Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!

Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo eri Yesu

Erinnya lya Yakuwa Kkulu Nnyo eri Yesu

“Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa.”YOK. 17:26.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba ekyo Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti yamanyisa erinnya lya Yakuwa, n’engeri gye yakiragamu nti Yakuwa mutukuvu era nti ebyo byonna Sitaani bye yamwogerako bya bulimba.

1-2. (a) Biki Yesu bye yakola mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

 OLUNAKU lwali Lwakuna akawungeezi, nga Nisaani 14 mu mwaka gwa 33 E.E, era Yesu yali anaatera okuliibwamu olukwe, okuwozesebwa, okutulugunyizibwa, n’oluvannyuma attibwe. Yali mu kisenge ekya waggulu nga yaakamala okuliirako wamu n’abatume be abeesigwa ekijjulo eky’enjawulo. Oluvannyuma lw’ekijjulo ekyo, alina ebigambo ebizzaamu amaanyi bye yagamba abatume be. Bonna bwe baali banaatera okuva mu kisenge ekyo, Yesu yasaba essaala ey’amakulu ennyo. Essaala eyo esangibwa mu Yokaana essuula 17.

2 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebimu ku bintu bye tuyigira ku ssaala ya Yesu eyo. Kiki kye yali alowoozaako ng’anaatera okufa? Essaala eyo eraga etya ekyo Yesu kye yali atwala nga kye kisinga obukulu bwe yali ku nsi? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

“MBAMANYISIZZA ERINNYA LYO”

3. Kiki Yesu kye yayogera ku linnya lya Yakuwa, era kiki kye yali ategeeza? (Yokaana 17:​6, 26)

3 Mu ssaala eyo, Yesu yagamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo.” Mu butuufu, emirundi ebiri yagamba nti yali amanyisizza erinnya lya Yakuwa eri abayigirizwa be. (Soma Yokaana 17:​6, 26.) Kiki kye yali ategeeza? Yali abayambye okumanya erinnya lye baali batamanyi? Olw’okuba abayigirizwa ba Yesu baali Bayudaaya, baali bakimanyi nti Yakuwa lye linnya lya Katonda. Erinnya eryo lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi nga 7,000. N’olwekyo, Yesu yali tategeeza nti yali ayambye abayigirizwa be okutegeera nti Yakuwa lye linnya lya Katonda, wabula yali ategeeza nti yali abayambye okutegeera ekyo Yakuwa ky’ali. Yali abayambye okweyongera okutegeera Yakuwa, era ng’ekyo kyali kizingiramu okweyongera okutegeera ebigendererwa bya Yakuwa, ebyo by’akola, n’engeri ze ennungi. Mu butuufu, Yesu y’asingirayo ddala okumanya Yakuwa obulungi.

4-5. (a) Erinnya ly’omuntu liyinza litya okufuuka ery’amakulu gye tuli? Waayo ekyokulabirako. (b) Mu ngeri ki abayigirizwa ba Yesu gye baamanya erinnya lya Katonda, Yakuwa?

4 Lowooza ku kyokulabirako kino. Kuba akafaananyi ng’omu ku bakadde mu kibiina kyo ayitibwa David era nga musawo alongoosa abantu. Ow’oluganda oyo omumanyidde ebbanga ddene. Naye lumu olwala obulwadde obw’amaanyi nga weetaaga okulongoosebwa mu bwangu. Oddusibwa mu ddwaliro ow’oluganda oyo gy’akola, era akozesa obukugu bw’alina okutaasa obulamu bwo. Kati weeyongera okwagala ow’oluganda oyo, era buli lw’owulira erinnya lye olowooza ku ekyo kye yakukolera! David tokyamulaba bulabi ng’omukadde, naye era omulaba ng’omusawo eyataasa obulamu bwo.

5 Mu ngeri y’emu, abayigirizwa ba Yesu baali bamanyi erinnya lya Katonda, naye erinnya eryo lyayongera okuba ery’amakulu gye bali kubanga Yesu yabayamba okweyongera okutegeera obulungi Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe mu ebyo byonna bye yayogera ne bye yakola. N’olwekyo, abatume ba Yesu beeyongera ‘okumanya’ Yakuwa bwe baawuliriza ebyo Yesu bye yayigirizanga era ne balaba engeri gye yayisangamu abantu.—Yok. 14:9; 17:3.

