Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 22

OLUYIMBA 127 Oyagala Mbeere Muntu wa Ngeri Ki?

Okwogerezeganya Okuweesa Yakuwa Ekitiibwa

Okwogerezeganya Okuweesa Yakuwa Ekitiibwa

‘Omuntu ow’ekyama ow’omu mutima wa muwendo nnyo.’1 PEET. 3:4.

EKIGENDERERWA

Ebyo abo aboogerezeganya bye balina okukola okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi, n’engeri abalala mu kibiina gye basobola okubayambamu.

1-2. Abamu batwala batya ekiseera eky’okwogerezeganya?

 EKISEERA eky’okwogerezeganya kisobola okubeera eky’essanyu. Bw’oba nga mu kiseera kino olina gw’oyogerezeganya naye, oteekwa okuba ng’oyagala ebintu bigende bulungi. Bangi aboogerezeganya ebintu bibagendera bulungi. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Tsion a abeera mu Ethiopia agamba nti: “Ekiseera kye nnamala nga njogerezeganya n’omwami wange kye kimu ku biseera ebikyasinze okundeetera essanyu. Twayogeranga ku bintu ebikulu ennyo era twayogeranga ne ku bintu ebisesa. Nnasanyuka nnyo bwe nnakitegeera nti nnali nzudde omuntu gwe njagala era naye anjagala.”

2 Kyokka ye ow’oluganda Alessio ow’omu Netherlands agamba nti: “Mu kiseera ky’okwogerezeganya nnasanyuka nnyo okumanya mukyala wange, naye era twafuna n’ebitusoomooza.” Mu kitundu kino tugenda kulaba okusoomooza abo aboogerezeganya kwe bayinza okufuna, era tugenda kulaba n’emisingi gya Bayibuli egisobola okubayamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ate era tugenda kulaba engeri abalala mu kibiina gye bayinza okubayambamu.

EKIGENDERERWA KY’OKWOGEREZEGANYA

3. Lwaki omusajja n’omukazi boogerezeganya? (Engero 20:25)

3 Ekiseera eky’okwogerezeganya kiba kya ssanyu, naye era omusajja n’omukazi basaanidde okukitwala nga kikulu nnyo, kubanga mu kiseera ekyo baba balina okusalawo obanga banaafumbiriganwa. Ku lunaku lw’embaga, bombi balayira mu maaso ga Yakuwa nti bajja kwagalana era nti bajja kuwaŋŋana ekitiibwa ekiseera kyonna kye banaamala nga balamu. Bwe tubaako ekintu kyonna kye twagala okweyama, tulina okusooka okukifumiitirizaako ennyo. (Soma Engero 20:25.) Bwe kityo bwe kiri ne ku bweyamo bwe tukola nga tuyingira obufumbo. Okwogerezeganya kusobozesa omusajja n’omukazi buli omu okumanya munne obulungi. Oluusi basobola okusalawo bayingira obufumbo oba okulekera awo okwogerezeganya. Singa basalawo obutayingira bufumbo, tekitegeeza nti balina ekikyamu kye baakola. Mu kifo ky’ekyo, baba batuukirizza ekigendererwa ky’okwogerezeganya, kwe kugamba, kuba kubayambye okusalawo obulungi.

4. Lwaki tusaanidde okumanya ekigendererwa ekituufu eky’okwogerezeganya?

4 Lwaki kikulu okumanya ekigendererwa ekituufu eky’okwogerezeganya? Abo abali obwannamunigina bwe baba nga balina ekigendererwa ekituufu eky’okwogerezeganya, tebajja kwogerezeganya na muntu nga si beetegefu kumuwasa oba kumufumbirwa. Naye abatali bafumbo si be bokka abalina okumanya ekigendererwa ky’okwogerezeganya. Ffenna tusaanidde okumanya ekigendererwa ky’okwogerezeganya. Ng’ekyokulabirako, abamu balowooza nti abantu bwe baba boogerezeganya mu buli ngeri balina okufumbiriganwa. Endowooza eyo ekwata etya ku Bakristaayo abali obwannamunigina? Mwannyinaffe Melissa ali obwannamunigina abeera mu Amerika agamba nti: “Ow’oluganda ne mwannyinaffe bwe baba nga boogerezeganya, bakkiriza bannaffe abamu baba babasuubira okufumbiriganwa. N’ekivuddemu, abamu bagenda mu maaso n’okwogerezeganya okwo wadde nga bakiraba nti tebajja kusobola kubeera wamu. Ate abalala basalawo okwewala okwogerezeganya. Ekyo kiviirako abali obwannamunigina okweraliikirira.”

