Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Noonya eby’Obugagga Ebya Nnamaddala

Noonya eby’Obugagga Ebya Nnamaddala

“Mwekolere emikwano nga mukozesa eby’obugagga ebitali bya butuukirivu.”LUK. 16:9.

ENNYIMBA: 32, 154

1, 2. Lwaki bulijjo wajja kubangawo abaavu mu nteekateeka y’ebintu eno?

EMBEERA y’eby’enfuna leero si nnyangu era teriimu bwenkanya. Abavubuka bafuba okunoonya emirimu naye tegirabika. Bangi bassa obulamu bwabwe mu kabi okusobola okugenda mu nsi engagga. Obwavu bungi nnyo leero, ne mu nsi ezaakula edda. Leero abaavu beeyongera kuba baavu ate n’abagagga beeyongera kuba bagagga. Okusinziira ku kunoonyereza okumu, abantu abagagga ennyo mu nsi bali omuntu omu ku buli bantu kikumi era abagagga abo balina eby’obugagga ebyenkana n’eby’abantu abalala bonna mu nsi ng’obigasse wamu. Okunoonyereza okwo ka kube nga kutuufu oba nedda, tewali kubuusabuusa nti abantu bukadde na bukadde baavu nnyo, kyokka ate ng’abalala abatonotono balina eby’obugagga bingi nnyo. Yesu yakyoleka nti bulijjo wandibaddewo obwavu bwe yagamba nti: “Abaavu mubeera nabo bulijjo.” (Mak. 14:7) Lwaki ekyo kiri kityo?

2 Yesu yali akimanyi nti embeera y’eby’enfuna tesobola kukyuka okutuusa ng’Obwakabaka bwa Katonda buzze. Enteekateeka ya Sitaani erimu ebitundu bisatu era nga muno mwe muli eby’obufuzi, amadiini, n’eby’obusuubuzi ebyogerwako mu Okubikkulirwa 18:3. Wadde ng’abantu ba Katonda tebeenyigira n’akatono mu by’obufuzi ne mu madiini ag’obulimba, tebasobola kweyawulira ddala ku bya busuubuzi.

3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

3 Tusaanidde okwekebera okulaba engeri gye tutwalamu eby’obusuubuzi nga twebuuza ebibuuzo bino: ‘Nnyinza ntya okukozesa ebintu byange mu ngeri eraga nti ndi mwesigwa eri Katonda? Nnyinza ntya okwewala okwenyigira ennyo mu by’obusuubuzi? Byakulabirako ki ebiraga nti abantu ba Katonda bamwesiga wadde nga leero eby’enfuna si byangu?’

OLUGERO LW’OMUWANIKA ATAALI MUTUUKIRIVU

4, 5. (a) Omuwanika ayogerwako mu lugero lwa Yesu yeesanga mu mbeera ki? (b) Kiki Yesu kye yakubiriza abagoberezi be okukola?

4 Soma Lukka 16:1-9. Waliwo ekintu ekikulu kye tuyiga mu lugero lwa Yesu olukwata ku muwanika ataali mutuukirivu. Oluvannyuma lwa mukama we okumuvunaana nti yali ayonoonye ebintu bye, omuwanika “yakozesa amagezi” ne ‘yeekolera emikwano’ egyandimuyambye ng’aggiddwako omulimu gwe ogw’obuwanika. * Kya lwatu nti Yesu yali takubiriza bagoberezi be kukola bintu bitali bya butuukirivu okusobola okweyimirizaawo mu nsi eno. Abantu abakola ebintu ng’ebyo Yesu yabayita “abantu b’ensi eno.” Yesu yagera olugero olwo okuyigiriza abagoberezi be ekintu ekikulu.

5 Yesu yali akimanyi nti ng’omuwanika bwe yeesanga mu mbeera enzibu, n’abagoberezi be tekyandibabeeredde kyangu okweyimirizaawo olw’eby’enfuna ebitali byangu mu nsi eno. Eno ye nsonga lwaki yabagamba nti: “Mwekolere emikwano nga mukozesa eby’obugagga ebitali bya butuukirivu, bwe biggwaawo, [Yakuwa ne Yesu] balyoke babasembeze mu bifo eby’okubeeramu eby’olubeerera.” Kiki kye tuyiga mu bigambo bya Yesu ebyo?

