EKITUNDU EKY’OKUSOMA 41
Osobola Okufuna Essanyu Erya Nnamaddala
“Alina essanyu buli atya Yakuwa, buli atambulira mu makubo ge.”—ZAB. 128:1.
OLUYIMBA 110 “Essanyu lya Yakuwa”
OMULAMWA *
1. ‘Bwetaavu ki obw’eby’omwoyo’ bwe tulina, era bulina kakwate ki n’okuba abasanyufu?
ESSANYU erya nnamaddala si nneewulira omuntu gy’afuna akaseera obuseera. Omuntu asobola okuba nalyo obulamu bwe bwonna. Mu ngeri ki? Lumu Yesu bwe yali ayigiriza, yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3) Yesu yali akimanyi nti twatondebwa nga tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo, kwe kugamba, obwetaavu bw’okusinza Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda. Olw’okuba Yakuwa Katonda musanyufu, n’abo abamusinza basobola okuba abasanyufu.—1 Tim. 1:11.
2-3. (a) Yesu yagamba nti baani abalala abasobola okuba abasanyufu? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino, era lwaki byetaagisa?
2 Twetaaga okuba na buli kimu mu bulamu okusobola okuba abasanyufu? Nedda. Yesu era yayogera ekintu ekyewuunyisa. Yagamba nti abo “abakungubaga” oboolyawo olw’ebibi bye baakola oba olw’ebizibu bye boolekagana nabyo mu bulamu, basobola okuba abasanyufu. Yayogera ekintu kye kimu ku abo “abayigganyizibwa olw’obutuukirivu” oba abo ‘abavumibwa’ olw’okuba bagoberezi ba Kristo. (Mat. 5:4, 10, 11) Naye tuyinza tutya okuba n’essanyu erya nnamaddala mu mbeera ng’ezo?
3 Yesu yali atuyigiriza nti essanyu erya nnamaddala teriva mu kuba bulungi mu bulamu, naye liva mu kukola ku bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (Yak. 4:8) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala.
WEERIISE MU BY’OMWOYO
4. Kintu ki ekisooka kye tulina okukola okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala? (Zabbuli 1:1-3)
4 EKISOOKA: Okusobola okuba n’essanyu erya nnamaddala, tulina okulya emmere ey’eby’omwoyo. Abantu beetaaga okulya emmere okusobola okuba abalamu era n’ebisolo byetaaga okulya okusobola okuba ebiramu. Naye abantu bokka be basobola okulya emmere ey’eby’omwoyo, era emmere eyo tugyetaaga nnyo. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Mat. 4:4) N’olwekyo, fuba okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: ‘Alina essanyu omuntu asanyukira amateeka ga Yakuwa era agasoma emisana n’ekiro.’—Soma Zabbuli 1:1-3.
5-6. (a) Biki bye tusobola okuyiga bwe tusoma Bayibuli? (b) Tuganyulwa tutya bwe tusoma Bayibuli?
5 Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa atubuulira engeri gye tuyinza okuba abasanyufu mu bulamu. Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, atubuulira bye tulina okukola okusobola okuba basanyufu. Atubuulira ekigendererwa ky’obulamu, engeri gye tuyinza okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era ne kye tuyinza okukola okusobola okusonyiyibwa ebibi byaffe. Ate era atusuubiza okutukolera ebintu ebirungi mu biseera eby’omu maaso. (Yer. 29:11) Ebintu ebyo bye tuyiga mu Bayibuli bituleetera essanyu lingi!
6 Bayibuli era erimu amagezi agasobola okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo. Bwe tukolera ku magezi ago, tusobola okufuna essanyu erya nnamaddala. Buli lw’owulira ng’oweddemu amaanyi olw’ebizibu by’oyolekagana nabyo mu bulamu, soma Ekigambo kya Yakuwa era okifumiitirizeeko. Yesu yagamba nti: “Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—Luk. 11:28.
