EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2
Osobola ‘Okuzzaamu Abalala Amaanyi’
“Bano bokka be bakola nange omulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda era banzizaamu nnyo amaanyi.”—BAK. 4:11.
OLUYIMBA 90 Tuzziŋŋanemu Amaanyi
OMULAMWA *
1. Bizibu ki abaweereza ba Yakuwa bangi bye boolekagana nabyo?
OKWETOOLOOLA ensi, abaweereza ba Yakuwa bangi boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Ekyo naawe okirabye mu kibiina mw’oli? Abakristaayo abamu balina obulwadde obw’amaanyi, ate abalala bafiiriddwako abantu baabwe. Abalala balina ennaku olw’omu ku b’eŋŋanda zaabwe oba mikwano gyabwe okuva mu mazima. Ate abalala bakoseddwa obutyabaga. Baganda baffe abo bonna beetaaga okubudaabudibwa. Tuyinza tutya okubayamba?
2. Lwaki ebiseera ebimu Pawulo yeetaaganga okuzzibwamu amaanyi?
2 Omutume Pawulo yayolekagana n’ebizibu ebitali bimu ebyassa obulamu bwe mu kabi. (2 Kol. 11:23-28) Era yalina okugumira “eriggwa mu mubiri,” oboolyawo nga buno bwali bulwadde. (2 Kol. 12:7) Ate era yafuna ennaku, Dema, ow’oluganda eyakolanga naye, bwe yamwabulira “olw’okuba yayagala ebintu by’ensi eno.” (2 Tim. 4:10) Wadde nga Pawulo yali Mukristaayo eyafukibwako amafuta eyali omuvumu ennyo era eyakola ennyo okuyamba abalala, naye ebiseera ebimu yawuliranga ng’aweddemu amaanyi.—Bar. 9:1, 2.
3. Baani abazzaamu Pawulo amaanyi?
3 Pawulo yafuna obuyambi n’okubudaabudibwa bye yali yeetaaga. Yabifuna atya? Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okumuzzaamu amaanyi. (2 Kol. 4:7; Baf. 4:13) Ate era Yakuwa yamubudaabuda okuyitira mu Bakristaayo banne. Ng’ayogera ku bamu ku bakozi banne, Pawulo yagamba nti ‘baamuzzaamu nnyo amaanyi.’ (Bak. 4:) Abamu ku abo be yayogerako mwe mwali Alisutaluuko, Tukiko, ne Makko. Bazzaamu Pawulo amaanyi ne bamuyamba okugumira ebizibu. Ngeri ki ezaasobozesa Abakristaayo abo abasatu okuzzaamu Pawulo amaanyi? Tuyinza tutya okubakoppa nga tufuba okubudaabudagana n’okuzziŋŋanamu amaanyi? 11
BEERA MWESIGWA NGA ALISUTALUUKO
4. Alisutaluuko yakyoleka atya nti yali mwesigwa eri Pawulo?
4 Alisutaluuko, Omukristaayo ow’e Ssessalonika, ekyali mu Masedoniya, yanywerera ku Pawulo. Tusooka okusoma ku Alisutaluuko ku mulundi Pawulo gwe yali agenze mu Efeso ng’ali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu. Alisutaluuko bwe yali ali ne Pawulo, ekibiina ky’abantu kyamukwata. (Bik. 19:29) Oluvannyuma bwe baamuta, teyagezaako kutaasa bulamu bwe, wabula yanywerera ku Pawulo. Nga wayise emyezi, Pawulo bwe yali mu Buyonaani, Alisutaluuko yali akyali naye wadde ng’abalabe baali bakyagezaako okutta Pawulo. (Bik. 20:2-4) Awo nga mu mwaka gwa 58 E.E. Pawulo bwe yasindikibwa e Rooma nga musibe, Alisutaluuko yamuwerekerako ku lugendo olwo oluwanvu era ekyombo mwe baali kyamenyekamenyeka. (Bik. 27:1, 2, 41) Ate era bwe baatuuka mu Rooma, kirabika Alisutaluuko yamala ekiseera ng’ali wamu ne Pawulo mu kkomera. (Bak. 4:10) Tekyewuunyisa nti Pawulo yawulira nga Alisutaluuko amuzizzaamu nnyo amaanyi!
