Ebinaakuyamba Mu Kwesomesa
By’Olina Okukulembeza nga Weesomesa
Ffenna tulina ebiseera bitono eby’okwesomesa. Tuyinza tutya okubikozesa obulungi? Okusookera ddala, waayo ebiseera ebimala ku ekyo ky’oba osoma. Ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma n’obwegendereza ebintu bitonotono okusinga okusoma ebintu ebingi ng’obiyitamu buyisi.
Eky’okubiri, manya by’osaanidde okukulembeza. (Bef. 5:15, 16) Lowooza ku magezi gano agasobola okukuyamba:
Soma Bayibuli buli lunaku. (Zab. 1:2) Oyinza okutandika n’essuula ze tusoma buli wiiki eziragibwa mu katabo k’enteekateeka y’enkuŋŋaana za wakati mu wiiki.
Tegeka Omunaala gw’Omukuumi n’ekitundu ky’enkuŋŋaana za wakati mu wiiki. Weetegeke okubaako ky’oddamu.—Zab. 22:22.
Era gezaako okusoma n’okulaba ebintu ebirala, gamba nga magazini, vidiyo, n’ebyo ebiba ku jw.org.
Baako ekintu ekikunyumira ky’onoonyerezaako oba ky’osomako. Osobola okunoonyereza ku kizibu ky’oyolekagana nakyo, ekibuuzo kye weebuuza, oba ekintu ekimu mu Bayibuli ky’oyagala okweyongera okutegeera. Okumanya engeri y’okukikolamu, laba ekitundu “Bible Study Activities” ku jw.org.