Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 44

OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa

Oyinza Otya Okugumira Obutali Bwenkanya?

Oyinza Otya Okugumira Obutali Bwenkanya?

“Tokkirizanga kuwangulwa bintu bibi, naye wangulanga ebintu ebibi ng’okola ebirungi.”BAR. 12:21.

EKIGENDERERWA

Engeri gye tuyinza okugumira obutali bwenkanya ne twewala okusajjula embeera.

1-2. Tuyinza kukwatibwako tutya nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

 YESU yagera olugero olukwata ku nnamwandu eyeetayiriranga omulamuzi ng’ayagala okufuna obwenkanya. Bangi ku bayigirizwa ba Yesu baali bategeera engeri nnamwandu oyo gye yali awuliramu, kubanga mu kiseera ekyo abantu aba bulijjo baali bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Luk. 18:​1-5) Naffe tutegeera engeri nnamwandu oyo gye yali awuliramu, kubanga ffenna twali tuyisiddwako mu ngeri etali ya bwenkanya.

2 Olw’okuba mu nsi leero abantu bangi basosola abalala, si ba kisa, era banyigiriza abalala, tekitwewuunyisa nti naffe tusobola okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. (Mub. 5:8) Tetusuubira bakkiriza bannaffe kutuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya, naye ekyo oluusi kiyinza okubaawo. Kya lwatu nti obutafaananako abo abatuyigganya oba abatuziyiza, bakkiriza bannaffe tebakigenderera kutuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya. Oluusi batuyisa bwe batyo olw’okuba tebatuukiridde. Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yeeyisaamu ng’abantu ababi bamuyisizza mu ngeri etali ya bwenkanya. Bwe kiba nti tusobola okugumiikiriza abantu abatuziyiza, tetwandisinzeewo nnyo okugumiikiriza basinza bannaffe! Yakuwa awulira atya bakkiriza bannaffe oba abantu abalala abatali baweereza be bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya? Akwatibwako?

3. Tumanya tutya nti Yakuwa akwatibwako bw’alaba nga tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

3 Yakuwa ayagala tuyisibwe bulungi era bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya alaba. “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zab. 37:28) Yesu yagamba nti mu kiseera ekituufu Yakuwa “alikakasa nti [abantu be] balagibwa obwenkanya mu bwangu.” (Luk. 18:​7, 8) Era mu kiseera ekitali kya wala, ajja kuggyawo ebintu byonna ebituleetera okubonaabona era ajja kuggyawo obutali bwenkanya bwonna.—Zab. 72:​1, 2.

4. Yakuwa atuyamba atya okugumira obutali bwenkanya leero?

4 Nga tulindirira ekiseera Yakuwa lw’ajja okuggyawo ebizibu byonna, mu kiseera kino atuyamba okugumira obutali bwenkanya bwonna. (2 Peet. 3:13) Atuyigiriza engeri gye tuyinza okwewala okukola ebintu ebitali bya magezi nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Okuyitira mu kyokulabirako ekirungi Omwana we kye yassaawo, Yakuwa atuyigiriza engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Era atuwa amagezi amalungi ge tulina okukolerako.

WEEGENDEREZE ENGERI GYE WEEYISAAMU NG’OYISIDDWA MU NGERI ETALI YA BWENKANYA

5. Lwaki tusaanidde okwegendereza engeri gye tweyisaamu nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

5 Bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya tuyinza okuwulira obulumi obw’amaanyi. (Mub. 7:7) Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa gamba nga Yobu ne Kaabakuuku, nabo baawulira bwe batyo. (Yob. 6:​2, 3; Kaab. 1:​1-3) Wadde nga kya bulijjo okuwulira bwe tutyo, tulina okuba abeegendereza tuleme okukola ekintu eky’obusirusiru.