MUFUBE OKUMANYAGANA

5-6. Abo aboogerezeganya biki buli omu by’asaanidde okumanya ku munne? (1 Peetero 3:4)

5 Bw’oba ng’olina gw’oyogerezeganya naye, kiki ekinaakuyamba okusalawo obanga onoofumbiriganwa naye. Buli omu asaanidde okumanya obulungi munne. Oyinza okuba ng’olina ebintu bye wali omanyi ku muntu oyo nga temunnatandika kwogerezeganya. Naye kati olina akakisa okumanya omuntu “ow’ekyama ow’omu mutima.” (Soma 1 Peetero 3:4.) Ekyo kizingiramu okumanya embeera ye ey’eby’omwoyo, engeri ze, era n’ebyo by’alowoozaako. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, oba osaanidde okuba ng’osobola okuddamu ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu ono ye mutuufu ow’okufumbirwa oba ow’okuwasa?’ (Nge. 31:​26, 27, 30; Bef. 5:33; 1 Tim. 5:8) ‘Nsobola okumulaga okwagala n’okumufaako, era naye asobola okukola kye kimu gye ndi?’ ‘Buli omu asobola okubuusa amaaso obunafu bwa munne?’ b (Bar. 3:23) Bwe mugenda mweyongera okumanyagana, kikulu okukijjukira nti ekisinga obukulu si kwe kuba nti mukwatagana mu buli kimu, wabula kwe kuba nti buli asobola okugumiikiriza munne mu ebyo bye mutafaanaganya.

6 Bintu ki ebirala by’osaanidde okumanya ku oyo gw’oyogerezeganya naye? Ng’omukwano gwammwe tegunnagenda wala, kiyinza okubeetaagisa okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebimu ebikulu, gamba ng’ebiruubirirwa munno by’alina. Ate kiri kitya ku bintu gamba ng’embeera y’obulamu, eby’enfuna, n’embeera enzibu omuntu z’aba yayitamu? Ebintu ebimu oyinza obutabyogerako nga mwakatandika okwogerezeganya. (Geraageranya Yokaana 16:12.) Bw’owulira nti ekiseera tekinnatuuka kwogera ku bintu ebimu ebikukwatako, munno mutegeeze. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, ajja kuba yeetaaga okubimanya okusobola okusalawo obulungi. N’olwekyo, ekiseera kirina okutuuka omubuulire ebintu ebyo.

7. Abo aboogerezeganya bayinza batya okumanyagana? (Laba nʼakasanduuko “ Okwogerezeganya n’Omuntu Ali Ewala.”) (Laba n’ebifaananyi.)

7 Oyinza otya okutegeera obulungi ekyo munno ky’ali? Buli omu alina okweyabiza munne mu bwesimbu ng’abuuza ebibuuzo era ng’awuliriza bulungi. (Nge. 20:5; Yak. 1:19) Ekyo okusobola okukikola, kiyinza okubeetaagisa okwenyigira mu bintu ebinaabasobozesa okunyumya, gamba ng’okuliirako awamu, okutambulako awamu mu bifo ebya lukale, n’okubuulirako awamu. Okubeerako awamu ne mikwano gyammwe oba n’ab’eŋŋanda zammwe nakyo kisobola okubayamba okumanyagana. Ate era mwenyigire mu bintu ebinaabasobozesa buli omu okulaba engeri munne gye yeeyisaamu mu mbeera ez’enjawulo ng’akolagana n’abantu abatali bamu. Weetegereze ekyo ow’oluganda Aschwin ow’omu Netherlands kye yakola. Ayogera bw’ati ku kiseera bwe yali ng’ayogereza Alicia: “Twenyigira mu bintu ebyanditusobozesezza okumanyagana obulungi. Bingi ku bintu ebyo byabanga bya bulijjo, gamba ng’okufumbirako awamu, oba okukolerako awamu emirimu gy’awaka. Okukolera awamu ebintu ebyo kyatusobozesa buli omu okulaba munne by’akola obulungi era n’obunafu bwe.”