5. Okusinziira ku Engero 17:17, tuyinza tutya okuba abeesigwa eri bakkiriza bannaffe?
5 Okufaananako Alisutaluuko, naffe tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri bakkiriza bannaffe nga tubanywererako mu biseera ebirungi ne mu biseera “eby’okulaba ennaku.” (Soma Engero 17:17.) Mukkiriza munnaffe ne bw’aba ng’amaze okuyita mu kizibu, ayinza okwetaaga okubudaabudibwa okumala ekiseera. Mwannyinaffe Frances, * bazadde be bombi abaafa ekirwadde kya kookolo mu bbanga lya myezi esatu, agamba nti: “Ebizibu bye tuyitamu bitukosa okumala ekiseera kiwanvu. Nsiima nnyo mikwano gyange abakijjukira nti nkyalina obulumi ku mutima, wadde nga wayiseewo ekiseera bukya bazadde bange bafa.”
6. Bwe tuba abeesigwa eri bakkiriza bannaffe, kiki kye tujja okukola?
6 Ab’emikwano abeesigwa babaako bye beefiiriza okusobola okuyamba bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayitibwa Peter yazuulibwamu obulwadde obw’amaanyi ennyo era obutawona. Mukyala we, Kathryn, agamba nti: “Ow’oluganda omu ne mukyala we abali mu kibiina kyaffe baatutwala mu ddwaliro gye baazuulira obulwadde bwa Peter. Abasawo bwe baatutegeeza obulwadde, ow’oluganda oyo ne mukyala we baatutegeerezaawo nti baali tebagenda kutuleka kwaŋŋanga ffekka mbeera eno enzibu era babadde naffe buli we tubadde tubeetaagira.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuba n’emikwano egya nnamaddala abatuyamba okugumira ebizibu!
BEERA MUNTU EYEESIGIKA NGA TUKIKO
7-8. Okusinziira ku Abakkolosaayi 4:7-9, Tukiko yakyoleka atya nti yali yeesigika?
7 Tukiko, Omukristaayo eyali ow’omu ssaza lya Asiya, yali mukwano gwa Pawulo eyeesigika. (Bik. 20:4) Awo nga mu mwaka gwa 55 E.E., Pawulo bwe yakwanaganya omulimu ogw’okukuŋŋaanya ssente ez’okuyamba Abakristaayo ab’omu Buyudaaya, ayinza okuba nga yakozesa Tukiko okumuyambako. (2 Kol. 8:18-20) Oluvannyuma, Pawulo bwe yasibibwa mu Rooma omulundi ogusooka, yakozesa Tukiko ng’omubaka we. Tukiko yatwalanga amabaluwa n’obubaka bwa Pawulo eri ebibiina by’omu Asiya.—Bak. 4:7-9.
8 Tukiko yasigala yeesigika. (Tit. 3:12) Mu kiseera ekyo Abakristaayo abamu baali tebeesigika nnyo nga Tukiko. Awo nga mu mwaka gwa 65 E.E., Pawulo bwe yali asibiddwa omulundi ogw’okubiri, yagamba nti Abakristaayo bangi mu ssaza lya Asiya baamwewala, oboolyawo olw’okuba baali batya okuyigganyizibwa. (2 Tim. 1:15) Naye olw’okuba Tukiko yali yeesigika, Pawulo yamukwasa obuvunaanyizibwa obulala. (2 Tim. 4:12) Awatali kubuusabuusa, Pawulo yasiima nnyo okuba n’ow’omukwano omulungi nga Tukiko.
9. Tuyinza tutya okukoppa Tukiko?
Mat. 5:37; Luk. 16:10) Abo abeetaaga okuyambibwa bwe bakimanya nti tuli bantu abeesigika, kibabudaabuda nnyo. Mwannyinaffe omu agamba nti, “Oba mukkakkamu kubanga oba okimanyi nti eyasuubizza okukuyamba ajja kutuukiriza kye yagamba mu kiseera ekituufu.”
9 Tusobola okukoppa Tukiko nga tuba bantu abeesigika. Ng’ekyokulabirako, tetusuubiza busuubiza bakkiriza bannaffe nti tujja kubayamba, naye era tubaako bye tukola okubayamba. (10. Nga bwe kiragibwa mu Engero 18:24, kiki ekiyinza okubudaabuda abo ababa boolekagana n’ebigezo?