6. Kiki kye tuyigira ku ekyo Abusaalomu kye yakola? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Omuntu bw’atuyisa obubi oba bw’ayisa obubi omuntu gwe twagala, tuyinza okwagala okwesasuza. Kyokka bwe tugezaako okwesasuza kiyinza kwongera kwonoona mbeera. Lowooza ku ekyo Abusaalomu mutabani wa Kabaka Dawudi kye yakola. Yasunguwala nnyo muganda we Amunoni bwe yakwata mwannyina Tamali. Okusinziira ku Mateeka ga Musa, Amunoni yali agwanidde kufa olw’ekyo kye yakola. (Leev. 20:17) Wadde nga Abusaalomu yali mutuufu okusunguwala, teyali mutuufu kutta muganda we Amunoni.—2 Sam. 13:​20-23, 28, 29.

Abusaalomu teyafuga busungu bwe mwannyina Tamali bwe yakwatibwa (Laba akatundu 6)


7. Okumala ekiseera, omuwandiisi wa Zabbuli yakwatibwako atya olw’obutali bwenkanya bwe yalaba?

7 Abo abayisa abalala mu ngeri etali ya bwenkanya bwe balabika ng’abatabonerezebwa tuyinza okwebuuza obanga ddala kya magezi okukola ekituufu. Lowooza ku muwandiisi wa Zabbuli omu. Yalaba abantu ababi nga bayisa bubi abantu abalungi, naye nga balabika ng’abanyumirwa obulamu. Yagamba nti: “Abo be babi abatafuna kizibu kyonna.” (Zab. 73:12) Ate era yasoberwa nnyo olw’obutali bwenkanya bwe yali alaba ne kiba nti yatuuka n’okulowooza nti si kya magezi okuweereza Yakuwa. Yagamba nti: “Bwe nnagezaako okukitegeera, kyannakuwaza.” (Zab. 73:​14, 16) Era yagamba nti: “Naye nze ebigere byange byabulako katono okuwaba; ebigere byange byali binaatera okuseerera.” (Zab. 73:2) Ekintu ekifaananako bwe kityo kyatuuka ku w’oluganda gwe tujja okuyita Alberto.

8. Ow’oluganda omu yakwatibwako atya ng’ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya?

8 Abamu ku b’oluganda baalumiriza Alberto nti yali abbye ssente z’ekibiina, kyokka nga tekyali kituufu. N’ekyavaamu, yaggibwako enkizo ze era bangi mu kibiina abaategeera ku nsonga eyo baalekeraawo okumussaamu ekitiibwa. Agamba nti: “Nnawulira obulumi obw’amaanyi era nnawulira nga nsobeddwa.” Yaleka enneewulira eyo okumunafuya mu by’omwoyo era yamala emyaka etaano nga tabuulira wadde okujja mu nkuŋŋaana. Ekyo ekyatuuka ku Alberto kiraga ekiyinza okubaawo bwe tutafuga busungu nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya.

KOPPA ENGERI YESU GYE YEEYISAAMU NG’AYISIDDWA MU NGERI ETALI YA BWENKANYA

9. Bintu ki ebitali bya bwenkanya Yesu bye yagumira? (Laba n’ekifaananyi.)

9 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku ngeri y’okugumiramu obutali bwenkanya. Lowooza ku ngeri ab’eŋŋanda ze n’abantu abalala gye baamuyisaamu. Ab’eŋŋanda ze abaali batamukkiririzaamu baagamba nti yali agudde eddalu, abakulembeze b’eddiini baagamba nti yali akolagana ne badayimooni, ate abasirikale Abaruumi baamujerega, ne bamutulugunya, era oluvannyuma ne bamutta. (Mak. 3:​21, 22; 14:55; 15:​16-20, 35-37) Kyokka Yesu yagumira obutali bwenkanya obwo bwonna, era teyeesasuza. Kiki kye tumuyigirako?

Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okugumiramu obutali bwenkanya (Laba akatundu 9-10)


10. Yesu yeeyisa atya ng’ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (1 Peetero 2:​21-23)

10 Soma 1 Peetero 2:​21-23. a Yesu yatulekera ekyokulabirako ekirungi ennyo kye tusaanidde okukoppa nga tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Yali amanyi ddi lwe yalina okusirika ne lwe yalina okwogera. (Mat. 26:​62-64) Ebiseera ebimu abalala bwe baamwogerangako ebintu eby’obulimba, yasalawo obutabaako ky’ayogera. (Mat. 11:19) Bwe yasalangawo okubaako kyayogera teyavumanga abo abaali bamuyigganya era teyabatiisatiisa. Yesu yeefuga kubanga “ensonga yazirekera Oyo asala omusango mu butuukirivu.” Yali akimanyi nti engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ensonga y’esinga obukulu. Yeesiga Yakuwa nti yandikoze ku butali bwenkanya obwo mu kiseera ekituufu.

11. Mbeera ki eziyinza okutwetaagisa okwegendereza ebyo bye twogera? (Laba n’ebifaananyi.)

11 Tusobola okukoppa Yesu nga twegendereza ebyo bye twogera nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ebintu ebimu ebitali bya bwenkanya abalala bye batukola biba bitono era tusobola okubibuusa amaaso. Oba tusobola okusirika ne twewala okwogera ekintu ekiyinza okwongera obwongezi okwonoona embeera. (Mub. 3:7; Yak. 1:​19, 20) Ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okubaako kye twogera bwe tulaba nga waliwo ayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, oba bwe kiba nga kitwetaagisa okulwanirira ebyo bye tukkiririzaamu. (Bik. 6:​1, 2) Bwe tuba twogera tulina okufuba ennyo okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tuwa abalala ekitiibwa.—1 Peet. 3:15. b

Bwe tuba tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, tusobola okukoppa Yesu nga twegendereza bye twogera na ddi lwe tubyogera (Laba akatundu 11-12)


12. Tuleka tutya ensonga mu mikono gy’oyo “asala omusango mu butuukirivu”?

12 Ate era tusobola okukoppa Yesu ng’ensonga tuzirekera “Oyo asala omusango mu butuukirivu.” Abalala bwe batuyisa mu ngeri etali ya bwenkanya tuba bakakafu nti Yakuwa amanyi ekituufu. Ekyo kisobola okutuyamba okugumira obutali bwenkanya kubanga tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kugonjoola ensonga mu kiseera ekituufu. Bwe tuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa, kituyamba okwewala obusungu n’okusiba ekiruyi. Enneewulira ezo zisobola okutuleetera okukola ekintu ekitali kya magezi, okutumalako essanyu, n’okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa.—Zab. 37:8.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okugumira obutali bwenkanya?

13 Kya lwatu tetusobola kugoberera Yesu mu ngeri etuukiridde. Ebiseera ebimu tuyinza okukola oba okwogera ekintu oluvannyuma ne twejjusa. (Yak. 3:2) Ate era obutali bwenkanya obumu bwe twolekagana nabwo, buyinza okutuleetera obulumi obuyinza obutavaawo mu nteekateeka y’ebintu eno. Bwe kiba bwe kityo gy’oli, beera mukakafu nti Yakuwa amanyi by’oyitamu. Ne Yesu yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. N’olwekyo ategeera engeri gye weewuliramu. (Beb. 4:​15, 16) Ate era ng’oggyeeko okutuwa ekyokulabirako kya Yesu, Yakuwa atuwa n’amagezi amalungi agatuyamba nga tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ka tulabeyo ennyiriri bbiri okuva mu kitabo ky’Abaruumi ezisobola okutuyamba.

“MULEKE KATONDA Y’ABA AYOLEKA OBUSUNGU BWE”

14. Kitegeeza ki ‘okuleka Katonda okwoleka obusungu bwe’? (Abaruumi 12:19)

14 Soma Abaruumi 12:19. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okuleka Katonda okwoleka obusungu bwe.’ Tuleka Yakuwa okwoleka obusungu bwe nga tumuleka okuleetawo obwenkanya mu kiseera kye ekituufu era mu ngeri ye entuufu. Ow’oluganda John bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya yagamba nti: “Nnalina okufuba okufuga obusungu nneme okukola ekintu ekikyamu, naye tekyali kyangu. Ebiri mu Abaruumi 12:19 byannyamba okuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa.”

