“Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”
“Beera muvumu era beera wa maanyi okole omulimu. Totya era totekemuka kubanga Yakuwa . . . ali naawe.”—1 BYOM. 28:20.
1, 2. (a) Mulimu ki omukulu Sulemaani gwe yaweebwa? (b) Kiki ekikwata ku Sulemaani ekyali kyeraliikiriza Dawudi?
SULEMAANI yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ogumu ku mirimu gy’okuzimba egikyasinzeeyo obukulu mu byafaayo, nga guno gwe mulimu gw’okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi. Ekizimbe ekyo kyali kigenda ‘kuba matiribona, ekitiibwa kyakyo n’obulungi bwakyo bisobole okumanyibwa mu nsi zonna.’ N’ekisinga obukulu, yeekaalu eyo yali egenda kubeera ‘nnyumba ya Yakuwa Katonda ow’amazima.’ Yakuwa yalonda Sulemaani okulabirira omulimu gw’okuzimba yeekaalu eyo.—1 Byom. 22:1, 5, 9-11.
2 Kabaka Dawudi yali mukakafu nti Katonda yandiyambye Sulemaani. Naye Sulemaani yali ‘akyali muto era nga talina bumanyirivu.’ Sulemaani yandifunye obuvumu okuzimba yeekaalu eyo? Oba okuba nti yali akyali muvubuka era nga talina bumanyirivu kyandimulemesezza okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo? Okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo Sulemaani yalina okuba omuvumu n’akola omulimu ogwo.
3. Kiki Sulemaani kye yayigira ku kitaawe?
3 Okuba nti Dawudi, kitaawe wa Sulemaani yali muvumu, kiteekwa 1 Sam. 17:34, 35) Ate era yayoleka obuvumu bwe yeewaayo okulwana n’omusirikale omuwagguufu eyali ayitibwa Goliyaasi. Yakuwa yayamba Dawudi okutta omusirikale oyo ng’akozesa ejjinja.—1 Sam. 17:45, 49, 50.
okuba nga kyayamba Sulemaani okuba omuvumu. Bwe yali akyali muvubuka, Dawudi yalwanyisa ensolo enkambwe ezaali zaagala okulya endiga za kitaawe. (4. Lwaki Sulemaani yalina okuba omuvumu?
4 N’olwekyo tekyewuunyisa nti Dawudi yakubiriza Sulemaani okuba omuvumu azimbe yeekaalu! (Soma 1 Ebyomumirembe 28:20.) Singa Sulemaani teyali muvumu, okutya kwandimulemesezza okutandika okukola omulimu ogwo, era ekyo kyandibadde kibi nnyo n’okusinga okulemererwa okugukola obulungi.
5. Lwaki tulina okuba abavumu?
5 Okufaananako Sulemaani, naffe twetaaga Yakuwa okutuyamba okuba abavumu tusobole okumaliriza omulimu gwe yatuwa. Kati ka tulabeyo abamu ku bantu abaayoleka obuvumu mu biseera eby’edda. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okwoleka obuvumu tusobole okumaliriza omulimu ogwatukwasibwa.
ABAMU KU BANTU ABAAYOLEKA OBUVUMU
6. Yusufu yayoleka atya obuvumu?
6 Lowooza ku buvumu Yusufu bwe yayoleka nga mukyala wa Potifaali ayagala yeegatte naye. Yusufu ateekwa okuba nga yali akimanyi nti bwe yandigaanye okwegatta n’omukazi oyo, yandifunye ebizibu eby’amaanyi. Wadde kyali kityo, yagaana okwekkiriranya era n’adduka.—Lub. 39:10, 12.
7. Lakabu yayoleka atya obuvumu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 28.)
7 Lakabu ye muntu omulala eyayoleka obuvumu. Abakessi ba Isirayiri bwe baagenda mu nnyumba ye mu Yeriko, yali asobola okutya n’abagamba bagende awalala. Naye olw’okuba yali yeesiga Yakuwa, yayoleka obuvumu n’akweka abasajja abo ababiri era n’abayamba obutatuusibwako kabi. (Yos. 2:4, 5, 9, 12-16) Lakabu yali akkiriza nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima era yali mukakafu nti Yakuwa yali agenda kuwa Abayisirayiri ensi ya Kanani. Lakabu teyakkiriza kutya bantu, nga mw’otwalidde kabaka wa Yeriko n’abasajja be, kumulemesa kukola kituufu. Lakabu yasalawo mu ngeri eyamuviirako okuwonawo awamu n’ab’eŋŋanda ze.—Yos. 6:22, 23.