10 Abo ababa boolekagana n’ebigezo babudaabudibwa nnyo bwe babaako ow’omukwano eyeesigika gwe beeyabiza. (Soma Engero 18:24.) Mutabani we bwe yagobwa mu kibiina, Bijay yagamba nti, “Nnawulira nga njagala okubuulirako omuntu gwe nneesiga ku nnaku gye nnalina.” Ate Carlos eyakola ensobi n’aggibwako enkizo mu kibiina agamba nti, “Nnawulira nga nneetaaga okubaako omuntu gwe mbuulira ku ngeri gye nnali nneewuliramu, ng’ampuliriza bulungi awatali kunsalira musango.” Carlos yayogerako n’abakadde abaamuwuliriza obulungi era ne bamuyamba okuvvuunuka ekizibu kye. Ate era kyamubudaabuda nnyo okukimanya nti abakadde baali tebagenda kubuulirako balala ku ebyo bye yali abagambye.
11. Tuyinza tutya okuba ab’emikwano abeesigika?
11 Okusobola okuba ab’emikwano abeesigika, kitwetaagisa okuba abagumiikiriza. Omwami wa Zhanna bwe yamuleka, Zhanna yabudaabudibwa nnyo okubuulirako mikwano gye ku ngeri gye yali yeewuliramu. Agamba nti: “Wadde ng’oluusi nnabagambanga ebintu bye bimu enfunda n’enfunda, bampulirizanga.” Naawe osobola okuba ow’omukwano omulungi singa owuliriza abalala.
BA MWETEGEFU OKUWEEREZA ABALALA NGA MAKKO
12. Makko yali ani, era yakyoleka atya nti yali ayagala okuweereza abalala?
12 Makko yali Mukristaayo Omuyudaaya enzaalwa y’omu Yerusaalemi. Yalina oluganda ku Balunabba, omuminsani eyali amanyiddwa ennyo. (Bak. 4:10) Kirabika Makko yali ava mu maka magagga, naye ebintu si bye yakulembeza mu bulamu bwe. Makko yayagalanga nnyo okuweereza abalala. Ng’ekyokulabirako, yaweererezaako wamu n’omutume Pawulo ne Peetero emirundi egiwerako, oboolyawo ng’abayambako mu bintu ng’okubagulira eby’okulya, okubanoonyeza aw’okusula, n’ebirala ebiri ng’ebyo. (Bik. 13:2-5; 1 Peet. 5:13) Pawulo yagamba nti Makko y’omu ku abo abaali ‘bakola naye omulimu gw’Obwakabaka bwa Katonda,’ era ‘abaamuzzaamu ennyo amaanyi.’—Bak. 4:10, 11.
13. Ebiri mu 2 Timoseewo 4:11 biraga bitya nti Pawulo yasiima obuweereza bwa Makko?
13 Makko yafuuka omu ku mikwano gya Pawulo egy’oku lusegere. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yasibibwa mu Rooma omulundi ogwasembayo, awo nga mu mwaka gwa 65 E.E., yawandiikira Timoseewo ebbaluwa ey’okubiri. Mu bbaluwa eyo, Pawulo yagamba Timoseewo agende e Rooma era agende ne Makko. (2 Tim. 4:11) Pawulo yasiima nnyo engeri Makko gye yali yamuweerezaamu, era eyo ye nsonga lwaki yagamba Makko agende abeere naye mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Makko yayamba Pawulo mu bintu ebitali bimu, oboolyawo omwali okumugulira emmere n’okumufunira eby’okukozesa okuwandiika. Obuyambi obwo Pawulo bwe yafuna bwamuyamba nnyo okugumira ekiseera ekizibu ekyasembayo amale attibwe.
14-15. Matayo 7:12 watuyigiriza ki ku kuyamba abalala?
14 Soma Matayo 7:12. Bwe tuba nga tuyita mu bizibu eby’amaanyi, tusiima nnyo abo ababaako bye batukolera okutuyamba! Ryan eyafiirwa taata we mu kabenje agamba nti: “Bw’oba oyita mu kizibu eky’amaanyi, waliwo ebintu bingi ebya bulijjo ebisobola okukulema okukola. Omuntu bw’abaako ky’akukolera, ne bwe kiba kitono kitya, kikuzzaamu amaanyi.”
15 Bwe tuba abantu abeetegereza, tusobola okulaba bye tuyinza okukola okuyamba abalala. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu yakola enteekateeka okuyamba Peter ne Kathryn, abaayogeddwako waggulu, okugendanga mu ddwaliro. Okuva bwe kiri nti Peter ne Kathryn baali tebakyasobola kwevuga, mwannyinaffe oyo yakola enteekateeka bannakyewa mu kibiina ne baba nga babavuga mu mpalo okubatwala mu ddwaliro. Enteekateeka eyo yabayamba? Kathryn agamba nti, “Twawulira ng’abatikuddwa omugugu omuzito.” Bulijjo tokyerabiranga nti bw’obaako ebintu by’okola okuyamba abalala, ka bibe bitono bitya, kibabudaabuda.