“ERINNYA LYO LYE WAMPA”

6. Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti Yakuwa yamuwa erinnya lye? (Yokaana 17:​11, 12)

6 Mu ssaala eyo, Yesu yasabira abayigirizwa be ng’agamba nti: “Bakuume olw’erinnya lyo lye wampa.” (Soma Yokaana 17:​11, 12.) Ekyo kyali kitegeeza nti kati Yesu yali agenda kuyitibwa Yakuwa? Nedda. Weetegereze nti Yesu bwe yayogera ku linnya lya Yakuwa yagamba nti “erinnya lyo.” N’olwekyo erinnya Yakuwa teryafuuka linnya lya Yesu. Kati olwo Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti yali aweereddwa erinnya lya Katonda? Okusookera ddala, Yesu yali akiikirira Yakuwa era yali Mwogezi we. Yajjira mu linnya lya Kitaawe era yakola ebyamagero mu linnya eryo. (Yok. 5:43; 10:25) Eky’okubiri, erinnya Yesu litegeeza nti “Yakuwa Bwe Bulokozi.” N’olwekyo, erinnya lya Yesu lirina akakwate n’erinnya lya Katonda.

7. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yesu yayogeranga mu linnya lya Yakuwa.

7 Okuwaayo ekyokulabirako: Olw’okuba omubaka w’eggwanga erimu mu nsi endala aba akiikirira omukulembeze w’eggwanga gy’ava, ayinza okwogera mu linnya ly’omukulembeze oyo. N’olwekyo omubaka oyo bw’ayogera, ebigambo bye bitwalibwa ng’eby’omukulembeze gw’akiikirira. Mu ngeri y’emu, Yesu yali akiikirira Yakuwa era yayogeranga eri abantu mu linnya lya Yakuwa.—Mat. 21:9; Luk. 13:35.

8. Lwaki Yakuwa yagamba nti Yesu yali ‘ajjira’ mu linnya lye nga Yesu tannaba na kujja ku nsi? (Okuva 23:​20, 21)

8 Mu Bayibuli Yesu ayitibwa “Kigambo,” kubanga Yakuwa yamukozesa okutegeeza bamalayika n’abantu ebyo bye yali ayagala bamanye era bakole. (Yok. 1:​1-3) Kirabika Yesu ye malayika Yakuwa gwe yatuma okulabirira Abayisirayiri nga bali mu ddungu. Yakuwa bwe yali agamba Abayisirayiri okugondera malayika oyo, yabagamba nti: “Olw’okuba ajjira mu linnya lyange.” a (Soma Okuva 23:​20, 21.) Yakuwa bwe yayogera ebigambo ebyo yakyoleka bulungi nti Yesu amukiikirira era nti y’awomye omutwe mu kutukuza erinnya lye.

“KITANGE, GULUMIZA ERINNYA LYO”

9. Yesu yali atwala atya erinnya lya Yakuwa? Nnyonnyola.

9 Nga bwe tulabye, Yesu ne bwe yali tannajja ku nsi, erinnya lya Yakuwa lyali kkulu nnyo gy’ali. N’olwekyo tekyewuunyisa nti ebyo byonna bye yakola ng’ali ku nsi biraga nti yali atwala erinnya eryo nga kkulu nnyo. Bwe yali anaatera okumaliriza obuweereza bwe ku nsi, yasaba Yakuwa nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” Mangu ddala, Kitaawe yaddamu mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ggulu nti: “Ndigulumizza era nja kuligulumiza nate.”—Yok. 12:28.

10-11. (a) Yesu yagulumiza atya erinnya lya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Lwaki erinnya lya Yakuwa lirina okutukuzibwa era lwaki kyetaagisa okulaga nti buli ky’akola kiba kituufu?

10 Yesu naye yagulumiza erinnya lya Kitaawe. Ekyo yakikola atya? Engeri emu gye yakikolamu kwe kuyamba abantu okutegeera engeri za Kitaawe ennungi era n’ebyo by’akola. Naye era waliwo ekirala kye yakola okugulumiza erinnya lya Yakuwa. Yesu yalina okukyoleka nti erinnya lya Yakuwa ttukuvu era nti buli kimu Yakuwa ky’akola kiba kituufu. Ekyo Yesu yakiraga nti kikulu nnyo bwe yayigiriza abagoberezi be essaala emanyiddwa ng’Essaala ya Kitaffe. Yagamba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”—Mat. 6:9.