Bwe mwenyigira mu bintu ebibasobozesa okunyumya, mujja kweyongera okumanyagana (Laba akatundu 7-8)


8. Abo aboogerezeganya bayinza kuganyulwa batya mu kusomera awamu ebintu eby’omwoyo?

8 Ate era musobola okweyongera okumanyagana nga musomera wamu ebintu ebyesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe munaafumbiriganwa kijja kubeetaagisa okubanga n’ekiseera ky’okusinza kw’amaka musobole okuba nga mukulembeza Katonda mu bufumbo bwammwe. (Mub. 4:12) N’olwekyo, kikulu okussaawo ebiseera kati eby’okusomerako awamu. Kya lwatu nti abo aboogerezeganya baba tebannafumbiriganwa, era ow’oluganda aba tannafuuka mutwe gwa maka. Wadde kiri kityo, bwe musomerako awamu obutayosa, buli omu asobola okumanya embeera ya munne ey’eby’omwoyo. Ow’oluganda Max ne mukyala we Laysa ab’omu Amerika boogera ku muganyulo omulala oguli mu kusomera awamu ebintu eby’omwoyo. Max agamba nti: “Okuviira ddala nga twakatandika okwogerezeganya, twasomeranga wamu ebitabo byaffe ebyogera ku kwogereza, obufumbo, n’amaka. Ebitabo ebyo byatusobozesa okwogera ku bintu ebikulu ebyanditubeeredde ebizibu okwogerako.”

EBIRALA BYE MULINA OKULOWOOZAAKO

9. Kiki aboogerezeganya kye balina okulowoozaako nga basalawo ab’okubuulirako nti boogerezeganya?

9 Ani gwe musaanidde okubuulirako nti mwogerezeganya? Mwe mulina okusalawo be mwandyagadde okubuulirako. Bwe muba mwakatandika okwogerezeganya, muyinza okusalawo okubuulirako abantu batono. (Nge. 17:27) Ekyo kiyinza okubayamba okwewala okupikirizibwa n’okubuuzibwa ebibuuzo ebiteetaagisa. Kyokka bwe mutabaako be mubuulirako, muyinza okwesanga nga mweyawudde olw’okuba mutya nti abalala bayinza okumanya nti mwogerezeganya. Ekyo kiyinza okuvaamu ebizibu. N’olwekyo, kiba kya magezi okubuulirako abo abasobola okubawa amagezi amalungi n’okubayamba mu ngeri endala. (Nge. 15:22) Ng’ekyokulabirako, muyinza okubuulirako abamu ku b’eŋŋanda zammwe, mikwano gyammwe abakulu mu by’omwoyo, oba abakadde mu kibiina.

10. Abo aboogerezeganya biki bye basobola okukola okusigala nga bayonjo mu mpisa? (Engero 22:3)

10 Muyinza mutya okusigala nga muli bayonjo mu mpisa? Omukwano gwammwe bwe gunaagenda gweyongera, buli omu ajja kuwulira ng’ayagala okubeera awali munne. Kiki ekinaabayamba okusigala nga muli bayonjo mu mpisa? (1 Kol. 6:18) Mwewale okunyumya ku bintu eby’obugwenyufu, okubeera mmwekka, oba okunywa ennyo omwenge. (Bef. 5:3) Ebintu ebyo bisobola okubaleetera okwagala okwegatta, ne kibabeerera kizibu okukola ekituufu. Kiba kirungi okwogera ku kye musobola okukola okusigala nga muwaŋŋana ekitiibwa era nga munywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’empisa? (Soma Engero 22:3.) Weetegereze ekyo ekyayamba Dawit ne Almaz ab’omu Esiyopiya. Bagamba nti: “Twabeerangako wamu mu bifo awaabanga abantu abangi oba twabangako wamu ne mikwano gyaffe. Tetwabeerako ffekka mu mmotoka oba mu nnyumba. N’olwekyo, twasobola okwewala embeera ezandituleetedde okumenya emisingi gya Yakuwa.”