7. Oyinza otya okuganyulwa mu bujjuvu mu budde bw’owaayo okusoma Ekigambo kya Katonda?
7 Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda, waayo obudde ofumiitirize ku ebyo by’osoma. Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti omuntu akufumbidde emmere gy’oyagala ennyo, naye olw’okuba emmere eyo ogirya ng’opapa oba ng’olina ebintu ebirala bingi by’olowoozaako, towulira buwoomi bwayo. Oluvannyuma lw’okulya, okiraba nti emmere ogiridde opapa era ne wejjusa nti singa olidde mpolampola n’osobola okugiwoomerwa. Ekintu ng’ekyo kyali kikutuuseeko ng’osoma Bayibuli? Wali osomyeko Bayibuli ng’oyanguyiriza n’otofunamu kya kuyiga kyonna? Bw’oba osoma Bayibuli, waayo obudde obumala osobole okunyumirwa ebyo by’osoma. Kuba akafaananyi ng’olaba ebyo ebyaliwo, ng’owulira amaloboozi, era fumiitiriza ku ebyo by’oba osoma. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuna essanyu.
8. “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuukiriza atya obuvunaanyizibwa bwe? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
8 Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutuwa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu, era tuliisibwa bulungi nnyo mu by’omwoyo. * (Mat. 24:45) Emmere yonna ey’eby’omwoyo omuddu omwesigwa gy’atuwa eba yeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (1 Bas. 2:13) Bw’ekityo, emmere ey’eby’omwoyo etuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa eri mu Bayibuli. Eyo ye nsonga lwaki tusoma ebitundu ebifulumira mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Zuukuka era ne ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. Tweteekerateekera enkuŋŋaana z’ekibiina ez’omu makkati mu wiiki n’ez’oku wiikendi. Ate era tulaba programu eya buli mwezi eya JW Broadcasting®. Okulya emmere ennyingi ey’eby’omwoyo kitusobozesa okukola ekintu eky’okubiri ekituyamba okufuna essanyu erya nnamaddala.
KOLERA KU MITINDO GYA YAKUWA
9. Kintu ki eky’okubiri ekisobola okutuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala?
9 EKY’OKUBIRI: Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala, tulina okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Alina essanyu buli atya Yakuwa, buli atambulira mu makubo ge.” (Zab. 128:1) Okutya Yakuwa kitegeeza okumuwa ekitiibwa eky’amaanyi era n’okwewala okukola ebintu ebitamusanyusa. (Nge. 16:6) Ekyo kitegeeza nti tulina okweyongera okukolera ku mitindo gya Yakuwa egikwata ku kituufu n’ekikyamu, nga bwe giragibwa mu Bayibuli. (2 Kol. 7:1) Tujja kuba basanyufu singa tukola ebyo Yakuwa by’ayagala era ne twewala okukola ebyo by’atayagala.—Zab. 37:27; 97:10; Bar. 12:9.
10. Okusinziira ku Abaruumi 12:2, kiki kye tulina okukola?
10 Soma Abaruumi 12:2. Omuntu ayinza okumanya nti Yakuwa alina obuyinza okussaawo emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu, naye era alina okukkiriza okukolera ku mitindo egyo. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okuba ng’amanyi nti gavumenti erina obuyinza okusalawo sipiidi abantu kwe balina okuvugira emmotoka ku nguudo. Naye ye ayinza okuba nga tayagala kuvugira ku sipiidi eyo eyassibwawo. N’ekivaamu, ayinza okuvugira ku sipiidi esukka ku eyo gye bassaawo. Okuyitira mu bikolwa byaffe tukiraga nti okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa kye kisingayo obulungi. (Nge. 12:28) Bw’atyo Dawudi bwe yakola, kubanga yagamba Yakuwa nti: “Ommanyisa ekkubo ery’obulamu. W’oli waliwo okusanyuka kungi; ku mukono gwo ogwa ddyo waliwo essanyu emirembe n’emirembe.”—Zab. 16:11.
11-12. (a) Bwe tuba nga tulina ekitweraliikiriza oba ekitumazeemu amaanyi, kiki kye tusaanidde okwegendereza? (b) Ebigambo ebiri mu Abafiripi 4:8 biyinza kutuyamba bitya nga tulonda eby’okwesanyusaamu?
11 Bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza, tuyinza okuwulira nga twetaaga okubaako ekintu kye tukola ekisobola okuwugula ebirowoozo byaffe. Naye mu kiseera ng’ekyo tulina okwegendereza tuleme kukola kintu kyonna Yakuwa ky’akyawa.—Bef. 5:10-12, 15-17.
