Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 43

Weemalire ku Yakuwa

Weemalire ku Yakuwa

“Yakuwa ye Katonda ayagala abantu okumwemalirako.”​—NAK. 1:2.

OLUYIMBA 51 Twewaddeyo eri Katonda!

OMULAMWA *

1. Lwaki tusaanidde okwemalira ku Yakuwa?

TUSAANIDDE okwemalira ku Yakuwa kubanga ye yatutonda era y’atuwa obulamu. (Kub. 4:11) Naye waliwo kye tulina okwegendereza. Wadde nga twagala Yakuwa era nga tumuwa ekitiibwa, tuyinza okutwalirizibwa ne tulekera awo okumwemalirako. Tusaanidde okumanya engeri ekyo gye kiyinza okubaawo. Naye ka tusooke tulabe kye kitegeeza okwemalira ku Yakuwa.

2. Okusinziira ku Okuva 34:14, kiki kye tujja okukola bwe tuba nga twemalidde ku Yakuwa?

2 Bayibuli eraga nti okwemalira ku Katonda kitegeeza okumwagala ennyo. Bwe tuba nga twemalidde ku Katonda tuba tusinza ye yekka. Tetukkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kutwala kifo ky’alina okuba nakyo mu mitima gyaffe.​—Soma Okuva 34:14.

3. Kiki ekituleetera okwemalira ku Yakuwa?

3 Kiki ekituleetera okwemalira ku Yakuwa? Tumwemalirako olw’ebyo bye tumuyizeeko. Twagala nnyo engeri ze ennungi. Tumanyi Yakuwa by’ayagala ne by’atayagala era naffe bwe tutyo bwe tubitwala. Tumanyi ekigendererwa ky’alina gye tuli era tukiwagira. Tugitwala nga nkizo ya maanyi okutukkiriza okuba mikwano gye. (Zab. 25:14) Buli kimu kye tuyiga ku Yakuwa kituleetera okweyongera okumusemberera.​—Yak. 4:8.

4. (a) Biki Omulyolyomi by’akozesa okugezaako okutulemesa okwemalira ku Yakuwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Omulyolyomi ye mufuzi w’ensi eno era agikozesa okutuleetera okutwala ebintu abantu bye bakola okuba nti bye bisinga obukulu, era akifuula kizibu gye tuli okwewala okwegomba okubi. (Bef. 2:1-3; 1 Yok. 5:19) Ayagala twagale n’ebintu ebirala tuleme kwemalira ku Yakuwa. Ka tulabeyo ebintu bibiri by’akozesa okutuukiriza ekyo. Ekisooka, agezaako okutuleetera okwagala eby’obugagga, ate ky’okubiri, agezaako okutuleetera okulondawo eby’okwesanyusaamu ebibi.

WEEWALE OKWAGALA SSENTE

5. Lwaki tulina okwegendereza tuleme kufuna mwoyo gwa kwagala ssente?

5 Ffenna twagala okuba n’emmere etumala, engoye ez’okwambala ezisaanidde, n’aw’okusula awasaanidde. Naye tulina okwegendereza tuleme kufuna mwoyo gwa kwagala ssente. Abantu bangi leero “baagala nnyo ssente” ne bintu ssente bye zigula. (2 Tim. 3:2) Yesu yali akimanyi nti abagoberezi be bayinza okutwalirizibwa omwoyo gw’okwagala ssente n’ebintu. Yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.” (Mat. 6:24) Omuntu asinza Yakuwa ate nga mu kiseera kye kimu afuba okunoonya obugagga aba ng’aweereza abaami ababiri. Aba teyeemalidde ku Yakuwa.

Engeri abamu mu Lawodikiya gye baali beetunuuliramu . . . n’engeri Yakuwa ne Yesu gye baali babatunuuliramu (Laba akatundu 6)

6. Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yagamba Abakristaayo ab’omu kibiina ky’e Lawodikiya?