11. Biki abo aboogerezeganya bye asaanidde okulowoozaako nga basalawo okubaako bye bakola okulagaŋŋana omukwano?

11 Ate kiri kitya bwe kituuka ku kukola ebintu ebyoleka omukwano? Omukwano gwammwe bwe gugenda gweyongera okunywera, muyinza okubaako ebintu bye mukola okwoleka omukwano. Naye bwe biba nga bisiikuula okwegomba okw’okwegatta, kiyinza okubabeerera ekizibu okusalawo obulungi. (Luy. 1:2; 2:6) Ebikolwa ebyoleka omukwano bisobola n’okubaleetera okumenya amateeka ga Yakuwa. (Nge. 6:27) N’olwekyo nga mwakatandika okwogerezeganya, mwogere ku mitindo gya Yakuwa ne ku ebyo bye mujja okukola ne bye mutajja kukola nga mulagaŋŋana omukwano. c (1 Bas. 4:​3-7) Mwebuuze nti: ‘Abantu b’omu kitundu kyaffe batwala batya ebikolwa bino? Ebikolwa bino bisobola okusiikuula okwegomba okw’okwegatta?’

12. Biki abo aboogerezeganya bye basaanidde okulowoozaako bwe baba nga bafuna obutakkaanya?

12 Musaanidde kukwata mutya obutakkaanya? Watya singa mutera okufuna obutakkaanya? Kiba kiraga nti temusobola okukwatagana? Kiyinza obutaba kityo. Abaagalana bonna basobola okufuna obutakkaanya. Obufumbo obulungi bubaamu abantu babiri abakolera awamu okugonjoola obutakkaanya. N’olwekyo, engeri gye mugonjoolamu obutakkaanya esobola okulaga obanga obufumbo bwammwe bunaaba bulungi. Mwebuuze: ‘Bwe tufuna obutakkaanya, tubwogerako mu bukkakkamu era tuwaŋŋana ekitiibwa? Tukkiriza ensobi zaffe era ne tufuba okulongoosaamu? Tuba beetegefu okukyusaamu we kisaana, twetonda, era tuba beetegefu okusonyiwa?’ (Bef. 4:​31, 32) Naye kijjukire nti bwe muba nga buli kiseera mufuna obutakkaanya obanga muyombayomba, embeera tejja kukyuka nga mumaze okufumbiriganwa. Bw’okiraba nti oyo gw’oyogerezeganya naye si ye muntu omutuufu, kiba kirungi mulekera awo okwogerezeganya. d

13. Biki ebiyinza okuyamba aboogerezeganya okumanya ekiseera kye basaanidde okumala nga boogerezeganya?

13 Mwandimaze bbanga ki nga mwogerezeganya? Okwanguyiriza okusalawo kitera okuvaamu ebizibu. (Nge. 21:5) N’olwekyo, ekiseera kye mumala nga mwogerezeganya kirina okuba nga kibamala buli omu okutegeera munne obulungi. Kyokka tekirina kuba kiwanvu nnyo, okuggyako nga ddala kyetaagisa. Bayibuli egamba nti: “Ekisuubirwa bwe kirwawo okutuuka, omutima gulwala.” (Nge. 13:12) Ate era, gye mukoma okumala ekiseera ekiwanvu nga muli mmwenna, gye kikoma okubabeerera ekizibu okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Kol. 7:9) Mu kifo ky’okussa ebirowoozo ku kiseera kye mumaze nga mwogerezeganya, weebuuze, ‘Kiki kye nkyetaaga okumanya ku muntu ono?’

ABALALA BAYINZA BATYA OKUYAMBA?

14. Biki abalala bye bayinza okukola okuyamba aboogerezeganya? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Bwe tuba nga tulina aboogerezeganya be tumanyi, tuyinza tutya okubayamba? Tuyinza okubayita okuliirako awamu naffe, okutwegattako mu kusinza kw’amaka, oba okusanyukirako awamu naffe. (Bar. 12:13) Embeera ezo zisobola okubayamba okweyongera okumanyagana. Beetaaga omuntu anaabawerekerako, beetaaga entambula, oba ekifo we basobola okunyumizaako nga bali bokka? Bwe kiba kityo, tusobola okubaako kye tukola okubayamba. (Bag. 6:10) Alicia, ayogeddwako waggulu, ajjukira engeri ab’oluganda gye baabayambamu. Agamba nti: “Kyatusanyusa nnyo ab’oluganda bwe baatugamba nti twali tusobola okubakyalira bwe twandibadde twagala ekifo aw’okunyumiza nga tuli ffekka.” Singa abo aboogerezeganya bakusaba okubawerekerako, ako katwale ng’akakisa k’ofunye okubayamba. Bw’oba obawerekedde, tobaleka kubeera bokka; naye osaanidde okupimaapimamu okumanya ddi lw’olina obutababeera ku lusegere basobole okubaako bye boogera nga bali bokka.—Baf. 2:4.

