EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19
OLUYIMBA 6 Eggulu Lirangirira Ekitiibwa kya Katonda
Koppa Bamalayika Abeesigwa
“Mutendereze Yakuwa mmwe mmwenna bamalayika be.”—ZAB. 103:20.
EKIGENDERERWA
Bye tuyigira ku bamalayika abeesigwa.
1-2. (a) Njawulo ki eriwo wakati waffe ne bamalayika? (b) Biki bye tufaanaganya ne bamalayika?
YAKUWA bwe yakuleeta mu mazima, yakuleeta mu maka ge omuli abaweereza be abangi ennyo, nga mu bano mulimu ab’oluganda ne bannyinaffe okwetooloola ensi awamu n’obukadde n’obukadde bwa bamalayika abeesigwa. (Dan. 7:9, 10) Bwe tufumiitiriza ku bamalayika, emirungi mingi tulowooza ku njawulo eriwo wakati waffe nabo. Ng’ekyokulabirako, bamalayika baabeerawo dda nga ffe tetunnabaawo. (Yob. 38:4, 7) Ba maanyi nnyo okutusinga. Ate era batukuvu era batuukirivu ku kigero ekya waggulu ennyo ffe abantu abatatuukiridde kye tutasobola kutuukako.—Luk. 9:26.
2 Kyokka wadde nga waliwo enjawulo wakati waffe ne bamalayika, era waliwo bingi bye tufaanaganya. Ng’ekyokulabirako, okufaananako bamalayika, tusobola okwoleka engeri za Yakuwa era tulina eddembe ery’okwesalirawo. Era nga bwe kiri ku bamalayika, naffe kinoomu tulina amannya era tulina engeri ez’enjawulo awamu n’obuvunaanyizibwa obutali bumu. Ate era okufaananako bamalayika, tulina obwetaavu obw’okusinza Omutonzi waffe.—1 Peet. 1:12.
3. Biki bye tugenda okuyigira ku bamalayika abeesigwa?
3 Okuva bwe kiri nti tulina bingi gye tufaanaganya ne bamalayika, ekyokulabirako ekirungi kye bassaawo kisobola okutuzzaamu amaanyi n’okutuyamba okumanya ebintu bingi. Mu butuufu, waliwo bingi bye tusobola okuyigira ku bamalayika. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukoppa obwetoowaze bwa bamalayika abeesigwa, okwagala kwe balina eri abantu, obugumiikiriza bwabwe, n’okuba nti bafuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo.
BAMALAYIKA BEETOOWAZE
4. (a) Bamalayika bakyoleka batya nti beetoowaze? (b) Lwaki bamalayika beetoowaze nnyo? (Zabbuli 89:7)
4 Bamalayika abeesigwa beetoowaze. Wadde nga balina obumanyirivu bungi, amaanyi mangi, era nga bagezi nnyo, bakolera ku bulagirizi bwa Yakuwa. (Zab. 103:20) Bwe baba batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, tebeewaana olw’ebyo bye bakola era tebeeraga olw’amaanyi amangi ennyo ge balina. Bakola Katonda by’ayagala nga basanyufu, abalala ne bwe batamanya mannya gaabwe. a (Lub. 32:24, 29; 2 Bassek. 19:35) Tebakkiriza kuweebwa kitiibwa ekirina okuweebwa Yakuwa. Lwaki bamalayika beetoowaze nnyo? Kubanga baagala Yakuwa era bamussaamu nnyo ekitiibwa.—Soma Zabbuli 89:7.
5. Malayika omu yayoleka atya obwetoowaze ng’awabula omutume Yokaana? (Laba n’ekifaananyi.)
5 Lowooza ku kintu ekimu ekyaliwo ekiraga nti bamalayika beetoowaze nnyo. Awo nga mu mwaka gwa 96 E.E., malayika gwe tutamanyi linnya yalaga omutume Yokaana ebintu ebyewuunyisa ennyo mu kwolesebwa. (Kub. 1:1) Yokaana yakwatibwako atya? Yagezaako okusinza malayika oyo. Kyokka malayika oyo omwesigwa mangu ddala yagamba Yokaana nti: “Weegendereze! Ekyo tokikola! Nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo. . . Sinza Katonda!” (Kub. 19:10) Malayika oyo nga yali mwetoowaze nnyo! Yali tayagala kutenderezebwa. Eyo ye nsonga lwaki mangu ddala yagamba Yokaana nti asinze Yakuwa Katonda. Kyokka mu kiseera kye kimu yali tatwala Yokaana nti wa wansi. Wadde nga malayika oyo yali aweerezza Yakuwa okumala ekiseera kiwanvu nnyo okusinga Yokaana era ng’amusinga amaanyi, yagamba omutume oyo nti yali muddu munne. Era yadde nga malayika oyo yalina okuwabula Yokaana, teyamukambuwalira wadde okumuyisa obubi. Mu kifo ky’ekyo, yayogera naye mu ngeri ey’ekisa. Kirabika yakiraba nti Yokaana yali awuniikiridde nnyo olw’ebyo bye yalaba era ng’atidde.