6. Tumanyira ku ki nti eby’obusuubuzi tebyali mu nteekateeka ya Yakuwa?

6 Wadde nga Yesu tatubuulira nsonga lwaki eby’obugagga abiyita “ebitali bya butuukirivu,” Bayibuli ekyoleka lwatu nti eby’obusuubuzi tebyali mu nteekateeka ya Yakuwa. Yakuwa bwe yatonda Adamu ne Kaawa yabawa mu bungi buli kimu kye baali beetaaga. (Lub. 2:15, 16) Omwoyo omutukuvu bwe gwamala okukka ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta ab’omu kyasa ekyasooka, “tewaali n’omu ku bo eyagamba nti ebintu bye yalina byali bibye yekka, naye baagabananga buli kimu.” (Bik. 4:32) Nnabbi Isaaya yayogera ku kiseera abantu bonna lwe baliba nga bafuna ku bwereere ebintu byonna bye beetaaga. (Is. 25:6-9; 65:21, 22) Naye mu kiseera kino, abagoberezi ba Yesu beetaaga ‘okukozesa amagezi’ okusobola okweyimirizaawo nga bakozesa “eby’obugagga ebitali bya butuukirivu,” nga bwe baweereza Katonda n’obwesigwa.

OKUKOZESA MU NGERI EY’AMAGEZI EBY’OBUGAGGA EBITALI BYA BUTUUKIRIVU

7. Kubuulirira ki Yesu kwe yawa mu Lukka 16:10-13?

7 Soma Lukka 16:10-13. Omuwanika ow’omu lugero lwa Yesu yakola emikwano okusobola okwenoonyeza ebibye ku bubwe. Naye Yesu yakubiriza abagoberezi be okukola emikwano mu ggulu ng’ekigendererwa kyabwe si kya kwenoonyeza byabwe ku bwabwe. Ennyiriri eziddirira olugero olwo ziraga nti waliwo akakwate wakati w’okukozesa “eby’obugagga ebitali bya butuukirivu” n’okubeera abeesigwa eri Katonda. Mu lugero olwo Yesu yali atuyigiriza nti bwe tufuna eby’obugagga ebyo tusobola okubikozesa okukyoleka nti tuli beesigwa eri Katonda. Mu ngeri ki?

8, 9. Waayo ebyokulabirako by’abamu ku abo abakyolese nti beesigwa mu ngeri gye bakozesaamu eby’obugagga ebitali bya butuukirivu.

8 Engeri emu gye tusobola okukozesaamu eby’obugagga byaffe ne tukyoleka nti tuli beesigwa eri Katonda kwe kuwaayo ssente oba ebintu ebirala okuwagira omulimu gw’okubuulira. (Mat. 24:14) Akawala akato akabeera mu Buyindi kaafunayo akabokisi mwe kaasuulanga ebinusu era keefiiriza n’okugula eby’okuzannyisa okusobola okukuŋŋaanya ssente ezo. Akabokisi bwe kajjula, akawala ako kaawaayo ssente ezo zikozesebwe mu mulimu gw’okubuulira. Ow’oluganda omu mu Buyindi alina omusiri gw’ebinazi yatwala ebinazi bingi ku ofiisi yaffe gye bavvuunulira ebitabo byaffe mu lulimi Olumalayalamu. Yagamba nti olw’okuba ku ofiisi eyo batera okugula ebinazi, bw’abitwalayo obutereevu n’abibawa aba awaddeyo kinene okusinga ekyo kye yandiwaddeyo ng’awaddeyo ssente enkalu. Ekyo ow’oluganda oyo ky’akola kyoleka amagezi. Mu ngeri y’emu, ab’oluganda mu Buyonaani bulijjo bawaayo ku maka ga Beseri butto, omuzigo, n’emmere endala.

9 Ow’oluganda ow’omu Sri Lanka, kati abeera mu nsi endala, yawaayo ebizimbe bye mu Sir Lanka ab’oluganda babikozese okufuniramu enkuŋŋaana ennene n’entono, n’okusulibwamu abaweereza ab’ekiseera kyonna. Yeefiriza nnyo, naye ekyo kye yakola kiyambye nnyo baganda baffe abakozesa ebizimbe ebyo abatali bulungi mu by’enfuna. Mu nsi emu omulimu gwaffe gye gukugirwa, ab’oluganda bawaawo amaka gaabwe okukuŋŋaanirwamu, ekyo ne kisobozesa bapayoniya n’ab’oluganda abalala abatali bulungi mu byanfuna okubeera n’ebifo bye bakuŋŋaaniramu nga tebakozesezza ssente.

10. Egimu ku mikisa gye tufuna bwe tubeera abagabi gye giruwa?

10 Ebyokulabirako bye tulabye biraga nti abantu ba Katonda ‘beesigwa ne mu bintu ebitono,’ kwe kugamba, beesigwa mu ngeri gye bakozesaamu eby’obugagga byabwe. (Luk. 16:10) Abaweereza ba Yakuwa abo batwala batya okwefiiriza okwo kwe bakola? Bakimanyi nti okubeera abagabi kibasobozesa okufuna eby’obugagga ebya “nnamaddala.” (Luk. 16:11) Ng’ekyokulabirako, mwanyinaffe afuba ennyo okuwagira omulimu gw’obwakabaka ng’akozesa eby’obugagga bye ayogera ku birungi by’afunye mu kugaba okwo. Agamba nti: “Okubeera omugabi kinviiriddemu emikisa mingi. Nkirabye nti gye nkoma okugabira abalala gye nkoma okuba ow’ekisa gye bali. Nnyanguyirwa okubasonyiwa, okuba omugumiikiriza gye bali, obutanyiiga nga tebatuukirizza ekyo kye tuba tulagaanyeko, era nnyanguyirwa okukkiriza okuwabulwa kwe bampa.” N’abalala bangi bakirabye nti okubeera abagabi kibaviiriddemu okufuna eby’obugagga bingi eby’omwoyo.Zab. 112:5; Nge. 22:9.

11. (a) Okuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’Obwakabaka kiraga kitya nti ‘tukozesa amagezi’? (b) Kwenkanankana ki mu by’ensimbi okuliwo mu bantu ba Katonda? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.)

11 Waliwo n’engeri endala gye tukyoleka nti tuli ba magezi nga tukozesa ebintu byaffe okuwagira omulimu gw’Obwakabaka. Okuwagira omulimu gw’Obwakabaka kitusobozesa okukozesa embeera ze tubaamu okuyamba abalala. Ab’oluganda abalina eby’obugagga naye nga tebasobola kwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna oba okugenda mu bitundu awali obwetaavu obusingako bafuna essanyu okukimanya nti ebyo bye bawaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka biyamba abo abeenyigira mu buweereza bo bwe batasobola kwenyigiramu. (Nge. 19:17) Ebyo bye tuwaayo kyeyagalire biyamba mu kukuba ebitabo n’okubitambuza era bikozesebwa mu kuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi awali obwavu obungi kyokka nga waliyo abantu bangi abalina ennyonta ey’eby’omwoyo. Okumala emyaka mingi, mu nsi nga Congo, Madagascar, ne Rwanda, ab’oluganda abamu okusobola okufuna Bayibuli oluusi baalinanga okulekayo okugulira ab’omu maka gaabwe emmere basobole okuzigula. Ssente ezigula Bayibuli emu omuntu yalinanga okuzikolerera okumala wiiki nnamba oba okumala omwezi mulamba. Naye ekibiina kya Yakuwa nga kikozesa ssente eziweebwayo kyeyagalire era nga kifuba okulaba nti wabaawo ‘okwenkanankana,’ kiwagidde omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli n’okuzigaba, kino ne kisobozesa buli omu mu maka awamu n’abayizi ba Bayibuli abalina ennyonta ey’eby’omwoyo okufuna Bayibuli. (Soma 2 Abakkolinso 8:13-15.) Mu ngeri eyo, abo abagaba awamu n’abo abaweebwa bafuna essanyu lingi.

TUYINZA TUTYA OKWEWALA OKWENYIGIRA ENNYO MU BY’OBUSUUBUZI

12. Ibulayimu yakiraga atya nti yali yeesiga Katonda?

12 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okuba mikwano gya Katonda kwe kwewala okwenyigira ennyo mu by’obusuubuzi by’ensi eno, era ne tunoonya eby’obugagga ebya nnamaddala. Ibulayimu, omusajja eyalina okukkiriza, yagondera Katonda n’ava mu nsi ya Uli eyali engagga ennyo n’agenda okubeera mu weema. Ekyo yakikola kubanga yali ayagala okubeera mukwano gwa Katonda. (Beb. 11:8-10) Obwesige bwe yabussa mu Katonda, Ensibuko y’eby’obugagga ebya nnamaddala, mu kifo ky’okubussa mu by’obugagga by’ensi. (Lub. 14:22, 23) Yesu yakubiriza n’abalala okwoleka okukkiriza ng’okwa Ibulayimu. Lumu yagamba omusajja omugagga nti: “Bw’oba oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebintu byo ogabire abaavu, oliba n’obugagga mu ggulu; bw’omala okukola ekyo, ojje ongoberere.” (Mat. 19:21) Omusajja oyo teyalina kukkiriza ng’okwa Ibulayimu. Naye waliwo abantu abalala abeesiga Katonda.