16. Kiki kye tuyigira ku Makko bwe kituuka ku kubudaabuda abalala?
16 Kya lwatu nti Omukristaayo Makko eyaliwo mu kyasa ekyasooka yalina eby’okukola bingi. Yalina ebintu ebikulu eby’okukola mu buweereza bwe, nga muno mwe mwali n’okuwandiika Enjiri eyitibwa erinnya lye. Wadde kyali kityo, Makko yafissangawo ekiseera okubudaabuda Pawulo era Pawulo yasiima nnyo obuyambi bwe yamuwa. Angela yasiima nnyo abo abaamubudaabuda nga jjajjaawe attiddwa mu bukambwe. Agamba nti, “Abantu bwe baba baagala okukuyamba kikwanguyira okwogera nabo. Basitukiramu okukuyamba.” Oyinza okwebuuza, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu omwetegefu okubudaabuda abalala nga mbaako bye nkolawo okubayamba?’
BA MUMALIRIVU OKUBUDAABUDA ABALALA
17. Okufumiitiriza ku 2 Abakkolinso 1:3, 4 kisobola kitya okutuyamba okubudaabuda abalala?
17 Kyangu okumanya ab’oluganda abeetaaga 2 Abakkolinso 1:3, 4.) Frances, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ebigambo ebiri mu 2 Abakkolinso 1:4 bituufu ddala. Okubudaabuda kwe tufuna tusobola okukozesa okubudaabuda abalala.”
okubudaabudibwa. Tusobola n’okubagamba ebigambo bye bimu abalala bye baatugamba nga batubudaabuda. Mwannyinaffe Nino eyafiirwa jjajjaawe, agamba nti: “Yakuwa asobola okutukozesa okubudaabuda abalala singa tukkiriza atukozese.” (Soma18. (a) Lwaki abamu oluusi batya okubudaabuda abalala? (b) Tuyinza tutya okubudaabuda abalala? Waayo ekyokulabirako.
18 Tusaanidde okubaako kye tukolawo okuyamba abalala ne bwe tuba nga tutya. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okutya nti tetumanyi kye tuyinza kugamba oba kukolera muntu ali mu nnaku ey’amaanyi. Omukadde omu ayitibwa Pawulo ajjukira engeri abamu gye baafuba okumubudaabuda ng’afiiriddwa kitaawe. Agamba nti: “Nnali nkiraba nti tekyali kyangu gye bali okuntuukirira. Baali tebamanyi kya kwogera. Naye nnasiima nnyo eky’okuba nti baali baagala okumbudaabuda.” Ow’oluganda ayitibwa Tajon eyakosebwa musisi ow’amaanyi agamba nti: “Sisobola kujjukira bigambo byonna abantu bye baŋŋamba oluvannyuma lwa musisi okuyita, naye kye nzijukira kiri nti banfaako nnyo.” Naffe tusobola okubudaabuda abalala singa tukiraga nti tubafaako.
19. Lwaki omaliridde okuzzaamu abalala amaanyi?
19 Ng’enkomerero egenda esembera, embeera y’ensi ejja kweyongera okwonooneka era obulamu bujja kweyongera okukaluba. (2 Tim. 3:13) Ate era olw’okuba waliwo n’ebizibu bye twereetera olw’obutali butuukirivu bwaffe, tujja kweyongera okwetaaga okubudaabudibwa. Ekimu ku bintu ebyayamba omutume Pawulo okugumira ebizibu n’asigala nga mwesigwa kwe kuba nti Bakristaayo banne baamuyamba. Ka tubeerenga beesigwa nga Alisutaluuko, bantu abeesigika nga Tukiko, era abeetegefu okuweereza abalala nga Makko. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kuyamba baganda baffe okunywerera mu kukkiriza.—1 Bas. 3:2, 3.
^ lup. 5 Omutume Pawulo yayolekagana n’ebizibu bingi mu bulamu bwe. Bwe yabanga mu bizibu, waliwo bakozi banne abaamuzzangamu ennyo amaanyi. Tugenda kulaba engeri ssatu ezaasobozesa abantu abo okuzzaamu abalala amaanyi. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okubakoppamu.
^ lup. 5 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu