EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4
OLUYIMBA 30 Kitange, Katonda Wange era Mukwano Gwange
Yakuwa Akwagala Nnyo
“Yakuwa alina okwagala kungi.”—YAK. 5:11.
OMULAMWA
Engeri okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli gye kutuleetera okweyongera okumusemberera, n’okuwulira nti tulina obukuumi, nti atufaako, era nti atuzzaamu amaanyi.
1. Kafaananyi ki k’okuba bw’olowooza ku Yakuwa?
WALI obaddeko awo n’okuba akafaananyi ku ngeri Yakuwa gy’alabikamu? Kiki ekikujjira mu birowoozo ng’oyogera naye mu kusaba? Wadde nga tetusobola kulaba Yakuwa, Bayibuli emwogerako mu ngeri ez’enjawulo. Ayitibwa ‘njuba era ngabo.’ Ate era ayitibwa “muliro ogusaanyaawo.” (Zab. 84:11; Beb. 12:29) Mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna, yagamba nti Yakuwa alinga ejjinja lya safiro, alinga ekyuma ekimasamasa, era nti alinga musoke atangalijja. (Ezk. 1:26-28) Ebimu ku ebyo ebyogerwa ku Yakuwa biyinza okutuwuniikiriza oba biyinza n’okututiisa.
2. Kiki ekiyinza okulemesa abamu okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?
2 Olw’okuba tetusobola kulaba Yakuwa, kiyinza okutuzibuwalira okukkiriza nti atwagala. Abamu balowooza nti Yakuwa tasobola kubaagala olw’ebyo bye baayitamu. Oboolyawo bataata baabwe tebaabalaga kwagala. Yakuwa ategeera engeri gye twewuliramu n’ensonga lwaki tuyinza okuzibuwalirwa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Okusobola okutuyamba okuvvuunuka ekizibu ekyo, atutegeeza engeri ze mu Kigambo kye Bayibuli.
3. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebikwata ku kwagala Yakuwa kw’alaga?
3 Yakuwa kwagala. Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Buli kimu ky’akola, okwagala kwe kumuleetera okukikola. Okwagala kwa Katonda kungi nnyo era kwa maanyi nnyo ne kiba nti akulaga n’abo abatamwagala. (Mat. 5:44, 45) Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebikwata ku Yakuwa ne ku kwagala kw’alaga. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Katonda waffe, gye tukoma okumwagala.
YAKUWA ATWAGALA NNYO
4. Okukimanya nti Yakuwa alina okwagala kungi kikuleetera kuwulira otya? (Laba n’ekifaananyi.)
4 “Yakuwa alina okwagala kungi.” (Yak. 5:11) Mu Bayibuli Yakuwa yeegeraageranya ku maama alina okwagala okungi. (Is. 66:12, 13) Lowooza ku maama alabirira omwana we omuto. Amusitula n’amubuusabuusa era n’ayogera naye mu ddoboozi erikkakkamu. Omwana oyo bw’akaaba oba bw’aba mu bulumi, maama akakasa nti afuna kye yeetaaga. Naffe bwe tuba mu bulumi, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulaga okwagala kwe. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”—Zab. 94:19.
5. Yakuwa atulaga atya okwagala okutajjulukuka?
5 Yakuwa mwesigwa. (Zab. 103:8) Tatwabulira nga tukoze ekintu ekikyamu. Enfunda n’enfunda Abayisirayiri baakolanga ebintu ebyanyiizanga Yakuwa; kyokka bwe beenenya yabalaga okwagala okutajjulukuka. Yabagamba nti: “Wafuuka wa muwendo gye ndi, waweebwa ekitiibwa, era nkwagala.” (Is. 43:4, 5) Okwagala kwa Yakuwa tekukyukanga. Tusobola okuba abakakafu nti atwagala nnyo. Ne bwe tuba nga tukoze ensobi ez’amaanyi, Yakuwa tatwabulira. Bwe twenenya ne tukomawo gy’ali, tukiraba nti aba akyatwagala. Atusuubiza ‘okutusonyiyira ddala.’ (Is. 55:7) Bayibuli eraga nti Yakuwa bw’atusonyiwa tufuna ekiwummulo.—Bik. 3:19.
6. Zekkaliya 2:8 watuyigiriza ki ku Yakuwa?
6 Soma Zekkaliya 2:8. Olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, afaayo ku nneewulira yaffe era mwetegefu okutukuuma. Bwe tuba mu bulumi naye aba alumwa. N’olwekyo tusobola okumusaba nti: “Nkuuma ng’emmunye y’eriiso lyo.” (Zab. 17:8) Eriiso kitundu ky’omubiri eky’omuwendo ennyo era tetwagala kintu kyonna kulikoonako. N’olwekyo, Yakuwa bw’atugeraageranya ku mmunye y’eriiso lye abanga agamba nti, ‘Abantu bange, oyo yenna abatuusaako akabi, aba atuusa akabi ku kintu eky’omuwendo ennyo gye ndi.’