8. Okuba nti Yesu yali muvumu kyakwata kitya ku batume be?
8 Abatume ba Yesu kristo abeesigwa nabo baayoleka obuvumu. Baali balabye engeri Yesu gye yayolekamu obuvumu. (Mat. 8:28-32; Yok. 2:13-17; 18:3-5) Ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kyabayamba okuba abavumu. Wadde ng’Abasaddukaayo baali babayigganya, abatume baagaana okulekera awo okubuulira mu linnya lya Yesu.—Bik. 5:17, 18, 27-29.
9. Ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 1:7 bituyamba bitya okumanya ensibuko y’obuvumu?
9 Yusufu, Lakabu, Yesu, n’abatume, baayoleka obuvumu ne kibayamba okukola ekituufu. Obuvumu bwe baalina tebwava ku kuba nti baali beekakasa ekisukkiridde. Naye baabulina kubanga baali beesiga Yakuwa. Naffe twolekagana n’embeera ezitwetaagisa okuba abavumu. Mu kifo ky’okwesigama ku busobozi bwaffe, tusaanidde okwesiga Yakuwa. (Soma 2 Timoseewo 1:7.) Kati ka tulabeyo embeera za mirundi ebiri mwe twetaagira okwoleka obuvumu: mu maka ne mu kibiina.
EMBEERA EZITWETAAGISA OKWOLEKA OBUVUMU
10. Lwaki abavubuka Abakristaayo balina okuba abavumu?
10 Abavubuka Abakristaayo boolekagana n’embeera nnyingi ezibeetaagisa okuba abavumu okusobola okuweereza Yakuwa. Balina kye basobola okuyigira ku Sulemaani eyasalawo mu ngeri ey’amagezi n’ayoleka obuvumu n’amaliriza okuzimba yeekaalu. Wadde ng’abavubuka Abakristaayo basaanidde okussaayo omwoyo ku bulagirizi obubaweebwa bazadde baabwe, Nge. 27:11) Abavubuka kibeetaagisa okuba abavumu bwe baba ab’okusalawo obulungi bwe kituuka ku mikwano, ku by’okwesanyusaamu, ku nneeyisa yaabwe, ne ku kwewaayo eri Yakuwa. Ekyo kiri kityo kubanga bwe basalawo obulungi ku bintu ebyo baba banyiiza Sitaani, oyo asoomooza Yakuwa.
waliwo ebintu bingi bye balina okwesalirawo. (11, 12. (a) Musa yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obuvumu? (b) Abavubuka bayinza batya okukoppa Musa?
11 Ekimu ku bintu ebikulu abavubuka bye balina okusalawo bye biruubirirwa bye beeteerawo. Mu nsi ezimu abavubuka bakubirizibwa okuluubirira obuyigirize obwa waggulu n’emirimu egisasula ssente ennyingi. Ate mu nsi endala embeera embi ey’eby’enfuna ereetera abavubuka okussa essira ku kulabirira ab’eŋŋanda zaabwe mu by’omubiri. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, lowooza ku Musa. Okuva bwe kiri nti yakuzibwa muwala wa Falaawo, Musa yali asobola okusalawo okuluubirira okututumuka oba okugaggawala ennyo. Lowooza ku kupikirizibwa kwe yafuna okuva mu b’omu maka ga Falaawo, mu basomesa be, ne mu bawi b’amagezi! Mu kifo ky’okwekkiriranya, Musa yanywerera ku kusinza okw’amazima. Bwe yava e Misiri era n’aleka obugagga bwayo, obwesige bwe yabussa mu Yakuwa. (Beb. 11:24-26) N’ekyavaamu Yakuwa yamuwa emikisa mingi mu kiseera ekyo era ajja kumuwa n’emikisa emirala mu biseera eby’omu maaso.
12 Ne leero, Yakuwa awa emikisa abavubuka abeeteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne bakulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe. Abavubuka ng’abo Yakuwa abayamba okulabirira ab’omu maka gaabwe. Omuvubuka ayitibwa Timoseewo eyaliwo mu kyasa ekyasooka yakulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwe, era naawe osobola okukola kye kimu. *—Soma Abafiripi 2:19-22.