11 Lwaki erinnya lya Yakuwa lyetaaga okutukuzibwa, era lwaki kyetaagisa okulaga nti buli ky’akola kiba kituufu? Kubanga mu lusuku Edeni, Sitaani Omulyolyomi yayogera eby’obulimba ku Yakuwa Katonda. Sitaani yagamba nti Yakuwa mulimba era nti waliwo ebintu ebirungi bye yali tayagaliza Adamu ne Kaawa kufuna. (Lub. 3:​1-5) Mu kwogera bw’atyo, Sitaani yakiraga nti engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu si ntuufu. Obulimba obwo Sitaani bwe yayogera bwaleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Ate oluvannyuma mu kiseera kya Yobu, Sitaani yagamba nti abo bonna abaweereza Yakuwa, bamuweereza olw’okuba balina bye bamufunako. Omulimba oyo era yagamba nti abantu bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi balekera awo okuweereza Yakuwa olw’okuba tebamwagala kuviira ddala ku mutima. (Yob. 1:​9-11; 2:4) Ekiseera kyali kyetaaga okuyitawo okumanya obanga Yakuwa ye mutuufu oba Sitaani.

Yesu yayigiriza abagoberezi be nti kikulu nnyo okutukuza erinnya lya Katonda (Laba akatundu 10)


“MPAAYO OBULAMU BWANGE”

12. Kiki Yesu kye yali omwetegefu okukola olw’okuba ayagala nnyo erinnya lya Yakuwa?

12 Olw’okuba Yesu ayagala nnyo Yakuwa, yali ayagala okukola kyonna ky’asobola okutukuza erinnya lya Yakuwa n’okulaga nti byonna Yakuwa by’akola biba bituufu. Yagamba nti: “Mpaayo obulamu bwange.” (Yok. 10:​17, 18) Mu butuufu, yali mwetegefu okufa ku lw’erinnya lya Yakuwa. b Adamu ne Kaawa, abantu ababiri abaasooka era abaali batuukiridde, baajeemera Yakuwa ne badda ku ludda lwa Sitaani. Okwawukana ku bantu abo, Yesu yali mwetegefu okujja ku nsi okukyoleka nti ayagala nnyo Yakuwa. Yakyoleka nti ayagala nnyo Yakuwa ng’amugondera mu buli kimu. (Beb. 4:15; 5:​7-10) Yasigala mwesigwa okutuukira ddala lwe yafa mu bulumi obw’amaanyi. (Beb. 12:2) Bwe yakola bw’atyo yakiraga nti ayagala nnyo Yakuwa n’erinnya lye.

13. Lwaki Yesu ye yali omuntu omutuufu okulaga nti Sitaani mulimba? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Ebintu byonna Yesu bye yakola ne bye yayogera byalaga nti Sitaani ye mulimba so si Yakuwa! (Yok. 8:44) Yesu yali amanyi bulungi Yakuwa okusinga malayika yenna oba okusinga omuntu omulala yenna eyali abaddewo. Singa mu ebyo Sitaani bye yayogera ku Yakuwa mwalimu ekituufu, Yesu yandibadde akimanyi. Naye Yesu yali mumalirivu okulwanirira erinnya lya Kitaawe akirage nti ebyo Sitaani bye yayogera bya bulimba. Ne bwe kyalabika nti Yakuwa yali amwabulidde, Yesu yali mwetegefu okufa mu kifo ky’okujeemera Kitaawe amwagala ennyo.—Mat. 27:46. c

Byonna Yesu bye yayogera ne bye yakola byalaga nti Sitaani ye mulimba so si Yakuwa! (Laba akatundu 13)


“MMALIRIZZA OMULIMU WE WAMPA OKUKOLA”

14. Yakuwa yawa atya Yesu empeera olw’okusigala nga mwesigwa?

14 Mu ssaala gye yasaba mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu era yagamba nti: “Mmalirizza omulimu gwe wampa okukola.” Yali mukakafu nti Yakuwa yandimuwadde empeera olw’okusigala nga mwesigwa. (Yok. 17:​4,5) Era ddala yamuwa empeera. Yakuwa teyamuleka magombe. (Bik. 2:​23, 24) Yamuzuukiza era n’amuwa ekifo ekya waggulu ennyo mu ggulu. (Baf. 2:​8, 9) Oluvannyuma Yesu yatandika okufuga nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. Biki Obwakabaka obwo bye bunaakola? Ebigambo ebiddako mu Ssaala ya Kitaffe bigamba nti: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Mat. 6:10.

15. Biki ebirala Yesu by’ajja okukola?

15 Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kulwanyisa abalabe ba Katonda era abazikirize ku Amagedoni. (Kub. 16:​14, 16; 19:​11-16) Amangu ddala ng’amaze okukola ekyo, ajja kukwata Sitaani amusuule mu ‘bunnya,’ era Sitaani ajja kuba asibiddwa nga talina ky’asobola kukola. (Kub. 20:​1-3) Mu Bufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi, Yesu ajja kuleeta emirembe era ajja kusobozesa abantu okufuuka abatuukiridde. Ajja kuzuukiza abafu era ajja kufuula ensi yonna Olusuku lwa Katonda. Awo ekigendererwa kya Yakuwa eri abantu n’ensi kijja kuba kituukiridde!—Kub. 21:​1-4.