6 Ku nkomerero y’ekyasa ekyasooka, Abakristaayo mu kibiina ky’e Lawodikiya baali beewaana nga bagamba nti: “Ndi mugagga, nfunye eby’obugagga era seetaaga kintu kyonna.” Naye mu maaso ga Yakuwa n’aga Yesu baali ‘banaku, abasaasirwa, abaavu, abazibe b’amaaso, era abali obwereere.’ Okuba nti baali bagagga si kye kyaviirako Yesu okubanenya, wabula lwa kuba nti okwagala eby’obugagga kyali kyonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa. (Kub. 3:14-17) Bwe tukiraba nti mu mitima gyaffe tutandise okufuna omwoyo gw’okwagala eby’obugagga, tusaanidde okutereeza endowooza yaffe mu bwangu. (1 Tim. 6:7, 8) Bwe tutakikola, tujja kutandika n’okwagala ebintu ebirala era Yakuwa tajja kusiima kusinza kwaffe. Ayagala ‘tumwemalireko.’ (Ma. 4:24) Tuyinza tutya okugwa olubege mu ngeri gye tutwalamu ssente?

7-9. Kiki ky’oyigidde ku mukadde ayitibwa David?

7 Lowooza ku mukadde omu ayitibwa David abeera mu Amerika. David agamba nti yali mukozi munyiikivu nnyo. Baamukuza ku mulimu era yali atwalibwa ng’omu ku bakozi abaali basingayo mu Amerika okukola obulungi omulimu gwe yali akola. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo nnali ndowooza nti egyo gyali mikisa okuva eri Yakuwa.” Naye ddala gyali mikisa okuva eri Yakuwa?

8 Mpolampola David yatandika okukiraba nti omulimu ogwo gwali gukosa enkolagana ye ne Yakuwa. Agamba nti: “Bwe nnabanga mu nkuŋŋaana oba mu kubuulira, nnabanga ndowooza ku bizibu ebyabanga ku mulimu. Nnali nfuna ssente nnyingi naye nnabanga mweraliikirivu era n’obufumbo bwange tebwalimu ssanyu.”

9 David yakiraba nti yalina okuddamu okulowooza ku byali bisinga obukulu mu bulamu. Agamba nti: “Nnamalirira okukyusaamu.” David yasalawo okukola enkyukakyuka mu biseera bye yali amala ku mulimu era enkyukakyuka eyo n’agitegeezaako mukama we. Biki ebyavaamu? Yagobwa ku mulimu! Kiki kye yakola? Agamba nti: “Ku lunaku olwaddako, nnajjuzaamu foomu ne nsaba okuweereza nga payoniya omuwagizi ow’ekiseera kyonna.” Okusobola okweyimirizaawo, David ne mukyala we baatandika okukola omulimu gw’okuyonja. Oluvannyuma lw’ekiseera, David yatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo era oluvannyuma ne mukyala we yatandika okuweereza nga payoniya. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baasalawo okukola omulimu ogunyoomebwa abantu abasinga obungi, naye omulimu gwe bakola si gwe gusinga obukulu gye bali. Wadde nga ssente ze bafuna zaakendeerera ddala nnyo, buli mwezi baba ne ssente ezibamala okukola ku byetaago byabwe. Baagala okukulembeza Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe, era bakiraba nti afaayo ku abo abakulembeza Obwakabaka.​—Mat. 6:31-33.

10. Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe?

10 Ka tube nga tulina ssente nnyingi oba ntono, tulina okukuuma omutima gwaffe. Oyinza otya okukuuma omutima gwo? Weewale okwagala eby’obugagga. Tokkiriza kutwala mulimu gwo kuba mukulu kusinga kuweereza Yakuwa. Ekyo omanya otya nti kikutuuseeko? Oyinza okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Bwe mba mu nkuŋŋaana oba nga mbuulira, ntera kulowooza ku mulimu gwange? Ntera okweraliikirira obanga nnaaba ne ssente ezimala mu biseera eby’omu maaso? Ssente n’eby’obugagga bindeetera okufuna obutakkaanya ne mukyala wange oba n’omwami wange? Ndi mwetegefu okukola omulimu abalala gwe banyooma, kasita guba nga gumpa ebiseera ebisingawo okuweereza Yakuwa?’ (1 Tim. 6:9-12) Nga tufumiitiriza ku bibuuzo ebyo, tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa atwagala era abo abamwemaliddeko abasuubiza nti: “Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.” Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yawandiika nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente.”​—Beb. 13:5, 6.