7. Lwaki kitwetaagisa okufuba okusobola okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala?
7 Yakuwa ayagala tube bakakafu nti atwagala nnyo kinnoomu. Naye akimanyi nti olw’ebyo bye twayitamu, tuyinza okubuusabuusa obanga atwagala. Oba tuyinza okuba ng’embeera gye tuyitamu kati etuleetera okubuusabuusa obanga ddala atwagala. Kiki ekinaatuyamba okuba abakakafu nti Yakuwa atwagala nnyo? Okumanya engeri gy’ayagalamu Yesu, abaafukibwako amafuta, n’abantu bonna, kijja kutuyamba.
ENGERI YAKUWA GY’AYOLEKAMU OKWAGALA
8. Lwaki Yesu yali mukakafu nti Kitaawe amwagala nnyo?
8 Yakuwa n’Omwana we gw’ayagala ennyo baali wamu okumala emyaka buwumbi na buwumbi. Ekyo kyabasobozesa okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo. Nga bwe tusoma mu Matayo 17:5, Yakuwa yakyoleka bulungi nti ayagala nnyo Yesu. Yakuwa yandibadde asobola okugamba obugambi nti, ‘Ono ye wuuyo gwe nsiima.’ Naye yali ayagala tukimanye nti ayagala nnyo Yesu, era eyo ye nsonga lwaki yagamba nti ono ye “Mwana wange omwagalwa.” Yakuwa yali yeenyumiririza nnyo mu Yesu, naddala olw’ekyo Yesu kye yali agenda okukola. (Bef. 1:7) Ne Yesu yali mukakafu nti Yakuwa amwagala nnyo. Teyaliimu kubuusabuusa kwonna nti Kitaawe amwagala nnyo. Enfunda n’enfunda yagambanga nti Kitaawe amwagala nnyo.—Yok. 3:35; 10:17; 17:24.
9. Kigambo ki ekiraga nti Yakuwa ayagala nnyo abaafukibwako amafuta? Nnyonnyola. (Abaruumi 5:5)
9 Abaafukibwako amafuta nabo Yakuwa abaagala nnyo. (Soma Abaruumi 5:5.) Weetegereze ekigambo “kufukiddwa,” ekyogerwako mu lunyiriri olwo. Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebiri mu Bayibuli kigamba nti ekigambo ekyo era kiyinza okutegeeza, “kukulukuta gye tuli ng’omugga.” Ekyo kiraga nti Yakuwa alina okwagala kungi nnyo eri abaafukibwako amafuta. Abaafukibwako amafuta nabo bakimanyi nti Katonda abaagala. (Yud. 1) Omutume Yokaana yalaga engeri gye bawuliramu bwe yagamba nti: “Laba okwagala Kitaffe kw’atulaze bwe kuli okungi ennyo, ffe okuyitibwa abaana ba Katonda!” (1 Yok. 3:1) Abaafukibwako amafuta bokka Yakuwa b’alaga okwagala? Nedda. Yakuwa akiraze nti ffenna atwagala.
10. Kintu ki ekisingayo okulaga nti Yakuwa akwagala nnyo?
10 Kintu ki ekisingayo okulaga nti Yakuwa ayagala nnyo abantu? Kye kinunulo. Okuyitira mu kinunulo, Yakuwa yakiraga nti y’asingayo okuba n’okwagala! (Yok. 3:16; Bar. 5:8) Yakuwa yawaayo Omwana we gw’ayagala ennyo n’amuleka okufiirira abantu bonna, basobole okusonyiyibwa ebibi era babe mikwano gye. (1 Yok. 4:10) Gye tukoma okufumiitiriza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye beefiiriza okutununula, gye tukoma okukitegeera nti batwagala nnyo kinnoomu. (Bag. 2:20) Ekinunulo tekyasasulwa kutuukiriza butuukiriza mutindo gwa Yakuwa ogw’obwenkanya. Kirabo ekyaweebwayo olw’okwagala. Yakuwa yakiraga nti atwagala nnyo bwe yawaayo Omwana we asingayo okuba ow’omuwendo gy’ali. Yakuwa yaleka Yesu okubonaabona n’okufa ku lwaffe.
11. Kiki ky’oyize mu Yeremiya 31:3?
11 Nga bwe tulabye, Yakuwa tawulira buwulizi nti atwagala, wabula ayoleka okwagala kw’alina gye tuli. (Soma Yeremiya 31:3.) Yatusembeza gy’ali olw’okuba atwagala. (Geraageranya Ekyamateeka 7:7, 8.) Tewali kintu kyonna oba muntu yenna asobola kutwawukanya ku kwagala okwo. (Bar. 8:38, 39) Okwagala okwo kukuleetera kuwulira otya? Soma Zabbuli 23, olabe engeri Dawudi gye yakwatibwako olw’okwagala Yakuwa kwe yamulaga n’olw’engeri gye yali amulabiriramu, era olabe engeri naffe gye tuyinza okukwatibwako olw’okwagala Yakuwa kw’atulaga.