13. Okuba omuvumu kyayamba kitya mwannyinaffe omu okutuuka ku kiruubirirwa kye?
13 Mwannyinaffe omu abeera mu Alabama, Amerika, yalina okuba omuvumu okusobola okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Agamba nti: “Nnalina ensonyi nnyingi. Kyanzibuwaliranga okwogera n’abantu ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne mu kubuulira.” Naye bazadde ba mwannyinaffe oyo awamu n’abalala mu kibiina baamuyamba nnyo era mwannyinaffe oyo yasobola okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okufuuka payoniya owa bulijjo. Agamba nti: “Ensi ya Sitaani ekubiriza abantu okuluubirira obuyigirize obwa waggulu, ettutumu, ssente, n’eby’obugagga. Kyokka emirundi mingi ebiruubirirwa ebyo tebituukikako era kiviirako abantu okweraliikirira n’okuggweebwako essanyu. Naye okuweereza Yakuwa kindeetedde essanyu lingi n’okuwulira nga ndi mumativu.”
14. Ezimu ku mbeera abazadde Abakristaayo mwe beetaagira okwoleka obuvumu ze ziruwa?
14 Abazadde Abakristaayo nabo beetaaga okuba abavumu. Ng’ekyokulabirako, mukama wo ku mulimu ayinza okukugamba okukola okusukka ku ssaawa z’olina okunnyukirako oba okukola ku wiikendi kyokka ng’ebiseera ebyo wabissaawo osobole okuba n’okusinza kw’amaka, okwenyigira mu kubuulira, n’okugenda mu nkuŋŋaana. Kyetaagisa obuvumu okugaana okukola ekyo mukama wo ky’aba akugambye, era bw’okola bw’otyo oba oteerawo abaana bo ekyokulabirako ekirungi. Oba kiyinzika okuba nti abazadde abamu mu kibiina kyo bakkiriza abaana baabwe okukola ebintu gwe by’otoyagala baana bo kukola. Abazadde abo bayinza n’okukubuuza ensonga lwaki tokkiriza baana bo kwenyigira mu bintu ebyo. Onooyoleka obuvumu n’obannyonnyola mu ngeri ey’amagezi ensonga lwaki tokkiriza baana bo kwenyigira mu bintu ebyo?
15. Ebyo ebiri mu Zabbuli 37:25 ne mu Abebbulaniya 13:5 biyinza bitya okuyamba abazadde?
15 Ate era abazadde booleka obuvumu nga bayamba abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa Zabbuli 37:25; Abebbulaniya 13:5.) Abazadde abooleka obuvumu ne beesiga Yakuwa bayamba n’abaana baabwe okukola kye kimu.—1 Sam. 1:27, 28; 2 Tim. 3:14, 15.
eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, abazadde abamu bayinza okutya okukubiriza abaana baabwe okufuuka bapayoniya, okugenda okuweereza awali obwetaavu obusingako, okugenda okuweereza ku Beseri, oba okukola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Abazadde abo bayinza okutya nti singa abaana bayingira mu buweereza obwo tebajja kusobola kubalabirira nga bakaddiye. Naye abazadde ab’amagezi booleka obuvumu ne beesiga Yakuwa nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. (Soma16. Abazadde abamu bayambye batya abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ekyo kibaganyudde kitya?
16 Omwami n’omukyala omu ab’omu Amerika baayamba abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo. Omwami agamba nti: “Abaana baffe bwe baali tebannayiga kutambula wadde okwogera twababuuliranga ku birungi ebiri mu kuweereza nga bapayoniya n’okuweereza ekibiina. Kati ekyo kye kiruubirirwa ky’abaana baffe. Okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okufuba okubituukako kiyambye abaana baffe okuziyiza okupikirizibwa okuva mu nsi ya Sitaani era kibayambye okukulembeza Yakuwa.” Ow’oluganda alina abaana ababiri agamba nti: “Abazadde bangi bateekamu amaanyi ne ssente nnyingi okuyamba abaana baabwe okutuuka ku biruubirirwa ebitali bimu, gamba ng’okubeera bannabyamizannyo, bannakatemba, oba okufuna obuyigirize obw’omu nsi. Naye kya magezi okuyamba abaana baffe okutuuka ku biruubirirwa ebibayamba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kituleetedde essanyu lingi okuyamba abaana baffe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo n’okulaba nga babituukako.” Tewali kubuusabuusa nti Katonda awa emikisa abazadde abayamba abaana baabwe okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo era ne babituukako.
OKWOLEKA OBUVUMU MU KIBIINA
17. Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri ezitali zimu Abakristaayo gye boolekamu obuvumu mu kibiina.
