Weesige Omukulembeze Waffe—Kristo
“Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo.”—MAT. 23:10.
1, 2. Kusoomooza ki Yoswa kwe yafuna nga Musa afudde?
YOSWA yali akyajjukira bulungi ebigambo bya Yakuwa bino: ‘Musa omuweereza wange afudde. Kale kaakano weeteeketeeke, ggwe n’abantu bano bonna, musomoke Omugga Yoludaani mugende mu nsi gye ŋŋenda okubawa.’ (Yos. 1:1, 2) Ng’enkyukakyuka eyo yali ya maanyi eri Yoswa, eyali amaze emyaka nga 40 ng’akola ng’omuweereza wa Musa!
2 Okuva bwe kiri nti Musa yali amaze emyaka mingi ng’akulembera Abayisirayiri, Yoswa ayinza okuba nga yeebuuza obanga Abayisirayiri bandikkirizza obukulembeze bwe. (Ma. 34:8, 10-12) Nga kyogera ku Yoswa 1:1, 2, ekitabo ekimu kigamba nti: “Okuva edda n’okutuusa leero, okukyusa obukulembeze kye kimu ku bintu ebireetawo okusoomooza okunene mu by’okwerinda by’eggwanga.”
3, 4. Lwaki kyali kya magezi Yoswa okwesiga Yakuwa, era kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza?
3 Yoswa ateekwa okuba nga yafunamu okweraliikirira, naye nga wayise ennaku ntono alina kye yakolawo. (Yos. 1:9-11) Yeesiga Katonda era Katonda yamuyamba. Nga Bayibuli bw’eraga, Yakuwa yakulembera Yoswa n’eggwanga lya Isirayiri, ng’akozesa malayika. Malayika oyo ateekwa okuba nga yali Kigambo, Omwana wa Katonda omubereberye.—Kuv. 23:20-23; Yok. 1:1.
4 Yakuwa yayamba abayisirayiri okwaŋŋanga ekyukakyuka eyali ezzeewo mu bukulembeze, nga Yoswa azze mu bigere bya Musa. Naffe tuli mu kiseera nga waliwo enkyukakyuka nnyingi ezigenda mu maaso, era tuyinza okwebuuza, ‘Ng’ekibiina kya Yakuwa kigenda mu maaso, waliwo ensonga kwe twandisinzidde okwesiga Yesu, Omukulembeze Yakuwa gwe yatuteerawo?’ (Soma Matayo 23:10.) Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakulemberamu abaweereza be mu biseera eby’edda, nga waliwo enkyukakyuka ez’amaanyi.
YAKULEMBERA ABANTU BA KATONDA NGA BAYINGIRA MU KANANI
5. Kiki Yoswa kye yalaba bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)
5 Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’Abayisirayiri okusomoka Omugga Yoludaani, Yoswa yalaba ekintu ekyewuunyisa. Bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko, yasisinkana omusajja eyali akutte ekitala. Olw’okuba yali tamanyi musajja oyo, Yoswa yamubuuza nti: “Oli ku ludda lwaffe oba ku ludda lw’abalabe baffe?” Omusajja oyo yeemanyisa eri Yoswa. Omusajja oyo yali ‘mukulu w’eggye lya Yakuwa,’ era yali mwetegefu okulwanirira abantu ba Katonda. (Soma Yoswa 5:13-15 n’obugabo obuli wansi.) Wadde ng’ezimu ku nnyiriri eziddirira ziringa eziraga nga Katonda eyali ayogera obutereevu ne Yoswa, ekituufu kiri nti Katonda yali ayogera ne Yoswa ng’ayitira mu malayika, nga bwe yali akoze ku baweereza be abalala mu biseera eby’emabega.—Kuv. 3:2-4; Yos. 4:1, 15; 5:2, 9; Bik. 7:38; Bag. 3:19.
6-8. (a) Lwaki ebimu ku biragiro bya Yakuwa byalabika ng’ebitakola makulu okusinziira ku ndaba ey’obuntu? (b) Lwaki kyali kya magezi okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, era lwaki tuyinza okugamba nti bwaweebwa mu kiseera kituufu? (Laba obugambo obuli wansi.)
6 Malayika oyo yawa Yoswa obulagirizi ku ngeri y’okuwambamu ekibuga Yeriko. Mu kusooka, obulagirizi obwo bwalabika ng’obutakola makulu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalagira nti abasajja bonna bakomolebwe, ekintu ekyandibaleetedde obulumi okumala ennaku eziwerako ne baba nga tebasobola kulwana. Naye ddala kyali kiseera kituufu eky’okukomoleramu abasajja abo?—Lub. 34:24, 25; Yos. 5:2, 8.