Malayika yayoleka obwetoowaze bwe yali ayogera ne Yokaana (Laba akatundu 5)
6. Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa bamalayika?
6 Tuyinza tutya okukoppa obwetoowaze bwa bamalayika? Naffe bwe tuba tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe, tetusaanidde kwewaana oba okuleetera abalala okututendereza olw’ebyo bye tukola. (1 Kol. 4:7) Ate era bwe tuba nga tumaze ekiseera kiwanvu nga tuweereza Yakuwa okusinga abalala oba nga tulina enkizo ze batalina, tetusaanidde kwetwala nti tuli ba waggulu ku bo. Gye tukoma okuba n’enkizo mu kibiina, gye tusaanidde okukoma okwetwala nti tuli ba wansi. (Luk. 9:48) Okufaananako bamalayika, tusaanidde okuba abeetegefu okuweereza abalala. Tetwagala kuleetera balala kulowooza nti tuli ba mugaso okubasinga.
7. Tuyinza tutya okukiraga nti tuli beetoowaze nga tuliko gwe tuwabula?
7 Ate era tusaanidde okuba abeetoowaze nga tuliko gwe tuwabula, k’abe mukkiriza munnaffe oba omwana waffe. Oluusi bwe tuba tuwabula omuntu, kitwetaagisa okwogera ku nsonga butereevu. Naye okufaananako malayika eyawabula Yokaana mu ngeri ey’ekisa, tusobola okwogera ku nsonga butereevu nga tuwabula omuntu kyokka ne tutamuleetera kuggwaamu maanyi. Bwe tuba nga tetwetwala nti tuli ba waggulu ku balala, tukozesa Ebyawandiikibwa okubawabula mu ngeri eraga nti tubassaamu ekitiibwa era nti tubasaasira.—Bak. 4:6.
BAMALAYIKA BAAGALA NNYO ABANTU
8. (a) Okusinziira ku Lukka 15:10, bamalayika bakiraga batya nti baagala nnyo abantu? (b) Bamalayika batuyamba batya nga tukola omulimu gw’okubuulira? (Laba ku ddiba.)
8 Bamalayika tebeesamba bantu wadde okubatwala nti si ba muwendo, wabula babaagala nnyo. Basanyuka nnyo omwonoonyi bwe yeenenya, kwe kugamba, endiga eyali ebuze bw’ekomawo eri Yakuwa oba omuntu bw’akyusa amakubo ge n’atandika okuweereza Yakuwa. (Soma Lukka 15:10.) Ate era bamalayika beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. (Kub. 14:6) Wadde nga tebabuulira bantu butereevu, bayinza okuyamba omubuulizi okutuuka ku muntu ayagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Kya lwatu, bwe wabaawo omuntu gwe tubuulidde tetuyinza kugamba nti mu buli ngeri malayika ye yatutuusizza ku muntu oyo. Yakuwa akozesa engeri ezitali zimu, gamba ng’omwoyo omutukuvu, okuyamba abantu oba okusobozesa abaweereza be okutuuka ku bantu abaagala okumanya ebimukwatako. (Bik. 16:6, 7) Wadde kiri kityo, akozesa nnyo bamalayika okutuyamba nga tubuulira. N’olwekyo, bwe tuba tubuulira abantu amawulire amalungi, tusaanidde okuba abakakafu nti bamalayika weebali okutuyamba.—Laba akasanduuko “ Essaala Zaabwe Zaddibwamu.” b
Ow’oluganda ne mukyala we baakamala okubuulira nga bakozesa akagaali. Bwe baba baddayo eka, mwannyinaffe alaba omukyala alabika nga mwennyamivu. Mwannyinaffe oyo akiraba nti bamalayika bayinza okuba nga bamulagirira eri oyo eyeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo. Asalawo okwogerako n’omukyala oyo mu ngeri ey’ekisa (Laba akatundu 8)
9. Tuyinza tutya okulaga abantu okwagala nga bamalayika bwe bakola?
9 Tuyinza tutya okukoppa bamalayika naffe ne tulaga abantu okwagala? Bwe tuwulira ekirango nti waliwo akomezeddwawo mu kibiina, tusaanidde okusanyuka ennyo nga bamalayika bwe bakola. Tusaanidde okukakasa nti muganda waffe oyo akiraba nti tumwagala era nti tuli basanyufu okuba nti azzeemu okuweereza Yakuwa. (Luk. 15:4-7; 2 Kol. 2:6-8) Ate era tusobola okukoppa bamalayika nga twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. (Mub. 11:6) Nga bamalayika bwe batuyamba nga tubuulira amawulire amalungi, naffe tusaanidde okuyamba bakkiriza bannaffe mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, tusobola okubuulirako n’omubuulizi atalina bumanyirivu. Oba tusobola kubaako bye tukola okuyamba bakkiriza bannaffe abaliko obulemu oba abo abakaddiye basobole okwenyigira mu kubuulira.
10. Kiki kye tuyigira ku Sara?
10 Watya singa embeera yaffe tetusobozesa kukola ebyo byonna bye twandyagadde okukola mu buweereza bwaffe? Tusobola okufunayo engeri endala gye tuyinza okukolera awamu ne bamalayika mu mulimu gw’okubuulira. Lowooza ku mwannyinaffe Sara, c abeera mu Buyindi. Oluvannyuma lw’okuweereza nga payoniya okumala emyaka 20, Sara yalwala n’aba nga takyasobola kuva wansi. Kya lwatu nti ekyo kyamwennyamiza nnyo. Naye oluvannyuma yaddamu okufuna essanyu olw’obuyambi bakkiriza banne mu kibiina bwe baamuwa n’olw’okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa Bayibuli obutayosa. Yanoonyayo engeri endala ey’okutuukirizaamu obuweereza bwe okusinziira ku mbeera ye. Okuva bwe kiri nti yali tasobola wadde okutuula okuwandiika ebbaluwa, yali asobola kukozesa ssimu yokka okubuulira. Bwe kityo, yakubira abantu be yalina okuddira era nabo ne bamubuulira abantu abalala abaali bayinza okwagala okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Biki ebyavaamu? Mu myezi bwezi, Sara yafuna abayizi ba Bayibuli 70, era baali bangi nnyo nga bonna tasobola kubayigiriza. N’olwekyo abamu yabawa ababuulizi abalala mu kibiina. Bangi ku bayizi abo kati babaawo mu nkuŋŋaana. Bamalayika bateekwa okuba nga basanyuka nnyo okukolera awamu n’ab’oluganda ne bannyinaffe nga Sara, abafuba okubuulira abantu amawulire amalungi!
BAMALAYIKA BAGUMIIKIRIZA
11. Bamalayika abeesigwa bakyolese batya nti bagumiikiriza nnyo?
11 Bamalayika abeesigwa bataddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kuba abagumiikiriza. Bagumiikirizza obutali bwenkanya n’ebintu ebibi okumala emyaka nkumi na nkumi. Baalaba Sitaani ne bamalayika abalala, edda abaali baweerereza awamu nabo, nga bajeemera Yakuwa. (Lub. 3:1; 6:1, 2; Yud. 6) Bayibuli eyogera ku malayika omu eyalwanagana ne dayimooni ey’amaanyi okumala ennaku nnyingi. (Dan. 10:13) Ate era okuva mu kiseera kya Adamu ne Kaawa, bamalayika bakirabye nti abantu batono nnyo abasazeewo okuweereza Yakuwa. Wadde nga balabye ebintu ebyo byonna, bamalayika abo abeesigwa bakyeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu era nga basanyufu. Bakimanyi nti mu kiseera ekituufu, Katonda ajja kujjawo obutali bwenkanya bwonna.
12. Kiki ekiyinza okutuyamba okugumiikiriza?
12 Tuyinza tutya okuba abagumiikiriza nga bamalayika? Okufaananako bamalayika, tuyinza okulaba ebintu ebitali bya bwenkanya oba tuyinza okuyigganyizibwa. Kyokka tuli bakakafu nti mu kiseera ekituufu Katonda ajja kumalawo ebintu ebibi. N’olwekyo okufaananako bamalayika abeesigwa, ‘tetulekera awo kukola birungi.’ (Bag. 6:9) Katonda asuubiza okutuyamba okugumiikiriza. (1 Kol. 10:13) Tusobola okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abagumiikiriza era abasanyufu. (Bag. 5:22; Bak. 1:11) Watya singa oyigganyizibwa? Weesige Yakuwa era totya. Bulijjo ajja kukuyambanga era ajja kukuwa amaanyi.—Beb. 13:6.