WEEGENDEREZE NG’OLONDA EBY’OKWESANYUSAAMU

11. Eby’okwesanyusaamu biyinza kukola ki ku muntu?

11 Yakuwa ayagala tunyumirwe obulamu, era eby’okwesanyusaamu bye bimu ku bitusobozesa okunyumirwa obulamu. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Eri omuntu, tewali kisinga kulya na kunywa na kweyagalira mu ebyo byonna by’ateganira.” (Mub. 2:24) Naye bingi ku by’okwesanyusaamu ebiriwo leero bisobola okutwonoona. Bisobola okuleetera abantu okukkiriza oba okwagala ebintu ebivumirirwa mu Kigambo kya Katonda.

Ani ateekateeka eby’okwesanyusaamu by’olondawo? (Laba akatundu 11-14) *

12. Okusinziira ku 1 Abakkolinso 10:21, 22, lwaki tusaanidde okwegendereza nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

12 Olw’okuba twagala okwemalira ku Yakuwa, tetusobola kulya ku “mmeeza ya Yakuwa” ne ku “mmeeza ya badayimooni.” (Soma 1 Abakkolinso 10:21, 22.) Emirundi mingi okuliira awamu n’omuntu ekijjulo kiba kiraga nti muli ba mukwano. Bwe tulondawo eby’okwesanyusaamu ebitumbula ebikolwa eby’obukambwe, eby’obusamize, eby’obugwenyufu, oba ebikolwa ebirala eby’omubiri, tuba ng’abaliira awamu ekijjulo n’abalabe ba Katonda. Era ekyo kitukosa ffe kennyini era kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.

13-14. Okusinziira ku Yakobo 1:14, 15, lwaki tulina okwegendereza eby’okwesanyusaamu bye tulonda? Waayo ekyokulabirako.

13 Lowooza ku ngeri eby’okwesanyusaamu gye bifaananako emmere. Bwe tuba tulya, tusobola okusalawo mmere ki gye tuteeka mu kamwa kaffe. Naye bwe tumala okugimira, tetusobola kusalawo ebyo emmere eyo by’eneekola ku mubiri gwaffe. Emmere ennungi etusobozesa okuba abalamu obulungi, ate emmere embi etulwaza. Ebyo emmere by’ekola ku mubiri gwaffe biyinza obutalabikirawo mangu, naye oluvannyuma lw’ekiseera byeyoleka.

14 Mu ngeri y’emu, bwe tuba twesanyusaamu, tusobola okusalawo ebyo bye tuyingiza mu birowoozo byaffe. Naye oluvannyuma lw’ekyo, eby’okwesanyusaamu bye tuba tulonzeewo birina kye bikola ku nneewulira yaffe ne ku ndowooza yaffe. Eby’okwesanyusaamu ebirungi bituganyula ate eby’okwesanyusaamu ebitasaana bitwonoona. (Soma Yakobo 1:14, 15.) Ebiva mu by’okwesanyusaamu ebibi biyinza obuteeyolekerawo mangu naye oluvannyuma lw’ekiseera byeyoleka. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Temubuzaabuzibwanga: Katonda tasekererwa. Kubanga ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula; kubanga oyo asigira omubiri gwe alikungula okuvunda okuva mu mubiri gwe.” (Bag. 6:7, 8) N’olwekyo kikulu nnyo okwewala eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu Yakuwa by’akyawa!​—Zab. 97:10.

15. Kirabo ki Yakuwa ky’atuwadde?

15 Abantu ba Yakuwa bangi banyumirwa nnyo okulaba programu eziri ku ttivi yaffe eya JW Broadcasting®. Mwannyinaffe ayitibwa Marilyn agamba nti: “JW Broadcasting ennyambye okuba n’endowooza ennungi era bwe mba ngiraba mba sirina kwegendereza bye ndaba. Bwe nfuna ekiwuubaalo oba bwe mba mpeddemu amaanyi, ŋŋenda ku ttivi yaffe ne ndaba emboozi ezzaamu amaanyi. Ekyo kindeetera okuwulira nga nneeyongedde okuba okumpi ne Yakuwa awamu n’ekibiina kye. Ebyo ebibeera ku ttivi yaffe biŋŋanyudde nnyo.” Naawe oganyulwa mu kirabo ekyo Yakuwa kye yatuwa? Ng’oggyeeko programu eteekebwa ku JW Broadcasting buli mwezi, ku ttivi yaffe eyo era kuliko vidiyo, ennyimba ennungi ennyo, n’ebintu ebirala eby’okuwuliriza.