17 Twetaaga okwoleka obuvumu ne mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, abakadde beetaaga okuba abavumu nga bakola ku nsonga ezikwata ku kukuuma obuyonjo bw’ekibiina oba nga bakolagana n’abasawo okuyamba ab’oluganda ku nsonga z’obujjanjabi. Abakadde abamu bakyala mu
makomera okuyamba abasibe mu by’omwoyo. Ate bo bannyinaffe abali obwannamunigina? Kati bangi ku bo basobola okugaziya ku buweereza bwabwe nga baweereza nga bapayoniya, nga bagenda mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, nga bakola mu kitongole ekirabirira omulimu gw’okuzimba, oba nga basaba okugenda mu Ssomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka. Abamu basobola n’okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi.18. Bannyinaffe abakulu bayinza batya okwoleka obuvumu?
18 Bannyinaffe abakulu mu myaka ba mugaso nnyo mu kibiina era tubaagala nnyo! Abamu ku bo bayinza okuba nga tebakyasobola kukola ebyo bye baakolanga edda mu buweereza bwabwe, naye era bakyasobola okwoleka obuvumu. (Soma Tito 2:3-5.) Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omukulu kiba kimwetaagisa okwoleka obuvumu ng’asabiddwa okwogerako ne mwannyinaffe omuto ku nnyambala ye. Takambuwalira mwannyinaffe oyo omuto, naye amuyamba okulowooza ku ngeri ennyambala ye gy’ekwata ku balala. (1 Tim. 2:9, 10) Bannyinaffe abakulu bwe booleka okwagala mu ngeri ng’eyo, kisobola okunyweza ekibiina.
19. (a) Ab’oluganda ababatize bayinza batya okwoleka obuvumu? (b) Ebyo ebiri mu Abafiripi 2:13 ne 4:13 bisobola bitya okuyamba ab’oluganda okuba abavumu?
19 Abalala abeetaaga okwoleka obuvumu be b’oluganda ababatize. Ab’oluganda abooleka obuvumu ne bakkiriza okwetikka obuvunaanyizibwa mu kibiina baganyula nnyo ekibiina. (1 Tim. 3:1) Naye abamu baba tebaagala kuluubirira nkizo mu kibiina. Ow’oluganda ayinza okuba ng’alina ensobi ze yakola emabega era nga kati awulira nti tasaana kubeera muweereza oba mukadde mu kibiina. Oba ow’oluganda ayinza okuba ng’awulira nti tasobola kutuukiriza mulimu ogumu. Bw’oba ng’owulira bw’otyo, Yakuwa asobola okukuyamba okuba omuvumu. (Soma Abafiripi 2:13; 4:13.) Kijjukire nti lumu ne Musa yali awulira nga tasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa. (Kuv. 3:11) Naye Yakuwa yamuyamba okuba omuvumu era Musa yasobola okukola omulimu ogwamuweebwa. Ow’oluganda omubatize asobola okuba omuvumu singa asaba Yakuwa era n’afuba okusoma Bayibuli buli lunaku. Okufumiitiriza ku byokulabirako by’abantu aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka obuvumu nakyo kisobola okumuyamba. Asobola okusaba abakadde okumutendeka era n’aba mwetegefu okukola omulimu gwonna oguba gumuweereddwa. Tukubiriza ab’oluganda bonna ababatize okwoleka obuvumu baweereze mu kibiina!
“YAKUWA . . . ALI NAAWE”
20, 21. (a) Kiki Dawudi kye yagamba Sulemaani? (b) Tuli bakakafu ku ki?
20 Kabaka Dawudi yagamba Sulemaani nti Yakuwa yandibadde naye okutuusa lwe yandimalirizza omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (1 Byom. 28:20) Sulemaani ateekwa okuba nga yafumiitiriza ku bigambo bya kitaawe ebyo, bw’atyo n’atakkiriza kya kuba nti yali muvubuka era nga talina bumanyirivu kumulemesa kukola mulimu ogwamuweebwa. Sulemaani yayoleka obuvumu n’azimba yeekaalu amatiribona, era Yakuwa yamuyamba n’amaliriza okugizimba mu myaka musanvu n’ekitundu gyokka.
21 Nga Yakuwa bwe yayamba Sulemaani, naffe asobola okutuyamba ne twoleka obuvumu ne tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe tulina awaka ne mu kibiina. (Is. 41:10, 13) Bwe twoleka obuvumu nga tuweereza Yakuwa, ajja kutuwa emikisa mu kiseera kino ne mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, “beera muvumu . . . okole omulimu.”
^ lup. 12 Osobola okulaba amagezi agasobola okukuyamba okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 2004, lup. 21.