12 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abafiripi, omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okweyongera okulowooza ku bintu ‘ebituukirivu, ebirongoofu, ebyagalibwa, n’ebirungi.’ (Soma Abafiripi 4:8.) Wadde nga Pawulo yali tayogera butereevu ku bya kwesanyusaamu, ebyo bye yayogera bisaanidde okukwata ku by’okwesanyusaamu bye tulondawo. Gezaako kino: Bw’oba osoma olunyiriri olwo, lowooza ku nnyimba z’owuliriza, vidiyo z’olaba, ebitabo by’osoma, oba emizannyo gya vidiyo gy’ozannya olabe obanga ebirimu bya butuukirivu, birongoofu, byagalibwa, oba birungi. Bw’onookola bw’otyo, ojja kumanya ebyo ebikkirizibwa mu maaso ga Katonda n’ebyo ebitakkirizibwa. Tusaanidde okukolera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Zab. 119:1-3) Ekyo kijja kutuyamba okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era kituleetere okukola ekintu ekiddako ekinaatuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala.—Bik. 23:1.
KULEMBEZA OKUSINZA YAKUWA MU BULAMU BWO
13. Kintu ki eky’okusatu ekitusobozesa okufuna essanyu erya nnamaddala? (Yokaana 4:23, 24)
13 EKY’OKUSATU: Kakasa nti okusinza Yakuwa ky’okulembeza mu bulamu bwo. Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi waffe, tusaanidde kusinza ye yakka. (Kub. 4:11; 14:6, 7) N’olwekyo, ekintu ekyandibadde kisinga obukulu mu bulamu bwaffe kwe kusinza Yakuwa “mu mwoyo n’amazima,” kwe kugamba, okumusinza mu ngeri gy’asiima. (Soma Yokaana 4:23, 24.) Twagala omwoyo gwa Katonda gutuyambe tusobole okumusinza mu ngeri etuukana n’amazima agali mu Kigambo kye. Tusaanidde okukulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwaffe, ne bwe tuba nga tuli mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa oba gye gwawerebwa. We twogerera, baganda baffe ne bannyinaffe abassuka mu 100 be bali mu makomera olw’okuba Bajulirwa ba Yakuwa. * Wadde kiri kityo, bakola kyonna kye basobola okusaba, okwesomesa, n’okubuulira abalala ebikwata ku Katonda waffe ne ku Bwakabaka bwe. Bwe tuba nga tuvumibwa oba nga tuyigganyizibwa, tusobola okuba abasanyufu olw’okuba tukimanyi nti Yakuwa ajja kutuyamba tusobole okugumiikiriza era nti ajja kutuwa empeera.—Yak. 1:12; 1 Peet. 4:14.
EKYOKULABIRAKO EKYALIWO DDALA
14. Kiki ekyatuuka ku w’oluganda omu omuvubuka abeera mu Tajikistan, era lwaki?
14 Ebyokulabirako ebyaliwo ddala bikakasa nti ebintu ebisatu bye tulabye bisobola okutuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala, ka tube nga tuli mu mbeera ki. Lowooza ku kyatuuka ku w’Oluganda Jovidon Bobojonov, ow’emyaka 19 abeera mu Tajikistan, eyagaana okuyingira amagye. Nga Okitobba 4, 2019, baamuggya ewaabwe ne bamusiba okumala emyezi egiwera era ne bamuyisa ng’omumenyi w’amateeka. Ekikolwa ekyo ekitali kya bwenkanya kyayogerwako mu mawulire mu nsi ezitali zimu. Kigambibwa nti yakubibwa nga bamuwaliriza okukuba ekirayiro eky’okuyingira amagye era n’okwambala yunifoomu y’amagye. Oluvannyuma kkooti yamusalira omusango era n’asindikibwa mu kkomera, okutuusa omukulembeze w’eggwanga eryo lwe yamusonyiwa n’alagira ateebwe. Mu ebyo byonna bye yayitamu, ow’Oluganda Jovidon yasigala mwesigwa eri Yakuwa era nga musanyufu. Kiki ekyamuyamba? Ekyamuyamba kwe kuba n’enteekateeka ey’okwesomesa Ekigambo kya Katonda buli lunaku.