16-17. Lwaki tulina okwegendereza ebiseera bye tumala nga twesanyusaamu, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

16 Ng’oggyeeko okwegendereza eby’okwesanyusaamu bye tulondawo, tulina n’okwegendereza ebiseera bye tumala nga twesanyusaamu. Bwe tuteegendereza, ebiseera bye tumala nga twesanyusaamu biyinza okuba ebingi okusinga ebyo bye tumala nga tuweereza Yakuwa. Bangi tekibanguyira kwefuga bwe kituuka ku biseera bye bamalira ku by’okwesanyusaamu. Mwannyinaffe ow’emyaka 18 ayitibwa Abigail agamba nti: “Okulaba ttivi kinnyamba okuwummuza ebirowoozo oluvannyuma lw’okumala olunaku lulamba nga nkola nnyo. Naye bwe seegendereza, mmala essaawa eziwera nga ndaba ttivi.” Ow’oluganda omuvubuka ayitibwa Samuel agamba nti: “Oluusi nneesanga nga ndabye buvidiyo bungi obumpi ku Intaneeti. Ntandika na kamu naye ne nneesanga nga mmaze essaawa ssatu oba nnya nga ndaba buvidiyo.”

17 Oyinza otya okwefuga bwe kituuka ku biseera by’omala nga weesanyusaamu? Ekintu ekisooka kye weetaaga okukola, kwe kumanya ebiseera by’omala nga weesanyusaamu. Lwaki togezaako kino? Okumala wiiki, wandiika ebiseera by’omala ng’olaba ttivi, ng’onoonya ebintu ku Intaneeti oba ng’ozzannya emizannyo ku ssimu yo. Bw’okizuula nti omalira ebiseera bingi ku by’okwesanyusaamu, kola enteekateeka. Sooka osseewo obudde okukola ebintu ebisinga obukulu, oluvannyuma oteekewo obudde obw’okwesanyusaamu. Ate era saba Yakuwa akuyambe okunywerera ku nteekateeka yo. Bw’okola bw’otyo, ojja kuba n’obudde n’amaanyi okwesomesa Bayibuli, okuba n’okusinza kw’amaka, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu. Ate era omutima tegujja kukulumiriza olw’ebiseera by’omaze nga weesanyusaamu, kubanga Yakuwa ojja kuba omutadde mu kifo ekisooka.

SIGALA NGA WEEMALIDDE KU YAKUWA

18-19. Tuyinza tutya okukiraga nti twemalidde ku Yakuwa?

18 Oluvannyuma lw’okwogera ku nkomerero y’ensi ya Sitaani ne ku nsi empya egenda okujja, omutume Peetero yagamba nti: “Abaagalwa, okuva bwe mulindirira ebintu ebyo, mufube nnyo okusangibwa nga temuliiko bbala wadde akamogo era nga muli mu mirembe.” (2 Peet. 3:14) Bwe tukolera ku kubuulira okwo ne tufuba okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, tuba tukiraga nti twemalidde ku Yakuwa.

19 Sitaani n’ensi ye bajja kweyongera okugezaako okutuleetera okukulembeza ebirala mu kifo ky’okukulembeza Yakuwa. (Luk. 4:13) Naye ka tube nga twolekagana na kusoomooza ki, tetujja kukkiriza kintu kyonna oba muntu yenna kutwala kifo Yakuwa ky’alina kuba nakyo mu mutima gwaffe. Tuli bamalirivu okuwa Yakuwa ekyo ye yekka ky’agwanidde okuweebwa, nga kuno kwe kumwemalirako!

OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange

^ lup. 5 Twagala okuweereza Yakuwa. Naye tumwemaliddeko? Eky’okuddamu kyeyolekera mu ebyo bye tusalawo. Tugenda kulaba ebintu bibiri ebinaatuyamba okumanya obanga twemalidde ku Yakuwa.

^ lup. 53 EBIFAANANYI: Tetwandyagadde kulya mmere gye bafumbidde mu kifo ekikyafu. Mu ngeri y’emu, tetwandyadde kulaba bya kwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe, eby’obusamize, oba eby’obugwenyufu.