7 Oboolyawo abasajja ba Isirayiri abo abalwanyi bayinza okuba nga beebuuza engeri gye bandisobodde okulwanirira abantu baabwe singa abalabe bandirumbye olusiisira lwabwe. Naye bwe baali bakyali awo baafuna amawulire nti enzigi za Yeriko zaali “zisibiddwa era nga zinywezeddwa bulungi olw’Abayisirayiri.” (Yos. 6:1) Ekyo kiteekwa okuba nga kyaleetera Abayisirayiri abo okweyongera okwesiga Yakuwa.
8 Ate era Abayisirayiri baalagirwa obutalumba Yeriko, wabula baalina okwetooloola ekibuga ekyo omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga, ate ku lunaku olw’omusanvu bakyetooloole emirundi musanvu. Abalwanyi ba Isirayiri abamu oboolyawo baalowooza nti okwo kwali kumala budde na maanyi. Naye Omukulembeze waabwe eyali talabika, yali amanyi ky’akola. Abayisirayiri okukolera ku bulagirizi obwo kyanyweza okukkiriza kwabwe era kyabawonya obutaŋŋanga butereevu eggye lya Yeriko eryali ery’amaanyi.—Yos. 6:2-5; Beb. 11:30. *
9. Lwaki tusaanidde okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa? Waayo ekyokulabirako.
9 Ekyo kituyigiriza ki? Mu kusooka tuyinza obutategeera nsonga lwaki ekibiina kya Yakuwa kikyusizza mu ngeri gye kikolamu ebintu. Ng’ekyokulabirako, mu kusooka tuyinza okuba nga twebuuza obanga kyali kya magezi okukozesa
amasimu ne bukompyuta obw’omu ngalo mu kwesomesa, mu mulimu gw’okubuulira, ne mu nkuŋŋaana. Naye kati tuyinza okuba nga tulaba emiganyulo egiri mu kukozesa ebintu ebyo, bwe kiba nga kiri mu busobozi bwaffe. Bwe tulaba emiganyulo egiva mu nkyukakyuka ekibiina kya Yakuwa ze kikoze, ne bwe kiba nga mu kusooka twali tetulaba nsonga lwaki zaali zeetaagisa, kinyweza okukkiriza kwaffe era tweyongera okuba obumu.YESU YAKULEMBERA ABANTU BA KATONDA MU KYASA EKYASOOKA
10. Ani yali emabega w’olukuŋŋana olukwata ku kukomolebwa akakiiko akafuzi lwe kaalina mu Yerusaalemi?
10 Nga wayise emyaka nga 13 oluvannyuma lwa Koluneeriyo okufuuka Omukristaayo, Abakristaayo Abayudaaya baali bakyakubiriza abantu okukomolebwa. (Bik. 15:1, 2) Bwe waabalukawo obutakkaanya ku nsonga eyo mu Antiyokiya, enteekateeka yakolebwa Pawulo okutwala ensonga eyo eri akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi. Naye ani eyali emabega w’enteekateeka eyo? Pawulo yagamba nti: “Nnagendayo olw’okubikkulirwa kwe nnafuna.” Kya lwatu nti Kristo ye yali emabega w’enteekateeka eyo kisobozese akakiiko akafuzi okugonjoola obutakkaanya obwo.—Bag. 2:1-3.
11. (a) Kiki Abakristaayo Abayudaaya kye beeyongera okukola okumala emyaka egiwerako? (b) Kiki ekyali kiyinza okukifuula ekizibu eri Pawulo okukolera ku bulagirizi obwamuweebwa abakadde mu Yerusaalemi? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
11 Akakiiko akafuzi, nga kakolera ku bulagirizi bwa Kristo, kaakiraga lwatu nti Abakristaayo abataali Bayudaaya kyali tekibeetaagisa kukomolebwa. (Bik. 15:19, 20) Kyokka n’oluvannyuma lw’akakiiko akafuzi okusalawo ku nsonga eyo, Abakristaayo Abayudaaya beeyongera okukomola abaana baabwe okumala emyaka egiwerako. Abakadde mu Yerusaalemi bwe baawulira abantu nga boogera ku Pawulo nti yali takwata Mateeka ga Musa, baalina ekintu ekyewuunyisa kye baalagira Pawulo okukola. * (Bik. 21:20-26) Baamulagira okutwala abasajja bana mu yeekaalu abantu bakirabe nti Pawulo yali ‘akwata Amateeka.’ Pawulo yali asobola okugaana okukolera ku bulagirizi obwo bwe baali bamuwadde ng’agamba nti obuzibu bwali ku Bakristaayo Abayudaaya abaali batategeera bulungi nsonga ekwata ku kukomolebwa. Naye olw’okuba yali ayagala okukolera awamu n’abakadde abo mu kukuuma obumu bw’ekibiina, Pawulo yayoleka obwetoowaze n’akolera ku bulagirizi obwo. Kyokka tuyinza okwebuuza nti, ‘Lwaki Yesu yaleka ensonga eyo okumala ekiseera kiwanvu nga tennagonjoolwa wadde ng’okufa kwe kwali kwaggyawo Amateeka ga Musa?’—Bak. 2:13, 14.
