa ennyo mu lukuŋŋaana olunene olwali mu Memphis, Tennessee, Amerika. Olukuŋŋaana olwo lwali mu lulimi Olunyarwanda olwogerwa okusingira ddala mu Rwanda, Congo (Kinshasa), ne Uganda. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, mwannyinaffe oyo ayogera Olunyarwanda yagamba nti: “Guno gwe mulundi gwe nsoose okutegeera obulungi ebiri ku lukuŋŋaana olunene bukya nzija mu Amerika emyaka 17 emabega.” Mazima ddala mwannyinaffe oyo yakwatibwako nnyo bwe yagenda ku lukuŋŋaana olwo olwali mu lulimi lwe. Embeera yo bw’eba ekusobozesa, osobola okuyiga olulimi olulala obeeko abantu b’oyamba mu kitundu mw’obuulira? Bw’olowooza ku bantu abamu abali mu kitundu kyo abatanguyirwa kwogera lulimi olusinga okukozesebwa mu kitundu kyo kiyinza okukuleetera okuyiga olulimi lwabwe. Ekyo bw’okikola ojja kufuna essanyu lingi.13. Baganda baffe mu Russia baakozesa batya ekiseera eky’emirembe?
13 Baganda baffe abamu tebalina ddembe kubuulira kyere. Mu nsi ezimu gavumenti tezikkiriza baganda baffe kubuulira kyere. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku baganda baffe ab’omu Russia. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mingi nga bayigganyizibwa, gavumenti yabawa eddemu ly’okusinza mu Maaki 1991. Mu kiseera ekyo, mu Russia mwalimu ababuulizi 16,000. Nga wayise emyaka 20, omuwendo ogwo gwatuuka ku babuulizi 160,000! Kyeyoleka lwatu nti baganda baffe abo beeyisa mu ngeri ey’amagezi bwe baafuna akakisa okubuulira kyere. Ekiseera ekyo eky’emirembe kyamala ne kikoma. Naye wadde nga wajjawo enkyukakyuka eyo, baganda baffe abo bakyeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Bakola kyonna kye basobola okweyongera okuweereza Yakuwa.
EKISEERA EKY’EMIREMBE TEKIJJA KUBAAWO BBANGA LYONNA
14-15. Yakuwa yakozesa atya amaanyi ge okuyamba Asa?
14 Mu kiseera kya Asa, ekiseera eky’emirembe kyamala ne kikoma. Eggye eddene eryalimu abasirikale akakadde kamu lyabalumba okuva mu Esiyopiya. Omuduumizi waalyo eyali ayitibwa Zeera yali mukakafu nti baali bagenda kuwangula Yuda. Naye Kabaka Asa obwesige bwe teyabussa mu muwendo gw’abasirikale, wabula yabussa mu Katonda we Yakuwa. Asa yasaba nti: “Tuyambe Ai Yakuwa Katonda waffe, kubanga twesiga ggwe, era tuzze mu linnya lyo okulwanyisa ekibiina kino.”—2 Byom. 14:11.
15 Wadde ng’omuwendo gw’eggye lya Esiyopiya gwali gukubisaamu ogw’eggye lya Yuda emirundi ebiri, Asa yali akimanyi nti Yakuwa wa maanyi era nti asobola okuyamba abantu be. Yakuwa yayamba abantu be; era eggye lye Esiyopiya lyawangulwa.—2 Byom. 14:8-13.
16. Tumanya tutya nti ekiseera eky’emirembe tekijja kubaawo bbanga lyonna?
16 Wadde nga tetumanyidde ddala byonna ebinaatutuukako kinnoomu mu kiseera eky’omu maaso, tukimanyi nti emirembe abantu ba Yakuwa gye balina tegijja kubaawo bbanga lyonna. Mu butuufu, Yesu yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero, abayigirizwa be ‘bandikyayiddwa amawanga gonna.’ (Mat. 24:9) N’omutume Pawulo yagamba nti “abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:12) Sitaani alina “obusungu bungi,” era tuba twerimba bwe tulowooza nti tusobola okwewala okwolekezebwa obusungu bwe.—Kub. 12:12.