13. (a) Kubuulirira ki Pawulo kwe yawa Timoseewo? (b) Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okwo?

13 Timoseewo yalina okukkiriza okw’amaanyi. Oluvannyuma lw’okugamba nti Timoseewo yali ‘musirikale wa Kristo,’ Pawulo yamugamba nti: “Tewali muntu aweereza ng’omusirikale ayinza okwenyigira mu by’obusuubuzi asobole okusiimibwa oyo eyamuwandiika mu busirikale.” (2 Tim. 2:3, 4) Abagoberezi ba Kristo leero, nga mw’otwalidde n’abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna abasukka mu kakadde akamu, bafuba okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo okwo. Beewala okutwalirizibwa obulango obukubiriza abantu okwagala ennyo okwefunira eby’obugagga, nga bakijjukira nti: “Oyo eyeewola aba muddu w’oyo amuwola.” (Nge. 22:7) Sitaani ayagala tumalire ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe gonna mu kunoonya eby’obugagga by’ensi. Abantu abamu batuuse n’okwewola ssente nnyingi okusobola okugula ennyumba, emmotoka, okufuna obuyigirize, oba okukola embaga. Bwe tuteegendereza tuyinza okwesanga nga tugudde mu mabanja agajja okututwalira emyaka n’emyaka okusasula. Tukiraga nti tuli ba magezi nga twerekereza ebintu ebimu, nga twewala amabanja, era nga tukendeeza ku nsaasaanya yaffe. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutusobozesa okwemalira ku kuweereza Katonda, mu kifo ky’okuba abaddu b’eby’obugagga by’ensi eno.1 Tim. 6:10.

14. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola? Waayo ebyokulabirako.

14 Okusobola okukulembeza obwakabaka, tulina okumanya ebyo ebisinga obukulu. Ow’oluganda omu ne mukyala we baalina bizineesi ennene era eyali ekola obulungi ennyo. Naye olw’okuba baali baagala okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, baasalawo okutunda bizineesi eyo, eryato lyabwe, n’ebintu ebirala. Oluvannyuma baayambako mu mulimu gw’okuzimba ekitebe kyaffe ekikulu mu Warwick, New York. Ekyo kyabasobozesa n’okufuna omukisa okukolerako awamu ne bazadde b’ow’oluganda oyo era n’okukolerako awamu ne muwala waabwe awamu n’omwami we. Mwannyinaffe omu abeera mu kibuga Colorado ekya Amerika era aweereza nga payoniya yafuna omulimu ogutali gwa kiseera kyonna mu bbanka. Bakama be baamwagala nnyo olw’engeri gye yali akolamu emirimu gye ne basalawo okumuwa omulimu ogw’ekiseera kyonna era ne bamusuubiza okumuwa ssente ezikubisaamu emirundi esatu ezo ze yali afuna. Naye olw’okuba omulimu ogwo gwali gujja kumulemesa okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, teyagukkiriza. Ebyo bye bimu ku byokulabirako ebingi ebya bakkiriza bannaffe abeerekerezza okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Bwe tuba abamalirivu okukulembeza Obwakabaka, kiba kiraga nti eby’obugagga eby’omwoyo n’enkolagana yaffe ne Katonda, tubitwala nga bya muwendo okusinga eby’obugagga by’ensi eno.