12. Ezimu ku nsonga eziyinza okuba nga zaaleetera Kristo okuleka ekiseera okuyitawo nga tannagonjoola nsonga ekwata ku kukomolebwa ze ziruwa?
12 Abantu abamu kibatwalira ebbanga eriwerako okutuukana n’enkyukakyuka eba ekoleddwa. Abakristaayo Abayudaaya baali beetaaga ekiseera ekiwerako basobole okukyusa endowooza yaabwe. (Yok. 16:12) Abamu tekyabanguyira kukikkiriza nti okukomolebwa kaali tekakyali kabonero akalaga nti omuntu alina enkolagana ey’enjawulo ne Katonda. (Lub. 17:9-12) Ate abalala baalwawo okukola enkyukakyuka eyo olw’okuba baali batya okuyigganyizibwa Bayudaaya bannaabwe. (Bag. 6:12) Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Yesu yeeyongera okutangaaza ku nsonga eyo okuyitira mu bbaluwa ezaaluŋŋamizibwa, ezaawandiikibwa Pawulo.—Bar. 2:28, 29; Bag. 3:23-25.
KRISTO AKYAKULEMBERA EKIBIINA EKIKRISTAAYO
13. Kiki ekiyinza okutuyamba okutegeera engeri Yesu gy’atukulemberamu leero?
13 Bwe twesanga mu mbeera nga tetutegeera bulungi nsonga lwaki enkyukakyuka ezimu zikoleddwa mu kibiina, kiba kya magezi okulowooza ku ngeri Kristo gye yakulemberamu abantu ba Katonda mu biseera eby’edda. Mu kiseera kya Yoswa ne mu kyasa ekyasooka, Kristo yawa abantu ba Katonda obulagirizi okusobola okubakuuma, okunyweza okukkiriza kwabwe, n’okubayamba okusigala nga bali bumu.—Beb. 13:8.
14-16. Obulagirizi bwe tufuna okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ bulaga butya nti Kristo atufaako nnyo mu by’omwoyo?
14 Obulagirizi bwe tufuna okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi’ bulaga nti Yesu atufaako nnyo mu by’omwoyo. (Mat. 24:45) Marc, alina abaana abana, agamba nti: “Sitaani agezaako okunafuya ekibiina ng’alumba amaka. Naye okuba nti tukubirizibwa okuba n’okusinza kw’amaka buli wiiki, kiraga kaati nti Yakuwa ayagala emitwe gy’amaka gikuume amaka gaagyo!”
15 Bwe tutegeera obulagirizi Kristo bw’atuwa, tukiraba nti ayagala tukulaakulane mu by’omwoyo. Patrick, aweereza ng’omukadde mu kibiina agamba nti: “Mu kusooka abamu tebaasanyukira nkyukakyuka eyajjawo ey’okukuŋŋaanira mu bibinja ebitonotono eby’okubuulira ku wiikendi.” Naye agamba nti enkyukakyuka eyo eraga nti Yesu afaayo nnyo ku buli omu mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda abamu abalina ensonyi oba abaali batabuulira nnyo, kati bawulira nga basiimibwa era nga ba mugaso. Ekyo kibayambye okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira.
16 Ng’oggyeeko okutulabirira mu by’omwoyo, Kristo era atuyamba okweyongera okwemalira ku mulimu ogusinga obukulu ogukolebwa mu nsi leero. (Soma Makko 13:10.) André, eyaakamala ekiseera kitono ng’aweereza ng’omukadde, bulijjo abaddenga assaayo omwoyo ku nkyukakyuka eziba zikoleddwa ekibiina kya Yakuwa. Agamba nti: “Okukendeeza ku muwendo gw’Ababeseri kitujjukiza nti ekiseera ekisigaddeyo kitono era nti tulina okwemalira ku mulimu ogw’okubuulira.”