16. Obulamu buliba butya ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi?

16 Obulamu buliba butya ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi? Ekibi n’obutali butuukirivu abantu bye baasikira bijja kuba bivuddewo. Abantu bajja kuba tebakyetaaga kusaba Yakuwa kubasonyiwa bibi byabwe ng’asinziira ku kinunulo; era bajja kuba tebakyetaaga abaafukibwako amafuta 144,000 okuba bakabona baabwe. Ate era bajja kuba tebakyetaaga Yesu okuba Kabona waabwe Asinga Obukulu abasobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Ate era “omulabe alisembayo,” kwe kugamba okufa okwaleetebwa Adamu, ‘ajja kuba aggiddwawo.’ Entaana zijja kuba njereere kubanga abafu bajja kuba bazuukiziddwa. Buli muntu anaaba ku nsi ajja kuba atuukiridde.—1 Kol. 15:​25, 26.

17-18. (a) Kiki ekinaabaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi? (b)  Kiki Yesu ky’anaakola ku nkomerero y’obufuzi bwe? (1 Abakkolinso 15:​24, 28) (Laba n’ekifaananyi.)

17 Kiki ekirala ekijja okubaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi? Waliwo ekintu eky’enjawulo ennyo ekijja okubaawo. Mu kiseera ekyo tewali n’omu ajja kuddamu kubuusabuusa obanga Yakuwa Katonda mutukuvu era wa bwenkanya. Lwaki? Mu lusuku Edeni Sitaani yagamba nti Yakuwa mulimba era nti abantu tabafuga mu ngeri ya kwagala. Okuva mu kiseera ekyo, abo abaweereza Yakuwa bakiraze enfunda n’enfunda nti amakubo ge ge gasingayo obulungi. N’olwekyo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, buli omu ajja kuba akiraba nti Yakuwa buli ky’akola kiba kituufu era nti atufuga mu ngeri ey’okwagala. Ajja kuba akiraze nti ye Kitaffe ow’omu ggulu atwagala ennyo.

18 Ku nkomerero y’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi, buli muntu ajja kuba akiraba nti ebyo byonna Sitaani bye yayogera ku Yakuwa bya bulimba. Emyaka olukumi bwe ginaggwaako, kiki Yesu ky’anaakola? Anaaba nga Sitaani n’ajeemera Yakuwa? Nedda! (Soma 1 Abakkolinso 15:​24, 28.) Ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe, era ajja kugondera Obufuzi bwa Yakuwa. Mu butuufu, obutafaananako Sitaani, Yesu mwetegefu okuwaayo obuyinza bwe bwonna eri Yakuwa kubanga ayagala nnyo Yakuwa.

Ku nkomerero y’Obufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi, kyeyagalire Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Yakuwa (Laba akatundu 18)


19. Yesu atwala atya erinnya lya Yakuwa?

19 Tekyewuunyisa nti Yakuwa yawa Yesu erinnya lye! Yesu yatuyamba okutegeera mu bujjuvu ekyo Yakuwa ky’ali. Okusinziira ku bye tulabye, Yesu atwala atya erinnya lya Yakuwa? Alitwala nga kkulu okusinga ekintu ekirala kyonna. Yali mwetegefu okufa olw’erinnya eryo, era ajja kuwaayo obuyinza bwe bwonna eri Yakuwa ku nkomerero y’Obufuzi Bwe obw’Emyaka Olukumi. Tuyinza tutya okukoppa Yesu? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 16 Mutende Yakuwa olw’Omwana We Eyafukibwako Amafuta

a Ebiseera ebimu bamalayika nabo baakiikiriranga Yakuwa bwe baayogeranga obubaka obuva gy’ali mu linnya lye. Eyo ye nsonga lwaki ennyiriri ezimu mu Bayibuli ziraga nti Yakuwa y’ayogera, naye ng’ekituufu kiri nti malayika ye yali ayogera mu linnya lye. (Lub. 18:​1-33) Ate era wadde ng’ennyiriri ezimu mu Bayibuli ziraga nti Musa yafuna Amateeka okuva eri Yakuwa, ennyiriri endala ziraga nti Yakuwa yakozesa bamalayika okuwa Musa amateeka ago.—Leev. 27:34; Bik. 7:​38, 53; Bag. 3:19; Beb. 2:​2-4.

b Yesu bwe yafa era kyaggulirawo abantu ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

c Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 2021, lup. 30-31.