EBY’OBUGAGGA BWE BIRIBA NGA TEBIKYALI BYA MUGASO

15. Bya bugagga ki ebireeta essanyu erya nnamaddala?

15 Omuntu okuba omugagga ku bwakyo tekitegeeza nti Katonda amuwadde emikisa. Yakuwa awa emikisa abo ‘abagagga mu bikolwa ebirungi.’ (Soma 1 Timoseewo 6:17-19.) Ng’ekyokulabirako, Lucia * bwe yakimanya nti waaliwo obwetaavu bw’ababuulizi mu Albania, yava mu Italy mu 1993 n’agenda mu Albania. Yali tamanyi ngeri gye yandyeyimirizzaawo, naye yeesiga Yakuwa. Yayiga Olwalubaniya era kati yaakayamba abantu abasukka mu 60 okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Wadde ng’abasinga obungi ku ffe tetufuna bibala ng’ebyo mu bitundu bye tubuuliramu, ebintu byonna bye tukola okuyamba abalala okumanya amazima n’okuganywererako bivaamu emiganyulo egy’olubeerera.Mat. 6:20.

16. (a) Kiki ekijja okutuuka ku by’obusuubuzi? (b) Ekyo kyandikutte kitya ku ngeri gye tutwalamu eby’obugagga by’ensi eno?

16 Yesu teyagamba nti ‘eby’obugagga ebitali bya butuukirivu singa biggwaawo,’ wabula yagamba nti “bwe biggwaawo.” (Luk. 16:9) Mu nnaku zino ez’enkomerero, wabaddewo bbanka nnyingi ne bizineesi nnyingi ezigudde ne kireetawo akatuubagiro mu by’enfuna. Naye mu biseera eby’omu maaso embeera engenda kuba mbi n’okusingawo. Enteekateeka ya Sitaani, kwe kugamba, eby’obufuzi, amadiini, n’eby’obusuubuzi, bigenda kugwa. Nnabbi Ezeekyeri ne nnabbi Zeffaniya baakiraga nti zzaabu ne ffeeza, ebintu ebibadde ebikulu ennyo mu by’obusuubuzi, birifuuka ebitagasa. (Ezk. 7:19; Zef. 1:18) Onoowulira otya singa enkomerero etuuka n’ekusanga ng’obadde olagajjalidde eby’obugagga ebya nnamaddala osobole okufuna eby’obugagga by’ensi eno “ebitali bya butuukirivu”? Oyinza okuwulira ng’omusajja amaze obulamu bwe bwonna ng’akola nnyo okusobola okufuna ssente, naye oluvannyuma n’akizuula nti ssente zonna z’akuŋŋaanyizza za bicupuli. (Nge. 18:11) Tewali kubuusabuusa nti eby’obugagga by’ensi bijja kutuuka ekiseera bibe nga tebirina mugaso. N’olwekyo, tusaanidde okubikozesa ‘okukola emikwano’ mu ggulu. Buli kye tukola okuwagira emirimu gy’Obwakabaka kitufuula bagagga mu by’omwoyo.

17, 18. Birungi ki mikwano gya Katonda bye bajja okufuna?

17 Obwakabaka bwa Katonda bwe bunajja, tewajja kubaawo kupangisa, emmere ejja kubaawo mu bungi ate nga ya bwereere, era tetujja kuddamu kusaasaanya ssente ku bya bujjanjabi. Abantu ba Yakuwa bajja kweyagalira mu bujjuvu mu bintu ebiri ku nsi. Zzaabu, ffeeza, n’amayinja amalala ag’omuwendo tujja kubikozesanga kwewunda so si kubifunamu ssente oba kubituuma. Tujja kukozesa embaawo ennungi ennyo, amayinja amalungi ennyo, n’ebyuma ebirungi ennyo okuzimba ennyumba ennungi ennyo. Mikwano gyaffe bajja kutuyambako okuzimba nga tebakolerera ssente. Ebintu ebirungi ebiri mu nsi tebijja kuba bya bantu bamu na bamu.

18 Ebyo bye bimu ku birungi abo abakola emikwano mu ggulu bye bajja kufuna. Abaweereza ba Yakuwa abanaaba ku nsi bajja kusanyuka nnyo okuwulira nga Yesu abagamba nti: “Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire Obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.”Mat. 25:34.

^ lup. 4 Yesu takiraga obanga ebyo bye baalopa omuwanika byali bituufu oba nedda. Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nga ‘okuloopa’ ekiri mu Lukka 16:1 era kisobola n’okuvvuunulwa ng’okuwaayirizibwa. Naye Yesu essira yalissa ku ngeri omuwanika gye yeeyisaamu ng’avunaaniddwa, so si ku nsonga eyali egenda okumugobesa.

^ lup. 15 Osobola okusoma ebikwata ku Lucia Moussanett mu Awake! eya Jjuuni 22, 2003, lup. 18-22.