Tusobola okubaako bye tukola okuyamba aboogerezeganya (Laba akatundu 14-15)


15. Kiki ekirala abalala kye basobola okukola okuyamba aboogerezeganya? (Engero 12:18)

15 Ate era tusobola okuyamba aboogerezeganya okuyitira mu bye twogera oba bye tutayogera. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwefuga. (Soma Engero 12:18.) Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuwulira nga twagala nnyo okubuulirako abalala ku baani abatandise okwogerezeganya, kyokka ng’aboogerezeganya be baagala okubeegambira. Tetusaanidde kugenda nga tubuulira buli muntu ebikwata ku abo aboogerezeganya oba okubavumirira. (Nge. 20:19; Bar. 14:10; 1 Bas. 4:11) Ate era tetusaanidde kwogera bigambo oba kubuuza bibuuzo ebiyinza okuleetera aboogerezeganya okuwulira nti bapikirizibwa okufumbiriganwa. Mwannyinaffe Elise n’omwami we bagamba nti, “Twawuliranga bubi abalala bwe baatubuuzanga ebikwata ku mbaga yaffe ate nga twali tetunnaba na kutandika kuteekateeka mbaga.”

16. Kiki kye tulina okwewala era kiki kye tulina okukola singa aboogerezeganya balekera awo okwogerezeganya?

16 Watya singa aboogerezeganya basalawo okulekera awo okwogerezeganya? Tulina okwewala okweyingiza mu nsonga oba okubaako gwe tunenya. (1 Peet. 4:15) Mwannyinaffe Lea agamba nti: “Nnawuliranga abalala nga boogera ebintu bye baalowoozanga nti bye byali bituviiriddeko okwawukana. Ekyo kyannuma nnyo.” Nga bwe kyayogeddwako waggulu, abo aboogerezeganya bwe balekera awo okwogerezeganya, kiba tekitegeeza nti basazeewo bubi. Emirundi mingi kiba kiraga nti okwogerezeganya okwo kwatuukirizza ekigendererwa kyakwo. Kuba kwabayambye okusalawo mu ngeri entuufu. Wadde kiri kityo, ekyo kye baasazeewo kisobola okubaleetera obulumi n’ekiwuubaalo. N’olwekyo tusaanidde okubayamba.—Nge. 17:17.

17. Kiki abo aboogerezeganya kye basaanidde okweyongera okukola?

17 Wadde ng’okwogerezeganya kubaamu okusoomooza, era kiba kiseera kya ssanyu. Mwannyinaffe Jessica agamba nti: “Ekituufu kiri nti mu kiseera ky’okwogerezeganya nnalina eby’okukola bingi. Naye ndi musanyufu nti ekiseera ekyo twakikozesa buli omu kutegeera obulungi munne.” Bwe kiba nti mwogerezeganya, mweyongere buli omu kutegeera bulungi munne. Ekyo kijja kubayamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.

OLUYIMBA 49 Okusanyusa Omutima gwa Yakuwa

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Ebirala by’oyinza okwebuuza, laba akatabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 2, lup. 39-40.

c Okutigaatiga ebitundu by’omulala eby’ekyama kiba kikolwa kya bugwenyufu, era kiba kyetaagisa abakadde okussaawo akakiiko akalamuzi okutunula mu nsonga eyo. Okutigaatiga amabeere n’okunyumya ku bintu eby’obugwenyufu nga mukozesa essimu oba nga mweweereza obubaka nakyo kiyinza okwetaagisa okussaawo akakiiko akalamuzi.

d Okumanya ebisingawo, laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 1, 1999.