15. Lwaki kya magezi okulindirira Yakuwa okutereeza ensonga?

15 Bwe tulindirira Yakuwa okutereeza ensonga tuganyulwa nnyo. Ekyo kituyamba okwewala okwerariikirira n’okuggwamu amaanyi nga tugezaako okugonjoola ekizibu mu ngeri yaffe. Yakuwa ayagala okutuyamba. Alinga atugamba nti, ‘Obutali bwenkanya mubundekere; nja kubukolako.’ Bwe tukkiriza ekisuubizo kya Yakuwa ekigamba nti: “Nze ndisasula,” tusobola okuleka ensonga mu mikono gye nga tuli bakakafu nti ajja kuzikolako mu ngeri esingayo obulungi. Ekyo kye kyayamba John eyayogeddwako waggulu. Agamba nti: “Bwe nnindirira Yakuwa, ensonga ajja kuzikolako bulungi okusinga nze bwe nnandizikozeeko.”

“WANGULANGA EBINTU EBIBI NG’OKOLA EBIRUNGI”

16-17. Okusaba kutuyamba kutya ‘okuwangulanga ebintu ebibi nga tukola ebirungi’? (Abaruumi 12:21)

16 Soma Abaruumi 12:21. Pawulo era yakubiriza Abakristaayo ‘okuwangulanga ebintu ebibi nga bakola ebintu ebirungi.’ Mu Kuyigiriza Kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Mweyongere okwagala abalabe bammwe era n’okusabira abo ababayigganya.” (Mat. 5:44) Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Oboolyawo oluusi ofumiitiriza ku bulumi Yesu bwe yayitamu ng’abasirikale Abaruumi bamukomeredde ku muti. Yesu yayisibwa mu ngeri ey’obukambwe era yagumira obulumi obw’amaanyi. Mu butuufu tetusobola kutegeerera ddala bulumi Yesu bwe yayitamu.

17 Yesu yasigala ayagala Yakuwa era nga mwesigwa gy’ali wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo. Mu kifo ky’okusaba Yakuwa abonereze abasirikale abo, yasaba nti: “Kitange, basonyiwe kubanga tebamanyi kye bakola.” (Luk. 23:34) Bwe tusabira abo abatuyisa obubi, kiyinza okukendeeza ku bulumi n’obusungu bwe tuba nabwo era kiyinza n’okukyusa engeri gye tubatunuuliramu.

18. Okusaba kwayamba kutya Alberto ne John okugumira obutali bwenkanya?

18 Okusaba kwayamba ab’oluganda babiri abayogeddwako mu kitundu kino okugumira obutali bwenkanya bwe baayolekagana nabwo. Alberto agamba nti: “Nnasabira ab’oluganda abampaayiriza nti nnali nzibye ssente. Nnasaba Yakuwa emirundi mingi annyambe ndekere awo okulowooza ku ebyo ebyantuukako.” Eky’essanyu kiri nti kati Alberto yaddamu okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. John agamba nti: “Emirundi mingi nnasabira ow’oluganda eyampisa obubi. Ekyo kyannyamba okumusonyiwa n’okulekera awo okumusunguwalira n’okumusalira omusango. Era essaala ezo zannyamba okufuna emirembe ku mutima.”

19. Kiki kye tusaanidde okukola nga bwe tulindirira enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno? (1 Peetero 3:​8, 9)

19 Nga tukyali mu nsi eno embi, ekiseera kyonna tusobola okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Ka kibe ki ekitutuukako, ka tweyongere okusabanga Yakuwa okutuyamba. Ate era ka tweyongere okukoppa engeri Yesu gye yeeyisaamu bwe yayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Era ka tweyongere okussa mu nkola amagezi agali mu Bayibuli. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa.—Soma 1 Peetero 3:​8, 9.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

a Mu bbaluwa ya Peetero esooka essuula 2 ne 3, Peetero yayogera ku butali bwenkanya obw’enjawulo Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe baayolekagana nabwo, okuva eri bakama baabwe oba abaami baabwe abataali bakkiriza.—1 Peet. 2:​18-20; 3:​1-6, 8, 9.