17. Mu ngeri ki okukkiriza kwaffe gye kuyinza okugezesebwa?
17 Mu kiseera ekitali kya wala, ffenna okukkiriza kwaffe kujja kugezesebwa. Wagenda kubaawo “ekibonyoobonyo ekinene ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo.” (Mat. 24:21) Mu kiseera ekyo ab’eŋŋanda zaffe bayinza okutwefuulira era omulimu gwaffe guyinza okuwerebwa. (Mat. 10:35, 36) Okufaananako Asa, naffe tuneesiga Yakuwa okutuyamba n’okutukuuma?
18. Okusinziira ku Abebbulaniya 10:38, 39, kiki ekinaatuyamba okweteekerateekera ekiseera emirembe lwe ginaggwaawo?
Mat. 24:45) Naye buli omu ku ffe alina okufuba ennyo okunyweza okukkiriza kwe.—Soma Abebbulaniya 10:38, 39.
18 Yakuwa azze atuteekateeka mu by’omwoyo tusobole okwaŋŋanga ebijja mu maaso. Asobozesa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuwa emmere ey’eby’omwoyo “mu kiseera ekituufu” tusobole okusigala nga tuli banywevu. (19-20. Okusinziira ku 1 Ebyomumirembe 28:9, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era lwaki tusaanidde okubyebuuza?
19 Okufaananako Kabaka Asa, tulina “okunoonya Yakuwa.” (2 Byom. 14:4; 15:1, 2) Tutandika okunoonya Yakuwa nga tuyiga ebimukwatako era ne tubatizibwa. Tukola kyonna ekisoboka okunyweza okwagala kwe tulina eri Yakuwa. Okusobola okumanya wa we tutuuse mu nsonga eno, tusaanidde okwebuuza, ‘Mbaawo mu nkuŋŋaana obutayosa?’ Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, tunywezebwa mu by’omwoyo era baganda baffe batuzzaamu amaanyi. (Mat. 11:28) Ate era tusaanidde okwebuuza, ‘Nnina enteekateeka ennungi ey’okwesomesa?’ Bw’oba obeera wamu n’abalala mu maka, obaawo mu kusinza kw’amaka buli wiiki? Oba bw’oba obeera wekka, era ofissaawo akadde okwesomesa nga bwe wandibadde ng’obeera wamu n’abalala mu maka? Ate era weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa?’
20 Lwaki tusaanidde okwebuuza ebibuuzo ebyo? Bayibuli etugamba nti Yakuwa akebera ebirowoozo n’emitima gyaffe, era naffe tusaanidde okubikebera. (Soma 1 Ebyomumirembe 28:9.) Bwe tukiraba nti twetaaga okubaako enkyukakyuka ze tukola mu biruubirirwa byaffe n’endowooza yaffe, tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okuzikola. Kino kye kiseera okweteekerateekera ebigezo bye tuyinza okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso. Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kukozesa bulungi kiseera eky’emirembe!
OLUYIMBA 62 Oluyimba Olupya
^ lup. 5 Mu nsi gy’olimu osobola okusinza Yakuwa kyere? Bwe kiba kityo, okozesa otya ekiseera ekyo eky’emirembe? Ekitundu kino kigenda kulaga engeri gy’oyinza okukoppa Kabaka Asa ow’omu Yuda n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Baakozesa bulungi ekiseera eky’emirembe.
^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Ekigambo “emirembe” kisingawo ku butaba na ntalo. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa emirembe era kitegeeza okuba omulamu obulungi, okuba n’obukuumi, n’okuba obulungi.
^ lup. 57 EBIFAANANYI: Kabaka Asa yagoba jjajjaawe ku bwa nnamasole kubanga yali aleetera abantu okwenyigira mu kusinza okw’obulimba. Abo abaali bawagira Asa baakolera wamu naye mu kusaanyaawo ebifaananyi.
^ lup. 59 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ne mukyala we beggyako ebintu ebimu basole okugenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.