BAMALAYIKA BAYAMBAKO MU KUKUUMA EKIBIINA NGA KIYONJO
13. Buvunaanyizibwa ki obw’enjawulo bamalayika bwe baweereddwa mu nnaku zino ez’enkomerero? (Matayo 13:47-49)
13 Mu nnaku zino ez’enkomerero, Yakuwa alina obuvunaanyizibwa obw’enjawulo bw’awadde bamalayika. (Soma Matayo 13:47-49.) Olw’omulimu gw’okubuulira ogukolebwa, abantu bukadde na bukadde aba buli kika bajja mu kibiina kya Yakuwa. Abamu ku bantu abo bakola enkyukakyuka ezeetaagisa ne bafuuka Abakristaayo aba nnamaddala, kyokka eri abalala si bwe kiba. Bamalayika baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okwawula “abantu ababi okuva mu batuukirivu.” Ekyo kitegeeza nti baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okukuuma ekibiina nga kiyonjo. Naye ekyo tekitegeeza nti buli muntu alekera awo okukuŋŋaana awamu naffe, k’ebe nsonga ki eba emuviiriddeko okulekera awo okukuŋŋaana, aba tasobola kukomawo mu kibiina. Ate era tekitegeeza nti mu kibiina temusobola kubaamu bizibu. Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti bamalayika bafuba nnyo okukuuma ebibiina byaffe nga biyonjo.
14-15. Okufaananako bamalayika, tuyinza tutya okukiraga nti twagala okukuuma ekibiina nga kiyonjo? (Laba n’ebifaananyi.)
14 Okufaananako bamalayika, tuyinza tutya okukiraga nti twagala okukuuma ekibiina nga kiyonjo? Ekyo tukikola nga tufuba okukuuma ekibiina kyaffe nga kiyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. N’olwekyo, tusaanidde okufuba okukuuma emitima gyaffe nga tulonda emikwano emirungi era nga twewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (Zab. 101:3) Ate era tusaanidde okuyamba bakkiriza bannaffe okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, kiki kye tusaanidde okukola singa tukimanyaako nti mukkiriza munnaffe yakoze ekibi eky’amaanyi? Olw’okuba tuba tumwagala, tusaanidde okumukubiriza okwogerako n’abakadde. Bw’atayogerako nabo, ffe tusaanidde okubategeeza ensonga eyo. Tuba twagala mukkiriza munnaffe oyo okuddamu okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa amangu ddala!—Yak. 5:14, 15.
15 Eky’ennaku, abamu ku abo abakola ebibi eby’amaanyi baggibwa mu kibiina. Ekyo bwe kibaawo, tuba tulina ‘okulekera awo okukolagana’ nabo. d (1 Kol. 5:9-13) Ekyo kisobozesa ekibiina okusigala nga kiyonjo. Ate era bwe twewala okukolagana n’abo ababa baggiddwa mu kibiina, tuba tubalaga ekisa. Bwe tunywerera ku kituufu kisobola okubayamba okukiraba nti beetaaga okudda eri Yakuwa. Ekyo bwe bakikola, tusanyuka nnyo era Yakuwa ne bamalayika nabo basanyuka.—Luk. 15:7.
Kiki kye tusaanidde okukola singa tukitegeerako nti mukkiriza munnaffe yakoze ekibi eky’amaanyi? (Laba akatundu 14) e
16. Biki by’oyagala okukoppa ku bamalayika?
16 Mazima ddala nkizo ya maanyi nnyo okuba nti Yakuwa atuyambye okumanya ebikwata ku bamalayika era n’okukolera awamu nabo! Ka tufube okukoppa engeri zaabwe ennungi, gamba ng’obwetoowaze, okwagala abantu, obugumiikiriza, n’okufuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo. Bwe tubakoppa, naffe tusobola okubeera ab’omu maka ga Yakuwa emirembe n’emirembe.
OLUYIMBA 123 Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
a Ku bukadde n’obukadde bwa bamalayika, Bayibuli eyogerako amannya ga bamalayika babiri bokka, Mikayiri ne Gabulyeri.—Dan. 12:1; Luk. 1:19.
b Ebyokulabirako ebirala osobola okubifuna mu Watch Tower Publications Index, wansi w’omutwe “Angels” (Bamalayika) wansi w’omutwe omutono, “angelic direction (obulagirizi bwa bamalayika).”
c Erinnya likyusiddwa.
d Nga bwe kyalagibwa mu Lipooti eyʼOkubiri Okuva ku Kakiiko Akafuzi eya 2024, omuntu eyaggibwa mu kibiina bwʼajja mu nkuŋŋaana, omubuulizi asobola okukozesa omuntu we owʼomunda okusalawo obanga anaamulamusa.
e EBIFAANANYI : Mwannyinaffe akubiriza mukwano gwe okwogerako n’abakadde. Oluvannyuma lw’ekiseera, mukwano gwe bw’atatuukirira abakadde, mwannyinaffe oyo abatuukirira n’abategeeza ekizibu kya mukwano gwe.