15. Ow’oluganda Jovidon yafunanga atya emmere ey’eby’omwoyo ng’ali mu kkomera?
15 Bwe yali mu kkomera, ow’Oluganda Jovidon yeeyongera okulya emmere ey’eby’omwoyo, wadde nga teyalina Bayibuli oba ekitabo kyaffe kyonna. Ekyo kyasoboka kitya? Ab’oluganda abaamutwaliranga emmere mu kkomera baawandiikanga ekyawandiikibwa ky’olunaku ku nsawo mwe baabanga batwalidde emmere. Ekyo kyamusobozesanga okusoma ebyawandiikibwa n’okubifumiitirizangako buli lunaku. Bwe yasumululwa n’ava mu kkomera, alina amagezi ge yawa abo abatannaba kwolekagana na kuyigganyizibwa kwa maanyi. Yagamba nti: “Kiba kikulu nnyo okukozesa eddembe ly’olina mu bujjuvu okweyongera okumanya Yakuwa n’Ekigambo kye era n’okusoma ebitabo byaffe.”
16. Biki Jovidon bye yalowoozangako?
16 Ow’oluganda oyo era yatambulizanga obulamu bwe ku mitindo gya Yakuwa. Mu kifo ky’okulowooza ku kukola ebintu ebibi, ebirowoozo bye yabissa ku Yakuwa ne kukukola by’ayagala. Jovidon yasiimanga nnyo ebitonde bya Yakuwa. Buli ku makya yawulirizanga ebinyonyi nga biyimba. Ate mu budde obw’ekiro yatunuuliranga omwezi ne mmunyeenye. Yagamba nti: “Ebirabo ebyo okuva eri Yakuwa byandeetera okuwulira essanyu era byanzizangamu nnyo amaanyi.” Bwe tuba nga tusiima ebyo Yakuwa by’atuwa, eby’omubiri n’eby’omwoyo, ekyo kituyamba okuba abasanyufu era essanyu eryo lituyamba okugumiikiriza.
17. Ebigambo ebiri mu 1 Peetero 1:6, 7 biyinza bitya okukwata ku muntu ayinza okwesanga mu mbeera Jovidon gye yalimu?
17 Jovidon era yakulembeza okusinza Yakuwa mu bulamu bwe. Yali amanyi omuganyulo oguli mu kusigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Yesu yagamba nti: “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.” (Luk. 4:8) Abaduumizi b’amagye baali baagala Jovidon alekere awo okusinza Yakuwa. Kyokka mu kifo ky’okukola ekyo, Jovidon yasabanga nnyo Yakuwa buli lunaku asobole okusigala nga mwesigwa gy’ali. Wadde nga yayisibwa mu ngeri etaali ya bwenkanya, Jovidon yasigala mwesigwa eri Yakuwa. Kati musanyufu olw’okuba alina okukkiriza okunywevu era okugezeseddwa, kw’ataalina nga tannaba kukwatibwa, kukubibwa, n’okusibibwa mu kkomera.—Soma 1 Peetero 1:6, 7.
18. Kiki ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli basanyufu?
18 Yakuwa amanyi bye twetaaga okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala. Bw’okola ebintu ebisatu bye tulabye mu kitundu kino, osobola okuba omusanyufu wadde ng’oyolekagana n’ebizibu. Era naawe osobola okugamba nti: “Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu!”—Zab. 144:15.
OLUYIMBA 89 Wulira, Ssa mu Nkola, Oweebwe Emikisa
^ Abantu bangi tebalina ssanyu lya nnamaddala kubanga balinoonya mu ngeri enkyamu. Baluubirira eby’amasanyu, eby’obugagga, ettutumu, oba obuyinza, nga balowooza nti bye bijja okubayamba okufuna essanyu erya nnamaddala. Yesu bwe yali ku nsi, yabuulira abantu engeri gye bayinza okufuna essanyu erya nnamaddala. Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okufuna essanyu erya nnamaddala.
^ Laba ekitundu, “Ofuna ‘Emmere mu Kiseera Ekituufu’?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2014.
^ Okumanya ebisingawo, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Imprisoned for Their Faith” [Baasibibwa olw’Okukkiriza Kwabwe], ekiri ku jw.org.
^ EKIFAANANYI: Ow’oluganda ng’atwalibwa mu kooti okuwozesebwa era ng’ab’oluganda abalala bazze okumulaga obuwagizi.