OKWAGALA YAKUWA KW’ALAGA KULULEETERA KUWULIRA OTYA?
12. Mu bufunze, biki ebiri mu Zabbuli 23?
12 Soma Zabbuli 23:1-6. Zabbuli 23 luyimba Dawudi lwe yayimba ng’alaga nti yali mukakafu nti Yakuwa amwagala nnyo era nti amufaako. Mu luyimba olwo yalaga enkolagana ey’oku lusegere gye yalina n’Omusumba we, Yakuwa. Dawudi yali awulira nti alina obukuumi olw’okukkiriza Yakuwa okumukulemberamu, era yali amwesigira ddala. Yali akimanyi nti Yakuwa yandimulaze okwagala obulamu bwe bwonna. Kiki ekyaleetera Dawudi okuba omukakafu nti Yakuwa yali amwagala?
13. Lwaki Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yali amufaako?
13 “Siijulenga kintu kyonna.” Dawudi yali awulira nti alabirirwa bulungi olw’okuba bulijjo Yakuwa yamuwanga bye yalinga yeetaaga. Ate era yali ekimanyi Yakuwa yali mukwano gwe era nti yali amusiima. Eyo ye nsonga lwaki yali mukakafu nti ka kibe ki ekyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa yandyeyongedde okukola ku byetaago bye byonna. Olw’okuba Dawudi yali mukakafu nti Yakuwa yali amwagala era nti amufaako, kyamuyamba obuteeraliikiriranga, era yabanga musanyufu ate nga mumativu.—Zab. 16:11.
14. Yakuwa ayinza kutulabirira atya?
14 Yakuwa atwagala era atufaako naddala bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Mwannyinaffe Claire, a amaze emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza ku Beseri, yawulira ng’asobeddwa nnyo ab’ewaabwe bwe baali boolekagana n’ebizibu eby’omuddiriŋŋanwa. Taata we yafuna obulwadde obw’okusannyalala, muganda we omuto yagobebwa mu kibiina, baafiirwa bizineesi eyali ebayimirizaawo, era baafiirwa n’ennyumba yaabwe. Yakuwa yabafaako atya? Claire agamba nti: “Yakuwa yakakasanga nti ab’eka baba ne bye beetaaga buli lunaku. Emirundi mingi Yakuwa yatuwanga ebintu ebyabanga bisinga ku ebyo bye twabanga twetaaga! Ntera okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yatuyambamu, era siyinza kwerabira kwagala kwe yatulaga. Ekyo kinnyambye okweyongera okumuweereza n’essanyu ne bwe nfuna ebizibu ebirala.”
15. Lwaki Dawudi yawuliranga ng’azziddwamu amaanyi? (Laba n’ekifaananyi.)
15 “Anzizaamu amaanyi.” Ebiseera ebimu Dawudi yawuliranga ng’aweddemu amaanyi olw’ebizibu be yalinga ayitamu. (Zab. 18:4-6) Naye olw’okuba Yakuwa yamulaganga okwagala era ng’amulabirira, kyamuzzangamu amaanyi. Yakuwa yakulemberangamu mukwano gwe eyali akooye n’amutwala awali “omuddo omungi” ne mu “bifo eby’okuwummuliramu omuli amazzi amangi.” Ekyo kyayamba Dawudi okuddamu amaanyi n’asobola okweyongera okuweereza Yakuwa n’essanyu.—Zab. 18:28-32.
16. Okwagala Yakuwa kw’atulaga kukuzzizzaamu kutya amaanyi?
16 Mu ngeri y’emu leero, bwe tuyita mu bizibu eby’amaanyi tukiraba nti “tetusaanyeewo olw’okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka.” (Kung. 3:22; Bak. 1:11) Lowooza ku mwannyinaffe Rachel. Yawulira bubi nnyo omwami we bwe yamulekaawo era n’ava ne ku Yakuwa mu kiseera ky’ekirwadde kya COVID-19. Kiki Yakuwa kye yakolera Rachel? Agamba nti: “Yakuwa yakakasanga nti mpulira nga njagalibwa. Yaleeteranga mikwano gyange okubeerangako awamu nange, bandeeteranga emmere, bansindikiranga obubaka n’ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi, baasekeranga wamu nange, era banzijukizanga nti Yakuwa anfaako. Bulijjo nneebaza Yakuwa olw’okumpa baganda bange ne bannyinaze abanfaako.”