KOLERA KU BULAGIRIZI KRISTO BW’ATUWA
17, 18. Lwaki kirungi okufumiitiriza ku birungi bye tufunye mu kukolera ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu kibiina gye buvuddeko awo?
17 Obulagirizi Yesu bw’atuwa bulaga nti afaayo nnyo ku biseera byaffe eby’omu maaso. N’olwekyo ka tufube okukolera ku nkyukakyuka ezikoleddwa mu kibiina kya Yakuwa gye buvuddeko awo. Mu kusinza kwammwe okw’amaka muyinza
okwogera ku ngeri gye muganyuddwa mu nkyukakyuka ezikoleddwa mu nkuŋŋaana zaffe ne mu ngeri gye tukolamu omulimu gw’okubuulira.18 Bwe tumanya ensonga lwaki ekibiina kya Yakuwa kituwa obulagirizi era ne tulaba engeri obulagirizi obwo gye butuganyulamu, kijja kutuyamba okubukolerako nga tuli basanyufu. Ng’ekyokulabirako, kati tukiraba nti okukendeeza ku muwendo gw’ebitabo ebikubibwa mu kyapa kikekkereza ssente; ate era okukozesa tekinologiya ali ku mulembe kitusobozesa okutwala mu maaso emirimu gy’Obwakabaka egikolebwa mu nsi yonna. Ekyo bwe tukikuumira mu birowoozo, tujja kufuba okufunira ebitabo ku masimu ne ku bukompyuta bwaffe obw’omu ngalo. Bwe tukola tutyo, kijja kulaga nti tulina endowooza ng’eya Kristo bwe kituuka ku kukozesa obulungi ssente z’ekibiina.
19. Lwaki tulina okukolera ku bulagirizi Kristo bw’atuwa?
19 Bwe tufuba okukolera ku bulagirizi Kristo bw’atuwa, kinyweza okukkiriza kw’abalala era kiyamba mu kukuuma obumu bw’ekibiina. Ng’ayogera ku nkyukakyuka ey’okukendeeza ku muwendo gw’Ababeseri, André agamba nti: “Engeri abo abaggibwa ku Beseri gye beeyisaamu yandeetera okwongera okwesiga Yakuwa n’okubassaamu ekitiibwa. Batambulira wamu n’eggaali lya Yakuwa, era bamuweereza n’essanyu mu buweereza bwonna bwe baba balimu.”
WEESIGE OMUKULEMBEZE WAFFE
20, 21. (a) Lwaki tusaanidde okwesiga Omukulembeze waffe Kristo? (b) Kibuuzo ki ekijja okuddibwamu mu kitundu ekiddako?
20 Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu Kristo, Omukulembeze Yakuwa gwe yatuteerawo, ajja ‘kumaliriza okuwangula kwe’ era ‘akole ebintu ebiwuniikiriza.’ (Kub. 6:2; Zab. 45:4) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, Yesu atuteekerateekera ekiseera eky’omu maaso mwe tujja okwenyigira mu mulimu omunene ogw’okuyigiriza abantu abanaaba bazuukiziddwa n’ogw’okufuula ensi olusuku lwa Katonda.
21 Kabaka waffe Yesu ajja kutuyingiza mu nsi empya singa tweyongera okumwesiga ne bwe waba nga wazzeewo enkyukakyuka. (Soma Zabbuli 46:1-3.) Oluusi kiyinza obutatwanguyira kutuukana na nkyukakyuka, naddala singa enkyukakyuka ezo zijjawo nga tubadde tetuzisuubira. Naye tuyinza tutya okusigala nga tulina emirembe ku mutima era nga twesiga Yakuwa mu mbeera ng’eyo? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.
^ lup. 8 Abayiikuuzi baazuula mu bifunfugu by’ekibuga Yeriko emmere enkalu nnyingi eyali yakungulwa naye n’eteriibwa. Ekyo kiraga nti okuzingizibwa kw’ekibuga ekyo kwatwala ekiseera kitono, ne kiba nti n’amaterekero g’emmere gaali tegannagwamu mmere. Okuva bwe kiri nti Abayisirayiri tebakkirizibwa kutwala mmere okuva mu kibuga Yeriko, kiraga nti ekyo kyali ekiseera kituufu okulumba ensi kubanga kyali kiseera kya makungula era nga waliwo emmere nnyingi mu nnimiro.—Yos. 5:10-12.
^ lup. 11 Laba akasanduuko “Mu Bwetoowaze Pawulo Ayolekagana n’Ekigezo” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2003, lup. 16.