17. Lwaki Dawudi yali awulira nti talina ‘kabi k’atya’?
17 “Sirina kabi ke ntya, kubanga oli nange.” Emirundi mingi obulamu bwa Dawudi bwabanga mu kabi era yalina abalabe bangi ab’amaanyi. Naye okwagala Yakuwa kwe yali amulaga kwamuleeteranga okuwulira nti alina obukuumi. Dawudi yali akiraba nti mu buli mbeera Yakuwa yalinga naye, era ekyo kyamuleetera obutatya. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “[Yakuwa] yamponya byonna ebyali bintiisa.” (Zab. 34:4) Wadde nga Dawudi yafunanga ebimutiisa, okwagala Yakuwa kwe yali amulaga kwamuyambanga okuguma.
18. Okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala kiyinza kitya okukuzzaamu amaanyi ng’oyolekaganye n’ebintu ebitiisa?
18 Okuba nti Yakuwa atukakasa nti atwagala kituyamba kitya okuguma nga twolekagana n’ebintu ebitiisa? Mwannyinaffe Susi aweereza nga payoniya ayogera ku ngeri ye n’omwami we gye baawuliramu nga mutabani waabwe yesse. Agamba nti: “Ekintu ekibi ennyo bwe kikutuukako nga tokisuubira kikukosa nnyo, era muli oba otya nti waliwo ebirala ebibi ebigenda okukutuukako. Naye okwagala Yakuwa kw’atulaga kutuleetedde okuwulira nti tulina obukuumi.” Rachel, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Lumu ekiro bwe nnali mu bulumi obw’amaanyi nga nneeraliikirira nnyo era nga ntidde nnyo, nnasaba Yakuwa mu ddoboozi ery’omwanguka. Amangu ddala nnawulira nga nzikkakkanye era nga mbudaabudiddwa, okufaananako omwana maama we gw’asiisiitira. Akaseera ako sirikeerabira.” Ow’oluganda Tasos aweereza ng’omukadde yamala emyaka ena mu kkomera olw’okugaana okuyingira amagye. Yakiraba atya nti Yakuwa yali amwagala era ng’amufaako? Agamba nti: “Yakuwa yakola ku byetaago byange byonna era yampa n’ebisingawo. Ekyo kyandeetera okuba omukakafu nti nsobola okumwesigira ddala. Ate era okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yansobozesa okuba omusanyufu wadde ng’embeera mu kkomera yali mbi nnyo. Ekyo kyandeetera okuba omukakafu nti gye nnandikomye okumwesiga, gye nnandikomye okukiraba nti anjagala. Bwe kityo nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga ndi mu kkomera.”
SEMBERERA KATONDA WO AKWAGALA ENNYO
19. (a) Okukimanya nti Katonda atwagala kikwata kitya ku ebyo bye twogerako mu kusaba? (b) Ku ebyo ebyogerwa ku kwagala kwa Yakuwa, kiruwa ekisinga okukukwatako? (Laba akasanduuko “Ebigambo Ebituyamba Okukimanya Nti Yakuwa Atwagala Nnyo.”)
19 Ebyokulabirako bye tulabye mu kitundu kino byonna bitukakasa nti Yakuwa “Katonda ow’okwagala,” ali naffe! (2 Kol. 13:11) Atufaako kinnoomu. Tuli bakakafu nti ‘twetoolooddwa okwagala kwe okutajjulukuka.’ (Zab. 32:10) Gye tukoma okufumiitiriza ku ngeri gy’atulagamu okwagala, gy’akoma okuba owa ddala gye tuli era gye tukoma okumusemberera. Tusobola okumutuukirira mu kusaba nga tetutya, ne tumugamba nti okwagala kwe tukwetaaga nnyo. Tusobola kumutegeeza byonna ebitweraliikiriza nga tuli bakakafu nti atutegeera era nti ayagala nnyo okutuyamba.—Zab. 145:18, 19.
20. Okwagala Yakuwa kw’atulaga kutuyamba kutya okumusemberera?
20 Nga bwe tusikirizibwa okwota omuliro mu budde obw’empewo, okwagala kwa Yakuwa nakwo kutusikiriza. Okwagala kwa Yakuwa kwa maanyi nnyo. N’olwekyo sanyuka olw’okwagala Yakuwa kw’akulaga. Era ffenna ka tukirage nti tusiima okwagala okwo nga tugamba nti: “Njagala Yakuwa”!—Zab. 116:1.
WANDIZZEEMU OTYA?
-
Oyinza kunnyonnyola otya okwagala Yakuwa kw’alaga?
-
Lwaki osobola okuba omukakafu nti Yakuwa akwagala nnyo?
-
Okwagala Yakuwa kw’alaga kukuleetera kuwulira otya?
OLUYIMBA 108 Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka
a Amannya agamu gakyusiddwa.